Skip to content
Home » 53. An – Najim (Emmunyenye)

53. An – Najim (Emmunyenye)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

53. ESSUULA: ANNAJIM, ‘EMMUNYENYE’.

Yakkira Makka, Erina Aya 52.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okwenjawulo.

1. Ndayidde emmunyenye bw’eba egudde.

2. Tabulangako mukwano gwammwe wadde okwewaggula.

3. Era tewali byayogera nga biva ku kwagala kwe. 4. Tekiba kirala okujjako obubaka obubikkulwa.

5. Bwaba amuyigiriza (oyo) omuyitirivu w’eryanyi.

6. Alina obubangufu era omwenkamunkamu.

7. Ate nga ali mu bwengula obusinga okuba obwawaggulu.

8. Bwamala n’asembera nakka waali.

9. Mu bbanga eriweza obusaale bubiri oba obutawera.

10. Bwatyo n’abikkulira omuddu we (omuddu wa Katonda) ebyo by’amubikkulira.

11.Tegwalimbisa omutima (gwe) ebyo bye yalaba

12. Lwaki mu mukaayanya kw’ebyo byalaba?

13. Ate mazima yamulaba omulundi omulala.

14. awali omuti gwa kirobo awasembayo.

15. Awasangibwa ejjana (olusuku) y’obutuuze.

16. Awo we kibuutikirira omuti gwa kirobo ekyo ekigubuutikira.

17. Teryawuguka eriiso (kutunuulira birala) wadde okusukkawo (okulaba bye litaalirabye)

18. Mazima yeerolera ebimu ku by’amagero bya Mukama Katonda Omulezi we ebinene.

19. Abaffe mwetegerezza Laati ne Uzza?

20. N’omulala ow’okusatu nga ye Manaati.

21. Abaffe mwe mulina ebisajja nga Yye alina bikazi?

22. Eyo nno y’engabanya ey’ekiwunjukira.

23. Sso nga ebyo ge mannya obunnya ge mwabituuma mwe mwennyini ne bakitammwe, teriiyo bujulizi bwesembesebwa, Katonda bwe yabissaako. Mpawo kye bagoberera okujjako okufumintiriza n’ebyo bye gyagala emyoyo (gyabwe) sso nga mazima bwabatuukako okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe obuluŋŋamu.

24. Abaffe eriyo omuntu afuna byonna by’ayagala?

25. Kale bya Katonda yekka eby’oluvannyuma n’eby’olubereberye.

26. Kameka nga ba Malaika abali muggulu tewali kye kugasa okuwolereza kwabwe ku nsonga yonna mpozzi lwa kukkiriza kwa Katonda eri oyo gwayagala n’okumusiima.

27. Mazima abo abatakkiriza nkomerero ddala batuuma ba Malaika amanya g’ekikazi.

28. Ate nga tewali kye babamanyiko. Mpawo kye bagoberera okujjako okufumintiriza, sso nga mazima okufumintiriza tekugasa nga waliwo amazima ku nsonga yonna.

29. Kale ggwe yawukana kwoyo eyeebalamye okututendereza era ne watabaawo kyayagala (kirala) okujjako obuwangazi bw’ensi. 30. Eryo ly’ekkomo lyabwe ku by’obuyivu. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo ye wuyo amanyi ennyo oyo aba abuze nga ava ku kkubo lye era yewuyo amanyi ennyo oyo aba aluŋŋamye.

31. Era bya Katonda yekka ebiri muggulu n’ebiri munsi, olw’okumusobozesa okusasula abo abaayonoona empeera y’ebyo bye baakola era n’okusasula abo abaalongosa, empeera ennungi.

32. Bebo abeebalama agonoono aganene n’obuseegu nga totwaliddeemu busangosango. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo ye mugazi mu kusonyiwa. Yewuyo asinga okubamanya, olw’engeri gye yabasibula mu ttaka, n’awo mmwe we mubeerera amawako mu mbuto za ba maama bammwe. Kale temwebala kuba batukuvu. Yye yasinga okumanya oyo aba yewaddeyo okutya Katonda.

33. Abaffe weroredde oyo awuguse?

34.Era awaddeyo akatono n’ayitiriza obukodo?

35.Abaffe alinayo obuyivu ku byekusifu nga byeyekkaanya?

36.Nandiki tategezebwangako ebyo (amateeka) ebiri mu bitabo bya Musa?

37. Ne Ibrahim oyo eyatuukiriza (obubaka)? 38. Ebiyigiriza nti: ‘Kya muzizo omugugu gw’ebibi okuguvunaana omulala.

39. Era mazima tewali kyabalibwako omuntu okujjako ekyo kye yateganira.

40. Era mazima okutegana kwe kunina okulagibwa.

41. Oluvannyuma akusasulwamu empeera entukirivu.

42. Era mazima ewa Mukama Katonda Omulezi wo ensonga gyeziggwera.

43. Era mazima ye wuyo aleetawo okuseka n’okukaaba.

44. Era mazima yewuyo afiisa no kulamusa.

45. Era mazima yewuyo eyatonda emigogo ebiri, ekisajja n’ekikazi.

46. Nga biva mu mazzi g’ekisajja bwe gaba gateekebwa (mu nnabaana).

47. Era mazima yoyo avunanyizibwa olusibula (lw’ebitonde) olulala.

48. Era mazima yewuyo agaggawaza era ayavuwaza.

49. Era mazima yewuyo Mukama Katonda Omulezi wa (emmunyenye eyitibwa) Shiirah.

50. Era mazima yewuyo eyazikiriza (omulembe gwa) Aad okusooka.

51. N’azzaako (okuzikiriza omulembe gwa) Thamudu, era teyataliza.

52. N’omulembe gwa Nuhu ogwa kulembera. Bebo mazima abaali basinga obujeemu n’obwewagguzi.

53. N’abo aba kyevuunikidde baasukkiriza okubula.

54. Olwo nebibabuutikira ebyabuutikira’.

55. Kale byengera nnaba ki ebya Mukama Katonda Omulezi wo byowakanya?

56. Oyo ye mulabuzi atalina njawulo n’abalabuzi abaasooka.

57. Kituuse ekiseera ekirina okutuuka.

58. Tekirinaayo nga ojjeeko Katonda ayinza okukijjawo.

59. Abaffe, ebyo ebigambo (ebya Qur’an) bye musazeewo okwewuunya.

60. Olwo ne muba nga museka sso te mukaaba?

61. Era nga yemmwe abesuuliddeyo ogwa nnaggamba?

62. Kale mmwe (abakkiriza) muvunname ku lwa Allah era mu musinze.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *