Skip to content
Home » 65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)

65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

65. ESSUULA: ATTALAAQ, OKUGOBA ABAKYALA

Yakkira Madiina. Eri Aya 12.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Owange ggwe Nabbi bwe muba mugobye abakyala mu bagobere we batandikira ekiseera kyabwe ekirindirirwa, era mubalirire ekiseera ekirindirirwa. Ate mutye Allah Mukama Katonda Omulezi wammwe. Kya muzizo gye muli okubafulumya mu mayumba gabwe era nabo tebakkirizibwa kugafuluma okujjako nga boolesezza obugwenyufu obw’enkukunala. Kale oyo yenna abuuka ensalo z’amateeka ga Katonda, olwo mazima aba yelyazamanyizza yekka. (Kale) oba tomanyi nti kyaddaaki Katonda aleetawo oluvannyuma lw’ebyo ensonga (endala).

2. Ate bwe baba batuusizza we kiggwerako ekiseera kyabwe ekirindirirwa, kale mu baddire mu ngeri ennungi oba mu baawukaneko mu ngeri ennungi, ate musseewo obujulizi bwa bantu babiri abenkanya mummwe, era mutuukirize obujulizi ku lwa Katonda. Ekyo mmwe kibuulirirwa oyo abadde akkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero. Era oyo atya Katonda amussizaawo obuwonero.

3. Era amugabirira mu kiseera waatasuubirira. Kale oyo ayeesigamira Katonda ye wuyo Amumalira. Mazima Katonda alina okutuukiriza enkola ye. Mazima Katonda yateekawo ku buli nsonga engerageranya entufu.

4. Ate abo abaweddemu essuubi lya (okuddamu) okusuulumba bwe muba mutankanye, ekiseera kyabwe ekirindirirwa, giba myezi esatu, n’abo abatannatuusa kusuulumba. Ate ab’embuto ekiseera kyabwe kiggwaako nga bazaala embuto zabwe. Kale oyo yenna atya Katonda amussizaawo mu nsonga ze obwangu.

5. Ebyo by’ebiragiro bya Katonda bye yabassaako. Era oyo yenna atya Katonda amuteewuluzaako ebibi bye era amussizaawo enkizo mu mpeera (gy’amusasula).

6. Mubasuze mu bifo bye musuzeemu nga bwe musobodde era temubayisa bubi olw’okubakaluubiriza. Ate bwe baba ba mbuto olwo mubalabirire obulamu babwe okutuusa lwe bazaala embuto zabwe. Ate ssinga babayonseza (abaana) mubawe empeera yabwe, era mugikubaganyeko ebirowoozo ensonga eyo wakati wammwe mu bulungi. Bwe muba mukaluubiriddwa, kale ajja kuba nga amumuyonseza (omukyala) omulala.

7. Alina okuwaayo (eri omukyala ayonsa) oyo omugazi nga asinzira ku bugazi bwe, ate oyo eyagererwa enfuna ye entono aba awaayo (okusinzira) kw’ekyo Katonda kye yamuwa. Katonda tawaliriza mwoyo okujjako ekyo kye gusobola. Katonda ajja ku mussizaawo oluvannyuma lw’obuzito obwangu. 8. Kameka nga enkuyanja y’ebibuga byajeemera ebiragiro bya Mukama Katonda Omulezi wabwe n’ababaka be, bwetutyo ne tubibalirira olubalirira olukakali era ne tubibonereza ekibonerezo ekitamwa?

9. Nekiba nga kirozezza ku bukaawu bw’ensonga yabwe era neba enkomerero y’ensonga yabwe nga kufaafaaganirwa.

10. Katonda yabategekera ekibonerezo ekinene. Kale mutye Katonda abange mmwe abageziwavu abo abakkiriza. Mazima Katonda assizza gyemuli omubuulirizi.

11. Yoyo omubaka abasomera amateeka ga Katonda amanjulukufu, abe nga ajja abo abakkiriza era abaakola ebirungi mu bizikiza okudda mu kitangala. Era oyo akkiriza Katonda n’akola ebirungi amuyingiza ejjana nga gikulukutira wansi wayo emigga nga basiisira omwo olubeerera. Mazima Katonda yakumulongoseza oyo okugabirirwa.

12. Allah yoyo eyatonda eggulu omusanvu mungeri yemu n’ensi bwezityo, bukka obubaka nga buyita wakati wabyo, mube nga mumanya nti mazima Katonda buli kintu Musobozi era mazima Katonda yebunguluza ebintu byonna okubimanya.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *