Skip to content
Home » 4. AN – Nisa (Abakyala)

4. AN – Nisa (Abakyala)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” hover_enabled=”0″ custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal (Eminyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

4. ESSULA : AN-NISA ‘ABAKYALA’.

Yakkira Madiina, Erina Aya 176

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Abange mmwe abakkiriza, mutye Mukama Katonda Omulezi wammwe oyo eyabatonda nga abajja mu muntu omu. olwo n’amutondamu mukyala we era n’asaasaanya nga ajja mu bombi abasajja bangi n’abakyala. Kale mutye Katonda oyo gwemusabisa gattako abeŋŋanda. Mazima Katonda ebibakwaatako byonna ye Mulondoozi wabyo.

2. Era muwe ba mulekwa emmaali yabwe. Era temuwanyisa ekibi mu kirungi. Era temulya emmaali yabwe nga muyita mu kugitabiikiriza ku mmaali yammwe. Ogwo mazima guba musango munene.

3. Bwemuba mutidde obutasobola kwenkanyankanya mu bamulekwa, kale muwayire abo ababa babalabikidde obulungi abamu ku bakyala abalala; nga babiri oba basatu oba bana. Era bwemuba mutidde obutenkanyankanya, abeere omu yekka, oba abo begirinako obufuzi emikono gyammwe egyaddyo. Ekyo kyekyokumwanjo ekibatangira okwekubiira.

4. Era muwe abakyala omutwalo gwabwe ogubasasula nga ky’ekirabo kyabwe eky’obwebange, naye bweguba gulungiye gyemuli omutima, kwekyo kyonna ekigutoolebwako, mukirye nga muli basanyufu temwekengera.

5. Era temuwa abalina obunafu mu kutegeera emmaali yammwe eyo Katonda gye yabakwasa okuba abayima bayo, naye mubagabirire eby’okulya ebiva muyo era mubambaze era mu bagambe ebigambo ebirungi.

6. Era mugezese ba mulekwa okutuusa lwe batuuka okuba abafumbo. Kale bwe mubalabamu okukakata mu bwenkamunkamu mubaddize emmaali yabwe, era temugiriisa obudiibuuzi n’okwanguyiriza okugimalawo baleme kugisangawo nga bakuze. Kale oyo abeera omugagga agyongeremu bwongezi era oyo abeera omwavu akosesaako mungeri ennungi. Naye bwemuba mubaddizza emmaali yabwe muteekeewo abanaabawaako obujulizi, era Katonda amala bumazi okuba nga ye Mubalirizi.

7. Abasajja bafuna omugabo kwebyo bye balese abazadde bombi n’abeŋŋanda, n’abakyala bafuna omugabo kwebyo bye balese abazadde bombi n’abeŋŋanda, kwebyo byonna byebalese ka bibeere bitono oba bingi. Ogwo nga gwe mugabo omugereke. 8. Era bwe baba babaddewo mu kugabanya eby’obusika, ab’eŋŋanda ne ba mulekwa n’abanaku mu bagabireko ekintu kyonna mubyo, era mubagambe ebigambo ebirungi.

9. Kale batye nnyo abo ababa nti ssinga bbo bennyini be baleseewo emabega wabwe abazzukulu abatanneesobola beeraliikirira nnyo embera yabwe gyebabaleseemu. Kale batye Katonda era boogere ebigambo by’obuvunanyizibwa.

10. Mazima abo abalya emmaali ya bamulekwa mu bulyazamanyi mazima ogwo muliro gwennyini gwebassa mu mbuto zabwe. Era baakuyingira nnabbambula.

11. Katonda abalaamira eby’obusika by’abaana bammwe. Omulenzi atwala omugabo ogwenkana egy’abawala babiri. Bonna bwe baba bawala, nga babiri n’okusingawo batwala bibiri bya kusatu kwebyo bye yaleka. Bwaba omuwala omu, atwala kimu kya kubiri. Olwo bazadde be bombi, buli omu atwala kimu kya mukaaga kwebyo bye yaleka, bwaba yalina omwana. Kyokka bwaba teyalina mwana, nga bazadde be bombi be bamusikidde, olwo maama we atwala kimu kya kusatu. Ate bwaba yalina ab’oluganda olwo maama we atwala kimu kya mukaaga nga mu maze kuggibwamu kiraamo kye yalaama oba ebbanja. Bazadde bammwe n’abaana bammwe temumanyi ani mubo asinga okuba ku mwanjo gyemuli mu migaso. Ogwo gwe mugabo ogugerekeddwa oguva ewa Katonda. Mazima Katonda ye Mumanyi Kalimagezi.

12. Era mutwala kimu kya kubiri kwebyo bye balese bakyala bammwe bwe baba tebalina mwana. Naye bwebaba balese omwana mwe mutwala kimu kyakuna kwebyo byebalese nga mumaze kuggibwamu kiraamo kye yalaama oba ebbanja. Ate bannamwandu bafuna kimu kyakuna kwebyo bye mulese bwe muba temubadde na mwana. Naye bwe muba mulina omwana, bbo batwala kimu kya munaana kwebyo bye mulese, nga mumaze kuggibwamu kiraamo kye mwalaama oba ebbanja. Ate bwekiba nti omusajja asikirwa musulube, oba omukyala (asikirwa omusulube) nga alese mwannyina omubbeere, oba mugandawe (omubbeere), buli omu ku bombi atwala kimu kya mukaaga. Bwe baba bangi okusukka ku babiri, olwo (bonna) beegattira ku kimu kya kusatu, nga mumaze kuggibwamu kiraamo ekyalaamibwa oba ebbanja nga ssi bikyamu. Ekyo kye kiraamo ekikakasiddwa ekiva ewa Katonda. Era Katonda ye Mumanyi Oweekisa.

13. Ago ge mateeka ga Katonda n’omubaka we. Era oyo yenna agondera Katonda n,Omubakawe amuyingiza ejjana ekulukutiramu wansi wayo emigga, ba kubeera omwo lubeerera. Kale okwo kwe kuganyulwa okuyitirivu.

14. Era oyo ajeemera Katonda n’Omubaka we era n’asukka ensalo ze, amuyingiza omuliro ogw’okubeeramu olubeerera. Era atuusibwako ekibonerezo ekimuweebuuza

15. Kale abo abakola eby’obukaba nga be bamu ku bakyala bammwe, mu baleetere ababawaako obujulizi nga bali bana abava mu mmwe. Bwe baba bawadde obujulizi, olwo nga (abakyala) mu basibira mu mayumba okutuusa okufa lwe kubatuukako oba ssi ekyo nga Katonda abateerawo oluwenda olulala.

16. Ate abo ababikola nga be bamu ku basajja bannammwe nga babiri, mubayise bubi. Bwebaba benenyezza nebalongosa emirimu, mu baveeko bombi (mukomye awo okubayisa obubi). Mazima Katonda ye yenenyezebwa Ow’okusaasira okwenjawulo.

17. Mazima okwenenya okwannamaddala okubalibwa ewa Katonda kwekwabo abakola ekibi nga tebamanyi ate nebenenyezaawo mangu nnyo. Kale abo Katonda akkiriza okwenenya kwabwe, era nekiba nti Katonda ye Mumanyi Kalimagezi.

18. Naye okutabalibwa nti kwenenya okwannamaddala kwekwabo abakola ebibi okutuusa lw’atuukira ddala omu kubo okufa n’alyoka agamba nti: ‘Mazima nneenenyezza kaakano!’ newankubadde abo abafa nga balemedde mu bujeemu. Abo twabategekera ekibonerezo ekiruma.

19. Abange mwe abakkiriza, temukkirizibwa kusikira bakyala lwampaka. Era temubapaatiikako “nkusibidde awo’ kiryoke kibasobozese okutwala ebimu kwebyo bye mwabawa, okujjako nga bakoze eby’obukaba ebiriko obujulizi. Muwangale nabo mungeri ennungi kyokka bwe muba mubatamiddwa, kale oba olyawo ne mutamwa ekintu ate Katonda mwakusise ebirungi nfafa.

20. Bwe muba mwagadde okussa omukyala mukifo ky’omukyala omulala era nga mwawa omu kubo amakula temugajjaako kintu kyonna ne mukitwala. Abaffe mwagala kugatwazisa bulimba n’obukuusa obw’enkukunala?

21. Ye mugatwala mutya, nga mazima omu kummwe yamala dda okumalirayo munne omukwano, era nga abakyala baabakozesa dda endagaano ennywevu?

22. Era temugeza okuwasa abo abakyala bakitammwe be baawasaako, nga ojjeeko enkola eyaliwo needibizibwa. Mazima obwo bwali bukaba era mantambutambu era nga lya kivve ekkubo eryo.

23. Baba baamuziro gyemuli ba maama bammwe ne bawala bammwe ne bannyinammwe neba ssengammwe ne baganda ba bamaama bammwe ne bawala ba mugandawo ne bawala ba mwannyoko ne bannyammwe abo abaabayonsa ne bannyinammwe mu kuyonsebwa neba maama ba bakyala bammwe ne bawala bammwe abajjanannyina, abo ababeera mu bisenge byammwe, nga baazaalibwa bakyala bammwe, abo be mwegatta nabo. Naye bwemuba temwegatta nabo tewabaawo musango gwe mufuna. Era (ba muziro gye muli) abakyala ba batabani bammwe abo abasibuka mu migongo gyammwe, era n’okugattika abakyala ab’oluganda ababiri, nga ojjeeko enkola eyaliwo n’edibizibwa. Mazima Katonda naaba nga ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

24. N’abakyala abafumbo (ba muziro gyemuli) nga ojjeeko abo begifuga emikono gyammwe egyaddyo. Ago ge mateeka ga Katonda g’abakakasaako. Kyokka mukkirizibwa abo bonna abali emabega wabo. Mulina okwesiimira nga muwaayo emmaali yammwe, abakyala abakkakkamu nga ssi ba malaaya. Kale abo be musazeewo okweyagala nabo mu bufumbo mu basasule omutwalo gwabwe ogubawasa, eryo nga ly’etteeka eririna okutuukirizibwa. Kyokka ssi kibi gyemuli okuba ne byemutegeeraganako ebirala nga eky’etteeka kiwedde. Mazima Katonda naaba nga ye Mumanyi Kalimagezi.

25. Era oyo yenna mummwe alemererwa okusasula omutwalo ogw’okuwasa abaana ba boobo abakkakkamu abakkiriza, kale asiime ku bazaana abo abafugibwa emikono gyammwe egyaddyo nga bakkiriza. Kale Katonda yasinga okumanya enzikiriza yammwe okusinga mwe bwemumanyi abamu kummwe. Kale mubawase olw’okukkiriza kwa bantu babwe (abalina obuyinza okubafumbiza) era mubasasule omutwalo gwabwe ogubawasa mungeri ennungi. Bateekwa kuba bazaana bakkakkamu nga ssi bamalaaya oba abo abatwalira amaaso mungalo. Bwebaba bafunye obufumbo obutuufu, ate nebava awo nebakola eby’obukaba olwo babonerezebwa ekibonerezo ekisalira mu makkati g’ekyo ekyaliweereddwa omukyala omwana wa boobo (ssinga ye yakola eby’obukaba). Eyo y’enkola egobererwa oyo eyeewaze okugwa munsobi mummwe. Naye bwemusalawo okugumiikiriza (Nemutawasa bazaana) kyekisinga obulungi gye muli. Era Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

26. Katonda ayagala okubannyonnyola era abaluŋŋamya mu mpisa z’abo abaabakulembera, era akkiriza okwenenya kwammwe. Era Katonda ye Mumanyi Kalimagezi.

27. era Katonda kyayagala kwekukkiriza okwenenya kwammwe. Ate nga kyebaagala abo abagoberera obwagazi obwamalala kwekuba nga mwekubiira olwekubiira olunene.

28. Katonda ayagala kubateewuluza. Era omuntu yatondebwa nga munafu.

29. Abange mmwe abakkiriza temulya emaali yammwe olw’ensonga eziri wakati mummwe nga mmweyambisa obukuusa, okujjako ng’ebadde ya busuubuzi mmwe gye mutegeeraganyeko mu kwesiimira. Era temwettiŋŋana mwekka na mwekka. Mazima Katonda gyemuli ye w’okusaasira okwenjawulo.

30. Oyo yenna akola ekyo obw’empalana n’obulyazamannyi tujja ku musonseka mu muliro, era ekyo ku Katonda kyangu.

31. Ssinga mwewala agasango agannaggomola ago ge muziyizibwa, tuba tubateewuluzaako ensobi zammwe era netubayingiza mu kifo ky’ekitiibwa.

32. Era temwegomba ebirungi ebyo Katonda bye yagemulira abamu mummwe n’abissaamu enkizo okusinga eby’abalala. Abasajja omugabo bagufuna kwebyo byebaakola olubereberye n’abakyala omugabo bagufuna kwebyo byebaakola olubereberye. Era Katonda mumusabe ebimu kubirungi bye. Mazima Katonda buli kintu ye Mumanyi wakyo.

33. Kale buli omu twamuteerawo abasika abasiŋŋana mu madaala, nga be basikira ebyo byebalese abazadde bombi n’abeŋŋanda. N’abo be mwatta nabo omukago mubawe omugabo gwabwe (olw’okukuuma endagaano y’omukago). Mazima Katonda buli kintu ye Mujulizi wakyo.

34. Abaami be bayima b’abakyala, ekyo kisinziira ku birungi ebimu Katonda bye yassaamu enkizo n’abigabira abamu ku bannaabwe, era n’olwebyo bye basasula nga bajja mu mmaali yabwe (abaami). Abakyala balina kubeera balongofu, bagonvu, bakuumi ba byama olw’ebyo (eby’obuvunanyizibwa) Katonda bye yabakuumisa. Kyokka abo bemweraliikirira okuba ab’amawaggali mubabuulirire, bwe mumala mubasenguke mu kumanya nabo omukwano, bwe mumala mubakube. Naye bwebaba babagondedde mukomye okubakijjanya nga mukozesa oluwenda lwonna. Mazima Katonda ye Waawaggulu Omusukkirivu obunene.

35. Bwemuba mutidde embera yabwe okusajjuka n’eyabulukuka wakati wabwe, kale musindike omutawuluzi omu nga ava kuludda lw’omwami, n’omutawuluzi omulala nga ava kuludda lw’omukyala. Ssinga bombi baluubirira kulongosa, Katonda aba agatta embera yabwe bombi nebassa kimu. Mazima Katonda naaba nga Mumanyi Kakensa.

36. Era musinze Allah, Katonda asinzibwa, era temumugattikako mu ku musinza kintu kirala. Ate abazadde bombi mu bayise bulungi n’abeŋŋanda ne bamulekwa n’abanaku n’ow’omuliraano gwolinako oluganda n’ow’omuliraano ow’ebbali n’ow’omukwano akuli kulusegere (akuli ku lubiriizi) n’omutambuze n’abo begifuga emikono gyammwe egyaddyo. Mazima Katonda tayagala oyo yenna eyekuluntaza omwewaanyi.

37. Bebo abakodowala era abalagila abantu okukola obukodo era nebakweka ebyo Katonda bye yabawa ebimu ku birungi bye. Kale twategekera abajeemu ekibonerezo ekiweebuuza.

38. Ate abo abawaayo emmaali yabwe olwa ‘bandabe’ era nebatakkiriza Katonda wadde olunaku lw’enkomerero. Kale oyo yenna Ssitaani gwebeera nga ye mukwano gwe ogwomunda, ogwo guba mukwano mubi gweyeeteereddewo ogwomunda.

39. Ye kiki kyebafiirwa ssinga bakkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero era ne bawaayo ebimu kwebyo Katonda bye yabagabira. Kale Katonda abo bonna ye Mumanyi wabwe.

40. Mazima Katonda talyazamanya mulimu gwonna guzitowa nga kanyikuuli. Ate bweguba omulungi agussaamu ennyongeza, era agaba nga ajja mu mawanika ge empeera empitirivu obunene.

41. Kale kiriba kitya, bwetuba buli mulembe tujjeeyo omujulizi era nawe netukuleeta nga abo bonna abawaako obujulizi?

42. Olunaku olwo balyegomba abo abaajeema era abataagondera mubaka, ssinga baseeteezebwa ensi. Era tebalikweka Katonda kigambo kyonna.

43. Abange mmwe abakkiriza, temwesembereza okusaala nga muli batamiivu okutuusa lwe munaddamu okutegeera byemwogera. N’okukwesembereza nga muwunya ensonyi, nga ojjeeko oyo atambula ngayitawo buyisi, okutuusa lwe mumala okunaaba omubiri. Naye singa mubadde balwadde, oba okuba nga musisinkanye abakyala mu kyama, kyokka ne mubulwa amazzi, kale mwetukuzise ettaka eriyonjo. Musiige ebyenyi byammwe n’emikono gyammwe. Mazima Katonda yoyo atanonooza nsobi, Omusonyiyi.

44. Mwalabye mutya abo abaweebwa omugabo nga gujjibwa mu kitabo engeri gye bagula obubuze era nga babaagaliza okuwuguka nga muva ku kkubo?

45. Kale Katonda yasinga okumanya abalabe bammwe, era Katonda yeemalirira mu bukuumi, era Katonda yeemalirira mu kutaasa.

46. Abayudaaya abamu eriyo abo abawugula ebigambo nga babijja ku miramwa gyabyo era nebagamba nti: ‘Tuwulidde naye tetukkirizza, ate wulira ggwe -kabulaŋŋana okuwulira- era tulondoole’, nga bakyamya amakulu amatuufu n’ennimi zabwe, n’okutyoboola eddiini. Kyokka ssinga baagamba nti: ‘Tuwulidde era tugonze ate wulira ggwe, era twekalirize!, kyalibadde kirungi gyebali era nga ky’ekisinga okulaga obwenkanya. Wabula Katonda yabakolimira olw’obujeemu bwabwe era teriiyo bakkiriza okujjako aboomunaganwa.

47. Abange mmwe abaaweebwa ekitabo, mukkirize ekyo kyetwassa ekinyweza ekyo kyemulina, nga tetunnaba kusimbuliza bwenyi (bwammwe) webuli kati ne tubuzza enkoto, oba ssi ekyo okubakolimira nga bwe twakolimira ab’olunaku lwa Ssabbiiti. Kale nekuba nga okusalawo kwa Katonda kutuukirizibwa.

48. Mazima Katonda tasonyiwa musango gwa kumugattako, kyokka asonyiwa ebyo ebitenkana ogwo, kwoyo gwaba ayagala. Kale oyo agattika ku Katonda, mazima aba azzizza musango gwa nnaggomola.

49. Abaffe walaba otya abo abeebala okuba abatuukirivu emitima gyabwe? Wew’awo Katonda afuula oyo gwayagala okuba omutuukirivu, era tebalyazamanyizibwa kintu kyonna nebwekiba kyenkana akabubi akabisse kunsigo y’entende.

50. Laba engeri gye bajweteka ku Katonda obulimba. Ate ekyo kulwakyo kyemalirira okubeera omusango omweyolefu.

51. Abaffe walaba otya abo abaaweebwa omugabo nga gujjibwa mu kitabo, abakkiririza mu ddogo ne Ssitaani, era nga bategeeza abaajeema nti: ‘Bano baleebya abakkiriza mu kukwata ekkubo ly’obuluŋŋamu.

52. Abo bebo Katonda be yakolimira. Era oyo Katonda gwakolimira toyinza kusangayo wa ku muyamba.

53. Nnandiki balinayo omugabo gw’obwakabaka? Olwo bwekiba kityo, tebasobola kugabira bantu ne bwekaba kakuta akabikka ku muwula gw’emmwanyi.

54. Nnandiki bakolera bantu nsalwa olw’ebyo Katonda bye yabawa nga abijja ku birungi bye ebimu. Mazima twawa ezzadde lya Ibrahim ekitabo n’amagezi g’obwa Nnabbi, era netubawa obwa Kabaka obunene.

55.Kale abamu kubo baamukkiriza era abamu kubo baamuwakanya. Era kimala bumazi okuba nti Ggeyeena ye Ssemwokya.

56. Mazima abo abaawakanya amateeka gaffe, tulina kubasonseka mu muliro. Nga buli lwegiba gisiridde emibiri gyabwe, tubawanyisizaamu emibiri emirala, basobole okuloza ku kibonerezo. Mazima Katonda naaba nga ye Luwangula Kalimagezi.

57. Ate abo abakkiriza era abaakola ebirungi, tujja kubayingiza Ejjana ekulukutiramu wansi wayo emigga, baakusiisira omwo lubeerera, baagemulirwa muyo abafumbo abatukuvu, nga tubayingiza ebittuluze ebinnyikivu.

58. Mazima Katonda abalagira okutuusa obwesigwa eri bannyini bwo. Era bwe muba mutawuludde wakati wa bantu mulina okutuukiriza obwenkanya. Mazima Katonda ye Nnyini mukisa omujjuvu ogutuukiridde ogwo gweyeyambisa okubabuulirira. Mazima Katonda naaba nga ye Muwulizi Omulabi.

59. Abange mmwe abakkiriza mugondere Katonda era mugondere omubaka, n’abakulembeze mummwe. Bwe wabaawo ekintu kye mutategeraganyeko, mulina kukizza ku bulamuzi bwa Katonda n’omubaka, bwe muba mukkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero. Ekyo ky’ekisinga obulungi era bwe bwesiguliro obusinga obulungi.

60. Olaba otya abo abeetuminkiriza mbu bakkiriza ebyo ebyakussibwako n’ebyo ebyassibwa olubereberye lwo kyokka nga bettanira na kwelamuzisa Ssitaani (mu kutawulula enkayana zabwe) sso nga baalagirwa okugijeemera, era nga Ssitaani yesunga okubabuza olubuza olw’okuzaawa.

61. Bwe baba bayitiddwa nti: ‘Mujje tudde eri ekyo Katonda kyeyassa era tudde eri omubaka!’ welolera abannanfusi engeri gye beemalayo okutangira abantu abajja gyoli olutangira.

62. Naye butya, bwe baba batuukiddwako omutawaana ogusinzira kwebyo bye gyakulembeza okukola emikono gyabwe, olwo ate beeyiwa gyoli nga balayira Katonda nti: ‘Teriiyo kyetwagenderera kirala okujjako okulongosa na kutuusa bakaayana kuntegeeragana.

63. Abo bebo Katonda baamanyi byonna ebiri mu mitima gyabwe. Kale ggwe baveeko, kyokka babuulirire, era obagambe nga otuusiza ddala ku mmeeme zabwe, ebigambo ebimatiza.

64. Kale tetutumangayo mubaka yenna okujjako nga alina okugonderwa olw’obuyinza bwa Katonda. Naye ssinga mazima awo we baalyazamanyiriza emyoyo gyabwe, bajja gyoli era nebeegayirira Katonda okubasonyiwa, era ne Nnabbi neyewaayo okubawanjagirako, (ewa Katonda) okubasonyiwa, Katonda baalimusanze nga ye Mwenenyezebwa Ow’okusaasira okw’enjawulo.

65. Naye ekyo kafuuwe, Aga Mukama Katonda Omulezi wo, tebakakasibwa kuba bakkiriza okutuusa lwe banaakufuula omutawuluzi w’ensonga zonna zebatategeeraganako. Ekyo nga kiwedde baleme kufuna mumyoyo gyabwe ngeri yonna gye batoma kwekyo kyoba asazeewo, era babe nga bewaayo mu kukugondera olwewaayo lwonna.

66. Naye ssinga twabasalirawo eky’okubalagira nti: ‘Mwettiŋŋane mmwe mwennyini, oba ssi ekyo muve mu mayumba gammwe!’, tewaalibaddeyo bakituukiriza okujjako abatono ennyo mubo. Ate ssinga mazima baatuukiriza ebyo ebibabuulirirwa kye kyalisinze obulungi gye bali era kyekyalibadde n’enkizo mu kubanyweza

67. Olwo naffe lwalibatuusizzaako nga tujja mu mawanika gaffe empeera empitirivu.

68. Era twalibaluŋŋamizza ekkubo eggolokofu.

69. Kale oyo agondera Katonda n’omubaka nga bebo abali awamu naabo Katonda be yagemulira ebyengera, okugeza ba Nnabbi, ne bannakinku mu kukakasa amazima n’abajulizi n’abalongosa emirimu gyabwe. Kale abo be basingayo obulungi okubeera nabo mu mukwano.

70. Byebyo ebirungi ebiva ewa Katonda, era kimala bumazi okuba nga Katonda ye Mumanyi wa byonna.

71. Abange mmwe abakkiriza, mube bulindaala, mwanguwe okugenda okwaŋŋanga omulabe nga muli mu bubinja obutonotono obweyawuddeyawudde oba mwaŋŋange omulabe nga muli kibinja kimu ekinene.

72. Waliwo mazima gwojja okulaba omu mummwe nga takkiriza ddala kwetaba nammwe mu lutalo. Nga bwemufuna obuzibu, agamba nti: ‘nze Katonda yampa omukisa, kubanga ssaali nabo (mu lutalo) kuba nga nfirayo nga omujulizi.

73. Ate bwemufuna ebirungi ebiva ewa Katonda, olwo agambira ddala nga yeyisa nga gwemutakolangako mukwano (nga mu musikiriza okweyuna olutalo) nti: ‘Baabuwe nga nnafiirwa nnyo! Mukadde singa nange nnali nabo ne nneenyagira eminyago emiyitirivu!’

74. Kale balina okwewaayo okulwanirira ekkubo lya Katonda abo abaguzisa obuwangazi bw’ensi nenkomerero. Era oyo alwanirira ekkubo lya Katonda, naamala attibwa oba n’atuuka ku buwanguzi, oyo tuba tumusasula empeera empitirivu.

75. Ye mubadde ki okwesulubabba okulwanirira ekkubo lya Katonda, oba okulwanirira abateesobola nga bebamu kubasajja n’abakyala n’abaana abo abawanjaga nti: “Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, tusobozese okusenguka mukyalo kino ekijjudde abatuuze abakuusa, era otufunire obukuumi obuva gyoli era otufunire okutaasibwa okuva gyoli.

76. Bonna abo abakkiriza balwanirira kkubo lya Katonda. Ate abo abaajeema, balwanirira kkubo lya Ssitaani. Kale mulwanyise mikwano gya Ssitaani. Mazima enkwe za Ssitaani ziba njabaavu.

77. Abaffe walaba otya abo abaagambibwa nti: ‘Mutangire emikono gyammwe okulwana, era muyimirizeewo okusinza nga musaala era muweeyo Zaka!’. Kyokka bwe baakakasibwako etteeka ly’okulwana, olwo ekibinja ekimu mubo nekitanula okutya okwaŋŋanga abantu mungeri yennyini gye kityamu Katonda oba okusukkako awo okutya, era nebawanjaga nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, watulanze ki okutulaalikako olutabaalo? Lwaki Ai Mukama totulindirizzaako okutuusa ekiseera ekirala ekitali kyewala?’. Ggwe bategeeze nti: ‘Emyeyagalo gy’ensi mpa wegyaga, sso nga enkomerero y’esinga obulungi, yategekerwa oyo atya Mukama, era teriiyo mu mmwe wa kulyazamanyizibwa nebwekaba akabubi akabisse kunsigo y’entende.

78. Yonna gye mubeera kubasangayo okufa nebwemwekukuma mu nkomera ennywevu ggulugulu ezitumbidde mubwengula. Era bwebafuna ekirungi bagamba nti: ‘Kino kivudde wa Katonda.’ Ate bwebafuna ekibi bagamba nti: ‘Kino kivudde gyoli!’ Ggwe bategeeze nti: ‘Byonna biva wa Katonda’ Ye lwaki abantu abo balemererwa okutegeera ebigambo by’ensonga?

79. Kyonna ekiba kikutuuseeko nga kyekimu ku bintu ebirungi kiba kiva wa Katonda, era kyonna ekiba kikutuuseeko nga kyekimu ku bintu ebibi kiba kivudde kuggwe wennyini. Era twakutuma eri abantu bonna nga oli mubaka. Era kimala bumazi okuba nga Katonda ekyo akijulira.

80. Oyo agondera omubaka mazima aba agondedde Katonda. Era oyo akubayo amabega. Kale ggwe tetubakusindikangamu kubeera mukuumi wabwe.

81. Kale bagamba nti: ‘Bugonvu bwokka! Ssonga bwe bava wooli nebagenda, ekibinja kiramba mubo kisula kikyusa, ebigambo byo nekibirekawo, nekigoberera ebikyuse. Ate nga Katonda awandiika ebyo byebasula bakyusa. Kale abo baveeko era weesigamire Katonda yekka. Kimala bumazi okuba nga Katonda ye Mwesigamirwa.

82. Abaffe, balemeddwa okwetegereza Qur’an (Ssemusomwa) Kale ssinga yali teva wa Katonda baaligisanzeemu okwawukana kungi.

83. Ate bweba ebatuuseeko ensonga yonna nga ya mirembe oba bweraliikirivu bagironkoma. Sso nga bwe baaligizzizza eri Omubaka n’eri abo abaakwasibwa obukulembeze mubo, baalisobodde okugyekenneenya abo abateekulula ensonga ne bazizza mu miteeko gyazo. Naye ssinga tegwali mukisa gwa Katonda gwe mulina n’obusaasizi bwe, mwenna mwaliweddewo okugoberera Ssitaani nga ojjeeko abatono.

84. Kale weweeyo okulwanirira ekkubo lya Katonda. Obuvunayizibwa obwo bulina kutuukirizibwa ggwe wennyini. Era kubiriza abakkiriza. Oba olyawo Katonda lwanabakuuma obutatuukibwako kabi kaabali abaajeema. Naye Katonda ye Musukkirivu w’okuleeta akabi era ye Musukkirivu w’okubonereza.

85. Oyo yenna eyeyimirira abalala olweyimirira olulungi (n’abazza ku butuukirivu) ekyo akigabanako omugabo omulungi ogukivaamu. Era oyo yenna eyeyimirira abalala olweyimirira olubi (n’abazza ku bikyamu) ekyo akigabanako omusango ogukivaamu. Era Katonda naaba nga buli kintu ye Musobozi wakyo.

86. Era bwemuba mulamusiddwa n’ekiramuso, kale muddeemu ekiramuso ekisinga kiri obulungi oba ekikyenkana. Mazima Katonda, buli kintu ye Mubalirizi.

87. Katonda asinzibwa ye Allah. Teriiyo kusinza kirala okujjako Yye . Awatali kuwannaanya mwenna wa kubakuŋŋaanyiza wamu okutuusa ku lunaku lw’enkomerero olutabuusibwabuusibwa. Ye avaawa oyo owaamazima okusinga Katonda mu bigambo?

88. Ate kiki ye kyemubeeredde ebibinja bya bannanfusi ebibiri. Kale Katonda abo yamaladda okubakuusiiza mu bujeemu, olw’ebyo bye baakulembeza okukola. Abaffe mwagala okuluŋŋamya oyo Katonda gwe yabuza? Kale oyo Katonda gwabuza, tosobola kumussizaawo luwenda (lwakuluŋŋama).

89. Kyebegomba kiri nti: ‘Ssinga mujeema nga bbo bwe baajeema, olwo nemubeera bumu nabo nga mwenkana. Kale mwewalire ddala okuddira abamu kubo okubafuula abeemikwano okutuusa lwe basenguka okudda ku kkubo lya Katonda. Ssinga beeremye olwo mubakwate mubattire yonna gye mubasanga. Era wewalire ddala okuddira omu kubo okumufuula ow’omukwano wadde okubeera omuyambi.

90. Okujjako abo abayungagana mu bulungi n’abantu abalina wakati wammwe nabo endagaano, oba nga bazze gyemuli nga emitima gyabwe tegiwagirira ddala ku balwanyisa mmwe, oba okulwanyisa abantu babwe. Kale ssinga Katonda yasalawo yaalibabawendulidde era baalibalwanyisizza. Kale bwe baba babesambye era nebatabalwanyisa nebeewaayo gyemuli okuba ab’emirembe, olwo Katonda tabassizaawo gyebali luwenda (lwa kubalumba).

91. Mujja kusisinkana abalala nga baagala okufuna obwesige mummwe obw’obutabatuusaako kabi, era nga bafuna obwesige mu bantu babwe obw’obutabatuusaako kabi, nga buli bwe baba bazziddwayo mu ffitina (y’obujeemu) bakuusiira nnyo muyo. Naye bwebaba tebabesambye wadde okwewaayo gyemuli okuba abeemirembe, wadde okutangira emikono gyabwe (obutabalwanyisa), olwo mubakwate bonna era mubattire yonna gyemubazindukirizza. Kale bebo be twakussizaawo ensonga ey’okubafufuggaza nga erimu omuzinzi omweyolefu.

92. Kale teri lwe kitaali kya muzizo ku mukkiriza okutta omukkiriza okujjako mubutanwa. Oyo yenna aba asse omukkiriza mu butanwa alina kusumulula muddu omukkiriza mu bufuge (n’alya butaala) okwo kwogatta okusasula olufubanja lwawaayo eri abantu b’omugenzi, okujjako nga basonyiye okutwala olufubanja. Ate ssinga yali omu kubantu abava mwabo bemulinako empalana sso nga ye mukkiriza, olwo ekibaawo kya kusumulula muddu omukkiriza mu bufuge, (n’alya butaala). Ate ssinga yali omu ku bantu abalina wakati wammwe nabo endagaano, olwo ekibaawo kya kusasula lufubanja lwawaayo eri abantu b’omugenzi okwo kwogatta okusumulula omuddu omukkiriza mu bufuge (n’alya butaala). Ate oyo yenna alemererwa (okutuukiriza ebyo) ateekwa kusiiba myezi ebiri egy’omuddiŋŋanwa (nga tayosezzaamu lunaku nalumu) olw’okwenenyeza Katonda olw’ensobi gye yakola. Olwo Katonda naaba nga ye Mumanyi Kalimagezi.

93. Era oyo yenna atta omukkiriza mu bugenderevu, empeera y’oyo ya Ggeyeena, kubeera omwo bugenderevu, era Katonda yamusunguwalira, n’okumukolimira, era yamutegekera ekibonerezo ekiyitirivu.

94. Abange mmwe abakkiriza, bwe muba mulugendo lw’okulwanirira ekkubo lya Katonda mube begendereza nnyo. Era temugamba oyo yenna eyeewaddeyo gye muli mu mirembe nti: ‘Tosobola kufuna mirembe!’, olw’okuba mwagala eby’okufuna by’obuwangazi bw’ensi sso nga ewa Katonda y’ebeera eminyago emingi. Embera eyo yennyini nammwe gye mwalimu olubereberye. Katonda n’abawa omukisa. Kale mwegendereze nnyo. Mazima Katonda ebyo bye mukola ye kakensa wabyo.

95. Tekisoboka kwenkanyankanya abatuula obutaseguka abamu ku bakkiriza abo abatalina kizibu, na bali abewaayo okulwanirira ekkubo lya Katonda, nga bakozesa emmaali yabwe n’obulamu bwabwe. Katonda yawa amadaala ag’enkizo abo abeewaayo okulwana nga bakozesa emmaali yabwe n’obulamu bwabwe, okusinga abo abatudde obutaseguka, era bonna Katonda yabalaganyisa birungi. Era Katonda yassaawo enkizo kwabo abewaayo okulwana esukkuluma kwabo abatudde obutaseguka mu kusasulwa empeera empitirivu.

96. Amadaala ntoko agava gyali (ge bafuna) n’ekisonyiwo n’obusaasizi. Era Katonda naaba nga ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

97. Mazima abo Malaika be zivumbagira entunnunsi zabwe nga gikyalemedde mu bugyemu emyoyo gyabwe, zibabuuza nti: ‘Biki ebyo byemwalemeramu?’ nebaddamu nti: ‘Twali tulemesebwa okwesalirawo eky’okukola munsi!’, ne zibabuuza nti: ‘Abaffe yalemererwa ddi ensi ya Katonda okuba engazi nemutasobola kugisengukiramu?’ Kale bebo abaaweebwa obuddo obwa Ggeyeena, era ekifo kibi nnyo ekyo gye batwalibwa.

98. Mpozzi abalemesebwa okwesalirawo eky’okukola nga bebamu ku basajja n’abakyala n’abaana abatasobola kukozesa kakodyo konna era nga n’ekkubo eribawonya tebalimanyi.

99. Kale bebo oba olyawo Katonda ba tanonooza nsobi zabwe era Katonda naaba nga y’atanonooza nsobi Omusonyiyi.

100.Era oyo asenguka n’agenda mu kkubo lya Katonda, asanga munsi obubudamu bungi n’obwanjulukufu. Era oyo afuluma mu maka ge nga asenguka kudda eri Katonda n’omubakawe oluvannyuma nekumuggwikirizaayo okufa, mazima oyo aba yeefunidde empeera enkukuutivu ewa Katonda. Olwo Katonda naaba nga ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

101. Kale bwe muba musiyagguse eŋŋendo empavu munsi, tekiba kibi gyemuli okukendeza ku sswala, bwe muba mutidde okubatuusaako ekibi abo abaajeema. Mazima abajeemu, gyemuli baba balabe bankukunala.

102. Ate bwoba oli nabo n’otuusa okuyimirizaawo nabo esswala, kale kisooke okuyimirira ekibinja ekimu mubo nawe, era kibeere bulindala nga kibagalidde eby’okulwanyisa, bwe baba bamaze okuvunnama olwo badde emabega wammwe, era kijje okukweyungako ekibinja ekirala ekitasadde, olwo kisaale naawe, era babeere bulindaala nnyo nga babagalidde eby’okulwanyisa byabwe. Ekiluubirirwa kyabo abaajeema kiri nti, singa wabaawo lwe mulagajjalira eby’okwerinda byammwe n’ebintu byammwe ebirala olwo nebabazindukiriza oluzindukiriza lumu (nga lwamaanyi) Ate ssi kibi gyemuli bwe muba mufunye ekibayisa obubi, okugeza enkuba oba mubadde balwadde, nemuganzika wansi eby’okulwanyisa byammwe. Kyokka munyweze okuba obulindaala. Mazima Katonda yategekera abajeemu ekibonerezo ekiwebuuza.

103. Bwe muba mumalirizza esswala mujjukire nnyo okutendereza Katonda nga muyimiridde, era nga mutudde naawo nga mugalamidde. Era bwe muggwaamu okutya olwo muyimirizeewo okusinza nga musaala. Mazima esswala eri abakkiriza ly’etteeka eririna okutuukirizibwa mu biseera ebipime.

104. Era mwewale okufootoka nemulekayo okufeffetta abantu. Bwekiba nti muwulira obulumi, kale mazima nabo bawulira obulumi nga mmwe bwemuwulira obulumi. Ate mmwe mulina essuubi okuva ewa Katonda bbo nga tebalina ssuubi. Olwo Katonda naaba nga ye Mumanyi Kalimagezi.

105. Wew’awo twassa gyoli ekitabo mu mazima, kikusobozese okulamuza wakati w’abantu nga weyambisa ebyo Katonda by’akumanyisizza, era wewale abakumpanya okubabeerera omuwolereza.

106. Era wegayirire Katonda okukusonyiwa. Mazima Katonda ye Musonyiyi ow’okusaasira okw’enjawulo.

107. Era komya okuwolereza abo abakumpanya emyoyo gyabwe. Mazima Katonda tayagala oyo abeera omukumpanya omwonoonyi.

108. Bettanira okwekweka abantu naye tebasobola kwekweka Katonda, era yewuyo atabalekulira bwebaba amatumbi budde basalawo mu kyama ebimu ku bigambo Katonda bya tasiima. Era Katonda naaba nga byonna bye bakola abyetoolodde.

109. Mmwe muumwo mwewaddeyo okubawolereza mu buwangazi bw’ensi, Olwo aliwa anaabawolereza ewa Katonda ku lunaku lw’enkomerero? Nandiki aliwa oyo ayewaayo gyebali okubeera omweyimirize.

110. Era oyo yenna akola ekibi oba alyazamanya omwoyo gwe, oluvannyuma neyeegayirira Katonda okumusonyiwa, asisinkana Katonda nga ye Musonyiyi ow’okusaasira okwenjawulo.

111. Era oyo yenna akola omusango mazima ekibi ky’omusango gwe aba akikolera mwoyo gwe. Kale Katonda naaba nga ye Mumanyi Kalimagezi.

112. Era oyo yenna akola ensobi mu butanwa oba akola omusango mu bugenderevu, ate naava awo (byakoze) n’abiwaayiriza omulala omwejjeerevu, mazima oyo aba atemeredde ebya sswakaba n’okuzza omusango mubugenderevu ogw’enkukunala.

113. Naye ssinga tegwali mukisa gwa Katonda gyoli na busaasizi bwe, kyali kisazeewo ekibinja kiramba mubo okuba nga kikubuza, sso nga teriiyo gwe babuza okujjako emyoyo gyabwe. Era tewali ngeri yonna gyebayinza ku kukola kibi mu kintu kyonna. Ate Katonda yassa gyoli ekitabo n’okusalawo kw’obwannabi, era yakuyigiriza ebyo byewali tosoose kumanya. Kale negubeera omukisa gwa Katonda gyoli nga muyitirivu.

114. Temuli kalungi mu bisinga obungi mu byama byabwe, mpozzi nga waliwo oyo alagidde okuwaayo saddaaka oba okukola oby’obuntu bulamu, oba okulongosa wakati wa bantu (mwebyo ebibasobyeko) kale oyo akola ebyo olw’okwesunga okusiima kwa Katonda, tuba ba kumusasula empeera ennene.

115. Era oyo eyeebajjula kunkola y’omubaka oluvannyuma lw’obuluŋŋamu okweyerula gyali era n’agoberera eritali kkubo ly’abakkiriza, oyo tumukyamiza eyo gyaba akyamidde era tumuyingiza Ggeyeena, era obwo bwe buddo obubi.

116. Mazima Katonda tasonyiwa kugattibwako birala. Kyokka asonyiwa (emisango) egitenkana ogwo kwoyo gwayagala. Era oyo yenna agattika ku Katonda, mazima aba abuze olubula olw’ewala.

117. Tewali bilala bye balaajanira nga basaba nga ojjeeko Yye okujjako ebikazi, era tewali kilala kye balaajanira nga basaba okujjako Ssitaani kyewaggula.

118. Yagikolimira Katonda. Kale yawera enkolokooko (mu maaso ga Katonda nti:) ‘Nja kufunira ddala nga ntola ku baddu bo omutemwa omugereke obulungi.

119. Era nja kubabuliza ddala era nja kubasuubizisa ddala ebisuubizo by’obulimba era nja kubaduumira ddala (ebikolwa by’obujeemu) Nabo bajja kusalaasalira ddala amatu g’ensolo era nja kubaduumira ddala, nabo bajja kukyusiriza ddala ebitonde bya Katonda. Kale oyo afuula Ssitaani okuba mukwano gwe ogwomunda naalekawo Katonda, mazima aba afaafaaganiddwa olufaafaaganirwa olweyolefu.

120. Yo ebalagaanyisa bubuze era ebasuubiza byoya byanswa. Era tewali Ssitaani ebyo bye balagaanyisa okujjako eby’obutaliimu.

121. Bebo ab’okubudamizibwa mu Ggeyeena era ssi baakufunayo kifo kirala kyakubakyusizibwamu.

122. Ate abo abakkiriza era abaakola ebirungi tujja kubayingiza ejjana ekulukutiramu wansi wayo emigga, ba kubeera omwo lubeerera. Endagaano ya Katonda erina okutuukirizibwa. Ye avaawa oyo ow’enkizo okusinga Katonda mu kwogera ebigambo ebyamazima.

123. Tekiri kw’ebyo mmwe byemwagala, era tekiri kwebyo bye baagala abo abaaweebwa ekitabo. Oyo yenna akola ekibi akisasulwa bulambalamba, era n’abulwayo nga ojjeeko Katonda, omweyimirize yenna era naabulwayo omutaasi.

124. Ate oyo akola ebimu ku birungi k’abeere musajja oba mukyala, era nga mukkiriza, bebo nno abayingira ejjana era tewali kye balyazamanyizibwa nebwekaba akabubi akabisse ku muwula gwemmwanyi.

125. Kale avaawa oyo alina ediini ennungi ennyo okusinga ey’oyo ayeewaddeyo mu bwennyini bwe, bulambirira okuba omusiraamu (okugondera Katonda yekka) ate nga ye wuyo alongosa emirimu era nga yagoberera kagere ku kagere enzikiriza ya Ibrahim oyo omukomole ataalina birala by’akkiririzaamu okujjako Katonda. Kale Katonda yafuula Ibrahim okuba enfiirabulago we.

126. Era bya Katonda yekka ebyo ebiri muggulu n’ebyo ebiri munsi. Era Katonda, buli kintu naaba nga akyetoolodde.

127. Era bakwebuuzaako ennamula egobererwa ku nsonga z’abakyala. Baddemu nti: ‘Katonda yaalina okubategeeza ennamula egobererwa kunsonga zabwe n’amateeka agabasolerwa mu kitabo agakwata ku bamulekwa abakyala abo be mwewala okuwa ebyo ebyabakakasibwako okufuna ate nga mwegomba okubawasa, era n’abaana abaalemesebwa okubaako kye beesalirawo okukola. Kale mulina okwewaayo okutuukiriza mu bamulekwa obwenkanya. Era ebyo byonna byemukola nga birungi, mazima Katonda aba Mumanyi wabyo.

128. Ate singa omukyala afunye okutya, ssi kuba nga bbaawe amukijjanya oba obutamufaako, kale tekirina kabi eri bombi okufuna okutegeeragana wakati waabwe. Entegeeragana ky’ekisinga obulungi. Kyokka emitima gyasemberezebwa ku lusegere omulugube. Naye bwe mubeera abalongosa era ne mutya Katonda, mazima Katonda aba byonna bye mukola ye kakensa wabyo.

129, Era temujja kusobola kwenkanya wakati wa bakyala ne bwemuba mwewaddeyo okukikola. Kale mwewale okwekubiira olwekubiira olunene n’emutuusa okuleka omukyala (omulala) nga alinga alengejjera mu bbanga, era bwemubeera abalongosa nemutya Katonda, mazima Katonda aba Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

130. Naye bwe basalawo bombi okwawukana, Katonda buli omu amuwa ebimala obwetaavu bwe nga ajja mu mawanika ge, era Katonda naaba nga ye mugazi mu kugaba ebirungi Kalimagezi.

131. Era bya Katonda yekka ebiri mu ggulu n’ebiri munsi, era mazima twalaamira dda abo abaaweebwa ekitabo olubereberye lwammwe nga nammwe temubuzeeko, nti: ‘Mweweeyo okutya Katonda. Era bwe musalawo okujeema, mazima bya Katonda yekka ebiri mu ggulu n’ebiri munsi. Olwo Katonda naaba nga ye Mugagga Ssebintu atenderezebwa.

132. Era bya Katonda yekka ebyo ebiri mu ggulu n’ebyo ebiri munsi. Era kimala bumazi Katonda okuba nga yeyeesigamirwa.

133. Bwaba ayagala abasanyaawo bantummwe era n’aleetayo abalala. Kale Katonda naaba nga ekintu ekyo ye Musobozi wakyo.

134. Oyo yenna aba ayagala empeera yokunsi, kale ewa Katonda y’esangibwa empeera z’okunsi n’enkomerero. Kale Katonda naaba nga ye Muwulizi Omulabi.

135. Abange mmwe abakkiriza, mweweeyo okuyimirizaawo obwenkanya, abawa obujulizi ku lwa Katonda n’ebwekiba kikwata kummwe oba abazadde bombi n’abeŋŋanda. Nebwekiba nga mugagga oba mwavu, era Katonda bombi yasinga okubabaako obuvunanyizibwa kale mwewale okugoberera eby’obwagazi obubalemesa okutuukiriza obwenkanya. Kale bwe mwekubiira ebyo bye mukola ye Kakensa wabyo.

136. Abange mmwe abakkiriza, mukkirize Katonda n’omubakawe n’ekitabo ekyo kyeyassa eri omubakawe n’ekitabo ekyo kyeyassa olubereberye. Era oyo yenna ajeemera Katonda ne ba Malaika be n’ebitabo bye n’ababaka be n’olunaku lw’enkomerero, mazima aba abuze olubula olwewala.

137. Mazima abo abaafuuka abakkiriza oluvannyuma ne bajeema oluvannyuma ne bakkiriza oluvannyuma ne bajeema oluvannyuma ne bakuusiira mubujeemu tekisoboka abo Katonda ku basonyiwa wadde okubaluŋŋamya okukwata ekkubo ettuufu.

138. Tuusa ku bannanfusi amawulire g’okuba nti mazima balina okufuna ekibonerezo ekiruma.

139. Bebo abafuula abajeemu okuba mikwano gyabwe egyomunda ne balekawo abakkiriza. Abaffe banoonya kuba ba kitiibwa gyebali? Kale mazima ekitiibwa kya Katonda yekka gyekifa kyenkana.

140. Kale mazima yassa gyemuli etteeka eriri mu kitabo erirambika nti: ‘Bwemuba muwulidde amateeka ga Katonda nga gawakanyizibwa era nga gavvoolebwa, olwo nga mwewala okutuula n’abantu abo okutuusa lwe banadda ku mbozi etali eyo. Mazima mmwe bwekitaba ekyo muba mubafaananidde ddala. Mazima Katonda yew’okukuŋŋaanyiza abannanfusi n’abajeemu mu Ggeyeena bonna.

141. Bebo abafuuka amalindirizi gyemuli, bwe wabaawo obuwanguzi bwe mutuukako obuva ewa Katonda, bebuuza nti; ‘Abaffe tetubadde bumu nammwe? Ate bwe wabaawo abajeemu omugabo gwe bafuna, bebuuza nti: ‘Abaffe ssi ffe twabafufuggaza (kulwammwe) era netubatangira obutatuukibwako bakkiriza? Kale Katonda yaalamula wakati wammwe kulunaku lw’enkomerero, era Katonda tajja kussizaawo bajeemu luwenda lwa kukijjanyizaamu bakkiriza.

142. Mazima abannanfunsi bakwennyakwenya Katonda, sso nga naye asasula okukwennyakwenya kwabwe. Era bwe baba bayimiridde okusaala, bayimirira bagayaavu nga bagenderera kulabibwa bantu, era nga tebatendereza Katonda okujjako ekitono.

143. Bali awo bannampawengwa. Tebabalirwa ku bano era tebabalirwa ku bali. Kale oyo Katonda gwabuza tosobola kumufunirayo luwenda lwa kuluŋŋama.

144. Abange mwe abakkiriza mwewale okufuula abajeemu okuba mikwano gyammwe egyomunda ne mulekawo abakkiriza. Abaffe mwagala okussizaawo Katonda ensonga ey’olwatu gyemuli enebalumiriza omusango?

145. Mazima abannanfusi bali ku muko ogusembayo wansi mu miko gy’omuliro, era toyinza kubafunirayo abataasa.

146. Okujjako abo abeenenya era nebalongosa emirimu era nebenyweza ku Katonda era nebamalira eddiini yabwe ku Katonda yekka, kale abo ba kubeera wamu n’abakkiriza. Era Katonda wa kusasula abakkiriza empeera empitirivu.

147. Tewali nsonga Katonda gy’asinziirako ku babonyabonya ssinga muba mwebazizza era nemukkiriza Katonda. Kale Katonda naaba nga ye Musiimi ennyo Omumanyi.

148. Katonda tayagala kwolesa kibi nga kya kigambo okujjako oyo alyazamanyiziddwa. Olwo Katonda naaba nga ye Muwulizi Omumanyi.

149. Bwe muba mwolesezza ekirungi oba nga mukikwese oba nga mwewaddeyo obutanonooza kibi, mazima Katonda aba tanonooza nsobi Musobozi.

150. Mazima abo abajeemera Katonda n’omubaka we, era abaagala okussaawo enjawukana wakati wa Katonda n’ababaka be olwo nebagamba nti: ‘Tukkirizaako abamu era netuwakanyako abalala!’, era nebaagala okwessizaawo wakati w’ebyo oluwenda (olw’enzikiriza)

151. Abo nno be bajeemu kkungwa. Era twategekera abajeemu ekibonerezo ekiwebuuza.

152. Ate abo abakkiriza Katonda n’ababaka be nebatassaawo njawukana wakati w’omu kubo, abo nno beb’okuweebwa mu bujjuvu empeera zabwe, olwo Katonda naaba nga ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

153. Bakusaba ba nannyini kitabo okussa gyebali ekitabo nga kiva mu ggulu. Mazima baasaba Musa ekisinga obunene kw’ekyo, bwe baagamba nti: ‘Tulage Katonda mulujjudde!’ Olwo nekubatta okuboggola okwava mu ggulu nga kisinziira kubulyazamanyi bwabwe. (Ate Katonda bweyabazuukiza) oluvannyuma nebeeteerawo ekifananyi ky’akayana kente okukisinza oluvanyuma nga gamaze okubatuukako amazima, naye twasalawo obutanonooza nsobi zebyo. Era netuwa Musa ebyamagero n’obusobozi eby’olwatu.

154. Era netulengezza waggulu wabwe olusozi olw’endagaano yabwe, netubalagira nti: ‘Muyingire wankaki nga mukutaamiridde’. Era netubalagira nti: ‘Mwewale okuvuba ku lunaku olwa Ssabbiiti’. Era netubakozesa endagaano ennywevu.

155.Kale olw’okuba baayawukana ku ndagaano yabwe, era ne bajeemera amateeka ga Katonda, era nebatirimbula ba Nnabbi awatali nsonga ntufu, era n’ekigambo kyebaayogera nti: ‘Emitima gyaffe misaanikire’. Wew’awo Katonda yagimettako envumbo olw’obujeemu bwabwe, kale teriiyo bakkiriza okujjako abatono ennyo.

156 Era olw’obujeemu bwabwe n’ekigambo kye baayogera ku Mariam, nga kujweteka obulimba obuyitirivu.

157 Era n’ekigambo kye baayogera nti: ‘Mazima ffe twatta Masiya Isa mutabani wa Mariam Omubaka wa Katonda!’ Sso nga tebaamutta era tebaamubamba ku musaalaba, wabula ekifananyi kye kyafananyirizibwa omuntu omulala mubo. Era mazima abo abaafuna obutakkaanya kwebyo ebimukwatako, bali mu kubuusabuusa ku nsonga eyo. Tebagirinaako bumanyi bwonna bugikwatako okujjako okugoberera endowooza. Naye tebaamutta, ekyo kye kituufu.158 Wew’awo Katonda yamusitula n’amutwala gyali. Era Katonda naaba nga ye Luwangula Kalimagezi.

159 Ate teriiyo muntu mu bannanyini kitabo atalisooka kumukkiriza nga tannatuusa kufa. Era olunaku lw’enkomerero wa kubawaako obujukizi. 160, Kale olw’obujeemu bw’Abayudaaya abamu, twabaziyiza ebirungi ebitaali bya muzizo gyebali, n’olw’okuba baayitiriza okwekugira n’okukugira abalala okukwata ekkubo lya Katonda.

161 N’olw’engeri gye batwalamu ennyongeza sso nga mazima yabagaanibwa, n’engeri gye balya emmaali ya bantu mu bulyazamanyi. Kale twateekerateekera abajeemu mubo ekibonerezo ekiruma.

162 Wabula abayivu abakugu abamu kubo gattako abakkiriza, bonna bakkiriza ekyo ekyassibwa gyoli n’ekyo ekyassibwa olubereberye lwo. Naabo abayimirizaawo okusinza nga basaala naabo abawaayo zaka, naabo abakkiriza Katonda n’olunaku lwenkomerero. Abo bonna turina okubasasula empeera empitirivu.

163. Mazima twakutuusaako okubikkulirwa nga bwe twatuusa okubikkulirwa eri Nuhu ne ba Nabbi ab’oluvannyuma lwe. Era twatuusa okubikkurirwa eri Ibrahim ne Ismail ne Isihaaka ne Yakubu n’abazzukulu, ne Isa ne Ayyuubu ne Yunusu ne Haruna ne Sulaiman. Era twawa Dawuda ekitabo kya Zabbuli.

164 N’ababaka abalala be twakunnyonnyodde olubereberye ebyafaayo byabwe, n’ababaka abalala be tutannakunnyonnyola byafaayo byabwe. Era Katonda yayogeranya ne Musa olwogeranya.

165 Bebo ababaka abasaasaanya amawulire ag’essanyu era abalabula, olw’okusobozesa abantu okubulwayo ensonga gyebekwasa ewa Katonda (eyandibagaanyi okuba abawulize gyali) oluvannyuma lw’okubatumira ababaka. Kale Katonda naaba nga ye Luwangula Kalimagezi

166. kyokka Katonda awa obujulizi kwekyo kyeyassa gyoli. Yakissa nga amanyi. Era ba Malaika bakiwaako obujulizi, era kimala bumazi okuba nga Katonda akiwaako obujulizi.

167 Mazima abo abaajeema era abaakugira ekkubo lya Katonda, mazima baabula olubula olwewala.

168, Mazima abo abaajeema, era abaalyazamanya, tekisoboka Katonda kubasonyiwa era tabaluŋŋamya ku kkubo ttuufu.

169. okujjako ekkubo eriraga mu ggeyeena, ba kubeera omwo bugendervu, era ekyo ku Katonda nekiba kyangu.

170 Abange mmwe abantu, mazima omubaka abaleetedde ekituufu ekiva ewa Mukama Katonda omulezi wammwe. Kale mukkirize, ky’ekisinga obulungi gyemuli, Naye bwe mujeema, mazima bya Katonda yekka ebiri mu ggulu n’ensi. Kale Katonda naaba nga ye Mumanyi Kalimagezi.

171 Abange mmwe banannyini kitabo, temusukka nsalo za njigiriza ya ddiini yammwe, era mwewale okwogera ku Katonda, okujjako amazima. Ekituufu, oyo Masiya Isa mutabani wa Mariam ye mubaka wa Katonda, era ky’ekigambo kye kyeyassa ewa Mariam, era gwe mwoyo oguva gyali. Kale mukkirize Katonda n’ababaka be. Era mukomye okwogera nti; ‘Basatu’. Temukiddamu: ekyo ky’ekisinga obulungi gyemuli. Mazima Katonda asinzibwa Allah, ye musinzibwa omu yekka. Yoyo atenderezebwa, gwekitagwanira kubeera na mwana. Bibye yekka byonna ebiri muggulu n’ebiri munsi. Era kimala bumazi okuba nti Katonda ye mwesigamirwa

172. tekisoboka Masiya kwenyinyimbwa olw’okubalibwa nti muddu wa Katonda, newankubadde ba Malaika abali ku lusegere. Naye oyo ayenyinyimbwa eky’okumubala nti muddu we, era neyeekuluntaza, kale ajja kubazuukiza nga abazza gyali bonna

173. Kale abo abakkiriza era abaakola ebilungi wa kubasasula bulambirira empeera zabwe, era wa kubongera ebimu ku birungi bye. Ate abo abenyinyimbwa era abeekuluntaza, wa kubabonereza ekibonerezo ekiruma, era teriiyo gwe basanga nga ojjeeko Katonda, nga mweyimirize wabwe wadde abataasa

174. Abange mmwe abantu, mazima kibatuuseeko eky’okulabirako ekyannamaddala nga kiva ewa Mukama Katonda omulezi wammwe. Era tussiza gyemuli ekitangala ekyeyolefu.

175. Kale abo abakkiriza Katonda era abamwekwatako, wa kubayingiza mu busaasizi obuva gyali n’ebirungi nfafa, era wa kubaluŋŋamya nga abazza gyali mu kukwata ekkubo eggolokofu.

176. bakwebuuzaako ennamula egobererwa, baddemu nti Katonda abannyonnyola ennamula egobererwa ku busika bw’omusulube. Singa omuntu azikiridde nga teyaleka mwana, kyokka nga aleseewo mwannyina (omukazi) oyo asikira kimu kya kubiri kwebyo bye yaleka. Mungeri yemu naye (omusajja) asikira mwannyina, bwaba teyaleka mwana. Ate bwebaba ba luganda abasajja n’abakyala, olwo omusajja omu asikira omugabo ogwenkana egy’abakyala babiri. Katonda ebyo byabannyonnyola muleme kubula. Era Katonda, buli kintu ye Mumanyi wakyo.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *