Skip to content
Home » 37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)

37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

37. ESSUULA: SWAFFAAT, ABASIMBA ENNYIRIRI.

Yakkira Makka. Erina Aya 182

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Ndayira abasimba ennyiriri olusimba.

2. N’abakugira (ebikyamu) olukugira,

3. N’abasoma enzijukizi.

4. Mazima Omusinzibwa wammwe ddala ali omu.

5. Ye Mukama Katonda Omulezi w’eggulu n’ensi n’ebyo ebiri wakati wa byombi era ye Mukama Katonda Omulezi w’ebuvanjuba.

6. Mazima ffe twawunda eggulu eririnanye ensi n’eky’okwewunda kw’emmunyenye.

7. Era zirikuuma obutatuukirirwa Ssitaani kyewaggula.

8. Tezikkirizibwa kuwuliriza ebifa ku biteeso byomuggulu, era zikasukirwa (ebitawuliro by’omuliro) okufubutukira buli ludda.

9. Olw’okuzigoba era za kutuusibwako ekibonerezo eky’ensibo.

10. Okujjako eyo (Ssitaani) eba enyakudde (ebiteesebwa) olunyakula era ne kigigoba ekitawuliro ekikoleevu (ne kigyokya)

11. Kale babuuze nti: ‘Abaffe bebo abasembayo okuba n’enkizo mu butonde nandiki ebyo (ebitonde) bye twatonda?’ Mazima ffe twabatonda mu bbumba ekkambivu.

12. Mazima (ekyo ggwe) kikwewunyisizza naye bbo bali mu kuvvoola.

13. Era bwe baba bajjukiziddwa tewali kye bajjukira.

14. Era bwe baba balabye ekyamagero bakivvoola.

15. Olwo ne bagamba nti: Mazima buno tewali ngeri ndala gye bubalibwamu okujjako okuba eddogo eryeyolefu!’

16. Abaffe kisoboka kitya bwe tuliba twafa era nga twafuuka ettaka n’amagufa ate okuddayo ffe okuzuukizibwa.

17. Oba ssi ekyo ba kitaffe abaasooka?’.

18. Baddemu nti: ‘Wew’awo (bwekityo bwekiri) era mmwe nga muli bawebuufu?’

19. Kale mazima olwo (luba) lwamira lumu lwokka, olwo ne bejjuukiriza bonna nga batemya bukofu.

20. Era ne bawanjaga nti: ‘Nga zitusanze! Luno lwe lunaku lwa masasula’.

21. Luno lwe lunaku nsalesale, lwe mwali mulimbisa.

22. (Ekirangiriro nekiyisibwa nti:) ‘Mubasse mu kkuŋŋaaniro abo abaalyazamanya n’abekinywi kyabwe n’ebyo bye baali basinza.

23. Nga baleseewo Katonda era mubakwase ekisinde ekiraga mu ggeyeena.

24. Era mubayimirize (obutaseguka), mazima bebo abateekwa okubuuzibwa’.

25. Ate mubadde ki obutayambibwa? (bwebatyo bwe balibuuzibwa)

26. Mazima bebo olwaleero abateekwa okwewaayo.

27. Era abamu ne bakyukira bannaabwe nga bebuuzaganya.

28. Nebabakomekkereza nti: ‘Mazima mmwe bebo abaali batwetayirira nga mweyambisa okulayira’.

29. (Bali) ne babaddamu nti: ‘Amazima gennyini mwalemwa mwekka okubeera abakkiriza.

30. Era ffe twali tetubalinaako buyinza. Wew’awo mwe mwali abantu ba kyewaggula.

31. Bwekityo ffenna kitukakaseeko ekigambo kya Mukama Katonda Omulezi waffe. Mazima ffe tulina okukirozaako (ekibonerezo)

32. Kale ffe twababuza, mazima naffe twali mu bubuze’.

33. Kale Mazima abo kulunaku olwo mu kibonerezo ba kwegatta.

34. Mazima ffe engeri eyo gye tukola abonoonyi.

35. Mazima bebo, buli lwe baali bagambibwa nti: ‘Teriiyo asinzibwa okujjako Katonda’. Nga bekuluntaza.

36. Era nga bagamba nti: ‘Abaffe naffe tusobola tutya okwabulira ba lubaale baffe olw’okuba (ono) omuyimbi nga muzoole?’

37. So nga mazima yye yaleeta amazima era baagakakasa abatume.

38. Mazima mmwe muli baakuloza ku kibonerezo ekiruma.

39. Era mpawo kye musasulwa okujjako ebyo bye mwali mukola.

40. Nga ojjeeko abaddu ba Katonda abaawufu.

41.Bebo abafuna okugabirirwa okumanyiddwa.

42. Nga by’ebibala era nga bassibwamu ekitiibwa.

43. Nga bali mu jjana ez’ebyengera.

44.Nga bali ku biwu boolekaganye.

45. Nga zibayisibwamu ensumbi ezijjudde emberenge (y’omubisi).

46. Enjeru ewoomera abaginywa.

47. Teriimu kireeta kuwunya era bbo tebafuula ba waddanga.

48. Era baakubeera (nga bali eyo) n’abakkakkamu b’amaaso ag’endege.

49. Agalinga eggi (essuse) nga libikkiddwako.

50. Olwo abamu ne bakyukira bannaabwe nga bebuuziganya.

51. N’ayogera omwogezi omu mubo nti: ‘Mazima nze nnali nnina munywanyi wange.

52. Nga ambuuza nti: ‘Abaffe, naawe ddala oli mwabo abakakasa?’

53. Bwe tuba tufudde nga tufuuse ettaka n’amagufa, abaffe ate ddala tusobola okusasulwa?’

54. Ate awo n’abuuza nti: ‘Abaffe yye mubalengera?’

55. Neyekkaanya n’amulengera mu massekkati ga ggeyeena.

56. N’amulagiriza nga alayira nti: ‘Aga Katonda wabulako katono okundibaga!’

57. Era ssinga tegwali mukisa gwa Mukama Katonda Omulezi wange (Gwe yampa) nnaalibadde mu luse lwabo abasuuliddwa (mu muliro).

58. Abaffe netuba nga fenna tetukyaddayo kufa.

59. Nga ojjeeko okufa kwaffe okwasooka, era nga ssiffe ab’okubonerezebwa’.

60. Mazima okwo kwe kuganyulwa okuyitirivu.

61. Ebifaanana nga ebyo bye balina okukolerera abakozi.

62. Abaffe eyo y’embera esinga obulungi ey’obugenyi nandiki (okugenyiwazibwa) ekiddo kya kawumpuli?

63. Mazima ffe twakifuula ekyayawulirwa abalyazamanyi.

64. Mazima kyekyo ekiddo ekifubutuka ku ntobo ya ggeyeena.

65. Ebibala byakyo tebirina njawulo na mitwe gya Ssitaani.

66. Amazima balina okukiriira ddala era babwegeze embuto.

67. Oluvannyuma balina okukigoberezaako enkambi y’olweje.

68. Oluvannyuma mazima obuddo bwabwe bwakwolekezebwa eri ggeyeena.

69. Mazima bebo abaasanga ba kitaabwe mu bubuze.

70. Naye bebo abaggweredde mu buwufu bwabwe babagoberera mu misinde.

71. Era mazima baabula olubereberye lwabwe abasinga obungi abaasooka.

72. Era mazima twaweereza gyebali abalabuzi.

73. Kale werolere engeri gyeyalimu enkomerero y’abo abaalabulwa.

74. Nga ojjeeko abaddu ba Katonda abaayawulibwa.

75. Era mazima yatukowoola Nuhu olwo ne tuba ab’omukisa abaayanukula.

76. Kale twamuwonya n’abantu be nga basimattulwa mu kacwano akasukkirivu.

77. Olwo ne tufuula ezzadde lye okuba nga ly’elyokusigalawo.

78. Era twamulekerawo (ab’okumwogerako obulungi) ab’oluvannyuma.

79. Assibweko emirembe Nuhu mu bantu b’ensi eno.

80. Mazima ffe eyo y’engeri gye tusasula abalongofu.

81. Mazima yewuyo ali awamu n’abaddu baffe abakkiriza.

82. Oluvanyuma twazikiriza abalala.

83. Ate mazima omu ku b’ekinywi kye ye Ibrahim.

84. Jjukira lwe yeyanjula eri Mukama Katonda Omulezi we n’omutima omulamu.

85. Jjukira lwe yabuuza kitaawe n’abantu be nti: ‘Biki ebyo bye musinza?’.

86. Abaffe ebijweteke mu kusinzibwa nga muleseewo Katonda bye mwettanira?

87. Kale ndowooza ki gye mulina ku Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna?’

88. Bwatyo yatunula mu mmunyenye.

89. Olwo n’agamba nti: ‘Mazima nfunye obulwadde.

90. Bwebatyo baava waali nga bamwesamba.

91. Era yakyukira ebisinzibwa byabwe olwo n’abibuuza nti: ‘Lwaki temulya?’.

92. Mubadde ki obutanyega?’ 93. Bwatyo yatanula okubyolekeza olutema n’eddyo (we)

94. Bwebatyo beyuna okudda gyali nga batebatteba.

95. Yababuuza nti: ‘Abaffe mwasalawo kusinza ebyo bye muwummula mu miti?

96. Sso nga Katonda ye yabatonda n’ebyo bye mukola?’.

97. Bonna bassa kimu nti: ‘Mumuzimbire ekikomera era mu musuule mu ggeyeena.

98. Bwebatyo baamukolera enkwe naye bbo betwafuula abasembayo okuba abawansi.

99. Olwo n’abategeeza nti: ‘Nze ŋŋenze wa Mukama Katonda Omulezi wange ajja kunnuŋŋamya.

100. Ai Mukama Katonda Omulezi wange ngemulira omu kwabo abalongofu.

101. Bwetutyo twamusanyusa ne (ekirabo kya) omwana ow’obulenzi ow’ekisa.

102. Kale bwe yatuusa okukola naye emirimu (kitaawe) yamugamba nti: ‘Mwana wange, mazima nze ndoota nga ndi mutulo nga mubutuufu nkusala. Kale wetegereze ensonga eyo kiki kyosalawo?’ Yamuddamu nti ‘Ssebo taata, tuukiriza ekikulagirwa. Ojja kunsanga, Katonda nga ayagadde nga ndi mugumiikiriza’.

103. Kale bwe baamalirira bombi okwewaayo (okutuukiriza ekiragiro) era naamuganzika ku ttaka ettama lye.

104. Olwo twamukowoola nti: ‘Ggwe Ibrahim’.

105. Mazima otuukirizza endooto!’. Mazima bwetutyo ffe bwetusasula abalongofu.

106. Mazima okwo kwe kugezesa kwennyini okweyolefu.

107. Kale twamununuzisa n’ekisalibwa (endiga) ekisava.

108. Era twakimusigalizaawo (okuba ekijjukizo) eri ab’oluvannyuma.

109. Assibweko emirembe Ibrahim. 110. Eyo y’engeri gye tusasula abalongofu.

111. Mazima yewuyo omu ku baddu baffe abakkiriza.

112. Era twamusanyusa nga tumuwa Isihaka nga ye Nnabbi omu ku balongofu.

113. Era twamuwa omukisa ne (tuguwa) Isihaka. Sso nga abamu ku bazzukulu babwe (bombi) mulimu alongosa n’oyo ayeryazamanya yekka omweyolefu (mu bulyazamanyi)

114. Era mazima twagemula emikisa eri Musa ne Haruna.

115. Era twabawonya n’abantu babwe akabi akayitirivu.

116. Bwetutyo twabataasa ne baba nga be bawanguzi.

117. Era twabawa ekitabo ekinnyonnyozi.

118. Netubaluŋŋamya ekkubo eggolokofu.

119. Era twabalekerawo (ababoogerako ebirungi) mu b’oluvannyuma.

120. Emirembe gibe ku Musa ne Haruna.

121. Mazima ffe engeri eyo gye tusasula abalongosa.

122. Mazima be bombi abo abamu ku baddu baffe abakkiriza.

123. Ate mazima Eliyasa ddala yali omu ku batume.

124. Jjukira lwe yabuuza abantu be nti: ‘Abaffe mulemeddwa okutya Katonda?

125. Abaffe musazeewo kusinza (ekifaananyi ekiyitibwa) Baala, bwemutyo ne mwabulira asinga okuba ow’enkizo mu batonzi.

126. Oyo Katonda asinzibwa Allah, Mukama Omulezi wammwe era Mukama Omulezi wa bakitammwe abaasooka?’

127. Kale baamulimbisa, mazima bebo ab’okwanjulwa (mu kibonerezo)

128. Nga ojjeeko abaddu ba Katonda abaayawulibwa.

129. Era twamulekerawo (abamwogerako ebirungi) mu b’oluvannyuma.

130.Emirembe gibe ku Eliyasi.

131. Mazima ffe engeri eyo gye tusasula abalongosa.

132. Mazima ye wuyo omu ku baddu baffe abakkiriza. 133. Ate mazima Luutu ddala yali omu ku batume.

134. Jjukira lwe twamuwonya n’abantu b’ennyumba ye bonna.

135. Nga ojjeeko omukadde eyasalibwawo okukisigalamu (ekibonerezo)

136. Oluvannyuma twazikiriza abalala.

137. Era mazima mmwe baabo abatera okubayitako (mu byalo byabwe) mu maliiri

138. Wamu n’ekiro. Abaffe temuliimu kategeera?

139. Ate mazima Yunusu ddala yali omu ku batume.

140. Jjukira lwe yemulula n’ayotta nga alaga ku lyato eryali lijjudde ne libooga.

141. Bwatyo yakubisa akalulu ne kamuviirako okuwangulwa.

142. Olwo n’eryoka emumira lukwata nga y’oyo anenyezebwa.

143. Naye ssinga mazima teyali omu kwabo abatendereza Katonda.

144. Yaalisiisidde mu lubuto lwayo (Lukwata) okutuusa olunaku lwe bazuukizibwa.

145. Naye twamunyugunya ku lubalama nga yewuyo omukosefu.

146. Era twamumezaako ekiryo ky’endeku.

147. Bwetutyo twamutuma eri (abantu) akasiriivu kamu (emitwalo kkumi) oba okusingawo kko.

148. Bwebatyo bakkiriza era twabasobozesa okweyagala okutuusa ku kiseera (ekyabagererwa).

149. Kale ggwe babuuze nti: ‘Abaffe butya lwe ye yawulizaako Mukama Katonda Omulezi wo abaana ab’obuwala olwo bali nebaba nga beyawulizaako baana ba bulenzi?’

150. ‘Nandiki bakikakasa nti twatonda Malaika nga nkazi era nga bbo baaliwo nga abajulizi?’

151. Awatali kuwannaanya bebo abasinzira ku kujweteka kwabwe, ddala ne bakityebeka nti:

152. ‘Allah yazaala omwana!’ Era mazima bebo abalimba obulimbi.

153. Abaffe kisoboka kitya ye okulondawo abaana ab’obuwala n’alekawo ab’obulenzi.

154. Kiki ekibatuuseeko, ngeri ya nnaba ki eyo gye mulamula,

155. Abaffe mubuzeemu akajjukira.

156. nandiki mulinayo ekyesembesebwa (ku byemwogera) ekyeyolefu?

157. Kale mwanje ebiwandiko byammwe bwe muba mukakasa (bye muliko)!

158. Kyokka baagunjawo wakati we (Mukama) n’amaginni olulyo (lw’obuko) ate nga mazima gaamanyira ddala amaginni nti abo balina okutuusibwako ekibonerezo.

159. Atukuzibwe Katonda asinzibwa Allah nga ayawulibwa kw’ebyo bye basamwassamwa nabyo

160.Nga ojjeeko abaddu ba Katonda abaayawulibwa.

161. Kale mazima ka mube mmwe n’ebyo bye musinza

162. teriiyo (muntu yenna) gwemusobola ku mujjako olw’okumubuzaabuza.

163. Okujjako oyo ateekwa okuyingira ggeyeena.

164. Era mpawo noomu muffe okujjako nga alinawo gyali (Mukama Katonda Allah) obutuuze obumanyiddwa obulungi. 165. Era mazima ffe baabo abali mu nnyiriri.

166. Era mazima ffe baabo abatendereza Katonda.

167. Newankubadde nga bali ddala boogera nti:

168. ‘Ssinga mazima tulinawo enzijukizi kwezo ezasooka!

169. Twalibadde abaddu ba Katonda abaayawulibwa.

170. Bwebatyo baamujeemera. Naye bajja ku kimanya.

171. Ate mazima nazzikuno ekigambo kyaffe (eky’okutaasa) kyatuukirizibwa mu baddu baffe abaatumibwa.

172. Mazima bebo abataasibwa.

173. Era mazima eggye lyaffe lyeryo eriwanguzi.

174. Gwe baveeko okutuusa ekiseera kyabwe lwe kikoma.

175. Era batunuulire nkaliriza nabo bajja kwekaliriza (ebibasasulwa)

176. Abaffe, ebibonerezo byaffe bye basabisa akapapizizo?

177. Kyokka bwe bituuka mu kyererezi kyabwe (webali) olwo gaba mabi nnyo amaliiri g’abo abaalabulwa.

178. Kale ggwe baveeko okutuusa ekiseera kyabwe lwe kikoma.

179. Era ggwe tunula nkaliriza nabo bajja kwekaliriza (ebibasasulwa)

180. Atukuzibwe Mukama Katonda Omulezi wo, Mukama Ow’ekitiibwa n’Obuwanguzi, nga ayawulibwa kwebyo bye basamwassamwa nabyo.

181. Era emirembe gibe ku batume bonna.

182. Era amatendo amalungi ga Mukama Katonda Asinzibwa Allah Omulezi w’ebitonde byonna.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *