Skip to content
Home » 74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)

74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

74.ESSUULA:AL-MUDATHIR, LWEBUUTIKIRA.

Yakkira Makka. Erina Aya 56.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Owange ggwe lwebuutikira (ngoye).

2. Golokoka era labula.

3. Ne Mukama Katonda Omulezi wo gulumiza.

4. N’engoye zo yonja.

5. N’obusamize senguka.

6. Era togaba okuyitiriza.

7. Era kulwa Mukama Katonda Omulezi wo nywerera ku bugumiikiriza.

8. Kale bwe liba likommonteddwa eddenge.

9. Olwo nno olunaku luba lunaku luzibu.

10. Eri abajeemu nga ssi lwangu.

11. Ndekera oyo gwennatonda nga ali omu.

12. N’emmuwa emmaali ndulundu.

13. N’abaana abakyaliwo.

14. Bwentyo ne mmwanjululiza (enfuna) olwanjuluza.

15. Bwamala aluvubanira nnyo okuba nga mwongeza.

16. Awatali kuwannaanya mazima yoyo abadde nga ku mateeka gaffe mujeemu.

17. Nja kumubinika agabonerezo amasuffu.

18. Mazima yewuyo eyafumintiriza (ebikwata ku bubaka bwa Nnabbi) olwo ne yetegeka.

19. Kale n’akolimirwa olw’engeri gye yetegeka (okubyogerera amafuukuule)

20. Nate n’akolimirwa olw’engeri gye yetegeka.

21. Oluvannyuma n’aguumiika,

22. Oluvannyuma yafuna ekkabyo neyenyinyimbwa.

23. Oluvannyuma yadda ekyennyuma neyeekuluntaza.

24. Olwo n’alangirira nti: ‘Mazima kino ssi kirala okujjako bwe bulogo obusikirwa.

25. Mazima ekyo ssi kirala okujjako by’ebigambo eby’omuntu.

26. Nja ku musonseka Lubambula.

27. Ye kiki ekinaakumanyisa Lubambula kye kitegeeza?

28. Tegutaliza era tegulekaawo (kinu)

29. Sserusiriiza, gwategekerwa bantu.

30. Guliko (abakuumi) kkumi namwenda.

31. Ate tewali gwe twateekawo mu bakuumi b’omuliro okujjako ba Malaika. Era tetwateekawo muwendo gwabwe okujjako okugezesa abo abaajeema, ate kisobozese okufuna obukakafu abo abaawebwa ekitabo era beyongere abo abakkiriza obukkiriza. Era babulwemu akabuusabuusa abo abawebwa ekitabo n’abakkiriza, sso nga ddala boogera abo abalina mu mitima gyabwe ekirwadde n’abo abaajeema nti: kiki kyagenderedde Katonda mwekyo eky’okulabirako? Bwekityo Katonda abuza gwayagala era aluŋŋamya gwayagala. Naye tewali amanyi ggye lya Mukama Katonda Omulezi wo okujjako Yye. Era ebyo tewali kibigendererwamu, okujjako okujjukizza abantu.

32. Awatali kuwannaanya ndayidde omwezi.

33. Ndayidde ekiro bwekiba kisenvudde.

34. Ndayidde amakya bwe gaba gasaasaanye.

35. Mazima ogwo (Geyeeya) gwe gumu ku binnamuzisa ebisingayo obunene.

36. Olw’okulabula abantu.

37. Eri oyo aba ayagadde mummwe okugenda mu maaso oba ekyennyuma.

38. Buli mwoyo ekyo kye gwatakabanira gwakisingirwa (kye gwateerwawo okuba omusingo)

39. Okujjako abali ku ludda lwa ddyo.

40. Abali mu jjana nga bebuuza.

41. Ebikwata ku bonoonyi.

42. Nti: ‘Kiki ekyabayingiza mu Lubambula?’

43. Nebaddamu nti: tubadde tetwetaba na basaala.

44. Era tubadde tetuliisa bankuseere.

45. Era tubadde twedibaga n’abo abeedibaga.

46. Era tubadde tulimbisa olunaku lw’amasasula.

47. Okutuusa lwe kitutuuseeko ekituufu’.

48. Kale tewali kye kubagasa okuwolereza kw’abawolereza.

49. Naye babadde ki okuba nga Lulyowa bagyewala.

50. Nebafaanana endogoyi empaluufu.

51. Ezidduse abazirasa obusaale.

52. Wew’awo ayagala buli muntu kwabo okuwebwa ebitabo ebyanjuluze.

53. Awatali kuwannaanya, ddala bebo abatatya nkomerero.

54. Awatali kuwannaanya ddala yeyo (Qur’an) enzijukizi.

55. Era oyo aba ayagadde agyejjukizisa.

56. Naye mpawo bajjukira okujjako lwa kwagala kwa Katonda. Yewuyo alina ebisanyizo by’okutiibwa era yewuyo alina ebisanyizo by’okusonyiwa.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *