Skip to content
Home » 21. Al – Ambiya (Bannabbi)

21. Al – Ambiya (Bannabbi)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

21. ESSUULA: AL-AMBIYA, ‘BANNABI’.

Yakkira Makka, erina Aya 112.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Kutuuse ku lusegere lwa bantu okubalirirwa kwabwe so nga bakyemalidde mu kwegayaaza (n’ensi) besambye. (enkomerero)

2. Mpawo kibatuukako nga kijjukiza okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe nga kipya okujjako nga bakiwuliriza baggweredde mu kuzannya.

3. Nga tezitaddeeyo mulaka emmeeme zabwe. Sso nga batta ekyama munkukutu abo abakuusa nga bebuuza nti: ‘Abaffe oyo alina engeri endala gyatwalibwamu nga ojjeeko ey’okuba omuntu nga mmwe? Abaffe, mwenna musalawo mutya okweyuna eby’obulogo nga mulabira ddala?’

4. Yabaddamu nti: ‘Mukama Katonda Omulezi wange amanyi ebyogerwa ebiri mu ggulu n’ensi. Era ye wuyo Omuwulizi ennyo Omumanyi ennyo.

5. Mazima babikonjera nti: ‘Okwo kulogootana kwa ndooto. Ekituufu (yo Qur’an) yagunjawo ŋŋunje, mazima yoyo omutontomi nnakinku?’ (Kale ekyo ky’ayigiriza bwekiba kyawukana ku byetwogedde:) ‘Atuleetere ekyamagero okufaanana nga abo abaatumwa olubereberye!’.

6. Mpawo baali bakkirizza ku bali abaabasookawo, nga bava mu kyalo kyonna kye twazikiriza. Olwo bbo be banakkiriza?’.

7. Ate teriiyo be twali tutumye lubereberye lwo okujjako abasajja be tusalawo okubikkulira obubaka. Mwe mubuuze abantu abayivu bwe muba temumanyi.

8. Ate mpawo (babaka) betwatonda nga mubiri bubiri abatalya mmere, era tebaali ba kusiisira (kunsi) lubeerera.

9. Oluvannyuma twatuukiriza mu bwesimbu ebisuubizo byabwe (bye twabasuubiza), era twabawonyeza wamu n’abalala be twagala. Olwo ne tuzikiriza ba kiwagi (abasigadde).

10. Mazima twassa gyemuli ekitabo ekirimu okwebuulirira kwammwe. Abaffe mulemeddwa okutegeera?

11. Kameka nga tubetenta enkuyanja y’ebyalo ebyali bimawale era ne tusibula oluvannyuma lwabyo emirembe emirala.

12. Naye bwe baamala okwekkaanya akacwano kaffe olwo nebakesamba nga bamalamu omusubi.

13. (Eddoboozi neribatangira nti): ‘Temumalaamu musubi era muddeeyo mu nkuyanja y’ebyengera bye mwetiriboosezangamu gattako amaka gammwe, bye muteekwa okumala okubuuzibwa?

14. Nebawanjaga nti: ‘Nga (leero) zitusanze! Ffenna mazima twali bakuusa.’

15. Kale nekuba bwekutyo okulaajana kwabwe okutuusa lwe twabafuula omuyiggo omutirimbule.

16. Era tetwatonda ggulu nansi n’ebyo ebiri wakati wabyo lwa kubalaata.

17. Era singa twayagala ku gufuula mugomyo twaligutaddewo nga guviira ddala gyetuli, singa (ebyo) bye twasalawo okukola.

18. Ekituufu kiri nti amazima tugakubisa obulimba ne gabutuula kunfeete olwo ne kibuviirako okusaanawo. Era muteekeddwa okuluma obujiji olw’ebyo bye musamwassamwa na byo.

19. Ate ye Nannyini w’abo abali mu ggulu n’ensi. N’abo abali waali (ku lusegere) mpawo bekuluntaliza ku kumusinza era mpawo bakoowa (ku musinza)

20. Batendereza (Katonda) ekiro n’emisana teriiyo bakoowa.

21. Abaffe eriyo ba lubaale be beeteerawo munsi abasobola okuzuukiza abafu?

22. Ssinga waaliyo yonna muggulu n’ensi enkuyanja y’abasinzibwa abatuufu nga ojjeeko Allah, byaligozoobanye byombi (eggulu n’ensi). Kale atukuzibwe Allah Mukama Katonda asinzibwa Omulezi wa Nnamulondo nga ayawulibwa kwebyo bye basamwassamwa nabyo.

23. Mpawo ky’abuuzibwa kwebyo byakola (byonna) sso nga bbo byonna babibuuzibwa (bye bakola).

24. Nandiki baasalawo ku mwabulira ne beeteerawo ba lubaale. Gwe basabe nti: ‘Mwanjule obujulizi bwammwe!’ ‘Buno bwe bubaka obujjukiza bano bendi nabo, era bwe bubaka obwajjukiza nabali abansokawo.’ Naye eky’okusaalirwa, abasinga obungi mu kibinja kyabwe tebategeera mazima. Era bebo abasuddeyo ogwa nnaggamba.

25. Ate mpawo gwe twali tutumye lubereberye lwo nga mubaka okujjako nga tumubikkulira obubaka obutegeeza nti: ‘Mpawo asinzibwa mu butuufu okujjako Nze, Kale mwenna muteekwa okunsinza!’

26. Ate baamokkola eggambo nti: ‘Mukama Katonda Omusaasizi ennyo yazaala omwana!’ Atukuzibwe Ai Mukama. Mazima (bonna, Isa oba Uzairu bali mu luse lwa) baddu gyali (Yye Mukama) babudaabudibwa.

27. Mpawo kye bamusooka kwogera, era bali awo by’Abalagira bye bakola.

28. Amanyi bye balimu kati n’ebyo ebyabakulembera, era teriiyo gwe basobola kuwolereza okujjako oyo (Katonda) gwaba asiimye, era bebo abamutya ennyo (Mukama Katonda) bamweraliikirira.

29. Ate oyo gwe katanda mukibinja kyabwe n’abijweteka nti: ‘Mazima ndi musinzibwa’, nga tewali ngeri yonna (Katonda) gya julirwamu, oyo gwe tusasula ggeyeena. Era eyo y’engeri gye tusasula abajeemu.

30. Abaffe balemeddwa abo abajeemu okwelorera engeri eggulu n’ensi gye byalimu nga biri (wamu) kitole netulyoka tubyawula? Era twatonda nga tujja mu mazzi buli kiramu. Abaffe balemeddwa okukkiriza?

31. Bwetutyo twassa munsi lugumyansi ereme (ensi) kubatengesa, era twagissaamu emiwaatwa n’amakubo basobole okuluŋŋama.

32. Era twafuula eggulu okuba akasolya akakuume. Kyokka abo ebya magero byaffe babiwugukako.

33. Era ye wuyo eyatonda ekiro n’emisana n’enjuba n’omwezi. Byonna biri mu bwengula biseeyeeya.

34. Ate mpawo gwe twawa mu bantu abaakusookawo, buwangazi bwa lubeerera kunsi. Abaffe, bwoba ggwe ofudde ate bbo be banaasigalawo?

35. Buli mwoyo gulina okulega ku kufa. Era mwenna tubassizaawo ekigezo ky’obubi n’obulungi ebigendereddwamu okulaga enjawukana gye mulina. Era gyetuli mwenna gye muzzibwa.

36. Kale bwe baba bakulabye bali abajeemu, teriiyo ngeri ndala gye bakutwalamu okujjako ey’okuŋoolebwa nga bebuuza nti: ‘Ono naye yadda awo okutyoboola ba lubaale bammwe? Ate nga bebamu eky’okujjukira Mukama Katonda Omusaasizi ennyo bebo abakiwakanya.

37. Omuntu yatondebwa nga ajjudde okupapa. Nja kubooleka ebyamagero byange (kwe munaategeerera) kale temupapa.

38. Kale bebuuza nti, etuukirira ddi endagaano eyo bwe muba bye muliko mu bikakasa?

39. Ssinga bamanya abo abajeemu ekiseera kye batasoboleramu kutangira bwenyi bwabwe (butatuukibwako) muliro, newankubadde amabega gabwe, era nga tewali ngeri gye bataasibwamu. (tebaaliremedde ku bujeemu)

40. Mazima (ekibonerezo) kirina kubatuukako kibwatukira olwo ne kibabuna nga tebasobola ku kiwugula era nga tebalindirizibwa.

41. Mazima baaŋoolebwa ababaka nkuyanja abaakusookawo, olwo ne kituuka ku bali abaabatyoboola (ekibonerezo) ekyo kyebaali baŋoola.

42. Ggwe babuuze nti: ‘Ani abakuuma ekiro n’emisana nga ojjeeko Mukama Katonda Omusaasizi ennyo?’ Mazima bebo, bali awo (ensonga ya) okujjukira Mukama Katonda Omulezi wabwe beesulubabba.

43. Abaffe balinayo ba lubaale ababatangira (Akabi) nga ojjeeko ffe? Teriiyo (ba lubaale) basobola kwewonya era bebo abaabulwayo okuva gyetuli ababatuwonya (butabatuusaako kibonerezo)

44. Mazima twagemulira abo ebyabaleetera okweyagala wamu ne bazadde babwe okutuusa obuwangazi lwe bwawanvuwa. Abaffe balemeddwa okulaba engeri ffe gye tutuuka munsi (ey’okutabaalibwa) netutanula okugikekejjula agamu ku masaza gaayo? Olwo bbo be banawangula?

45. Ggwe bategeeze nti: ‘Mazima ekintu kyokka kyensinzirako nga mbalabula bwe bubaka’. Kyokka mpawo kiggala awulira mulanga gu mukoowoola bwe baba balabulwa.

46. Ate bwe kaba kabatuuseeko akatundu mpawekaaga nga ka kibonerezo ekiva ewa Mukama Katonda Omulezi wo, olwo nga balaajanira ddala nti: ‘Nga zitusanze, mazima ffe twali abajeemu!’

47. Olwo nga tusimbawo minzani mu bwenkanya ez’okweyambisa ku lunaku lw’amayimirira, era teriiyo ku lyazamanyizibwa kwa mwoyo kintu kyonna. Ne bwekiba (ekipimibwa) kizitowa nga empeke ya kalo (empeera yakyo) tukyanjula. Kale kimala bumazi okuba nti ffe babalirizi.

48. Mazima twawa Musa ne Haruna Enjawuzi era Ettawaaza era Lulyoowa waabo abatya Katonda.

49. Abo abatya Mukama Katonda Omulezi wabwe munkiso, era be bamu bebo (Abesanga) nga essaawa envannyuma bagyeraliikirira.

50. Kale eno y’endyowi ey’omukisa gye twamala edda okussa. Abaffe mmwe musazeewo okugitamwa?

51. Mazima twagemulira Ibrahim eby’obuluŋŋamu bwe olubereberye, era twali (eby’obuluŋŋamu bwe) tubimanyi bulungi.

52. Jukira lwe yabuuza kitaawe n’abantu be nti: ‘Bya nnaba ki bino ebifaananyi, mwe bye musazeewo okutuulirira? (nga mubisinza)

53. Baamuddamu nti: ‘Naffe twasanga bakitaffe nga bye basinza!’.

54. Yabagamba nti: Mmwe mwennyini, mazima mwaggwera ne bakitammwe mu bubuze obw’olwatu.

55.Baamubuuza nti: ‘Abaffe otuleeteddeyo ekituufu nandiki oli mu kubalaata?’

56. Yabaddamu nti: ‘Mbategeeza oyo yekka Mukama Katonda Omulezi wammwe, Mukama Katonda Omulezi w’eggulu n’ensi oyo eyabigunjawo. Era nze kwebyo (byembategeeza) ndiwo nga omu ku bajulizi.

57. Era Aga Katonda asinzibwa, mazima nja kugezesa ebifaananyi byammwe bwe munaaba muvuddewo we biri nga muzzeeyo (mu maka gammwe).

58. Olwo byonna yabifuula embajjobajjo nga ojjeeko ekyali kisinga obunene , ekyo kibasobozese okudda gyali (okumubuuza).

59. Bonna beebuuza nti: ‘Ani yatuusizza bino ku basinzibwa baffe?’ Mazima oyo ate ayitiridde obulyazamanyi’.

60. Waaliwo abagamba nti: ‘Twawulidde omuvubuka nga alina ky’abyogerako, erinnya lye ye Ibrahim’.

61. Bonna baasalawo nti: ‘Mumuleete mu maaso g’abantu basobole okumuwaako obujulizi’.

62. Baamubuuza nti: ‘Yeggwe wuyo eyatuusizza bino ku basinzibwa baffe, ggwe Ibrahim?’.

63. Yaddamu nti: ‘Amazima gennyini eyabikoze yoyo abasinga obunene, kale mu babuuze oba basobola okwogera?’

64. Olwo bonna beekuba mu mitima gyabwe, (abamu) ne bagamba (bannabwe) nti: ‘Amazima mmwe mwemalidde mu bulyazamanyi. (okusalawo okusinza ebitali bilamu)

65. Oluvannyuma baakoteka emitwe gyabwe (nga baddayo mu bubuze, nebamutegeeza nti): ‘Mazima okimanyi bulungi nga abo bwe batasobola kwogera!’.

66. Yababuuza nti: ‘Abaffe muyinza mutya okulekawo Katonda asinzibwa Allah nemusalawo okusinza ebyo ebitasobola kubaako kye bibagaza wadde okubatuusaako akabi?’.

67. Kabulaŋŋana bantu mmwe n’ebyo byemusinza ne mulekawo Katonda asinzibwa Allah. Abaffe mubuzeemu akategeera?’

68. Bonna bassa kimu nti: ‘Mu mwokye bwokya olw’okutaasa abasinzibwa bammwe singa mubaako kyemusalawo okukola!’.

69. Twayisa ekilagiro ekigamba nti: ‘Ggwe omuliro beera obunnyogovu obw’emirembe ku (bulamu bwa) Ibrahim!’.

70, Kale baayagala okumutuusaako enkwe, (ez’obulabe) kyokka bbo be twafuula ab’enkizo mukufaafagana.

71. Bwetutyo ne tumuwonya ne Luuti okubazza munsi gye twassiza emikisa ebiramu byonna ebigiwangaliramu.

72. Era twamugemulira (ezzadde nga ye) Isihaka ne Yakubu omuzzukulu. Era bonna twabafuula balongofu.

73. Ne tubafuula abakulembeze abaluŋŋamya (abantu) nga beyambisa ebiragiro byaffe, era twababikkulira obubaka obubalagira okukola ebirungi n’okuyimirizaawo esswala n’okuwaayo Zaka, era baali ffe ffekka be basinza.

74. Era Luuti twamuwa obwa Nnabbi n’obuyivu, era twamuwonya nga tumufulumya mu kyalo ekyo ekyemalira mu kukola eby’obujeemu. Mazima abo baali bantu ab’amayisa ag’ekivve aboonoonefu.

75. Bwetutyo twamuyingiza mu busaasizi bwaffe. Mazima yomu kwabo abalongofu.

76. Ate jjukira Nuhu nazzikuno we yalomera era twamwanukula ne tumuwonya (nga ali) wamu n’abantu be obutatuusibwako kabaate akasuffu.

77. Kale twamuwonya nga tumwawula mu bantu abo abaalimbisa amateeka gaffe. Mazima bebo abaali abantu ab’amayisa ag’ekivve era twabazikiriza bonna okubamalawo.

78. Ate jjukira Dawuda ne Sulaiman we baalamulira bombi kunsonga y’ennimiro, ekiseera lweryagisaasaanira (nga zirya emmere) eggana ly’embuzi z’abantu, bwetutyo twaliwo mungeri gye baalamulamu nga abajulizi.

79. Kale (obulamuzi obutuufu) twabumanyisa Sulaiman. Era nga bombi twabawa obwa Nnabbi n’obuyivu. Era twafuula ensozi ne Dawuda okuba eŋŋonvu nga bitendereza wamu n’ebinyonyi. Byonna ebyo twasalawo okubikola.

80. Kale twamuyigiriza (Dawuda) okuweesa oby’okulwanyisa byammwe, biryoke bibakuume obutatuukibwako bulabe bwammwe. Abaffe munaabeera abantu abasiima?

81. Ate Sulaiman yye twamugondeza empewo enkunsi (gyeyalinako obuyinza) nga ekuŋŋuntira ku biragiro bye okulaga munsi (gy’agisindise) eyo gye twabunyisa emikisa, bwetutyo netuba nga buli kintu tukimanyi.

82. Era ezimu ku Ssitaani (zetwamugondeza) mwalimu (ezo) ezibbira munnyanja olw’okuweereza emirimu gye, era (endala) nga zikola emirimu egitenkana egyo, netuba nga zonna ffe tuzikuuma.

83. Ate jjukira Ayyuubu we yawanjagira Mukama Katonda Omulezi we nti: ‘Mazima nze obulwadde bunnyinze ate ggwe Mukama Katonda Omusaasizi ennyo asinga mu basaasizi’.

84. Era twamwanukula okusaba kwe, bwetutyo twawonya ebyali bimuliko, ebika by’endwadde byonna era twamuddiza abantu be n’abalala ababenkana nga baliwamu, obwo bwe busaasizi obuva gyetuli era nga ky’ekijjukizo ky’abantu bonna.

85. Ate Ismail ne Idirisa ne Thul-kifli. Bonna bali mu luse lwa bagumiikiriza.

86. Kale twabayingiza mu busaasizi bwaffe. Mazima bebo abali mu luse lwa balongofu

87. Ate jjukira owa (eky’ennyanja ekya) Lukwata we yagenda nga munyikaavu. Bwatyo yalowooza nga bwe tutajja kusobola ku mukaluubiriza. Kyokka yawanjaga nga ali mu bizikiza nti: ‘Mazima mpawo asinzibwa okujjako Ggwe. Otukuzibwe Ai Katonda wange amazima nze nnabadde mu luse lwa balyazamanyi!’.

88. Kale twayanukula okulaajana kwe, era twamuwonya netumufulumya mu nnaku gyeyalimu. Bwetyo bwebeera engeri gye tuwonyamu abakkiriza.

89. Ate jjukira Zakaria we yawanjagira Mukama Katonda Omulezi we nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange tondeka mu bwannamunigina. Era ggwe asingayo obulungi okusikiza’. (abantu).

90. Kale twayanukula okulaajana kwe, era twamugemulira Yahaya ne tusobozesa mukyala we okumubeerera omulungi. Mazima bonna abo baali beeyuna (okukola) ebirungi era nga batusaba nga batulinamu essuubi n’okututya, era baali nga ffe ffekka be betoowaliza.

91. Era jjukira n’oli eyakuuma ensa ze, olwo ne tufuuwa muye ogumu ku myoyo gyaffe, era netumuteekawo ne mutabani we okuba eky’amagero eri ensi yonna.

92. Mazima guno omulembe gwammwe mulembe gumu, era nze Mukama Katonda Omulezi wammwe, kale mulina okunsinza.

93. Naye baafuna okwawukanayawukana mu nsonga zabwe bokka na bokka. Bonna gyetuli gye balina okudda.

94. Era oyo akola ebimu kubirungi nga aggweredde mu bukkiriza, teriiyo butasasulira kutakabana kwe, era ffe mazima abavunanyizibwa okubiwandiika.

95. Era kya muzizo eri ekyalo, kye twasalawo okuzikiriza, okuba nti mazima tekikomezebwawo (gyetuli olw’okusasulwa).

96. Okutuusa lwe balisobozesebwa Googi ne Magoogi okusajjalaata era nga bezzizza buli katunnumba munsi, nga bakituukiriza mu bwangu.

97. Olwo n’etuuka ku lusegere endagaano ey’amazima, era mangu ago (enkomerero) ne yerambika amaaso ga bali abaajeema (nga bawanjaga nti): ‘Ffe nga zitusanze, mazima nga twemalira mu butafaayo ku nsonga ezikwata ku bino, mazima ffe twali abajeemu’.

98. Mazima mmwe n’ebyo bye musinza nga muleseewo Mukama Katonda asinzibwa mufuuliddwa njakirizo za ggeyeena, mwenna gyeguli gyemulina okuzzibwa.

99. Ssinga abo (ba lubaale) baali basinzibwa batuufu te baaliguyingiziddwa (omuliro) naye bonna baakubeera mugwo obugenderevu.

100. Baakugufuniramu okubeesooza era bebo ab’okugubeeramu nga tebawuliziganya.

101. Mazima abo nazzikuno abaayawulirwa okuva gyetuli obulungi, bebo ab’okugwewazibwa (omuliro).

102. Ssi ba kuwulira kubumbujja kwagwo, era abo ba kubeera mwebyo bye gyettanira emitima gyabwe olubeerera.

103. Ssi ya kubatuusaako nnaku entiisa esingayo obunene, era nga babaaniriza ba Malaika nti: ‘Luuluno (mulutuuseeko) olunaku lwammwe lwe mubadde musuubizibwa’.

104. Lwe lunaku lwe tuzingako eggulu nga enzinga y’emizingo gw’ebiwandiko. Okufaananako nga bwe twatandikawo obutonde obwasooka, (bwetulyo) bwetulina okubuzzaawo, eyo nga y’endagaano gyetulina okutuukiriza. Mazima ffe (ekyo) kyetuteekwa okukola.

105. Ate mazima twawandika mu Zabbuli (eyaliwo) oluvannyuma lw’enzijukizi (ya Musa) nti: ‘Ddala ensi bagisikira abaddu bange abalongofu.

106. Mazima mu bino (ebinnyonnyoddwa mu kitundu kino) mulimu ebimala obumazi eri (abo bokka) abantu abasinza Mukama.

107. Era mpawo kyetwakutumira kirala okujjako okuba omusaasizi eri ebitonde byonna.

108. Ggwe bategeeze nti: ‘Ekyo kyokka ekimbikkulirwa bwe bubaka obutegeeza nti: ‘Mazima omusinzibwa wammwe musinzibwa Omu, abaffe mwewaddeyo (mu busiraamu) mu mateeka ga Katonda?’.

109. Kale bwe baba beelemye, ggwe bategeeze nti: ‘Nze mmaze okulangirira gyemuli olutalo (wakati wammwe ne Mukama Katonda) nga tewali atategedde. Era ssimanyi oba kiri ku lusegere oba kiri bunaayira ekyo kye mulaganyisibwa.

110.Mazima Yye y’amanyi ekyolesebwa mu bigambo era amanyi bye mukisa.

111. Era ssimanyi oba olyawo (engeri gye mulembeggerezebwa) eriwo nga ekikemo gye muli era nga kalembereze bulembereza ak’okutuuka ku kiseera ekimanyiddwa.

112. Ggwe saba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, salawo obulamuzi bwo mu mazima. Era Mukama Katonda Omulezi waffe Omusaasizi ennyo ye yekka asabibwa obuyambi (okuwona obulwa) bw’ebyo bye musamwassamwa nabyo’.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]