Skip to content
Home » 39. Az – Zumar (Ebibiina)

39. Az – Zumar (Ebibiina)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

39. ESSUULA: AZZUMAR, EBIBIINA

Yakkira Makkah, Erina Aya 75.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Kuno kwe kussa ekitabo ekiva ewa Katonda Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

2. Mazima ffe twassa gyoli ekitabo mu bwesimbu. Kale sinza Katonda nga gwomaliddeko yekka eddiini.

3. Ekituufu kiri nti emalirwa ku Katonda yekka eddiini ensengejje. Kyokka abo abessizaawo ebintu ebirala, nga ojjeeko Katonda, ne babifuula eby’omukwano, nga bwe bekwasa nti: ‘Tewali kye tusinzirako kirala okubisinza, okujjako okuba nga bitusembeza ewa Katonda mu bifo ebyokumwanjo ebyawaggulu’. Mazima Katonda yewokulamula wakati wabwe mwebyo bye batakkaanyako. Mazima Katonda taluŋŋamya oyo abeera omulimba kalibujeemu.

4. Ssinga Katonda yayagala kwessizaawo mwana, yaalilonze mwebyo byatonda kyonna kyayagala. Ekitiibwa kibe gyali. Ye wuyo Allah Katonda asinzibwa omu yekka Omukasi.

5. Ye yatonda eggulu n’ensi mu mazima. Abuutikiza ekiro ebiseera ebyemisana, era obuutikiza emisana ebiseera eby’ekiro. Era ye yagonza enjuba n’omwezi. Byonna biseeyeeya (mu bwengula) okutuusa ku kiseera (kyabyo) ekigeraageranye. Wew’awo y’Oyo Luwangula Omusonyiyi ennyo.

6. Yabatonda (mwenna) nga abajja mu muntu omu. Oluvannnyuma yamujjamu mukyala we. Bwatyo yabassiza ebimu ku bisolo ebirundibwa emiteeko munaana. Yoyo abatondera mu mbuto za bannyammwe buli lutonda nga lweyongereza ku lutonda (olulala), mu bizikiza bisatu. Yewuyo Allah Mukama Katonda Omulezi wammwe. Bubwe yekka obufuzi. Mpawo asinzibwa (mu butuufu) okujjako Yye. Kale lwaki muwugulwa?

7. Ssinga mujeema, mazima Katonda ye Mugagga atabeeguya, era tasiimira baddu be bujeemu. Naye bwe mwebaza, ekyo akibasiimira. Era tewali kuvunaana (muntu) musango gwa kibi ekikolebwa omulala. Oluvannyuma eri Mukama Katonda Omulezi wammwe gye muzzibwa olwo n’abategeeza bye mubadde mukola. Mazima yewuyo Omumanyi w’ebyo ebiri mu bifuba.

8. Ate bwaba afunye omuntu omutawaana awanjagira Mukama Katonda Omulezi we nga yenna yemalidde ku Ye. Naye bwaba amuwadde ekyengera ekiva gyali nga (omuntu) yerabira byabadde amuwanjagira olubereberye, olwo n’ayimbagatanya ku Katonda ba Lubaale, olw’okumusobozesa okubula nga ava ku kkubo lye (Katonda). Mutegeeze nti: Ggwe weyagalire mu bujeemu bwo ekiseera kitono, mazima ggwe oli mwabo ab’okubeera mu muliro.

9. Abaffe oli (omujeemu) yenkana atya n’ono eyemalira ku kugondera Katonda ebiseera by’ekiro nga avunnama era ayimirira olw’okwewala (ebibonerezo bya) enkomerero era nga asuubira obusaasizi bwa Mukama Katonda Omulezi we. Babuuze nti: ‘Abaffe, benkanankana abo abayivu n’abo abatali bayivu?’ Mazima abo abebuulirira be bannannyini bugeziwavu.

10. Ggwe bakowoole nti: ‘Abange mmwe abaddu bange abakkiriza, mutye Mukama Katonda Omulezi wammwe. Balina okufuna abo abaalongosa (emirimu gyabwe) munsi eno ebirungi. Era ensi ya Katonda ngazi. Mazima balina abagumiikiriza okusasulwa obulambirira empeera yabwe awatali kubalirira.

11. Ggwe bategeeze nti: ‘Mazima nze ekyandagirwa kwe kusinza Allah Katonda asinzibwa nga gwemmalirako yekka eddiini.

12. Era nnalagirwa okuba omusaale mu kwewayo (mu busiraamu) mu mateeka ga Katonda.

13. Ggwe bategeeze nti : ‘Mazima nze ntya nnyo – ssinga mba njemedde Mukama Katonda Omulezi wange – ebibonerezo by’olunaku olw’ekitiibwa.

14. Bategeeze nti: ‘Allah asinzibwa gwensinza nga gwemmalirako yekka eddiini yange.’

15. Kale mmwe musinze bye mwagadde nga mu muleseewo, Bategeeze nti: ‘Mazima abo abataganyulwa abannamaddala bebo abetuusaako okufaafaaganirwa n’abantu babwe ku lunaku lw’amayimirira. Wew’awo kwekwo nno okufaafaaganirwa okwenkukunala.

16. Baakubuutikirwa waggulu wabwe emiko gy’omuliro era ne wansi wabwe nga eriyo emiko. Ebyo (ebibonerezo) Katonda abitiisa abaddu be: ‘Mwe abaddu bange kale muntye!’

17. Ate abo abeewala Ssitaani okugisinza era abeeyunira (ekkubo) eridda ewa Katonda bafuna okujaganya. Kale tuusa amawulire ago ag’essanyu ku baddu bange.

18. Abo abawuliriza ebigambo ne bagoberera ebisinga obulungi. Abo nno Katonda be yaluŋŋamya era abo nno be bannannyini bugeziwavu.

19. Abaffe oli bwaba kimukakaseeko ekigambo ky’okubonerezebwa, ate butya ggwe lwe wetantala okutaasa abomumuliro?

20. Wabula abo abatya Mukama Katonda Omulezi wabwe ba kuweebwa ebisenge nga waggulu wabyo eriyo ebisenge ebirala ebyazimbibwa, nga gikulukutira wansi wabyo emigga. Ekyo kye kisuubizo kya Katonda. Tewali Katonda wa yawukanira ku bisuubizo.

21. Abaffe olemeddwa okwerolera engeri Katonda gy’assa okuva mu ggulu amazzi (g’enkuba) bwatyo yagafuula ensulo ezifubutukamu emigga munsi, oluvannyuma ageyambisa okufubutulayo ebimera ebyawukanya amabala gabyo. Oluvannyuma biwotoka n’obiraba nga byengeredde, oluvannyuma abifuula ebikalu (nga essanja). Mazima ekyo kirimu okwebuulirira okwabo bannannyini bugeziwavu.

22. Abaffe oli Katonda gwe yayanjuluza ekifuba kye okwewaayo (mu busiraamu) mu mateeka ga Katonda era nga ali ku kitangala ekiva ewa Mukama Katonda Omulezi we (omugeraageranya otya n’omujeemu)? Kale okuzikirizibwa kwa kutuusibwa kwabo abaaguma emitima gyabwe, obutatendereza Katonda. Bebo abaggwera mu bubuze obw’olwatu.

23. Katonda yassa ebigambo ebisingayo obulungi, nga ky’ekitabo ekirimu enfanana eyakinnabbirye, (ekyanja ensonga bbiri bbiri) kigireetera okwesisiwala emibiri gyabo abatya Mukama Katonda Omulezi wabwe, oluvannyuma gidda munteko, emibiri gyabwe n’emitima gyabwe nga byemalidde ku kutendereza Katonda. Okwo kwe kuluŋŋamya kwa Katonda, kweyeyambisa okuluŋŋamya. Naye oyo gw’asalawo Katonda okubuza kale talinaayo amuluŋŋamya.

24. Abaffe oyo atangizisa obwenyi bwe nnamutta w’ebibonerezo ku lunaku lwa mayimirira (omugerageranya otya n’oli omulongofu?) Olwo ne baduumirwa abajeemu nti: ‘Muloze ku (bukaawu bwa) ebyo bye mubadde mukola.

25. Baalimbisa abo abaabakulembera nekibatuukako ekibonerezo nga kifubutukira gye batamanyi.

26. Bwatyo Katonda yabatuusaako obunyomoofu mu buwangazi bw’ensi. Ate ddala ekibonerezo ky’enkomerero ky’ekisinga obunene ssinga babadde bamanyi.

27. Ate mazima tuteereddewo abantu mu Qur’an (Ssemusomwa) eno buli kya kulabirako kibasobozese okwebuulirira.

28. Yeyo Qur’an (Ssemusomwa) eri mu luwalabu etalina kuwuguka, basobole (okugyeyambisa) okutya Katonda.

29. Katonda ataddewo eky’okulabirako ky’omusajja gwe balinako abangi obwannannyini obwawamu nga tebassa kimu ne (eky’okulabirako kya) omusajja (omulala) ali mu bulabirizi bw’omusajja (omu yekka) Abaffe (ebyo) byombi ebifaananyi byenkana? Amatendo amalungi ga Katonda. Wabula abasinga obungi kubo tebamanyi.

30. Mazima ggwe oli waakufa era mazima nabo baakufa.

31. Oluvannyuma mwenna ku lunaku lw’amayimirira, ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe gye mukaayanira.

32. Naye ani kasobeza akira oyo ajwetese ku Katonda obulimba era awakanyizza amazima nga gamutuuseeko? Abaffe kisoboka okubulwa mu ggeyeena obwewejjeeko obwategekerwa abajeemu?

33. Ate oyo eyaleeterwa amazima n’agakakasa abo nno bebo abatya Katonda.

34. Baakufuna bye baagala ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe. Eyo y’empeera y’abalongofu.

35. Olwo aba Katonda abaggyako ebibi by’ebyo bye baakola era abasasula empeera yabwe ey’ekyo ekisinga obulungi kwebyo bye baali bakola.

36. Abaffe Katonda ayinza okulemererwa okumalira omuddu we? Kale bakutiisatiisa n’ebyo ebitali Yye. Naye oyo gwaba abuzizza Katonda talinaayo amuluŋŋamya.

37. Era oyo gw’aluŋŋamya Katonda talinaayo, oyo yenna amubuza. Abaffe Katonda ayinza obutaba wa maanyi Omuyitirivu w’okwesasuza?

38. Ate bwoba obabuuzizza nti: ‘Ani yatonda eggulu n’ensi? Baddiramu ddala nti ye Katonda’. Ggwe babuuze nti: ‘Abaffe mwetegerezza ebyo bye muwanjagira nga muleseewo Katonda, ssinga Katonda asazeewo okuntusaako akabi, abaffe ebyo bisobola okujjawo akabi ke, Nandiki ssinga asazeewo okuntusaako obusaasizi bwe, abaffe ebyo bisobola okutangira obusaasizi bwe? Ggwe bategeeze nti: ‘Oyo ammalira ye Katonda. Yekka gwe besigamira abesigama’.

39. Bategeeze nti: ‘Abange mwe abantu bange, mukole bye musazeewo okukola, nange nnina byenkola. Naye mujja kumanya.

40. Ani gwe bituukako ebibonerezo ebimuwebuuza era kimukkeko ekibonerezo eky’olutentezi’.

41. Mazima ffe twassa gyoli ekitabo kyeyambisibwe abantu bonna mu mazima. Kale oyo aba aluŋŋamye aba aluŋŋamizza mwoyo gwe. Era oyo aba abuze, mazima aba mwoyo gwe gwawugula, era si yeggwe abavunanyizibwako nga omukuumi.

42. Katonda avumbagira emyoyo we gituusiza okufa, era egyo egiba gitafudde (agivumbagirira) mu tulo twagyo. Bwatyo asigaza egyo gy’asaliddewo okufa n’aleka emirala okumalako ekiseera kyagyo ekyagerekebwa. Mazima ekyo kirimu eky’okulabirako ekiyigiriza abantu abafumintiriza.

43. Abaffe baasalawo okuleka Katonda ne bessizzaawo abawolereza abalala? Ggwe babuuze nti: ‘Abaffe ne bwebaba tebalinaayo kantu konna kebalinako bwannannyini era nga tebategeera?’

44. Bategeeze nti: ‘Kwa Katonda yekka okuwolereza kwonna. Ye nnannyini bufuzi obw’eggulu n’ensi. Oluvannyuma gyali gye muzzibwa.

45. Ate bwaba atenderezebwa Katonda yekka, gyenyinyimbwa emitima gy’abo abatakkiriza nkomerero. Naye bwe biba byogeddwako ebyo ebitali Yye, olwo ne baba nga bajaganya.

46. Gamba nti: ‘Ai Katonda asinzibwa Allah, Ssemugunzi w’eggulu n’ensi Omumanyi w’ebikusike n’ebyolwatu Ggwe wuyo alamula wakati w’abaddu bo mwebyo bye babadde batakkiriziganyako’.

47. Naye ssinga mazima baba n’obwannannyini abo abajeemu, kw’ebyo (eby’obugagga) ebiri munsi byonna, n’ebibifaanana (ebirala) nga bibyegasseeko, baalisazeewo okubyenunuzisa olw’okuwona obubi bw’ebibonerezo by’olunaku lw’amayimirira. Nga bibeyolese okuva ewa Katonda ebyo bye babadde batasuubira

48. Era nga bibeyolese ebibi by’ebyo (ebikolwa) bye baakola olwo ne bibatuukako bye babadde baŋoola.

49. Kale bwekaba katuuse ku muntu akabi, nga atuwanjagira, oluvannyuma bwe tumutuusaako ekyengera ekiva gyetuli, agamba nti: ‘Mazima nze bino nnabyetuusaako lwa magezi (gange). Wew’awo byo biriwo nga bigezo, wabula abasinga obungi tebamanyi.

50. Mazima ebyo (ebigambo) bye baayogera bali abaabasookawo, kale mpawo kye byabagasa (nga kibawonya ebibi bya) ebyo bye baakola.

51. Kale byabatuukako ebibi by’ebyo bye baateganira. Ate abo abaalyazamanya nga bebamu (kwabo) abava mu bibinja byabwe, bijja kubatuukako ebibi by’ebyo bye bateganira era be batasobola abo kulemesa.

52. Abaffe balemeddwa okumanya nti: mazima Katonda ayanjuluza enfuna y’oyo gw’ayagala era agikena? Mazima ekyo kirimu eky’okulabirako ekiyigiriza abantu abakkiriza.

53. Bategeeze nti: ‘Abange mmwe abaddu bange abo abadibaze emyoyo gyabwe, temusanye kuggwamu ssuubi lya busaasizi bwa Katonda. Mazima Katonda asonyiwa ebyonoono byonna. Mazima yewuyo Omusonyiyi ow’okusaasira okw’enjawulo.

54. Era mweyune okudda eri Mukama Katonda Omulezi wammwe era mweweyo (mu busiraamu) mu mateeka Ge, olubereberye nga tekinnabatuukako ekibonerezo olwo ate ne mutafuna kutaasibwa.

55. Era mugoberere ebisinga obulungi ebyo ebissiddwa gye muli okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe olubereberye nga tekinnabatuukako ekibonerezo eky’ekibwatukira nga nammwe temumamnyi.

56. Olwo ate guwanjage omwoyo nti: ‘Yaye, nga nnakamala okwedibaga nga nneesulubabbye ensonga za Katonda era mazima nessa nzekka mu luse lw’abo abavvoola’ (amateeka ga Katonda).

57. Oba ssi ekyo gube nga guwanjaga nti: ‘Ssinga mazima Katonda yannuŋŋamya nnaalibadde mwabo abatya Katonda’. 58. Oba ssi ekyo gube nga guwanjaga mukiseera wegulabidde ekibonerezo nti: ‘Ssinga mazima nfuna okuzzibwayo kunsi olwo nembera omu kwabo abalongoosa.’

59. Wew’awo mazima gaakutuukako amateeka gange, bwotyo wagalimbisa era wekuluntaza era wasalawo okuba mu bajeemu.

60. Era olunaku lw’amayimirira oli wa kulaba abo abaajweteka ku Katonda obulimba nga ebyenyi byabwe bikutte kazigizigi. Abaffe kisoboka okubulwa mu ggeyeena obwewejjeeko bwabo abekuza?

61. Ate Katonda awonya abo abatya (ensobi) olw’engeri gye beyambamu, teriiyo kibatuukako nga kibi era tebalina kunakuwala.

62. Katonda asinzibwa Allah ye Mutonzi w’ebintu byonna era ye wuyo eyeesigamirwako buli kintu.

63. Ye nnanyini bisumuluzo by’amawanika g’eggulu n’ensi. Wabula abo abaajeemera amateeka ga Katonda bali mu kufaafaagana.

64. Babuuze nti: ‘Abaffe ekyo ekitali Katonda kye mumpikiriza mbe nga nkisinza, bantu mmwe abatategeera?’

65. Kale mazima bwakubikkulirwa obubaka era (bwabikkulirwa) naabo abaakusooka, obutegeeza nti: ‘Ssinga oyimbagatanyizza ebirala ku Katonda mazima nga gifa ttogge emirimu gyo era nga mazima obeerera ddala mwabo abafaafaagana.

66. Wew’awo Katonda yekka Allah gwoba osinza era weyunge kwabo abasiima.

67. Kale baalemererwa okugerageranya ekitiibwa kya Katonda obutuufu bw’okumugerageranya, ate nga ensi yonna efunyirwa mu kibatu kye ku lunaku lw’amayimirira, nga eggulu lizingiddwako n’omukono gwe ogwaddyo. Atenderezebwe Yye Mwene era agulumizibwe nga ayawulibwa kwebyo bye bawambagatanya.

68. Kale bweba efuuyiddwa eŋŋombe olwo ne bazirika abo abali muggulu n’abo abali munsi okujjako abo baaba asazeewo Katonda (obutazirika). Oluvannyuma bw’efuuyibwamu omulundi omulala, mangu ago bonna nebaba nga (bawamatuka emagombe) besimbye batunula.

69. Bwetyo n’ebunyisibwa ensi obutangavu bwa Mukama Katonda Omulezi wayo era nekissibwawo ekitabo ne baleetebwa, bannabbi n’abajulizi, ne balamulwa mu bwenkanya nga mpawo mubo alyazamanyizibwa.

70. Bwegutyo ne gusasulwa buli mwoyo ekyo kye gwakola ate nga ye wuyo asinga okumanya bye gikola.

71. Era ne basindikirizibwa abo abaajeema okugenda mu ggeyeena nga bali mu bibiina okutuusa lwebaba nga bagutuseeko, negibandulwawo emiryango gyagwo, bwe batyo ne bababuuza abakuumi bagwo nti: ‘Abaffe tebaabatuukako ababaka abava mummwe, ababasomera amateeka ga Mukama Katonda Omulezi wammwe, era ababalabula okusanga olunaku lwammwe luno?’ Nebaddamu nti: ‘Wew’awo.’ Wabula kyakakata dda ekigambo ky’okutuusa ekibonerezo ku bajeemu.

72. Ne baduumirwa nti: ‘Mwefubitike emiryango gya ggeyeena, nga ba kusiisira eyo. Kale bubi nnyo obwo obubudamu bwabo abekuluntaza.

73. Ate nebakulemberwa abo abaatya Mukama Katonda Omulezi wabwe okutwalibwa mu jjana nga bali mu bibiina, okutuusa lwe babanga bagituuseeko era ne giggulwawo emiryango gyayo ne babaaniriza abakuumi bagyo nti: ‘Emirembe gibeere gyemuli, muli kkula! Kale mugiyingire obutagivaamu.

74. Olwo nebatendereza nti: ‘Amatendo amalungi ga Katonda oyo eyatukakasa ekisuubizo kye, era yatusikiza ensi gye tusinzira okwetegekera obutuuze bw’omujjana mu kifo wonna we twagala. Eyo y’empeera ey’omukisa esasulwa abakozi (b’ebirungi).

75. Ne werolera ba Malaika abebunguludde ebbali wa Nnamulondo, (ya Mukama) nga batendereza amatendo ga Mukama Katonda Omulezi wabwe. Bwebatyo ne balamulwa mu mazima, olwo ne kirangirirwa (ekirangiriro ky’okusiima) nti: ‘Amatendo amalungi ga Katonda Mukama Omulezi w’ebitonde byonna’.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *