Skip to content
Home » 16. Al – Nahal

16. Al – Nahal

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(16) ESSUULA EN-NAHAL: ENJUKI (MK)

Yakkira Makka. Erina Aya 128.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Kumaze okutuukirira okusalawo kwa Katonda, kale temukusabisa kapapirizo. Atukuzibwe Yye Mwene era agulumizibwe nga ayawulibwa kw’ebyo bye bamugattako.

2. Yoyo assa ba Malaika nga balina obubaka obusibuka mu biragiro bye nga buweerezebwa eri oyo gwayagala nga yomu ku baddu be, nga bulagira nti: ‘Teriiyo asinzibwa mulala okujjako NZE! Era muntye’.

3. Yatonda eggulu n’ensi olw’ensonga entufu. Agulumizibwe nga ayawulibwa kwebyo bye bamugattako.

4. Yatonda omuntu okuva mu mazzi g’ekisajja, bwava awo naye naaba mmo mu kuwalaaza empaka omweyolefu.

5. Era n’ensolo ezirundibwa yazitonda. Muzifunamu ebibugumya n’emigaso emirala mingi era zemufunamu bye mulya.

6. Era muzifunamu eby’okunekaaneka mu kiseera ky’okuzikomyawo awaka n’ekisera ky’okuzitwala ku ttale.

7. Ate zeetikka entwala yammwe okugituusa mu kibuga gye mutandituuse okujjako nga muzitoowereddwa mu myoyo. Wew’awo Mukama Katonda Omulezi wammwe ddala ye Mulumirirwa Ow’okusaasira okw’enjawulo.

8. Era embalaasi n’ennyumbu n’endogoyi ziriwo lwa kuzeebagala n’okwewunda. Ate atonda ebirala bye mutamanyi.

9. Ate buli wa Katonda yekka obuvunanyizibwa bw’okulambika ekkubo (ettuukirivu), kyokka eriyo obuwunjukira, ate ssinga Katonda yayagala yaalibafudde abaluŋŋamu mwenna.

10. Yoyo eyatonnyesa okuva muggulu enkuba. Mugifunamu eky’okunywa era mugifunamu omuddo mwe mulundira.

11. Ameza kulw’emigaso gyammwe nga agyeyambisizza, ebirime bingi n’emizayituuni n’emitende n’emizabbu nekalonda w’ebika by’ebibala. Mazima ekyo kirimu ekyamagero ekiyigirwako eri abantu abafumintiriza.

12. Era yabagondeza ekiro n’emisana n’enjuba n’omwezi. Gattako emmunyenye ezaafuulibwa eŋŋonvu olw’ekiragiro kye. Mazima ebyo birimu ebyamagero ebiyigirwako eri abantu abategeera.

13. N’ebirala bye yabatondera munsi nga byanjawulo, enkula n’amabala gabyo. Mazima ebyo birimu ebyamagero ebiyigirwako eri abantu abejjukanya.

14. Era yoyo eyagonza ennyanja musobole okugiryamu ebyennyanja ebigonda emiwula, era mube nga mugiggyamu amajjolobera g’okwewunda gemwenaanika. Kale n’olaba amaato agaabuluza amazzi nga gaseeyeeyezaamu, nga ekigendererwa ky’ebyo musobole okunoonya mufune ebimu ku birungi bye, era kibasobozese okusiima.

15. Era yasimba munsi ensozi zi lugumyansi olw’okugirobera okubatengesezaako. Gattako emigga n’amakubo bibasobozese okuluŋŋama.

16. N’obubonero nkuyanja (Bweyasimbamu). Gattako emmunyenye gyebeyambisa okuluŋŋama.

17. Abaffe, oyo atonda agerageranyizibwa okufaanana biri ebitatonda? Abaffe temuliimu kebuulirira?

18. Kale ne bwemubalirira mutya ebyengera bya Katonda temubikomekkereza. Mazima Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

19. Era Katonda amanyi bye mukola mu nkukutu ne bye mwolesa.

20. Kyokka ebyo byebawanjagira nebalekawo Katonda tewali kyebisobola kutonda ate nga byo bitondebwa butondebwa.

21. Egyo gy’emitulumbi, ssi biramu. Era tebimanyi ddi lwebizuukizibwa.

22. Omusinzibwa wammwe musinzibwa omu yekka. Kyokka bali abatakkiriza nkomerero emitima gyabwe gyajjula obukyayi era bebo abekuluntaza.

23. Awatali kuwannaanya Katonda amanyi ebyo bye bakola mu nkukutu n’ebyo bye boolesa. Mazima yewuyo atayagala bekuluntaza.

24. Era bwe baba babuuziddwa nti: ‘Kiki Mukama Katonda Omulezi wammwe kyassizza? Baddamu nti: ‘Nfumo z’abaasooka!’,

25. Kiryoke kibasobozese okwebagajja ebibi byabwe mu bujjuvu ku lunaku lw’enkomerero, (n’okwebagajja) ebimu ku bibi bya bali be babuza nga basinzira ku butamanya.

26. Mazima baayisa enkwe abo abaabasooka, olwo Katonda neyeŋŋanga emizimbo gyabwe nga asinzira mu misingi (gyagyo), olwo ne kabagwira akasolya nga kawamatuka waggulu wabwe, era nekibatuukako ekibonerezo nga kisinzira gye batamanyi.

27. Ebyo nga biwedde, olunaku lw’enkomerero abaweebuula bwaba ababuuza nti: ‘Biruwa ebyangattibwako ebyo bye mubadde muwalaalizaako empaka kunsonga ezibikwatako? Nebaddamu bali abaagemulirwa obuyivu nti: ‘Mazima obuweebuufu olwaleero n’ekibonerezo bya kutuusibwa ku bajeemu.

28. Abo be batuusa okuvumbagira entunnunsi zabwe ba Malaika nga bakyeyongera okulyazamanya emyoyo gyabwe. Bwebatyo nebeewaayo (mu mikwono gy’okufa) mu mirembe nga bwe beewozaako nti: ‘Teriiyo kyetwali kukola mwebyo byonna ebibi.’ Mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye mwali mukola.

29. Kale muyingire emiryango gya Ggeyeena nga muli ba kusiisira omwo. Era bwebwo obw’ekivve obubudamu bw’abekuluntazi.

30. Ate babuuzibwe bali abaatya Katonda, nti: ‘Biki bye yassa Mukama Katonda Omulezi wammwe? Baddemu nti: ‘Birungi bisa. Bweyawulidde abo bokka abaalongosa munsi eno obulungi. Kyokka amaka kiwamirembe agokunkomerero ge gasinga obulungi. Era gego ag’omukisa, amaka kiwa mirembe ag’abatya Katonda.

31. Y’Ejjana Aden (obutuuze kiwa mirembe) gye bayingira, ekulukutiramu wansi wayo emigga. Bagifuniramu byonna bye baagala. Eyo y’engeri Katonda gy’asasula abamutya.

32. Abo be batuusa okuvumbagira entunnunsi zabwe ba Malaika nga bali bulungi. Babalamusa nti: ‘Emirembe gibe gyemulimu muyingire Ejjana olw’ebyo bye mwali mukola’.

33. Abaffe eriyo kye balindirira ekirala okujjako okuba nti babatuukako ba Malaika oba okutuuka kw’ensalawo ya Mukama Katonda Omulezi wo? Eyo y’engeri gye baakolamu bali abaabasooka. Era tabalyazamanyangako Katonda, wabula baali bbo emyoyo gyabwe gye balyazamanya.

34. Bwebityo bya batuukako ebibi by’ebyo bye baakola era byabakkako ebyo bye baali baŋoola.

35. Ate baalangirira abo abasamize nti: ‘Singa Katonda yayagala tetwalisinzizza nga tuleseewo Yye kintu kyonna, ffe ffennyini newankubadde ba kitaffe, era tetwalisobodde kuziza nga tuleseewo ebibye kintu kyonna. Bwebatyo bwe baakola bali abaabasooka. Abaffe eriyo obuvunanyizibwa obulala obuli ku babaka okujjako okutuusa obubaka obweyolefu?

36. Era mazima twatuma eri buli mulembe omubaka (okubayigiriza) nti: ‘Musinze Allah era mwewale Ssitaani’. Kale ekibinja kyabwe kirimu abamu abo Katonda be yaluŋŋamya era mu kibinja kyabwe kirimu abamu abo abaakakatibwako okubula. Naye mutambule munsi mwerolere engeri gyeyalimu enkomerero embi eyaabo abaalimbisa.

37. Nebwonoofaayo okubaluŋŋamya, ate mazima Katonda teluŋŋamya oyo ayeebuza era tebalinaawo abataasa.

38. Kale baalayira Katonda ebirayiro ebinywevu nti: ‘Tekisoboka Katonda okuzuukiza oyo afa!’ Wew’awo ddala ekyo ky’ekisuubizo kyavunanyizibwa okutuukiriza ekyamazima, kyokka abasinga obungi abantu tebamanyi.

39. Kimusobozese okubannyonnyola ebyo bye batakkaanyako, era balyoke bamanye bali abaajeema nti mazima baali balimba.

40. Mazima engeri yokka okusalawo kwaffe ku kintu kyonna bwe tuba tukyagadde, kwe kukiragira obulagizi nti: ‘BA’, Nekiba (nga bwetusazeewo).

41. Ate abo abaasenguka kulwa Katonda nga bamaze okukijjanyizibwa, ddala tujja ku bategekera munsi ebirungi. Ate mazima empeera (gye basasulwa) ey’enkomerero y’esinga obunene ssinga baali bamanyi.

42. Bebo abaagumiikiriza era Mukama Katonda Omulezi wabwe yekka gwe beesigamira.

43. Era teriiyo gwe twali tutumye lubereberye lwo okujjako abasajja nga tubabikkulira obubaka. Kale mubuuze abayivu ssinga mubadde temumanyi.

44. Nga balina obunyonnyofu n’ebitabo. Era twassa gyoli enzijukizi (okutegeera okw’enjawulo okw’obwannabi) kikusobozese okunnyonnyola abantu ebyo ebyasibwa gyebali era kibasobozese nabo okufumintiriza.

45. Abaffe balinayo obwesige bwonna abo abeekobaana enkwe z’ebibi, obw’okuwona Katonda okubavuunikako ensi, oba okuba nti kibatuukako ekibonerezo nga kifubutukira gye batamanyi?

46. Oba okuba nti abagombamu obwala (ababonereze) nga bali muŋŋendo zabwe ate nga mpawo kyebayinza kulemesa?

47. Oba okuba nti abagombamu obwala (ababonereze) nga bali eyo mu kwekukuma? Kyokka mazima Mukama Katonda Omulezi wammwe ye Mutangirizi w’ebibi Ow’okusaasira okwenjawulo.

48. Abaffe balereddwa okulaba embera y’ebintu byonna ebyo Katonda bye yatonda, nga bibyamira wansi ebisiikirize byabyo ku luuyi olwaddyo ne kkono nga bivunnamidde Katonda era nga byo bikkakkamu?

49. Kale ku lwa Katonda yekka bivunnama byonna ebiri mu ggulu n’ebiri mu nsi, okugeza ebibinja bya buli kiramu ekitambula ne ba Malayika era nga byonna tebyekuza.

50. Nga bitya Mukama Katonda Omulezi wabyo oyo ali wagulu wabyo era nga bikola byonna ebibiragirwa.

51. N’abatangira nti: ‘Temweteerawo basinzibwa babbiri. Mazima omusinzibwa ali omu yekka. Kale Nze gwemuba mutya’.

52. Era bibye yekka ebyo ebiri mu ggulu nensi, era yennannyini ddiini ey’obwesimbu. Abaffe ate ebitali Katonda bye mutya?

53. Kale ebyo byemulina nga byebimu ku byengera, biva wa Katonda. Oluvannyuma bwekiba kibatuuseeko ekibi ate ewuwe gyemweyunira mubwetoowaze.

54. Oluvanyuma bwaba ajjeewo ekibi ekibaddewo, olwo ate ekibinja kiramba mumwe nekiba nti Mukama Katonda Omulezi wabwe kimugattako ba lubaale.

55. Olw’okuwakanya ebyo byetwabatuusaako. Kale mweyagale naye mujja kumanya.

56. Era bayawuliza ebyo bye batamanyi, omugabo mulamba nga guggyibwa mwebyo bye twabagabira. Aga Katonda asinzibwa Allah, ddala mujja kubuuzibwa byemwali mugunjawo.

57. Era bayawuliza Katonda abaana ab’obuwala. Okutukuzibwa kube gyali Ai Mukama! Olwo bbo nebeeyawuliza bye baagala.

58. Era bwaba atuusiddwako omu kubo amawulire g’okuzaalirwa omwana omuwala kiba kikwata ekyenyi kye kazigizigi era nga munyikaavu.

59. Nga yebwalabwala mu bantu olw’ekibi ekivudde ku mawulire gaafunye. Abaffe amulekewo ng’atuntuzibwa, nandiki abe nga amufugika muttaka nga mulamu? Awatali kuwannanya bya kivve ebyo bye balamula!

60.Kyeyawulira abo bokka abatakiriza nkomerero eky’okulabirako eky’ekivve. Ate Katonda yekka ye nnanyini kyakulabirako ekyawaggula. Era yewuyo Luwangula Ssabalamuzi.

61. Ate ssinga Katonda yeesasulizaawo abantu olw’obukuusa bwabwe, teyandigireseeko (ensi) kiramu kitambula wabula abalindiriza batuuse ekiseera kyabwe ekyasalibwawo. Olwo bwekiba kituuse ekiseera kyabwe tebakeereyesebwayo kiseera kyonna era tebalindirizibwa.

62. Kale bayawuliza Katonda ebyo byebatamwa era nga zirojja ennimi zabwe obulimba obusa, nti bebokka abalina ebirungi ebyereere. Awatali kuwannaanya, ddala kyebalina kyokka gwe muliro, era mazima bebo ab’okulekebwa amagalangajja.

63. Aga Katonda asinzibwa Allah, mazima twatumira emirembe mingi (ejaaliwo) olubereberye lwo, naye Ssitaani yabawundira emirimu gyabwe (emibi) era yyo yemunywanywi wabwe olwaleero, era ba kufuna ekibonerezo ekiruma.

64. Era tetwakussaako kitabo okujjako olw’okukusobozesa okubannyonnyola ebyo byebaafunamu obutakkaanya. Era bwe bulungamu era obusaasizi bwabo abantu abakkiriza.

65. Kale Katonda yassa okuva muggulu amazzi, era yageyambisa okulamusa ensi oluvannyuma lw’okufa kwayo. Mazima ekyo kirimu ekyamagero ekiyigirwako eri abantu abawulira.

66. Ate mazima mwafuna okuva kunsolo ezirundibwa eky’okuyiga, tubanywesa kw’ebyo ebiva mu mbuto zabyo ebikenenuddwa okuva mu kintabuli kya ssaabwe n’omusaayi, nebiba amata amasa agawoomera abaganywa.

67.Ate mukenenula nga mujja mu bibala by’entende n’emizabibu ebyo bye musogolamu ebitamiiza gattako eky’okulya ekirungi. Mazima ekyo kirimu eky’amagero ekiyigirwako eri abantu abategeera.

68.Era Mukama Katonda omulezi wo yabikkulira enjuki obubaka obugiragira nti: ‘Wezimbire mu mpompogoma z’ensozi emizinga, ozimbe ne mumiwulukwa gy’emiti wamu n’ebyo (abantu) bye bakuteekerateekera

69.Bwomala funa eky’okulya kyo nga okijja mu bibala byonna, oluvanyuma ogoberere amakubo ga Mukama Katonda Omulezi wo agaakufuulirwa amangu. Kifubutuka nga kiva mu mbuto zaazo eky’okunywa nga gyanjawulo emiteeko gyakyo, nga kirimu eddagala eriwonya abantu. Mazima ekyo kirimu eky’amagero ekiyigirwako eri abantu abafumintiriza.

70.Kale Katonda ye yabatonda, bwamala abavumbagira entunnunsi. Ate ekibinja ekimu mummwe kirimu oyo azzibwayo mu buwangazi obusinga okuba obwawansi, olwo afuuke atalina kyamanyi kunsonga yonna so nga yali amanyi bingi. Mazima Katonda ye muyitirivu w’Okumanya Omusobozi ennyo.

71 Ate Katonda yasukkulumya abamu mummwe ku bannaabwe mu byenfuna. Kyokka teriiyo abo abaaweebwa enkizo kyebaddiza mubyenfuna byabwe eri abo begifuga emikono gyabwe egyaddyo, olwo bonna mubyenfuna ne babeera kyenkanyi. Abaffe ebyengera bya Katonda bye basalawo okuwakanya?

72. Kale Katonda yabateerawo nga ajja mu mmwe abakyala, era yabateerawo nga ajja mu bakyala bammwe abaana n’abazzukulu era mwenna y’abagabirira ebimu ku birungi. Abaffe ate ebikyamu bye bakkiriza ate ebyengera bya Katonda nebaba nga babiwakanya?

73. Era ne basinza ebitali Katonda ebyo ebitalina kye bibatuusaako ku bigabirirwa ebiva muggulu n’ensi mu kintu kyonna era nga teriiyo kyebisobola?

74. Kale mwewale okugerageranya ku Katonda ebifaananyi. Mazima Katonda amanyi (bingi) ate mmwe tewali kye mumanyi.

75. Katonda yawa eky’okulabirako eky’omuddu omufuge atasobola kusalawo ku nsonga yonna n’oli gwe twagabira nga tujja mu mawanika gaffe eby’enfuna ebirungi, era nga awaayo omutemwa oguva mubyo mukyama ne mulwatu. Abaffe abo benkana? Amatendo amalungi ga Katonda yekka. Wew’awo abasinga obungi mu kibinja kyabwe tebamanyi.

76. Era Katonda yawa eky’okulabirako eky’abasajja babiri, omu kubo nga kiggala – kasiru muzibe, (kimpemempeme) tasobola kusalawo kunsonga yonna, era yenna mu bulambirira ali ku bwa Mukama we, yonna gyamutwala tajjaayo kalungi. Abaffe oyo yenkana noli alagira okutuukiriza obwenkanya, era nga ali kukkubo eggolokofu?

77. Kale bya Katonda yekka ebikusike by’eggulu n’ensi, ate teriiyo ngeri ndala entuko y’ekiseela (eky’enkomerero) gy’egerageranyizibwa okujjako okwenkana olutemya lw’eriiso, oba yo (entuuko) obutalwenkana (olutemya kw’eriiso). Mazima Katonda, buli kintu ye Musobozi wakyo. 78. Kale Katonda ya bafulumya okubajja mu mbuto za bannyammwe nga temumanyi kintu kyonna? Olwo n’abasobozesa okuwulira n’okulaba n’okutegeera kibasobozese okusiima.

79. Abaffe balemeddwa okwerolera ebinyonyi (ebibuuka) ebyagondezebwa obwengula bw’eggulu nga tewali abiwanirira okujjako Katonda? Mazima ekyo kirimu eby’amagero ebiyigiriza abantu abakkiriza.

80. Kale Katonda yabassizaawo mu mayumba gammwe ebiwummulo, ate yabassizaawo okuva mu maliba g’ensolo ezirundibwa, amayumba agabanguyira (okujjulula) ku lunaku lwe mujjulukuka okudda awalala n’olunaku lwe musimba amakanda. Era yabakolera okujja mubyoya by’endiga n’ebyoya by’eŋŋamiya n’ebyoya by’embuzi ebikozesebwa by’awaka n’amajjolobera okutuusa we mubikooyera. 81. Era Katonda yabateerawo ebittuluze nga abijja mwebyo bye yatonda, era yabateerawo ebyambalo ebibatangira omusana n’ebyambalo (ebirala) ebibatangira akabi kammwe. Bwatyo bwabagemulira mu bujjuvu ebyengera bye kibasobozese (okuba abasiraamu) okwewaayo mu mateeka ga Katonda.

82. Kyokka bwe baba beelemye, mazima ggwe ekyo kyokka ekikuvunanyizibwa kwe kutuusa obubaka obweyolefu. 83. Bategeera bulungi ebyengera bya Katonda bwe bamala ne babiwakanya era abasinga obungi mu kibinja kyabwe bajeemu. 84. Naye olunaku lwe tuzuukiza nga tujja mu buli mulembe, omujulizi, oluvannyuma eleme kubaayo kukkirizibwa eri abo abaajeema (okwewozaako) era nga ssi ba kutangirirwa essungu eribatuusibwako.

85. Ate bwe baliraba abo abaalyazamanya ekibonerezo, tekigenda kubateewuluzibwako era nga ssi baakulindirizibwa.

86. Ate abo abasamize bwe baliba balabye ba lubaale babwe, baliwanjaga nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, baabo ba lubaale baffe be twali tusinza nga ggwe tukusudde muguluka. Ate (bbo ba lubaale) ne babalagiriza ebigambo nga bewozaako nti: ‘Amazima gennyini muli balimba!

87. Olwo ne bewaayo bonna ewa Katonda ku lunaku olwo mu mirembe, era nga byabazaawako bye baali bagunjagunja.

88. Abo abaajeema era abaatangira ekkubo lya Katonda, twabongeza ebibonerezo ebyakubisibwa mu bibonerezo binnaabyo, olw’engeri gye baali bayonoona.

89. Ate olunaku lwe tuweereza mu buli mulembe, (omuntu) abawaako obujulizi nga ava mubo, olwo netukujjayo naawe okuwa obujulizi ku bali bonna. Ate nga twakuweereza ekitabo nga kinnyonnyola ebintu byonna n’okuluŋŋamya n’obusaasizi n’okutuusa amawulire ag’essanyu eri (abasiraamu) abo abeewaayo mu mateeka ga Katonda.

90. Mazima Katonda alagira bwenkanya n’okuyisa obulungi n’okugabira abeŋŋanda ebiwebwayo, era aziyiza eby’obuwemu n’eby’ekivve n’okwewaggula. Bwatyo bwa balyowa mulyoke mwebuulirire.

91. Era mutuukirize endagaano ya Katonda bwe muba mulagaanyisizza, era mwewale okusazaamu ebirayiro oluvannyuma lw’okubinyweza, ate nga mazima mumaze okuteekawo Katonda okuba omulabirizi wammwe. Mazima Katonda amanyi bye mukola.

92. Era temubeera nga (omukyala) oli eyasensula ebyekusize bye oluvannyuma lw’okwesigibwa obutasiinya ku kintu kyonna, kyokka byonna n’abyanja, nemuddira ebirayiro byammwe okubifuula ebyekwaso kunsonga eziri wakati wammwe nga ekibayinudde bwebungi bw’ekibiina kyammwe obusukkulumye ku kibiina ekirala. Mazima ekintu kyokka Katonda kyagenderera mu bungi bwammwe, kwe kubagezesa nabwo. Era wa kubannyonnyola ku lunaku lw’enkomerero byonna bye mwali mulinamu obutakkaanya.

93. Ate singa Katonda yayagala, mwenna yaalibafudde ba kibiina kimu, wabula abuza gwayagala era aluŋŋamya gwayagala. Ate ddala mulina okubuuzibwa byonna bye mubadde mukola.

94. Era mwewale okufuula ebirayiro byammwe ebyekwaso kunsonga eziri wakati mummwe (kyokka nga mmwe mwamalirira obutabituukiriza) kireme okuseereza ebigere oluvannyuma lw’okunywera kwabyo, era kibaviireko okuloza ku kabaate olw’engeri gye mwatangira ekkubo lya Katonda. Olwo ne mufuna ekibonerezo ekiyitirivu.

95. Era temuguzisa endagaano ya Katonda n’ebyo eby’omuwendo omutono. Mazima ebiri ewa Katonda by’ebisinga obulungi gyemuli singa mubadde mumanyi.

96. Ebyo byemulina biggwaawo ate ebyo ebiri ewa Katonda bya kusigalawo. Era mazima tujja kusasulira ddala abo abaagumiikiriza empeera yabwe nga y’ekyo ekisingayo obulungi olw’ebyo bye baali bakola.

97. Oyo akoze ebirungi k’abeere musajja oba mukyala era nga mukkiriza owannamaddala, tujja kumuwangaza obuwangazi obulungi, era mazima tujja ku basasula empeera yabwe nga y’ekyo ekisingayo obulungi olw’ebyo bye baali bakola.

98. Kale bwoba ogenda okusoma Qur’an (Ssemusomwa) mala kwekuumisa Katonda okukwebalamya Ssitaani eyasindikirizibwa.

99. Mazima yyo terinaayo busobozi bwonna bw’erina kwabo abakkiriza era nga Mukama Katonda Omulezi wabwe yekka gwe beesigamira.

100. Naye obuyinza bwayo ebulina ku bali abagifuula banywanywi bayo era nga bebo abaddira Katonda nebamugattako ba lubaale.

101. Ate bwe tuba tussizza etteeka mu kifo ky’etteeka eddala. Era nga Katonda y’asinga okumanya amateeka gonna gassa, babityebeka nti: ‘Mazima ggwe ate osukkulumye okutyebeka!’ Amazima gali nti abasinga obungi mu kibinja kyabwe tebamanyi.

102. Baddemu nti: ‘Eyagissa ye Mwoyomutukuvu nga ejjibwa ewa Mukama Katonda Omulezi wo mu mazima, eryoke enyweze abakkiriza era nga kwe kuluŋŋamya n’okutuusa amawulire amalungi eri (abasiraamu) abeewaayo mu mateeka ga Katonda.

103. Era mazima tumanyi nti abo bagamba nti: ‘Mazima oyo agimuyigiriza ye muntu obuntu!, nga eri mu lulimi lwabali abatasobola kulambika nsonga ku miramwa gyazo abagwira!’, So nga ate luno lwe lulimi oluwalabu olunnyonnyofu.

104. Mazima abo abatakkiriza mateeka ga Katonda, nabo Katonda tabaluŋŋamya era baakufuna ekibonerezo ekiruma.

105. Mazima abo bokka abakonjera ebijweteke bebo abatakkiriza mateeka ga Katonda. Era bebo abalimba.

106. Oyo ajeemera Katonda nga abadde yamukkiriza, nga ojjeeko oyo aba awaliriziddwa, kyokka nga omutima gwe gutebenkeredde ku bukkiriza, naye oli ayanjulukukira obujeemu mu mmeeme ye abo bayambukirwako obusungu okuva ewa Katonda era baakufuna ekibonerezo ekiyitirivu.

107. Kiri bwekityo kubanga mazima abo bettanira nnyo obuwangazi bw’okunsi ne babuwa enkizo ku bw’enkomerero n’olwokuba mazima Katonda taluŋŋamya bantu bajeemu.

108. Abo nno bebo Katonda be yametta envumbo ku mitima gyabwe n’okuwulira kwabwe n’okulaba kwabwe era abo be ba ssemugayaavu.

109. Awatali kiwannaanya bebo mazima abalyesanga kunkomerero nga be b’okufaafaaganirwa.

110. Ebyo bwe biggwa, mazima Mukama Katonda Omulezi wo, abo bokka abaasenguka oluvannyuma lw’okugezesebwa bwe baamala nebalwanirira eddiini ya Katonda ne bagumiikiriza, mazima mukama Katonda Omulezi wo oluvannyuma lw’ebyo ababeerera Musonyiyi nnyo ow’Okusaasira okw’enjawulo.

111. Olunaku lwegujja buli mwoyo nga gwewozaako gwokka era nga gusasulwa bulambirira buli mwoyo bye gwakola, nga gyonna tewali kye giryazamanyizibwa.

112. Era Katonda yalaga eky’okulabirako nga kya kyalo ekyali emirembe nga kitebenkedde nga bituuka gyekiri eby’okulya byakyo mu bungi okuva mu buli kanyomero, kyokka (ekyalo ekyo) ne kyefuula mawale ku byengera bya Katonda olwo Katonda n’akisumika ekyambalo ky’enjala n’obweraliikirivu nga akilanga bye kyali kikola.

113. Kale mazima yatuuka gyebali Omubaka ng’ava mubo kyokka ne bamulimbisa, olwo ne kibatuukako ekibonerezo nga bemalidde mu bulyazamanyi.

114. Kale mulye ebimu kwebyo Katonda bye yabagabira ebitali bya muzizo, ebirungi era musiime ebyengera bya Katonda (byabawa) bwe muba nga ye yekka gwe musinza.

115. Mazima ebyo byokka byeyafuula eby’omuzizo gyemuli kwekulya ekifudde kalannamye n’omusaayi n’ennyama y’embizzi n’ebyo ebiraamiriziddwaako (nga bisalibwa) ekyo ekitali (linnya lya) Katonda. Kyokka oyo yenna aba awaliriziddwa nga talina ngeri yonna gye yewaggudde era nga teyegombye kubuuka nsalo, mazima Katonda (amubeerera) Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

116. Era kizira gyemuli okwogera ebyo byezisamwassamwa nabyo ennimi zammwe eby’obulimba obusa nti: ‘Kino kyakkirizibwa era kino kyaziyizibwa! Nga muluubirira okukonjera Katonda obulimba, tewali (abo) kyebaganyulwa.

117. Kweyagalako bweyagazi mpa we kwaga era ba kufuna ekibonerezo ekiruma.

118. Ate bbo (bali) Abayudaaya twabaziyiza (biri) byetukunnyonnyodde olubereberye. Era tewali be twalyazamanya wabula baali myoyo gyabwe gye balyazamanya.

119. Ebyo nga biwedde, mazima Mukama Katonda Omulezi wo, abo abaakola ekibi mu butanwa bwe baamala nebakyenenyezaawo mbagirawo oluvannyuma lwakyo era ne beeyisa bulungi, mazima Mukama Katonda Omulezi wo oluvannyuma lw’ebyo aba Musonyiyi ow’Okusaasira okw’enjawulo.

120. Mazima Ibrahiim yali Musumba ow’okuyigirwako Omutuukirivu, eyetoowaliza Katonda mu kumugondera, omukomole ataalina nzikiriza nkyamu gyakkiririzaamu, era tabangako mu luse lwa basamize.

121. Nga asiima ebyengera bye (ebimuweebwa). Katonda yamwawula era yamuluŋŋamya mu kkubo eggolokofu.

122. Era twamutuusaako munsi ebirungi. Era mazima yoyo ku nkomerezo ow’okubeera muluse lwa balongofu.

123. Ebyo nga biwedde twakubikkulira obubaka obukulagira nti: ‘Goberera eddiini ya Ibrahim oyo omukomole atalina nzikiriza ndala gy’akkiririzaamu okujjako Katonda, era atabeerangako mu luse lwa basamize’.

124. Mazima abo be lwaterwaawo olunaku lwa Ssabbiiti bebo abaalulinamu obutakkaanya. Era mazima Mukama Katonda Omulezi wo wa kulamula wakati wabwe ku lunaku lw’enkomerero kwebyo bye baalimu nga tebakkaanya.

125. Gwe yita abantu okukwata ekkubo lya Mukama Katonda Omulezi wo nga weyambisa okutegeera okw’enjawulo n’okubuulirira okulungi, era wakana nabo nga weyambisa enkola esinga obulungi. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo y’asinga okumanya oyo aba abuze n’ava ku kkubo lye, era yoyo asinga okumanya abo abaluŋŋama.

126. Era bwe muba mubonerezza mukozese ekibonerezo ekifaanana kiri ekyabatuusibwako, ate bwe munaaba mugumiikirizza ekyo kyekiba kisinga obulungi eri abo abasazeewo okugumiikiriza.

127. Era beera mugumiikiriza, anti tewali nsonga yonna obugumiikiriza bwo gye bwemalirako okujjako kulwa Katonda. Era abo tobanakuwalira era tobaako kukaluubirizibwa kwebyo bye bakwekobaanira mu nkwe.

128. Mazima Katonda ali wamu n’abo abamutya era (aliwamu) n’abo abeeyisa obulungi.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *