Skip to content
Home » 18. Al – Kahf (Empuku)

18. Al – Kahf (Empuku)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(18) ESSUULA: AL-KAHAF, ‘EMPUKU’(MK)

Yakkira makka: Erina ennyiriri 110.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1.Amatendo amalungi ga Katonda oyo eyassa ku muddu we ekitabo naatakissaamu kuwunjukira.

2. Kiri mu bwesimbu olw’okusobozesa (omuddu we) okulabula akabi akayitirivu akava eyo gyali n’okutuusa amawulire amalungi ku bakkiriza abo abakola ebirungi, agategeeza nti: Mazima balina empeera ennungi.

3. Baakugibeeramu lubeerera’.

4. Era (omuddu we) okulabula abo abaabijweteka nti: ‘Katonda yazaala omwana’.

5. Teriiyo ekyo kumanya kwe bakirinako newankubade bakitaabwe. Kyayitirira obunene ekigambo ekifubutuka mu bumwa bwabwe. Teriiyo kyeboogera okujjako obulimba.

6. Ate walyesanga nga okaluubirirwa mu mmeeme yo olw’engeri gye bakwewala, nga bwebaba tebakkirizza bigambo bino (ebya Qur’an) kiba kya kusaalirwa (kuyitirivu).

7. Ffe baabo abassaawo ebiri kunsi nga bya kwewunda byayo, tube nga tubassa ku kigezo; okwawulamu aliwa mubo alina enkizo mu kulongosa emirimu.

8. Era ffe baabo abalina okufuula ebyo ebigiriko okuba ettaka erijjudde olunnyo.

9. Abaffe olowoozezza nti, mazima abantu b’empuku n’abo abaakakasibwa mu biwandiiko, baaliwo nga ebimu ku byamagero byaffe ebisinga okwewuunyisa?’.

10. Jjukira abavubuka bwe baabudamira eri empuku nebasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe tutuuseeko nga buva gyoli obusaasizi era otulambululire nga ojja mu nsonga yaffe obuluŋŋamu’.

11. Kale twasalawo okuziba amatu gabwe nga bali mumpuku emyaka emigere.

12. Oluvannyuma twabasisimula tube nga tumanya, kibinja ki kwebyo ebibiri ekirina enkizo mu kubalirira, (ekiseera) kye baamalayo nga okigerageranyizza mu bbanga ery’emyaka.

13. Ffe tukunnyonnyola ebyafaayo byabwe mu bwesimbu. Abo mazima be bavubuka abakkiriza Mukama Katonda Omulezi wabwe, bwetutyo ne tubongera obuluŋŋamu.

14. Era twanyweza emitima gyabwe mu kiseera we baagolokokera ne bagamba nti: ‘Mukama Katonda Omulezi waffe ye Mukama Katonda Omulezi w’eggulu n’ensi tetujja kulekawo Ye netusinza ekisinzibwa ekirala. Olwo ate tuba tusimattudde agagambo g’obwewagguzi.

15. Baabo abantu baffe baalekawo Yye ne beteerawo ebisinzibwa ebirala. Lwaki tebabireeterako (ebisinzibwa byabwe) bujulizi bwa nkukunala? Kale ani kasobeza okukira oyo ajweteka ku Katonda obulimba?

16. Era jjukira lwe mwabesamba, nga teriiyo kye basinza okujjako Katonda. Kale mugende okufuna obubudamu mu mpuku ajja kubajjuliza Mukama Katonda Omulezi wammwe obumu ku busaasizi bwe era abalambululire nga ajja mu nsonga yammwe omugaso.

17. Kale n’otunuulira enjuba bweba evaayo engeri gye yebalama empuku yabwe nga ekiibira ku ludda olwaddyo, ate bweba egudde ebasegulira nga ekiibidde ku ludda lwa kkoko, ate nga bbo baali mu kyerelezi ekigiriraanye (empuku). Ekyo ky’ekimu ku byamagero bya Katonda. Oyo Katonda gw’aluŋŋamya yewuyo aba omuluŋŋamu, era oyo (Katonda) gwabuza tolimufunirayo mukuumi amuluŋŋamya.

18. Obalowooza okuba abazuukufu ate nga beebase. Era tubakyusa (nebeebakira) ku luuyi olwaddyo n’oluuyi olwakkono, nga embwa yabwe erannamizza emikono gyayo mu lujja. Bwoba obasiŋŋanyirizza waalikubye kaddannyuma n’odduka era waalijjuziddwa (olw’okubatya) ensisi.

19. Bwetutyo twabasisimula balyoke bebuuze bokka nabokka. Omu kubo yabuuza nti: ‘Bbanga ki lye mwakamala? Baamuddamu nti: Tumaze lunaku oba ssi ekyo kitundu kya lunaku!’, (Abalala) baddamu nti: ‘Mukama Katonda Omulezi wammwe yasinga okumanya ebbanga lye mumazeeyo, kale mutume omu kummwe nga mu muwadde ensimbi zino agende mu kibuga era yekebejje kikaaki ekisinga okuba ekirungi eky’emmere okuva eyo, ate alina okwekengera, kale ereme kubaayo abamanya nomu.

20. Amazima gennyini kavuna banaabagwa mu buwufu olwo nga babakuba amayinja oba ssi ekyo okubazzaayo mu nzikiriza zabwe. Olwo ate temujja kufuna mirembe nebwebuliba ddi.

21. Kale mungeri eyo twabazuulira enfo yabwe kibasobozese okumanya nti mazima ekisuubizo kya Katonda kirina okutuukirizibwa, era mazima essaawa envannyuma tebuusibwabuusibwa, (baabazuula) ekiseera kyennyini kye baakaayaniramu ku nsonga eziri wakati wabwe. Bwebatyo baagamba nti: ‘Mubazimbeko olukomera. Abo Mukama Katonda Omulezi wabwe yasinga okubamanya’. Abalala abaalina ekirowoozo ekyawangula ekyabali, baagamba nti: ‘Mazima ekifo kyabwe tujja kukifuulira ddala omuzikiti’.

22. Kale (abo) bajja kugamba nti: ‘Baali basatu nga eky’okuna kubo y’embwa yabwe’, era (abalala) bagambe nti: ‘Baali bataano nga eky’omukaaga kubo y’embwa yabwe’, nga kuteebereza buteebereza. Era (abalala) bagamba nti: ‘Baali musanvu nga eky’omunaana kubo y’embwa yabwe’. Ggwe baddemu nti: ‘Mukama Katonda Omulezi wange y’asinga okumanya omuwendo gwabwe’. Teriiyo abamanyi, okujjako abatono ennyo. Kale vva ku by’okuwakana mu nsonga ezibakwatako okujjako okuwakana okutagenda wala, era tobuuza bibakwatako nga weyambisa mu kibinja kyabwe omuntu yenna.

23. Ate kyamuzizo gyoli okwogera ku kintu nti, mazima nze ntekwa okukikola (ekintu) ekyo enkya.

24. Okujjako nga (okyesigamizza) kusalawo kwa Katonda era tendereza Mukama Katonda Omuleziwo nga obadde werabidde, era gamba nti: ‘Kyaddaaki annuŋŋamya Mukama Katonda Omulezi wange okufuna eky’enkizo okusinga ekyo obuluŋŋamu.

25. Era baamala mu mpuku yabwe emyaka bikumi bisatu, nebongerako mwenda.

26. Ggwe baddemu nti: ‘Katonda yasinga okumanya (ebbanga) lyebaamalayo. Bibye yekka ebyama by’eggulu n’ensi. Musukkirivu mu kulaba era musukkirivu mu kuwulira. Tebalinaayo nga ojjeeko Yye mulabirizi yenna era tagattiriza mu bulamuzi bwe mulala yenna.

27. Kale soma ebyo ebikubikkulirwa nga bisimbulwa mu kitabo kya Mukama Katonda Omuleziwo, Mpawo kikyusa mu bigambo bye, era tosobola kufunayo nga ojjeeko gyali bwewogomo bwonna.

28. Era malira obugumiikiriza bw’omwoyo gwo kwabo abasinza Mukama Katonda Omulezi wabwe amakya n’akawungezi nga baluubirira kudda gyali era tobabuusa maaso go (n’otunuulira balala) nga weyuna eby’okwewunda by’obuwangazi bw’ensi. Sso togondera oyo gwe twamala okugayaaza omutima gwe negulekayo okutujjukira, olwo n’agoberera byayagala, era embera ze n’azimalira mu bwewagguzi.

29. Era bagambe nti: ‘Amazima geego agava ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe’. Kale oyo ayagadde alina okukkiriza era oyo ayagadde alina okujeema. Mazima ffe twategekera abakuusa omuliro ogwamala edda okubabuutikiza akasolya kagwo. Kale bwe baba bawanjaze okufunayo eky’okunywa badduukirirwa n’eky’okunywa ky’amazzi agookya nga ekyuma ekisaanuuse agababula ebyenyi. Ekyo kyeky’okunywa ekisingayo obubi era bwakivve obwewejjeeko (bwe balibeeramu).

30. Mazima abo abakkiriza era abaakola ebirungi, mazima ffe tetubuzaabuza mpeera y’oyo alongosezza emirimu.

31. Abo baakufuna ejjana ya Aden (obutuuze obw’emirembe) nga gikulukutira wansi wabwe emigga nga bambikibwa muyo ebimu ku bikomo ebya zzaabu era nga basumika engoye eza kiragala nga zaakolebwa mu liiri (silk) omugonvu ne liiri omugumu nga beesigamye bali omwo ku biwu. Yaamukisa empeera eyo era bwattendo obwewejjeeko (bwebalibaamu).

32. Ate baleetere eky’okulabirako nga kya basajja babiri nga twagemulira omu kubo ensuku bbiri ez’emizabibu, era twazebunguluza zombi emitende, era netussa wakati w’ensuku zombi kalonda w’ebibala.

33. Ensuku zombi ezo nezibala nnyo era nezitafuna (kirime) kiremererwa kubala muzo kantu konna. Era twafukumula munda waazo emyala gy’emigga (egizinywekereza).

34. Bwatyo yabaza ebibala olwo n’aduulira mukwano gwe nga naye ayisiŋŋanya naye ebigambo nti: Nze nkusinza emmaali ennyingi n’abantu abasinga ekitiibwa!

35. Bwatyo yagenda mu lusuka lwe nga amaze okweyisa obubi, n’agamba: ‘Ssirowooza nti bya kuggwawo bino byonna nebwebuliba ddi’.

36. ‘Era ssirowooza nti essaawa envannyuma ya kutuuka. Ate kakibe nti nziziddwayo eri Mukama Katonda Omulezi wange, nnina okusangirayo ddala ekirungi ekisinga bino nga bwebuddo’.

37. Yamulabula mukwano gwe awo nga ayisiŋŋanya naye ebigambo nti: ‘Abaffe osazeewo okujeemera oyo eyakutonda mu ttaka bwe yamala n’akujja mu mazzi g’ekisajja, oluvannyuma neyenkanyankanya obutonde bwo nga oli musajja?’

38. ‘Amazima oyo ye Allah asinzibwa Katonda omulezi wange, era ssiyimbagatanya ku Mukama Katonda Omulezi wange kirala kyonna’.

39. Ye kiki ekyakulobera bwe wagenda mu lusuku lwo okugamba nti: ‘Byonna ebibaawo byebyo Katonda byayagala tewali (kirina) maanyi okujjako Katonda. Ne bwonondaba nti nze ssikusinza mmaali wadde baana.

40. Naye oba olyawo nga Mukama Katonda Omulezi wange angemulira ebikira obulungi ku lusuku lwo, ate olwo (olulwo) n’alusindikira nnamuzisa nga afubutuka muggulu nelukeesa nga ly’ettaka erijjudde obuseerezi.

41. Oba negakeesa amazzi galwo nga gaakalidde dda nga tokyasobola kugafuna nga oganoonyezza’.

42. Kale byazikirizibwa ebibala bye olwo n’akeesa nga ayanjala ngalo olw’ebyo bye yawaayo okuluyimirizaawo kyokka neluba nga lwerindiggudde wansi n’enduli zalwo, olwo neyejjusa nga agamba nti: ‘Nga zinsanze. Ssinga nneewala okuyimbagatanya ku Mukama Katonda Omulezi wange ekirala kyonna’.

43. Kale tewaaliyo kibinja kyeyafuna nga kimutaasa nga ojjeeko Katonda era teyasobola kutaasibwa.

44. Awo wennyini we wasangibwa obuyambi obweyawulidde Katonda yekka nga bwa mazima. Eyo nno y’esinga okuba ennungi nga mpeera era y’esinga okuba ennungi nga nkomerero.

45. Ttubaleetere eky’okulabirako ky’obuwangazi bw’ensi obufaanana amazzi getufukumudde mu ggulu nebyetabulatabula nga bigeyambisa ebimera by’ensi, ate nebukeesa nga biwotose empewo gyeyagala gy’ebizza. Olwo Katonda naaba nga buli kintu akirinako obusobozi.

46. Emmaali n’abaana bya kwewunda bya buwangazi bwansi. Naye eby’okusigalawo nga birungi by’ebirina enkizo ewa Mukama Katonda Omulezi wo mu kufunyisa empeera era ly’erisinga okuba obulungi nga ssuubi.

47. Kale (jjukira) olunaku lwe tujjulula ensozi ne tuziseyeggusa, era newerolera ensi nga kyererezi, olwo ne tubakuŋŋaanya wamu netebaayo gwe twaleseeyo mu kibinja kyabwe muntu nomu.

48. Olwo nga banjuddwa ewa Mukama Katonda Omulezi wo mu nnyiriri (Nebategeezebwa nti): Mazima mukomyewo gyetuli mu mbera efanana nga bwe twabatonda omulundi ogwasooka. Wew’awo mwalowooza nga bwe tutayinza kubassizaawo kiseera kiragaanye.

49. Ate awo nga kiyanjuddwa ekitabo (ky’emirimu gyabwe) olaba abajeemu nga batya ebirimu, era nga bawanjaga nti: ‘Nga zitusanze! Kitabo kya nnaba ki kino ekitalekaayo kasirikitu wadde ekinene okujjako nga (byonna) kibyanjizza!’ Era baabisangawo byonna bye baakola nga webiri. Era teriiyo gw’alyazamanya Mukama Katonda Omulezi wo n’omu.

50. Ate jjukira lwe twalagira ba Malaika nti: ‘Muvunnamire Adam nga mumuwa ekitiibwa!’ Kale bonna baavunnama okujjako Ibuliisi eyali muluse lwa maginni n’ajeemera ekiragiro kya Mukama Katonda Omulezi we. Abaffe oyo gwe musalawo okufuula wamu ne bazzukulu be ab’emikwano egyomunda Nze ne mundekawo, ate nga gali (amasitaani) be balabe bammwe? Ya kivve nnyo enkola eyeyawulidde abalyazamanyi gye baawanyisa.

51. Ssibateekangawo kuba bajulizi mu kutondebwa kw’eggulu n’ensi newankubadde mukutondebwa kwabwe era tekinsanirangako kwessizaawo abaabula okuba abayambi.

52. Kale (jjukira) olunaku lw’abalagira nti: ‘Mukoowoole bye mwangattikako ebyo byemwasuubiriramu!’. Bwebatyo ne babikoowoola era nebitabaanukula, kale netussa wakati wabwe omuziziko.

53. Nebeerolera abajeemu omuliro era ne bakakasa nti balina kugugwamu, ate nebatafunayo olw’okugusimattuka bwewogomo.

54. Mazima twassaawo emitendera egy’enjawulo mu Qur’an eno egyeyawulidde abantu egyabuli kya kulabirako, kyokka omuntu naaba nga y’asingayo mu bintu byonna okuba omuwakanyi.

55. Ate mpawo kyalobera bantu kuba nga bakkiriza nga bubatuuseeko obuluŋŋamu n’okuba nga basaba Mukama Katonda Omulezi wabwe okubasonyiwa okujjako okuba nga batuukiriza nga beeyisa mu mize gy’abo abaakulembera, oba okubasobozesa okutuukibwako ekibonerezo obuluŋŋana.

56. Era mpawo nsonga ndala etutumisa babaka okujjako okubunyisa amawulire ag’essanyu n’okulabula. Kyokka bawalaaza empaka bali abajeemu kw’ebyo ebikyamu nga baluubirira okubisanguzisaawo amazima. Olwo ne bafuula amateeka gange n’ebyo ebyabalabulwa okuba eby’olujeejo.

57. Kale ani kasobeza asinga oyo ajjukizibwa amateeka ga Mukama Katonda Omulezi we kyokka n’ageewala bwamala neyeerabira ebyo bye gyakulembeza (okukola) emikono gye. Mazima ffe twabuutikira emitima gyabwe n’ekibikka ekibalemesa okugategeera (amateeka ga Qur’an) ne mu matu gabwe mulimu envumbo. Kale bwoba obakoowoola okweyunira obuluŋŋamu olwo baba tebajja kuluŋŋama ne bwebuba ddi.

58. Era Mukama Katonda Omulezi wo ye Musonyiyi nnanyini busaasizi obungi. Singa abavunaanirawo kati olw’ebyo bye baakola, yalyanguyizza okubatuusaako ekibonerezo. Naye balina ekiseera ekiragaanye we batafunira nga ojjeeko ewa Mukama Katonda, bubudamu bwonna.

59. Kale biibyo ebyalo bye twasanyawo bwe byamala okujeema era twassaawo we biteekwa okuzikirizibwa ekiseera ekiragaanye.

60. Kale jjukira Musa we yagambira omuvubuka (omuweereza) we nti: ‘Ssijja kuwummula okutuusa lwe nnaatuuka ku ntabiro y’ennyanja ebbiri oba ssi ekyo nja kusigala nga nsiyagguka’.

61. Bwe baatuuka ku ntabiro yaazo, beerabira lukwata yabwe n’afuna oluwenda, neyebbika mu nnyanja nga amalamu omusubi.

62. Bwe baagiyitako (entabiro y’ennyanja ebbiri) yalagira omuvubuka we nti: ‘Soosootola akewamala kaffe, mazima tusanze mu lugendo lwaffe luno obuzito’. 63. Yamuddamu nti: ‘Abaffe walabye awo, bwe twawummuliddeko ku lwazi? Nze nno mazima awo we nneerabidde lukwata (yaffe) era teriiyo yaginneerabizza okujjako Ssitaani nemba nga ssigijjukira’. Kale (awo we) yafuna oluwenda lwe ne yebbika munnyanja, ekintu ekyayitirira okwewunyisa.

64. Yamutegeeza nti: ‘Ekyo (kyekifo) kyetubadde tunoonya’. Olwo bombi nebaddayo emabega nga bagoba obuwufu bwabwe.

65. Era bombi baasanga omuddu omu mu baddu baffe (erinnya lye ye Khidhiri), gwe twafunira obusaasizi obuva gye tuli era twamuyigiriza nga tujja ku byetulina – oluyigiriza olusuffu.

66. Musa yamusaba nti: ‘Abaffe onzikiriza okukugoberera, olw’okwagala okubaako by’onjigiriza nga ojja kwebyo bye wayigirizibwa eby’obuluŋŋamu?’.

67. Yamuddamu nti: ‘Mazima ggwe tosobola kuba nange n’oba mugumiikiriza.

68. Kale butya bwogumiikiriza kunsonga gyotonnakomekkereza nga ogifunako amawulire (obumanyi).

69. Yamuddamu nti: ‘Ojja kunsanga, Katonda nga ayagadde nga ŋŋumira ebizibu, era ssiyinza kubaako kyenkujeemera mu biragiro (byonna).

70. Yamulabula nti: ‘Bwonooba ongoberedde, tobaako kyombuuza kunsonga yonna okutuusa nze wennaasalirawo okukikunnyonnyola’.

71. Bombi baagenda, okutuusa bwe baali basaabala mu lyato, yaliwummula ekituli. N’amubuuza nti: ‘Abaffe oliwummudde ekituli olw’okuzikiriza abasaabaze balyo? Mazima nga otuuse okukola ekikolwa ekisusse obubi!’

72. Yamuddamu nti: ‘Abaffe ssaakulabudde nti; tosobola kuba nange nooba mugumiikiriza?

73. Yamwetondera nti: ‘Tonvunaana lw’ebyo bye nneelabidde ate tonkaluubiriza olw’ezimu ku mbera zange, kufuna buzito.

74. Bombi ne bagenda, okutuusa bwe baasanga omwana omulenzi, bwatyo yamutta. N’anunenya nti: ‘Abaffe wewaddeyo notta omwoyo ogutalina musango ate nga tekubadde kuwoolera ggwanga? Mazima nga otuuse okukola ekikolwa ekisusse okutamwa!’

75. Yamuddamu nti: ‘Abaffe ssaakulabudde nti; mazima ggwe tosobola kuba nange nooba mugumiikiriza?’

76. Yetonda nti: ‘Bwemba nkubuuyizza ekintu kyonna oluvannyuma lwa kino, olwo toddayo kubeera nange, mazima ontusizza obutakusigalizaayo kisonyiyisa’.

77. Bombi nebagenda okutuusa lwe baasanga abatuuze b’ekyalo ekimu, baasaba abatuuze bakyo okubawa eky’okulya, bali ne bagaana okubasembeza nga abagenyi. Ate bano (abatambuze) baasangayo ekisenge nga kyagala kugwa ku ttaka, era yakizimba nekitereera. (Musa) yamuwa amagezi nti: ‘Ssinga oyagadde waalikifuniddeko empeera!’

78. Yamuddamu nti: ‘Eno y’enjawukana wakati wange naawe, kati kankunnyonnyole amakulu g’ebyo by’otasobodde kubeererako mugumiikiriza.

79. Kale eryato lyali lya banaku abakakkalabiza emirimu mu nnyanya. Bwentyo nnasalawo okulissaako akamogo, ate emabega wabwe waaliyo Kabaka atwala buli lyato (eddamu) mu bunyazi.

80. Ate omwana omulenzi, kale bazadde be bombi baali bakkiriza, era twafuna okutya okubanga (oyo omulenzi) abawaliriza okwewaggula n’obujeemu.

81. Bwetutyo twasalawo okuba nga abawanyisizaamu Mukama Katonda Omulezi wabwe asinga obulungi kwoli okuba n’eddiini era alina enkizo ey’okumwanjo mu kubasaasira.

82. Ate ekisenge kyali kya balenzi babiri nga bamulekwa ababeera mu kibuga, era waaliyo wansi wakyo ensimbi zabwe, ate taata wabwe bombi yali mulongofu. Bwatyo yasalawo Mukama Katonda Omulezi wabwe, babe nga bakula okutuusa webakakatira, babe nga bakukunulayo ensimbi zabwe obwo nga bwe busaasizi (bwe baafuna) obuva ewa Mukama Katonda Omulezi wo. Era teriiyo kyennakoze kwebyo nga nze nneetumiikiriza. Ago gemakulu g’ebyo byotaasobola kugumiikiriza’.

83. Ate bakubuuza ebikwata ku (Kabaka) oyo (eyatikkira engule) eyarina amayembe abiri. Ggwe baddemu nti: ‘Nja kubasomera (ekyafaayo) ekimukwatako nga nnessigama ku bubaka.

84. Mazima twamunywereza munsi era twamuwa nga tumwawuliza ku buli nsonga obusobozi obugituukiriza. 85. Bwatyo yakozesa obusobozi.

86. Okutuusa bwe yatuuka ebugwanjuba, yagisanga (enjuba) yeesolossa mu nsulo yennyanja eri muttaka eriddugavu era awo okugiriraana (ensulo) yasangawo abantu. Twamugamba nti: ‘Ggwe mayembe abiri; bwoba osazeewo, nga obonereza era bwoba osazeewo, nga obayisa empisa ennungi.

87. Yaddamu nti: ‘Kale oyo anabeera omulyazamanyi tujja kumubonereza ekyo bwekiggwa nga azzibwa eri Mukama Katonda Omulezi we, era amubonereze ekibonerezo ekikakali.

88. Ate oyo anaaba akkirizza era naakola ebirungi nga oyo afuna okusasulwa okulungi era tujja ku mugamba ensonga ezikwata ku biragiro byaffe mu mbera ya kumwanguyiza.

89. Bwatyo yakozesa obusobozi.

90. Okutuusa bwe yatuuka ebuvanjuba, yagisanga (enjuba) efubutukira mu bantu be tutafunira nga, olw’okujeebalama, kibabikka kyonna (okubawonya omusana).

91. Ekyo kyali bwekityo era mazima twebunguluza kalonda webyo byonna byalina, okubimanya.

92. Bwatyo yakozesa obusobozi.

93. Okutuusa bwe yatuuka wakati w’ensozi ebbiri, yasanga enzivuunuko yazo (eriyo) abantu abaali batalina kye bategeera ku bigambo.

94. Baamukubira omulanga nti: ‘Googi ne Magoogi bayinze obwonoonyi munsi, Kale abaffe, onokkiriza (Ssebo) okukusasula empeera ey’okututeerawo wakati waffe nabo omuziziko?’.

95. Yabaddemu nti: ‘Ebyo byeyansobozesa okubifuniramu obusobozi Mukama Katonda Omulezi wange by’ebisinga obulungi (kwebyo byemwagala okumpa) naye mmwe munfunireyo obuyambi bw’embaggubaggu z’abasajja, nsobole okussa wakati wammwe nabo ekisenge ekinywevu.

96. Munsombere amatoffaali g’amatale. Okutuusa bwegaamala okujjuza (okwenkanyankanya) ekiwonvu ekiri wakati w’obutunnumba obubiri (nga gatumbidde waggulu), yalagira nti: ‘Mufukute!’ Okutuusa nga gonna agafudde omuliro (gengeredde) yalagira nti: ‘Mundetere (tindikaali) mbe nga nfukirirako amatondo

97. Kale baali tebakyasobola ku kibuuka era baali tebakyasobola kukiwummulamu muwulukwa.

98. Yebaza nti: ‘Buno bwe busaasizi obuva ewa Mukama Katonda Omulezi wange. Naye bwe kiba kituuse ekisuubizo kya Mukama Katonda Omulezi wange, akifuula ekiseeteevu (nekiggwawo) era nekiba nti ekisuubizo kya Mukama Katonda Omulezi wange kya mazima’.

99. Kale twasalawo okwabulira ekibinja ekimu mubo (ekya Googi ne Magoogi) ku lunaku olwo nga abamu bayengetanira mu banaabwe nga amayengo. (okutuusa nga) eddenge lifuuyiddwa netubakuŋŋaanya olukuŋŋaanya

100. Olwo netwanja ggeyeena olunaku olwo eri abajeemu olwanja.

101. Abo abaali nga amaaso gabwe gabulidde mu kifu nebalekayo okunzijukira era baali tebasobola kuwuliriza.

102. Abaffe basuubidde abo abaajeema okuba nga bafuula abaddu bange nga baleseewo nze, okuba baddunda (babwe), mazima ffe twateekateeka ggeyeena gwe twayawulira abajeemu okuba obutuuze.

103. Babuuze nti: ‘Abaffe tubabuulire abalina enkizo mu kufiirwattogge emirimu gyabwe?

104. Bebo abaabulwako emirimu gyabwe (gyafuuka byoya bya nswa) mu buwangazi bwensi kyokka nga balowooza nti amazima bebo abeemalidde mukulongosa emirimu.

105. Bebaabo abaajeemera amateeka ga Mukama Katonda Omulezi wabwe n’okumusisinkana, olwo negifattogge emirimu gyabwe, kale tetulina ngeri gye tugereka, nga tusinzira ku gyo (emirimu gyabwe) ku lunaku lw’amayimirira buzito bwonna.

106. Bwekityo empeera yabwe ye ggeyeena nga balangibwa ebyo bye baajeemera n’engeri gye baafuula amateeka gange n’ababaka bange eky’okuŋoola.

107. Mazima abo abakkiriza era abaakola ebirungi balyawulirwa bokka ejjana Firidawusi (Olusuku lunnabibala) nga bwebutuuze (bwabwe)

108. Baakubeera omwo nga tebeegomba kugibeebalamya olw’okugiwanyisaamu endala.

109. Ggwe bategeeze nti: ‘Ssinga kyali nti ennyanja zonna ye buyino w’ebigambo bya Mukama Katonda Omulezi wange, zaalikalidde ennyanja nga tebinnagwayo ebigambo bya Mukama Katonda Omulezi wange, nebwetwalyongeddeyo ekyenkana nga zzo (ennyanya) nga yenna buyino’.

110. Ggwe langirira nti: ‘Mazima nze ndi muntu atalina njawulo nammwe, mbikkulirwa obubaka obundagira okubategeeza nti: Mazima omusinzibwa wammwe (gwemulina yekka), musinzibwa ali omu. Kale oyo yenna aba asuubira okusisinkana Mukama Katonda Omulezi we alina okukola emirimu emirungi era yewale okuyimbagatanya, mu kusinza Mukama Katonda Omulezi we, ekirala kyonna’.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *