Skip to content
Home » 44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)

44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

44. ESSUULA: ADDUKHAN, EKIKOOMI

Yakkira Makkah, Erina Aya 59

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Ha mim.

2. Ndayira ekitabo ekyanjulukufu.

3. Mazima ffe twagissa (Qur’an) mu kiro eky’omukisa era mazima netuba nga ffe tulina okulabula.

4. Muteekululirwamu, buli nsonga erimu omuzinzi mungeri eyamagezi.

5. Nga ekyo ky’ekiragiro ekisibuka gyetuli mazima twali tutekwa kusindika (babaka)

6. Nga bwe busaasizi obuva ewa Mukama Katonda Omulezi wo. Ddala ye wuyo Omuwulizi Omumanyi.

7. Mukama Katonda Omulezi w’eggulu n’ensi n’ebyo ebiri wakati wa byombi. Ssinga mubadde abekkaanya.

8. Mpawo asinzibwa okujjako Ye, alamusa era afiisa ye Mukama Katonda Omulezi wammwe, era ye Mukama Katonda Omulezi wa ba kitammwe abaakulembera.

9. Wew’awo baabo bemalidde mu ky’okubuusabuusa batiguka.

10. Naye ggwe lindirira olunaku eggulu lwe lireeta ekikoomi ekyeyolefu.

11. Nga kibuutikira abantu. Kyekyo ekibonerezo ekiruma.

12. (Bwebatyo ne basaba nti) ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, tujjeeko ekibonerezo (ekyo), mazima ffe tuli bakkiriza!’

13. Baba bafunye kuva wa (mu kaseera ako) okwebuulirira? sso nga mazima nazzikuno yabatuukako omubaka omweyolefu.

14. Bwe baamala baamwabulira era baagamba nti: ‘Oyo mutendeke butendesi nga mulalu.

15. Kale tulina okukendeza ku kibonerezo katono. Naye nga mutekwa mmwe okuddayo (mu kibonerezo)

16. Olunaku lwe tugomba (obwala) olugomba olusukkirivu. Mazima ffe tuba twesasuza.

17. Era twagezesa nga abo tebannabaawo, abantu ba Firawo. Bwatyo yabatuukako omubaka ow’ekitiibwa.

18. (Yabagamba nti:) ‘Mukkirize badde gyendi abaddu ba Katonda. Mazima nze ndi mubaka gyemuli omwesigwa.

19. Era temwekuluntaliza ku Katonda. Mazima nze nnina okubatuusaako eky’okulabirako ekyeyolefu.

20. Era mazima mmaze okwekuumisa Mukama Katonda Omulezi wange era Mukama Katonda Omulezi wammwe obutankuba mayinja.

21. Era bwe muba temunzikirizza nga munvako’.

22. Bwatyo yawanjagira Mukama Katonda Omulezi we nti: ‘Mazima abo be bantu abonoonefu’.

23. (N’alagirwa nti:) ‘Kale wemulule odduke n’abaddu bange ekiro, mazima mmwe muteekwa okuyiggibwa.

24. Era leka ennyanja nga nteefu. Mazima lyeryo eggye eriteekwa okugisaaniramu.

25. Kameka nga baleseewo enkuyanja y’amalimiro n’ensulo z’emigga.

26. N’ebirime n’amaka ettendo.

27. N’ebyengera bye baalimu nga betitiboosa.

28. Bwetutyo twabisikiza abantu abalala.

29. Era tewali lwe byali bibakaabidde eggulu n’ensi era tebaalindirizibwa.

30. Mazima twawonya abaana ba Isirail ebibonerezo ebiwebuuza.

31. Nga bikolebwa Firawo. Mazima yewuyo eyali yetwalira waggulu asukkirizza obwonoonyi.

32. Era mazima twabafuula (abaana ba Isirail) okuba ab’enjwulo nga tukimanyi, okubasukkulumya abantu bonna (ab’omulembe gwabwe).

33. Era twabatuusaako ebimu ku byamagero, ebyo ebirimu okugezesebwa okweyolefu.

34. Mazima abo bagambira ddala nti:

35. ‘Mpawo kirala (kisuubirwa) okujjako okufa kwaffe (kuno) okusooka era tetuli ba kuzuukizibwa!

36. Kale muleete ba kitaffe (abaafa edda) bwe muba mukakasa (bye mutugamba)’.

37. Abaffe abo be basinga obulungi nandiki abantu ba Tubba na bali abaabakulembera. Bonna twabazikiriza! Mazima beebo abaali aboonoonyi.

38. Kale tetwatonda ggulu n’ensi n’ebyo ebiri wakati wa byombi lwa muzannyo.

39. Teriiyo kirala kyabitutondesa byombi okujjako ensonga entufu, kyokka abasinga obungi mubo tebamanyi.

40. Mazima olunaku lw’okusalawo eggoye ky’ekiseera ekyateerwawo abo bonna.

41. Lwe lunaku lwatalinaako kyayamba ow’oluganda olw’okumpi ku nsonga yonna, era beebo abatataasibwa.

42. Okujjako oyo gwaba asaasidde Mukama Katonda. Mazima ye wuuyo Luwangula Ow’okusaasira okw’enjawulo.

43. Mazima ekiddo kya kawumpuli.

44. Kyakulya kyaboonoonyi ekisembayo obubi.

45. Kiringa ekikomo ekisaanuufu (mu kwokya) nga kyeserera mu mbuto.

46. Nga okwesera kw’olweje.

47. ‘Mu mujjeewo era mu muwalule okumulaza mu massekkati ga ggeyeena.’

48. Bwe mumala muyiwe waggulu ku mutwe gwe (kawompo ke) ebimu ku bibonerezo by’olweje.

49. Birozeeko, wew’awo ddala ggwe kirimaanyi ow’ekitiibwa.

50. Mazima byebyo (ebibonerezo) bye mubadde mutakakasa.

51. Mazima abatya Katonda ba kubeera mu butuuze obw’emirembe.

52. Mujjana n’ensulo.

53. Nga bambadde ebimu ku byambalo bya liiri ow’oluwewere ne liiri omugumu nga boolekaganye.

54. bwekityo (nga bwe kiri) era nga tubafumbizza abakyala ab’amaaso ag’endege ameeru (nga eggi essuse)

55. Nga basabirayo buli kika kya kibala (kye baagala) nga bali mirembe.

56. Nga tebafunirayo nate kufa okujjako okufa okwasooka. Bwatyo ya baganga ekibonerezo kya ggeyeena.

57. Nga ky’ekirabo (kyabawa) ekiva ewa Mukama Katonda Omulezi wo. Okwo nno kwekwo okuganyulwa okusukkirivu.

58. Naye mazima (Qur’an) twagifuula ennyangu (nga eri) mu lulimi lwo (oluwalabu) kibasobozese okwebuulirira.

59. Kale ggwe lindirira (bye twakusuubiza) mazima nabo balindirira (ebyabasuubizibwa).

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *