Skip to content
Home » 12. Yusufu

12. Yusufu

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(12) ESSUULA : YUSUFU

Yakkira Makkah, Erina Aya 111 page (89)

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1.Alif. Lam. Ra. Obwo bwe bubonero bw’ekitabo ekinnyonnyofu.

2. Mazima twabussa nga buli mu Qur’an (Ssemusomwa) ey’Oluwalabu musobole okugitegeera.

3. Ffe tukuttottolera ebyafaayo ebisinga obulungi okusinzira kungeri gye twakubikkulira obubaka bwa Qur’an (Ssemusomwa) eyo awamu n’okuba nti mazima obadde olubereberye lwayo (nga tennassibwa) oli wamu naabo abatafaayo.

4. Jjukira Yusufu we yagambira kitaawwe nti: ‘Ssebo taata: mazima nalabye mundoto nga emmunyenye kkumi n’emu n’enjuba n’omwezi, nnabirabye nga binvunnaira!’.

5. Yamulabula nti: ‘Mwana wange, tobuulira endoto yo ku baganda bo nebakwekobaanira okukukola ekibi. Mazima Ssitaani ku muntu ye mulabe ow’olwatu.

6. Era bwatyo bwakwawula Mukama Katonda Omulezi wo era akuyigiriza okuvvuunula endoto era akugemulira mu bujjuvu omukisa gwakuwa n’abeŋŋanda ba Yakubu nga bwe yagujjuliza bataata bo ababiri abaasooka okubeera wo, Ibrahim ne Isihaaka. Mazima Mukama Katonda omulezi wo ye Mumanyi Ssaabalamuzi.

7. Mazima kyalimu ekyafaayo kya Yusufu ne baganda be obubonero obumatiza abo ababibuuza.

8. Jjukira lwe baagamba nti: ‘Mazima Yusuf ne mugandawe (Benyamin) baganzi nnyo ewa kitaffe okusinga ffe, ate nga ffe bangi. Mazima kitaffe (ekyo kye yasalawo) kimussa mu bubuze obw’olwatu.

9. (Baateesa nti: ) Yusufu mumutte oba mu musuule muddungu, olwo kyemalire kummwe (nga abalaga essanyu) ekyenyi kya taata wammwe, nammwe mubeere, oluvannyuma lw’okukola kiri, abantu abalongofu.

10. Yabawa amagezi omuteesa omu eyali mu kibinja kyabwe nti: ‘Yusuf temumutta naye mumuteeke mu nnyanga y’oluzzi olujjudde enzikiza, zibe nga zimulonda ezimu kummomboze nga zitambula makubo gaazo bwe muba munaabaako kyemukola’.

11.Baabuuza nti: ‘Ssebo taata waffe lwaki totwesiga okukuuma Yusufu, ate mazima ffena tulina okuba nti tumubuulirira.

12. Mukkirize ssebo taata agende naffe enkya abe nga yeyagala n’okuzannya, era mazima ffenna tujja kumukuuma’ .

13. Yabaddamu nti: ‘Mazima nze nfuna ennaku nnyingi nga mugenda naye era ntya okuba nti omusege gumulya nga muli eyo mumulagajjalidde’.

14. Baddamu (nga bamukakasa) nti: ‘Ye negumala gumulya omusege ate nga tuli bangi, mazima olwo tuba tufaafaaganiddwa’.

15. Kyokka bwebagenda naye olwo ne basalawo okumussa munnyanga y’oluzzi. Bwetutyo twamubikkulira obubaka obumutegeeza nti: ‘Wew’awo ojja kubategeereza ddala ekikolwa kyabwe ekyo nga nabo tebalina kyebamanyi!’.

16. Olwo baakomawo eri kitabwe akawungezi nga bakaaba.

17. Baamugamba nti: ‘Ssebo taata waffe, mazima twagenze okusindana mu mizannyo nga tulese Yusufu awali entwala yaffe, bwatyo omusege ne gumulya (nga tetuliiwo). Naye olabika obutakkiriza bye tugamba newankubadde tuli ba mazima’.

18. Bwebatyo baametta ekyambalo kye omusaayi ogw’obulimba. Ye yabaddamu nti: ‘Mazima bwegityo bwe gyabapikirizza emitima gyammwe okukola bwemutyo. Kangumire ennaku mungeri ennungi. Era Katonda y’asabibwa obuyambi kwebyo bye mwogera.

19. Bwezityo zaatuuka emmomboze ezaali zitaayaaya kunnyanga y’oluzzi, nebatuma omusenero wabwe n’assaayo endobo ye okusena amazzi. (Yusufu neyekwata ku mugwa gwendobo, omusenero bweyasikayo endobo neemunnyululayo, bwe yamulaba) yagamba nti: ‘Nfuddeko essanyu! Omwana wuuno! Olwo baamutwala munkukutu nga bamufudde ekyamaguzi. So nga Katonda amanyi bulungi byonna bye bakola.

20. Era baamutunda omuwendo ogujjudde obukuusa ogwali Diriham mpawezaaga, era baali tebalina kyebamwetaagako!

21. bwatyo oyo eyamugula nga mutuuze we Misiri yalagira mukyalawe nti: ‘Mulabirire bulungi, yandiyinza okutugasa oba twandimufuula omwana waffe!’. Kale eyo yengeri gyetwafunira Yusufu obutuuze munsi, bwetutyo tube nga tumuyigiriza okuvvuunula endoto. Katonda ye Luwangula kusonga zaaba asazeewo okutuukiriza, wabula abantu abasinga obungi tebakimanyi.

22. Kale bweyatuuka mu kukakata kwe (nga akuze) twamugemulira obulamuzi bw’obwa Nnabbi n’okumanya okw’enjawulo. Era eyo yengeri gye tusasula abakola ebirungi.

23. Bwatyo yatanula okumweperereza omukyala oyo ali mu maka ge amumanye mukyama, era yaggalawo enzigi n’amwegambira nti ‘Jangu nzuno nkwewadde,’ (Yusufu) yaddamu nti: ‘Katonda wange nkuuma! Mazima oli ye Mukama wange eyandabirira obulungi. Ate mazima teriiyo baganyulwa nga bakuusa.

24. Wew’awo Nakyala yasikirizibwa okumanya omulenzi, naye n’atuuka okusikirizibwa okumanya omukyala singa (omulenzi) yali talabye kijjukizo kya Mukama Katonda Omulezi we. Eyo yengeri gye twasobola okumuwugula obutazza musango nakukola byambyone. Mazima yewuyo (Yusufu) ali mu kibinja ky’abaddu baffe abaayawulibwa.

25. Bombi badduka okudda eri oluggi, era (nakyala) yakandula ekyambalo kya Yusufu emabega nekyabulukuka. Bombi nebasanga mukamaawe (bba w’omukyala) ng’ali ku luggi. Nakyala n’abijweteka (mu kwewozaako) nti: ‘Teriiyo mpeera ndala esasulwa oyo ayagadde okusobya ku bantu bo okujjako okumussa munkomyo oba ssi ekyo okumuwa ekibonerezo ekiruma.

26. (Yusufu) yewozaako nti: ‘Yooyo eyatanudde okumperereza!’ Naye waliwo eyaleeta obujulizi nga ava mu bantu be (aba Nnakyala) nti: ‘Ssinga ekyambalo kye (Yusufu) kyayabululwa mberi, olwo aba (omukyala) ye mutuufu nga omulenzi alimba.

27. ‘Ate ssinga ekyambalo kye (Yusufu) kyayabululwa mabega, olwo aba (omukyala) ye mulimba nga omulenzi mutuufu.

28. Kyokka bba (w’omukyala) bwe yalaba nga ekyambalo kye (Yusufu) kyayabululwa mabega, yagamba nti: ‘Zezino zennyini ezimu ku nkwe zammwe (abakyala) Mazima enkwe zammwe ziyitiridde okuba Ssemakwe!’

29. Gwe Yusufu ebyo tobifaako. Era ggwe omukyala wetonde nga osaba okusonyiyibwa ekyonoono kyo. Gwe abadde omusobya. 30. Olwo abakyala bomukibuga baasaakaanya nga boogera nti: ‘Mukyala wa Beene (Aziizi) okusalawo okweperereza omuvubuka we okumwewa, ate nga ekkwaano limuyinze! Mazima ffe tumulaba nga yemalidde mu bubuze ebw’enkukunala.

31. Olwo (Nakyala: muka Beene) bwe yawulira engeri gye bamuyisaamu emimwa yabatumya bagende gyali, era yabategekera aw’okutuula, era buli omu kubo yamukwanga akambe (nebatandika okuwaata), olwo (Nakyala) n’alagira (Yusufu) nti: ‘Fuluma ogende eri abakyala bali!’. Naye bwe baamusimba amaaso yabawuniikiriza nnyo era nebeesala n’emikono gyabwe nga bwe bagamba nti: ‘Woo, Katonda wattu. Ono mubutuufu ssi muntu. Teriiyo ngeri ndala gyatwalibwamu okujjako okubeera Malaika ey’ekitiibwa.

32. Yabategeeza (Nnakyala) nti: ‘Wuuyo nno mwe gwemwabadde munnenyezaako! Era mazima nze nnamuperereza, anneewe, kyokka neyeerema, ate bw’ataasalewo kutuukiriza kyemmulagira ajja kusibirwa ddala munkomyo era ajja kubeerera ddala mwabo abanyomoofu.

33. Yawanjaga (Yusufu) nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, Waakiri okusibwa naye nessituukiriza ebyo bye bamperereza okukola. Ate bwotonsimattule Ai Mukama kuwona nkwe zabwe, nnaalituuka okubeegwanyiza, olwo ate nemberera ddala mwabo abatategeera.

34. Kale yayanukula Mukama Katonda Omulezi we okusaba kwe (okusaba kwa Yusufu) era yamusimattula enkwe zabwe. Mazima ye wuyo Omuwulizi Omumanyi.

35. Oluvannyuma baasalawo nga bamaze okwolesebwa ekituufu, okuba nga amusibira ddala munkomyo okumala ekiseera.

36. Era baayingirira wamu naye ekkomera abavubuka, babiri. Omu n’amulootorera nti: ‘Mazima nnalabye mundoto nga nsogola akagonja!’ N’omulala n’amulootolera nti: ‘Mazima nnalabye mundoto nga ntisse omugaati ku mutwe gwange ate nga ennyonyi zigubojja! Tuvvuunulire amakulu g’endoto ezo mazima ffe tukulaba nga oli mwabo abalongofu’.

37. Yaddamu nti: ‘Tekijja mwembi kubaleeterwa eky’okulya kye mugabirirwa okujjako nga nnamaze dda okubavvuunulira amakulu gabyo. Ebyonno mwe kambategeeze, byebimu kwebyo bye yanjigiriza Mukama Katonda Omulezi wange. Mazima nze nnayabulira enzikiriza (eddiini) y’abantu abatakkiririza mu Katonda era nga bebo abeemalidde okuba nga enkomerero ba giwankanya.

38. bwentyo nnagoberera enzikiriza (Eddiini) ya bajjajja nge: Ibrahim ne Isihaaka ne Yakuubu. Ffe tekitugwanirangako kuyimbagatanya ku Katonda kisinzibwa kirala kyonna. Ogwo gwe mukisa gwa Katonda gwe yatuwa era gweyawa n’abantu abalala (abatamuyimbagatanyako bisinzibwa birala) wabula abantu abasinga obungi tebasiima.

39. Basibe bannange mwe ababiri. Abaffe abo balubaale abatalina ngeri yonna gyebakwataganamu be babasingira obulungi nandiki Katonda Allah Asinzibwa Omu Yekka nga ye Mukasi wa buli kintu?

40. Tewali kirala kyemusinza nga Yye mu mutadde ku bbali okujjako amannya obunnya ge mwegunjizaawo mmwe ne bajjajjammwe. Ebyo teriiyo bujulizi butuufu Katonda bwe yabissaako. Tewali bulamuzi bulala bugobererwa okujjako obwa Katonda. Ye yassaawo ekiragiro ekiragira nti: Tebangayo ekirala kye musinza okujjako Yye, yekka! Yeyo enzikiriza (Eddiini) y’obutuukirivu wabula abantu abasinga obungi tebakimanyi.

41. Basibe bannange mmwe ababiri; Omu ku mmwe wa kunywesa mukama we obugonja, ate omulala alibambibwa ku musaalaba, ebinyonyi nebituuka okumubojja mu mutwe (Nga yafa dda). Ekyo kye kyasalibwawo kye mubadde mu nneebuuzaako okukibannyonnyola amakulu gakyo.

42. Bwatyo yasaba oli gwe yasuubira nti ye w’okuwona ku bombi nti: ‘Onjogerangako nga oli ewa Mukama wo!’ Kyokka Ssitaani yamwelabiza n’atamwogerako nga ali ewa Mukama we, bwatyo n’amala mu kkomera emyaka ejaawera.

43. Olwali olwo Kabaka n’agamba nti: ‘Mazima nnalabye mundoto nga ente musanvu ezaasavuwala zirya zinnaazo musanvu enkapawavu, era n’ebirimba musanvu ebya kiragala, n’ebiralala bwebityo ebikalu! Bannange mwe abakungu; munzivuunulire amakulu g’endoto yange, bwemuba ebirooto mumanyi okubivvuunula!’.

44. Baamuddamu nti: ‘Okwo kulogootana kwa ndoto! Era ffe eby’okuvvuunula endoto tewali kyetubimannyiiko.

45. Olwo oli eyawona (okufiira mukkomera) ku bavubuka bombi n’agamba, bwe yajjukira nga wayise ekiseera nti: ‘Nze nja kubategeeza amakulu gayo (endoto) kale mundeke ngende.

46. Gwe Yusufu munnange ow’omukwano, tuvvuunulire (ekirooto kya) ente musanvu ensava nga zirya zinnaazo musanvu enkapa, n’ebirimba musanvu ebyakiragala n’ebirala bwe bityo bikalu, kinsobozese okuddayo mu bantu, nabo basobole okumanya amakulu gayo.

47. Yamuddamu nti: ‘Mulina okusiga mu myaka gya ttoggo musanvu egiddiŋŋana. Bye muba mukungudde mu bireke mu bisusunku byabyo nga mujjeeko ebitono bye mulyako.

48. Oluvannyuma lw’ekyo gijja kutuuka emyaka gy’ekyeya musanvu emizito ennyo egy’okuwemmenta byemwagitegekera nga mujjeeko ebitono byemulisiga.

49. Ebyo nga biwedde wajjeyo oluvannyuma lw’ekyo omwaka (gwa ttoggo) abantu mwe balifunira namuttikwa w’enkuba era gwe balisogoleramu omubisi’.

50. Bwatyo Kabaka yalagira nti: ‘Mumundetere wano!’ Naye omubaka wa Kabaka bweyatuuka awali Yusufu, yamugamba nti: ‘Ddayo eri Mukama wo omubuuze ekyaviirako abakyala okwesala emikono gyabwe. Mazima Mukama Katonda Omulezi wange enkwe zabwe zonna azimanyi nnyo.

51. Bwatyo (Kabaka) yabuuza (abakyala) nti: ‘Mwasinzira kuki bwe mwasalawo okudda ku Yusufu okumuperereza?’ ‘Bonna baddamu nti: ‘Aga Katonda eyatukuuma obutagwa munsobi! Tewali kibi kyetwali tutegedde ekimukwatako!’ Olwo nnakyala muka beene (mu ka Aziizi) n’akkiriza nti: ‘Kaakano amazima geeyerudde!’ Nze nnatanula okumuperereza anneewe. Era amazima gennyini yye ye mutuufu’.

52. Ekyaviirako ekyo kimusobozese (Kabaka) okumanya nti, nze ssimukumpanyangako munkukutu, n’okuba nga mazima Katonda taluŋŋamya nkwe za bakumpanya.

53. Era ssetukuza bwetukuza, mazima omwoyo gwayinga okulagira ebikyamu, okujjako ekyo kyaba asonyiye Mukama Katonda Omulezi wange. Mazima Mukama Katonda Omulezi wange ye Musonyiyi Omusaasizi.

54. Bwatyo Kabaka yalagira nti: ‘Mu mundetere mmufuule ow’enjawulo kw’ebyo ebinkwatako’ Bweyamala okwogeranya naye yamutegeeza nti: ‘Mazima ggwe kaakano muffe oli wa kulusegere omwesigwa!’.

55. Yusufu yamusaba nti: ‘Nfuula omuyima w’eggwanika ly’ensi eno, mazima nze ndi mukuumi w’eggwanika kayingo ategeera obulungi eky’okukola!’.

56. Kale eyo y’engeri gye twafunira Yusufu obutuuze obukuukuutivu munsi, nga asobola okulaga yonna gyayagadde. Bwetutyo bwetutuusa obusaasizi bwaffe kwoyo gwe twagala era tetugaana kusasula mpeera y’abo abalongosa.

57. Sso nga empeera esasulwa ku nkomerero y’eyenkizo eyategekerwa abo abakkiriza, era abaali batya Katonda.

58. Kale bwe baatuuka baganda ba Yusufu baayingira gyali, bwatyo yabamanya nga bbo bamwewakana.

59. Bwe yamaliriza okubateekululira emiteeko gyabwe, yabalagira nti: ‘Mukomangawo ne muganda wammwe (Beniyamin) gwe mugatta naye kitammwe! Ye ate temulaba engeri mazima gyentukiriza empima y’emirengo? Era nze nsingayo okwaniriza obulungi abagenyi.’

60. Kyokka bwemutaakomewo naye, olwo tewaliba mulengo gwemufuna wange era temusembera nga!’.

61. Baamuddamu nti: ‘Tujja kuperereza kitaawe okumutuwa (tumuleete) era ekyo mazima tujja ku kikola’.

62. bwatyo yalagira abalenzi be nti: ‘Musonseke ensimbi zabwe ze basasudde muntwala yabwe, oba olyawo banaazitegeerera eyo nga bazzeeyo mu bantu babwe, ekyo kyandibasikiriza okukomawo!.

63. Kale bwe baddayo ewa kitaabwe baamutegeeza nti: ‘Taata waffe ssebo, twalabuddwa okummibwa omulengo, n’olw’ekyo kkiriza tuddeyo ne muganda waffe, kitukkirizise okuweebwa omulengo, era mazima tujja kwewaayo okumukuuma!’.

64. Yabaddamu nti: ‘Abaffe, waliwo engeri endala gyembesiga okubeera naye nga ojjeeko engeri gye nnabeesiga luli lwe mwali nemuganda we? Kale Katonda yaalina enkizo esinga obulungi mu bukuumi, era ye wuyo Omusaasizi asinga enkizo mu basaasizi!’

65. Kale bwe baasumulula entwala yabwe, baasanga ensimbi zabwe zaabaddizibwa. N’ebamutegeeza nti: ‘Ssebo taata, teriiyo kirala kyetwetaaga. Kati nno ziizino ensimbi zaffe zaatuddizibbwa. Era zetujja nate okufunamu emmere y’abantu baffe, okwo nga kwotadde okukuuma muganda waffe n’okufunayo ennyongeza ya mugugu gwa ŋŋamiya mulamba. Ogwo guba mulengo mutono’. (tegumuzitoowerera kugutwongeza).

66. Yabaddamu nti: ‘Ekyo kafuuwe okumuleka okugenda nammwe, mpozzi nga mumaaso gange mundayirira Katonda nti mutekwa okukomawo naye gyendi, okujjako bwe muba mufunye okuzindukirizibwa. Bwebaamala okumwanjulira ebirayiro byabwe, yaddamu nti: ‘Katonda, bino bye mwogera yabyeyimiridde!’.

67. Bwatyo yababuulirira nti: ‘Baana bange, temuyingirira mu mulyango gumu. Bwemutyo muyingirire mu miryango myawukamu. Naye teriiyo nsonga gye nsobola kubawonya. Teriiyo bulamuzi okujjako obwa Katonda. Yekka gwenneesigamidde. Era yekka gwe baba beesigamira abo abeesigama!’.

68. Kale bwe baayingirira eyo gye yabalagira kitaabwe (okuyingirira) ekyo kyali tekirina kintu kyekibawonya ekiva ewa Katonda kunsonga yonna okujjako okutuukiriza ekyo ekyali kyettanirwa mu mmeeme ya Yakuubu (nga ababuulirira) ebbanga lye yamala. Kale mazima yewuyo omusuffu mu kumanya olw’engeri gyetwamumanyisa. Kyokka abasinga obungi be bantu abatamanyi.

69. Kale bwe baayingira eri Yusufu, yawenya mu kaama ku muganda we nga amugudde mu kifuba, n’amugamba nti: ‘Mazima nze mugandawo era tosaana kwennyamira olw’ebyo bye baali bakola’.

70. Olwo bwe yamala okubateekululira emiteeko gyabwe, yassa ensumbi mu ntwala ya mugandawe, ekyo bwe kyaggwa omulangirizi yalangirira nti: ‘Bantu mmwe abagenda, mazima mukwatiddwa nga muli babbi!’

71. Baababuuza nga nabali bwe babasemberera nti: ‘Kiki kyemubuliddwako?’

72. Baabaddamu nti: ‘Tetulaba kyombo kya Kabaka. Era oyo anaakizza (nga tamaze kwazibwa) waakufuna ekirabo ky’obulonzi kya mugugu gwa ŋŋamiya mulamba. Era ekyo nze nkyeyimiridde okukituukiriza!’.

73. Baabaddamu nti: ‘Aga Katonda muggulu! Mazima mukimanyidde ddala nti tetwajja eno kukola ffujjo munsi era ffe tetubangako babbi’.

74. Baababuuza nti: ‘Kale anaasasulwa ki, ssinga mubadde balimba?’.

75. Baabaddamu nti: ‘Ekimusasulwa oyo yenna ow’entwala esangibwamu, nga eyo y’empeera ye!’ Eyo y’engeri gye tusasula abakuusa.

76. Olwo n’atandikira (okuwenja) ku ntwala zabwe nga tannatuuka ku ntwala ya mugandawe, oluvannyuma yakikukunula muntwala ya muganda we. Engeri eyo gye twasobozesa Yusufu okusala amagezi. Tewaaliyo luwenda lulala lumusobozesa kutwala muganda we mu lubiri lwa Kabaka okujjako olw’okwagala kwa Katonda. Tusitula amadaala g’oyo gwe twagala. Ate buli waggulu w’omumanyi eriyo asinga okumanya.

77. Baddamu nti: ‘Bwaba (oyo) mubbi (tekyewunyisa), mazima ne muganda we yali mubbi!’. Ekyo Yusufu n’akikweka mu mmeeme ye obutakibaatuukiriza. Yabagamba bugambi nti: ‘Mwe musingayo obubi mwabo abali wano, era Katonda y’asinga okumanya ebyo byemusamwassamwamu.

78. Baamugamba nti: ‘Ssebo ow’ekitiibwa, oyo mazima alina kitaawe muzeeyi akaddiye, waakiri twala omu kuffe mu kifo kye. Mazima ffe tukulaba nga oli mwabo abalongosa.

79. Yabaddamu nti: ‘Nnewogoma eri Katonda okunkuuma obutatwala mulala yenna okujjako gwe tuba tusanze n’ebintu byaffe. Olwo ffe mazima tuba balyazamanyi!’.

80. Bwe baggwamu essuubi ly’okumununula, baddayo nga beewuunaganya. Mukulu wabwe n’abategeeza nti: ‘Naye temukimanyi nti mazima kitammwe yabakozesa dda endagaano ezaaliko ebirayiro bya Katonda nga n’olubereberye (waliyo bye) mwakijjanya Yusufu? Nze sijja kubaako gyendaga, okutuusa nga kitange anzikirizza, oba ssi ekyo Katonda okubaako kyansalirawo. Era yoyo asinga obulungi mu balamunzi!’.

81. Mwe muddeeyo eri kitammwe era mu mutegeeze nti: ‘Ssebo taata, mazima omwana wo (Benyamin) yabbye, era teriiyo bujulizi bulala bwetuwadde okujjako obwo bwe twamanya. Era teriiyo kyama kyetukukisa!’.

82. Kale gwe buuza ekyalo gye twabadde, nekibinja ky’abasuubuzi kye twayita nakyo (nga tujja), kale ffe tuli ba mazima.

83. Yabaddamu nti: ‘Mubutuufu emitima gyammwe ekintu ekyo kye gyabasikirizza okukola! Kangumire ku bugumiikiriza obulungi! Kyaddaaki Katonda anabandetera bombi. Mazima yewuyo Omumanyi ennyo Ssabalamuzi.

84. Olwo naava webali era n’atema omulanga nti: ‘Yaaye nga ensusseeko ennaku ya Yusufu, era nezitwakaala emmunye z’amaaso ge zombi, olw’ennaku (eyamuyinga) era nga ayinze okufuna ekituyi.

85. Baamugamba nti: ‘Aga Katonda, walemererwa okwerabira Yusufu, ekyo kikuviireko okufuuka ekikulekule, oba otuuke okubeera mu bazikirira!’

86. Yabaddamu nti: Ndaba kyenkola kwe kusinda ennaku yange n’obuyinike bwange eri Katonda, era waliwo byemmanyi okuva ewa Katonda mwe byemutamanyi!’,

87. (N’abalagira nti): ‘Baana bange, mugende muyandaze Yusufu yonna gyali ne mugandawe. Era temuggwamu ssuubi lya kuteewuluza kwa Katonda, okujjako abantu abajeemu (be batalina ssuubi).

88. Kale bwe baayingira gyali (Yusufu) baamugamba nti: ‘Ssebo ow’ekitiibwa, twazindibwa n’abantu baffe enjala kakutiya, ate tuzze n’obusimbi mpawebwaga, kale tugerekereyo omulengo omujjuvu, era obeeyo ky’otusaddaakira. Mazima Katonda asasula nnyo abasaddaasi.

89. Yababuuza nti: ‘Abaffe, mwamanya bye mwakola Yusufu ne muganda we awo bwe mwali temutegeera?’.

90. Baamubuuza nti: ‘Yeggwe wuyo Yusufu?’ Yaddamu nti: ‘Nze Yusufu, era ono ye muganda wange. Mazima Katonda yatubunduggulako emikisa gye. Ekikulu kiri nti oyo yenna atya Katonda, era agumiikiriza, mazima Katonda tattattogge mpeera y’abalongosa’.

91. Ne bamwetondera nti: ‘Aga Katonda muggulu Katonda akutuggwikirizza. Mazima eyo ensobi gye twakola ya nnamutta’.

92. Olwo yabagumya nti: ‘Mpawo kwesasuzibwa kwe munatuukako leero, Katonda (tumusaba) asonyiwe ensobi zammwe ezaayita’.

93. (Yabatuma nti): ‘Muddeeyo nensumikwa yange eno mugiteeke kukyenyi kya kitange addemu nate okulaba, bwemumala mundetere abantu bammwe bonna!’.

94. Kale bwekyamala okwesuulako akabanga ekibinja ky’abasuubuzi (nga kivudde ewa Yusufu), kitaawe (Yakubu) n’agamba nti: ‘Amazima gennyini, kati nkonga akawoowo ka Yusufu, mwe bwemutadde awo kunzolesa!’.

95. Baamuddamu nti: ‘Aga Katonda muggulu, mazima okyalemedde gye wazaayira obwedda!’

96. Naye bweyatuuka oyo ow’amawulire amalungi, yagissa (ensumikwa) ku kyenyi kye bwatyo naddamu okulaba. Yababuuza nti: ‘Ssabagamba wano nti ‘Mazima nnina byemmanyi mwe byemutamanyi?’.

97. Baddamu nti: ‘Ssebo taata waffe, tusabire okutusonyiwa ebibi byaffe, mazima ffenna twali munsobi ddala!’

98. Yabaddamu nti: ‘Nja kwegayirira Mukama Katonda Omulezi wange okubasonyiwa, mazima ye wuyo Omusonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

99. Kale bwe baayingira bonna eri Yusufu. Yayaniriza nga asembeza okudda gyali bazadde be bombi, era yagamba nti: ‘Muyingire ekibuga Misiri- Katonda bwaba ayagadde – nga muli mirembe!’

100. Olwo yatuuza bazadde be bombi waggulu ku Nnamulondo. Era baavunnama ku ttaka nga bamuwa ekitiibwa. Olwo n’agamba nti: ‘Ssebo taata; gegano amakulu g’endoto yange eyaliwo edda. Ddala Mukama Katonda Omulezi wange agisobozesezza okutuukirira mu mazima. Ate mazima yampisa bulungi (Mukama Katonda Omulezi wange) bweyanfulumya mu kkomera, era abaleese okubajja mu masosso, nga Ssitaani emaze okufuuka nattabula wakati wange ne baganda bange. Mazima Mukama Katonda Omulezi wange ye Mugondeza w’ebyo byayagala. Ye wuyo Mwene Omumanyi Ssabalamuzi!’,

101. Ai Mukama Katonda Omulezi wange, mazima ongemulidde obumu ku bufuzi, era onjigirizza ebimu kwebyo ebinnyonnyola ebigambo ebizibu. Ggwe Kagingo w’aggulu n’ensi, Oli Mulabirizi wange munsi n’enkomerero. Nkwegayirira otuuke okuvumbagira entunnunsi zange nga (ndi musiraamu) nkyagondera amateeka go era onnyunge ku luse lw’abalongosa!’

102. Ago ge gamu ku mawulire ag’enkiso getukubikkulira ogamanye. Kale tewetabangako nabo ekiseera we bakkiriziganyiza okutuukiriza entegeka zabwe, nga bali mu kuyisa enkwe.

103. Era tekisoboka abantu abasinga obungi, ne bwofaayo ennyo, kuba bakkiriza.

104. Sso nga teriiyo mpeera gy’obasaba lwa kugibayigiriza (Qur’an). Terina ngeri ndala gyebalibwamu okujjako okubeera enzijukizi y’abantu b’ensi yonna.

105. Naye nga ebyewuunyisa nfafa ebiri muggulu n’ensi bye bayitako kkuutwe nga tebabifaako!’. 106. Era tebakkiriza Katonda abasinga obungi mu kibinja kyabwe okujjako ate nga bayimbagatanya ebirala.

107. Abaffe balinawo engeri gyebeesize okuwona ekipempe ky’ekimu ku bibonerezo bya Katonda, oba ssi ekyo, okuba nga batuukibwako essaawa envannyuma mu kibwatukira nga nabo tebamanyi?

108. Ggwe bategeeze nti: ‘Lino ly’ekkubo lyange (lyenkwata), nkowoola abantu okudda eri Katonda nga nneeyambisa omulamwa ogwannamaddala, nze kennyini n’oyo angoberera. Kale Katonda asinzibwa Allah atenderezebwa! Era nze ssiberangako mu luse lwa basamize!’.

109. Kale teriiyo betwali tutumye olubereberye lwo okujjako abasajja betubikkulira obubaka, nga ajjibwa mu bamu kubatuuze b’ebibuga. Abaffe kiki ekyabalemesa okuyitaayita munsi neberolera engeri gyeyalimu enkomerero ya bali abaaliwo olubereberye lwabwe? Wew’awo amaka kiwamirembe ag’oluvannyuma gankizo mu bulungi, gategekerwa abo abatya Katonda! Abaffe mulemeddwa okutegeera?.

110. Ekiseera bwe kituuka ababaka nebaggweramu ddala essuubi (ery’okugobererwa) era nebafumintiriza mummeeme yabwe nti mazima baweddeyo okulimbisibwa mu byonna, olwo netuwonya oyo gwe twagala, ate nga tekakugirwa akacwano kaffe obutatuuka ku bantu bonoonyi!

111.“Mazima byalimu ebyafaayo byabwe (ba nnabi) eby’okuyigirako eri abo abakozesa obwongo. (Qur’an) Tebibangako bigambo bijweteke, wabula okukakasa ebyo by’esanzewo wamu n’okuteekulula emiramwa gya buli nsonga, era obuluŋŋamu n’obusaasizi ebyayawulirwa abantu abakkiriza.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *