Skip to content
Home » 77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)

77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

77. ESSUULA: MURSALAAT, EMPEWO EWEEREZEBWA

Yakkira Makka. Erina Aya 50.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Ndayidde empewo ewerezebwa olw’ensonga emanyiddwa.

2. Ne kikuŋŋunta omukunsi.

3. Ndayidde (empewo) ezisasanya (ebire) olusasanya.

4. Naabo (ba Malaika) abaleeta ebyawulawo olwawula.

5. Naabo (ba Malaika) abatuusa obubaka bw’enzijukizi.

6. Obwewazisa oba okulabula. 7. Mazima ebyo bye musuubizibwa birina kutuukirira.

8. Kale bweziba emmunyenye zizikiziddwa

9.Era bweriba eggulu lyabuluddwa.

10. Era bwe ziba ensozi zisiguukuluddwa.

11. Era bwe baba ababaka bateekeddwa mu biseera ebigere.

12. Ye lwa nnabaki olunaku olulindirizibwa (mu biseera ebigere)?

13. Lwe lunaku lw’okulaga enjawulo.

14. Naye kiki ekinaakumanyisa olunaku lw’okulaga enjawulo kye kitegeeza?

15. Okuzikirira olunaku olwo kwa kutuusibwa ku balimbisa.

16. Abaffe tetwazikiriza abaasooka?

17. Oluvannyuma ne tubagobereza ab’oluvannyuma?

18. Bwetutyo bwe tukola abonoonyi.

19. Okuzikirira olunaku olwo kwa kutuusibwa ku balimbisa.

20. Abaffe te twabatonda mu mazzi amanyomoofu.

21. Nga twagassa mu butuulo obugumu?

22. Okutuusa ekiseera ekimanyiddwa?

23. nga tugagerageranyizza ne kuba kulungi okugagerageranya?

24. Okuzikirira kulunaku olwo kwa kutuusibwa ku balimbisa.

25. Abaffe tetwasobozesa ensi okuwumba awamu.

26. Ebiramu n’ebifu?

27. Nga twagisimbamu lugumyansi entumbivu olwo ne tubanywesa amazzi amawoomu?

28. Okuzikirira kulunaku olwo kwa kutuusibwa ku balimbisa.

29. Mugende eri ebyo byemubadde mulimbisa.

30. Mugende eri ekisiikirize ky’omukka ekyawuddwamu ebitundu bisatu.

31. Ekitalina kyekisiikiriza wadde okuziyiza ennimi z’omuliro.

32. Mazima gukasuka ennimi z’omuliro ezaagejja nga olubiri.

33. Ezifaanana eŋŋamiya emyufu.

34. Okuzikirira ku lunaku olwo kwa kutuusibwa ku balimbisa.

35. Olwo olunaku tebalwogererako.

36. Era tebakkirizibwa kuba nga bewozaako.

37. Okuzikirira ku lunaku olwo kwa kutuusibwa ku balimbisa.

38. Olwo lwe lunaku lw’okulaga enjawulo. Tubakuŋŋaanyizza wamu n’abaasooka.

39. Kale bwe muba mulinawo olukwe lwonna mulutuukirize.

40. Okuzikirira ku lunaku olwo kwa kutuusibwa ku balimbisa.

41. Mazima abatya Katonda ba kubeera mu bittuluze n’ensulo (z’eby’okunywa).

42. N’ebibala kw’ebyo bye begomba.

43. Mulye era munywe nga mwekulisa, olw’ebyo bye mubadde mukola.

44. Mazima ffe bwetutyo bwe tusasula abalongofu.

45. Okuzikirira ku lunaku olwo kwa tutuusibwa ku balimbisa

46. Mulye era mweyagaleko katono, mazima ye mmwe abonoonyi.

47. Okuzikirira ku lunaku olwo kwa kutuusibwa ku balimbisa.

48. Era bwe baba balagiddwa nti: ‘Mukutame’, tebakutama (tebasaala)

49. Okuzikirira ku lunaku olwo kwa kutuusibwa ku balimbisa.

50. Kale bigambo bya nnaba ki oluvannyuma lw’ebyo (ebya Qur’an) bye bakkiriza?

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *