Skip to content
Home » 40. Ghafir (Omusonyiyi)

40. Ghafir (Omusonyiyi)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

40. ESSUULA: GHAFIR, ‘OMUSONYIYI.

Yakkira Makka, erina Aya 85.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Ha. Mim.

2. Kuno kwe kussa ekitabo ekiva ewa Katonda Luwangula Omumanyi.

3. Omusonyiyi w’ebyonoono era akkiriza okwenenya, Omusukkirivu w’ebibonerezo. Nannyini kugaba byengera. Mpawo asinzibwa (mu butuufu) okujjako Yye. Gyali bwe buddo.

4. Teriiyo akaayana ku mateeka ga Katonda okujjako abo abajeemu. Kale tesanye ku kusikiriza engeri gye batambula munsi.

5. Gwalimbisa olubereberye lwabwe omulembe gwa Nuhu n’ebibinja ebyaliwo oluvannyuma lwabwe, (omulembe gwa Nuhu). Era gwekobaanira buli mulembe omubaka wagwo okubanga bamujjawo, era baawakana (nga besigama) ku bikyamu nga baluubirira okubijjisaawo amazima, naye nnabagombamu obwala. Kale yali etya engeri gye nnabakangavvula?

6. Era eyo y’engeri gye kyakakata ekigambo kya Mukama Katonda Omulezi wo (eky’okubonereza) kwabo abaajeema, okuba nti mazima bebo ab’okubeera mu muliro.

7. (Ba Malaika) Abo abawanirira Nnamulondo (ya Mukama) n’abo abagyebunguludde batendereza amatendo amalungi aga Mukama Katonda Omulezi wabwe era bamukkiriza era basaba okusonyiyibwa kw’abo abakkiriza nga bagamba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe wabunyisa ebintu byonna obusaasizi n’okumanya. Ai Mukama kale sonyiwa abo abeenenya era abaagoberera ekkubo lyo era bawonye ebibonyobonyo bya Ggeyeena.

8. Ai Mukama Katonda omulezi waffe, bwotyo bayingize mu Jjana Aden, eyo gye wa basuubiza naabo abaalongosa emirimu, abamu ku bataata babwe ne bakyala babwe ne bazzukulu babwe. Mazima yeggwe Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

9. Era bawonye ebibi. Kale oyo gw’owonya ebibi by’olunaku olwo, oba mazima omusaasidde, era okwo kwe (kubeera o) kuganyulwa okuyitirivu’.

10. Mazima abo abaajeema ba kukomekkerezebwa nti: ‘Mazima bungi nnyo obusungu bwa Katonda bwa balinako okusinga engeri mmwe gye mwanyiigira (ababaka) ekiseera awo nga babayita okudda eri obukkiriza, bwemutyo ne mujeema’.

11. Ba kuwanjaga nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe watutta emirundi ebibi era watulamusa emirundi ebibi, bwetutyo tutegedde ebyonoono byaffe. Naye abaffe eky’okufuluma (mu bibonerezo) kirinayo oluwenda lwonna?’

12. Kiri bwekityo mmwe olw’okuba nga mazima, ssinga aba asinzibwa Katonda mu bwa nnamunigina bwe, nga mmwe muwakanya (okusinzibwa kwe) naye bwaba agattibwako (ebirala), nga mwe mubikkiriza. Kale (kaakano) okusalawo eggoye kwa Katonda yekka Owaawaggulu Agulumizibwa.

13. Ye wuyo abooleka eby’amagero bye era assa gyemuli okuva muggulu ebigabirirwa (byammwe), Naye tasobola kwebuulirira okujjako oyo (aba) eyezzeemu.

14. Kale musinze Katonda nga gwe mumaliddeko yekka eddiini yonna ne bwebanaakitamwa abajeemu.

15. Ye waawaggulu mu madaala ag’ekitiibwa nnannyini Nnamulondo assa obubaka obw’okusaasira obuva mu kusalawo kwe, eri oyo gwayagala mu baddu be nga abweyambisa okulabula (abantu) olunaku lw’ensisinkano.

16. Olunaku bbo lwe beyanjulirako (obutasigalayo nomu) nga mpawo kyekweka Katonda nga kiva gye bali, kintu kyonna. ‘Bwani obufuzi olwaleero’ (ekibuuzo ne kyanjibwa bwekityo, era nekiddibwamu nti): ‘Bwa Katonda yekka omu Omukasi’.

17. Olwaleero gusasulwa buli mwoyo ebyo bye gwakola. Tewali kulyazamanya olwaleero (muntu yenna). Mazima Katonda mwanguyiriza wa kubalirira.

18. Ate balabule olunaku lw’okumwanjo, awo ekiseera emyoyo we gibeerera mu malokooli nga gikusise ennyiike. Ssi ba kufuna abalyazamanyi (kwolwo) munywanyi yenna newankubadde omuwolereza agonderwa.

19. (Katonda) Amanyi bulungi eriiso elijjudde obukuusa n’ebyo bye zikwese emmeeme

20. Katonda alamuzisa bwenkanya, naye bali be musinza nga mumuleseewo teriiyo kye basobola kulamula. Mazima Katonda ye Muwulizi Omulabi.

21. Abaffe balemeddwa okutambula munsi okwerolera mbera ki gye yalimu enkomerero y’abali abaaliwo olubereberye lwabwe? Baali baabasukkuluma eryanyi n’eby’obugagga munsi. Naye yabagombamu obwala Katonda nga abalanga ebyonoono byabwe, era tebafunayo okuva ewa Katonda oyo yenna abatangira (ebibonerezo bya Katonda).

22. Kiri bwekityo kubanga ddala babadde babatusaako ababaka babwe obunnyonnyofu ne bajeema, olwo n’abagombamu obwala Katonda. Mazima ye wuyo Ow’amaanyi Omuyitirivu w’okubonereza.

23.Wew’awo Musa twamutuma n’ebyamagero byaffe n’obunnyonnyofu.

24 Okugenda eri Firawo ne Hamana ne Qaruna, bwebatyo bonna baagamba nti: ‘Oyo mulogo Kalimbira.’

25. Naye bwe yabatuusaako amazima nga gava gye tuli, baateesa nti: ‘Mutirimbule abaana ab’obulenzi abaabali abakkiriza naye (Musa), era muwonye ab’obuwala babwe. Nekiba nti tewali kirala kijjudde nkwe z’abajeemu okujjako okuggwera mu bubuze (obwereere).

26. Bwatyo Firawo yagamba nti: ‘Mundeke mbe nga (nze kennyini) nzita Musa, kale awanjagire Mukama Katonda Omulezi we. Mazima nze kye nneraliikirira kwe kuba nga adda awo okukyusakyusa eddiini yammwe oba okubunyisa munsi obwononefu!’

27. Bwatyo Musa yagamba nti: ‘Nze nneekuumisizza Mukama Katonda Omulezi wange era Omulezi wammwe obutatuukibwako kabi k’oyo ayekuluntaza atakkiriza lunaku lwa mbalirira.’

28. Bwatyo omusajja omukkiriza mu bantu ba Firawo, nga akisa obukkiriza bwe yabuuza nti: ‘Lwaki musalawo okutemula omusajja nga mu mulanga okwogera obwogezi nti; ‘Mukama Katonda Omulezi wange ye Allah asinzibwa, era nga ddala yabatuusaako amazima agava ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe? Kale ssinga kizuuka nti mulimba, kyambukira kuye ekibi ky’obulimba, ate bwe kizuuka nti wa mazima, biba bibatuukako ebimu kwebyo by’abasuubiza. Mazima Katonda taluŋŋamya oyo asukkirizza obujeemu kalimbira.’

29. ‘Abange mwe abantu bange, mmwe muli mu buyinza olwaleero nga musajjalaata munsi. Naye ani oyo ataasa ekibonerezo kya Katonda bwe kiba kitutuuseeko?’ Firawo n’alangirira nti: ‘Teriiyo kye mbalaga kirala okujjako ekyo kye ndaba, era ssibaluŋŋamya ku kwata kirala okujjako ekkubo ly’obuluŋŋamu.’

30. Naye oyo eyakkiriza mu bantu ba Firawo yagamba nti: ‘Mazima nze mbatiisa okufuna ebiringa eby’olunaku lw’ebibinja (ebyayita).

31. ‘Ebiringa ebyatuuka ku mulembe gwa Nuhu ne Aad ne Thamud n’abo abaaliwo oluvannyuma lwabwe’. Era tewali Katonda lwe yettanira kulyazamanya bantu.’

32. Ate abange mmwe abantu bange, mazima nze mberaliikirirako eby’olunaku lw’okuyitiŋŋana.

33. Olunaku lwemuzzibwa ekyennyuma nga temulinaayo okuva ewa Katonda oyo yenna abatangira (akabi), era oyo yenna Katonda gwabuza tayinza kufuna amuluŋŋamya!’

34. Ate mazima yabatuusaako Yusufu nazzikuno ekituufu kyokka mu kyesibye ku byokubuusabuusa ebyo bye yabatuusaako okutuusa bweyamala okufa ne mugamba nti: ‘Katonda tajja, oluvannyuma lw’oyo kutuma mubaka yenna’. Bwekityo Katonda abuza oyo eyeemalidde mu bujeemu abuusabuusa.

35. Bebo abawakanya amateeka ga Katonda nga tebeesigamye ku buyivu bwe baafuna. Byayitiriza (ebyo) okubafunyisa obusungu ewa Katonda n’ew’abo abakkiriza. Bwatyo Katonda bwassa envumbo ku buli mutima gw’oyo eyekuluntaza kyewaggula.

36. Bwatyo Firawo yalagira (Hamana) nti: ‘Ggwe Hamana, nzimbira omulongoti oba olyawo kyandinsobozesa okutuuka ku miryango.

37. Emiryango gy’eggulu, nennerolera omusinzibwa wa Musa, era mazima nze mutwalira ddala okuba omulimba’. Eyo y’engeri gye yawundirwa Firawo obubi bw’emirimu gye, bwatyo yabuza (abalala) ekkubo (ettuufu). Bwezityo nezitabaawo enkwe za Firawo kyezireeta okujjako okufaafaagana.

38. Naye oli eyakkiriza mu bantu ba Firawo yagamba nti: ‘Abange mmwe abantu bange mungoberere mbakwase ekkubo ly’obuluŋŋamu’.

39. ‘Abange mmwe abantu bange, mazima tewali ngeri yonna buno obuwangazi bw’ensi gyebutwalibwamu okujjako (okuba) okweyagala obweyagazi, kyokka mazima enkomerero bwebwo obutuuze obw’enkomeredde.

40. Oyo yenna aba akoze ekibi teriiyo ky’asasulwa okujjako ekikifaanana, era oyo yenna aba akoze ekirungi nga musajja oba mukyala era nga yewuyo omukkiriza kale bebo abayingira ejjana mwe balina okugabirirwa awatali kubalirira’.

41. ‘Ate abange mmwe abantu bange, lwaki mbayita okweyuna okuwona. ate mmwe ne mumpita okweyuna omuliro.

42. Muli mu kumpita mbe nga njemera Katonda n’okumugattako ebyo byessirinaako kyemmanyi sso nga nze mbayita okudda eri Luwangula Omuyitirivu w’okusonyiwa.

43. Awatali kuwannaanya ebyo bye mumpitira okubyeyuna, teriiyo kye biyinza kwanukula munsi newankubadde ku nkomerero, ate mazima obuddiro bwaffe buli eri Katonda era mazima (abo) abemalidde mu bujeemu bebo ab’okubeera mu muliro’.

44. ‘Era mujja kujjukira ebyo bye mbategeeza. Nze kambe nga nneesigamiza embera yange ewa Katonda, mazima Katonda ye Mutunuulizi wabaddu bonna’.

45. Bwatyo Katonda ya muwonya ebibi by’ebyo bye baayisa munkwe, era kyatuuka ku bantu ba Firawo ekivve ky’ekibonerezo.

46. Nga gwe muliro gwe banjululizibwa mu makya n’akawungezi. Ate bwekituuka ekiseera ekivannyuma, (ekirangiriro kiyisibwa nti:) ‘Musonseke abantu ba Firawo mu kisingayo obukakali ekibonerezo.

47. Ate jjukira lwe bekwasa obusongasonga nga bali mu muliro, olwo abanafu ne bategeeza bali abekuluntaza nti: ‘Mazima ffe tubadde mmwe be tugoberera, naye abaffe waliwo engeri yonna gye musobola okutweyimirira ku mugabo gwonna ogw’omuliro?’

48. Ne baddamu abo abekuluntaza nti: ‘Mazima ffenna gwe tuggwereddemu (omuliro). Mazima Katonda yalamula dda wakati w’abaddu.

49. Bwebatyo abo abali mu muliro ne bawanjagira abakuumi ba ggeyeena nti: ‘Mwegayirire Mukama Katonda Omulezi wammwe abe nga atukenderezaako olunaku lumu ku bibonerezo!’.

50. Nebababuuza nti: ‘Abaffe babadde tebaabatuukako ababaka bammwe n’obwanjulukufu?’ Nebabaddamu nti: ‘Kituufu!’ Nebabaddamu nti: ‘Kale muwanjage!’ Naye tewali okuwanjaga kwa bajeemu kye kuvaamu okujjako okuggwera mu bubuze’.

51. Mazima ffe tulina okutaasa ababaka baffe n’abo abakkiriza mu buwangazi bw’ensi ne kulunaku lwe basimbibwawo abajulizi.

52. Olunaku lwe kutagasa bajeemu okwetonda kwabwe era bayambukirwako ekikolimo era ba kufuna obutuuze obubi.

53. Kale mazima twawa Musa obuluŋŋamu era twasikiza abaana ba Israil ekitabo.

54. Nga bwebuluŋŋamu era okulyowa abo ba nnanyini bugeziwavu.

55. Naye ggwe nywerera ku bugumiikiriza ddala ekisuubizo kya Katonda kya mazima, era saba okusonyiyibwa ebyonoono byo era tendereza amatendo amalungi aga Mukama Katonda omulezi wo akawungezi n’amaliiri.

56. Mazima abo abakaayanira mu mateeka ga Katonda nga tewali buyivu bwe baafuna. Mpawo kirala kiri mu bifuba byabwe okujjako okwekuza okutaliiko gye kubatuusa. Kale ggwe wekuumise Katonda. Mazima ye wuyo Omuwulizi Omulabi.

57. Ddala okutonda eggulu n’ensi ky’ekinene okusinga okutonda abantu, kyokka abasinga obungi abantu tebamanyi.

58. Era tebasobola kwenkana, muzibe n’oyo alaba, n’abo abakkiriza era abaakola ebirungi, newankubadde abajeemu. Bitono nnyo bye mujjukira.

59. Mazima essaawa envannyuma erina okutuuka, terinaayo kigitankanibwamu, wabula abantu abasinga obungi tebakkiriza.

60. Kale Mukama Katonda Omulezi wammwe yalangirira nti: ‘Mumpanjagire mbanukule. Mazima abo abekuluntaza nebalekayo okunsinza bajja kuyingira ggeyeena nga bawebuufu.

61. Katonda asinzibwa Allah y’oyo eyabassizaawo ekiro musobole okuwummuliramu, n’omusana nga gwa kutunula nkaliriza. (kukabassaniramu). Mazima Katonda alina ebirungi nfafa by’akolera abantu wabula abantu abasinga obungi te basiima.

62. Oyo mmwe ye Mukama asinzibwa Allah Katonda Omulezi wammwe Omutonzi w’ebintu byonna, mpawo asinzibwa okujjako Yye. Kale lwaki ate muwuguka.

63. Bwekutyo bwe kwali okuwuguka kwa bali abaali nga amateeka ga Katonda ba gawakanya.

64. Katonda asinzibwa Allah yoyo eyabafuulira ensi okuba obutuuze (era) n’eggulu (yalibafuulira) okuba ennyumba, bwatyo yatonda enfanana yammwe n’abafananya bulungi era yabagabirira ebimu ku birungi nfafa. Oyo ye Mukama asinzibwa Allah Katonda Omulezi wammwe. Kale agulumizibwe Katonda Mukama Omulezi w’ebitonde byonna. 65. Ye wuyo Omulamu mpawo asinzibwa okujjako Yye kale mu musinze nga gwe mumalirako yekka eddiini. Amatendo amalungi ga Katonda Mukama Omulezi w’ebitonde (byonna).

66. Bategeeze nti: ‘Mazima nze nnatangirwa okuba nga nsinza ebyo byemuwanjagira ne mulekawo Katonda, bwennamala okufuna ekituufu ekiva ewa Mukama Katonda Omulezi wange era nnalagirwa okwewaayo (mu busiraamu) mu mateeka ga Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna’.

67. Ye wuyo Mwene eyabatonda nga abajja mu ttaka bweyamala n’abajja mu kisaayisaayi bweyamala naaba nga abafulumya nga muli mabujje oluvannyuma musobozesebwa okuba abakulu. Oluvannyuma musobozesebwa okufuuka abakadde. Era abamu mummwe eriyo abakkirira akaganga nga tebannatuuka eyo. Olwo nemusobozesebwa okumalako ekiseera ekigerageranye, bwemutyo kibasobozese okutegeera.

68. Ye wuyo Mwene alamusa era atta. Bwaba asazeewo ensonga (okubaako kyatonda) mazima agamba bugambi nti: ‘BA’, n’ebeera nga bwasazeewo!’.

69. Abaffe olemeddwa okwerolera abo abawalaaza empaka ku mateeka ga Katonda? Ye lwaki bawugulwa?

70. Bebo abaawakanya ekitabo n’ebyo bye twatuma n’ababaka baffe. Kale kyaddaaki bajja kumanya.

71. Ekiseera (Awo) nga ebifundikwa by’enjegere z’ebyuma byekoligidde mu singo zabwe wamu n’enjegere (endala ezibasibye) nga bawalulwa.

72. Mu lunyata oluvannyuma basonsekwe mu muliro bafuulwe enjakirizo (zagwo)

73. Oluvannyuma babuuzibwa nti: ‘Bye biruwa bye mubadde muyimbagatanya?’

74. Nga muleseewo Katonda? Nebaddamu nti: ‘Bitubuzeeko. Wew’awo tubadde tetulinaawo nazzikuno kintu kyonna kye tusinza. Eyo y’engeri Katonda gyabuza abajeemu.

75. Kiri bwekityo mmwe olw’okuba mubadde mujaganya munsi mu bitali bituufu n’olw’okuba mubadde mwefuula ab’ekitalo.

76. Mwesogge emiryango gya ggeyeena nga ba kusiisira lubeerera eyo. Kale obwo bwa kivve obwewejjeeko bwabo abekuluntaza.

77. Naye ggwe nywerera ku bugumiikiriza ddala ekisuubizo kya Katonda kya mazima. Kale kakibe nti tusazeewo okukwoleka ebimu kwebyo bye tubasuubiza oba okusalawo okukuvumbagira (nga tetunnabikulaga) era gyetuli (bonna) gyebazzibwa.

78. Kale mazima twatuma ababaka nazzikuno nga tonnabaawo, abamu kwabo, waliwo be twakunnyonnyola ebyafaayo byabwe, abamu kwabo tetunnabakunnyonnyola byafaayo byabwe. Era mpawo lwe kigwana ku mubaka okukola eky’amagero okujjako olw’okukkiriza kwa Katonda. Bwe kuba kutuuse okusalawo kwa Katonda, nga kulamulwa mu mazima, olwo ne bafaafaaganirwa eyo abonoonefu.

79. Allah, Katonda asinzibwa yoyo eyabassizaawo ensolo ezifugibwa mube nga mwebagala ezimu kuzo era endala kuzo ze mulyako.

80. Era mufuna okuva muzo emigaso nfafa, era mube nga muzeyambisa okuzituusizaako entwala (ebyetaago) gye musazeewo mu mmeeme ya mmwe (okugenda), era ku (migongo gya) zo ne ku maato kwe mukongojjerwa.

81. Kale abooleka ebyamagero bye! Olwo byannaba ki eby’amagero bya Katonda bye muwakanya?

82. Abaffe balemeddwa okutambula munsi okwerolera ngeri ki gye yalimu enkomerero y’abo abaabasooka? Baali babasukkulumye obungi era basukkiridde okuba n’embavu n’okuba abagagga ffugge munsi, naye mpawo kyabagasa kwebyo bye baali bakola.

83. Kyokka ababaka babwe bwe baabatuusaako ekituufu ate badda mu kujaganya na biri bye balina, bwekityo ne kibatuukako kye baali bavvoola.

84. Naye bwe bekkaanya ekibonerezo kyaffe, baawanjaga nti: ‘Tukkirizza Katonda Omu yekka era tumaze okuwakanya ebyo byonna bye tubadde tuyimbagatanya!’

85. Kale neba nga tekyasobola kubayamba enzikiriza yabwe, nga bamaze okwerolera ekibonerezo kyaffe. Eyo yenkola ya Katonda gye yayisaamu abo abaasaanawo mu baddu be. Olwo ne baba nga batuuse ku kufaafaagana eyo abajeemu.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *