Skip to content
Home » 19. Mariam

19. Mariam

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

19. ESSUULA: ‘MARIAM’ (MK)

Yakkira Makka. Erina Aya 98

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Kaf. Ha. Ya. Ain. Swad.

2. Kuno kwe kunnyonnyola obusaasizi bwa Mukama Katonda Omulezi wo bwe yawa omuddu we Zakaria.

3. Ekiseera we yalaajanira Mukama Katonda Omulezi we olulaajana lw’ekyama.

4. Yagamba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, mazima nze gannafuye amagumba ne ganzigwa kumpagala era omutwe gunjase (nzenna) envi era ssirina lwennali nkuwanjagidde Ai Mukama Katonda Omulezi wange nengwa butaka’.

5. ‘Era mazima nze nfunye obweraliikirivu mu b’ekika kyange ab’okubeerawo oluvannyuma lwange, ne mukyala wange yagumbawala, kale ngemulira okuva gyoli Ai Mukama omwana’.

6. ‘Abe nga ansikira era asikire abamu ku bennyumba ya Yakuubu, era Omufuule, Ai Mukama Katonda Omulezi wange, ow’eggonjebwa’.

7. ‘Ggwe Zakaria; mazima ffe tukutuusaako amawulire amalungi ag’okufuna omwana ow’obulenzi erinnya lye ye Yahaya, teriiyo gwe twali tutuumye olubereberye linnya eryo.

8. Yabuuza nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange butya lwemba nga nfuna omwana awamu n’okuba nti mukyala wange abaddewo nga mugumba ate nga nange obukadde bummazeewo okunkutula?’

9. Yamuddamu nti: ‘Ekyo kirina kuba bwekityo! Bwatyo bwayogedde Mukama Katonda Omulezi wo nti: Ekyo kunze kyangu era mazima nakutonda naawe olubereberye sso nga mukusooka tolina kyewali kyonna.

10. Yasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, nteraawo akabonero’. Yamuddamu nti: ‘Akabonero kenkuteereddewo, bwe butasobola ggwe, kwogera na bantu ebiro bisatu ebijjuvu’. (ssonga oli mulamu katebule)

11. Yafuluma okugenda eri abantu be nga ava mu ssinzizo (Yekaalu) Bwatyo yalaza gyebali (akabonero akabalagira) nti: ‘Mulina okutendereza (okusinza Mukama) ku makya n’akawungeezi’.

12. (Eddoboozi lyakoowoola nti: ‘Ggwe Yahaya, (nga akyali bujje) kwata ekitabo (ekyo) n’obuvumu!’ Era twamuwa obulamuzi obw’obwannabbi nga muto.

13. N’obusaasizi obuva gye tuli n’obuluŋŋamu. Era yali atya nnyo Mukama.

14. Era nga ayisa bulungi bazadde be bombi era tabangako mawale omujeemu.

15. Kale emirembe gibe gyali olunaku kwe yazaalirwa n’olunaku lw’afa n’olunaku lw’azuukizibwa (nate) nga mulamu.

16. Kale nnyonnyola ebiri mu kitabo kino ekyafaayo kya Mariam, ekiseera we yeeyawulira okuva ku bantu be (n’agenda) mu kifo (ekirala) eky’ebuvanjuba.

17. Era yessizaawo olw’okubeeyawulako omujiji (ogumwawula eyo gyeyali nga asinza Katonda) bwetutyo twatuma gyali mwoyo waffe (Malaika Jiburilu) neyefanaanyiriza waali (Mariam) omuntu atuukiridde.

18. Yawanjaga (Mariam) nti: ‘Mazima nze nneekuumisa Mukama Katonda Omusaasizi ennyo oleme kuntukako ssinga obadde otya Katonda!’.

19. Yaddamu nti: ‘Amazima genyini nze wuyo (ali mumaaso go kati) ndi mubaka wa Mukama Katonda Omulezi wo, (asindikiddwa gyoli) okukugemulira omwana omulezi omutuukirivu’.

20. Yabuuza nti: ‘Nsobola ntya okuba nga nfuna omwana omulenzi nga teriiyo yali ankutteko mu bantu bonna ate nga ssiraayangako?’.

21. Yaddamu nti: ‘Ekyo kirina kuba bwekityo, bwatyo bwayogedde Mukama Katonda Omulezi wo nti: ‘Ekyo kunze kyangu’, era tulyoke tumufuule ow’ekyewuunyo eri abantu era obusaasizi obuva gyetuli’. Era kyali nti, eyo yensonga erina okutuukirizibwa.

22. Kale yali olubuto (lw’omwana omulenzi) neyeeyawula nalwo okudda mu kifo (ekirala) ekyewala.

23. Kale byamusimba ebisa (ebyamuwaliriza okwenyweza) ku nduli y’omutende ogwakala nga bw’awanjaga nti: ‘Nga zinsanze! Waakiri ssinga nnafa dda nga kino tekinnabaawo nemba nga nnali nneelabirwa dda atalina kyajjukirwako.

24. Bwatyo (Malaika) yamukoowoola nga asinziira (ku luuyi olwa) ekyemmanga we (Mariam) nti: ‘Lekeraawo okunakuwala, mazima Mukama Katonda Omulezi wo ateese kuluuyi olw’ekyemmanga wo ensulo z’akagga akakulukuta.

25. Era wenyenyeze enduli y’omuti gw’omutende gube nga gukukunkumulira entende ez’engedde.

26. Bwomala olye era onywe era obeere musanyufu, naye bwe wabaawo gwolaba omu ku bantu yenna, (n’abaako ky’akubuuza) muddemu nti: ‘Mazima nze nnakoze obweyamo ku lwa Mukama Katonda Omusaasizi ennyo okuba nga nsiiba, era ssijja kwogera olwaleero na muntu yenna’.

27. Bwatyo yagenda naye (omwana) eri abantu be nga amusitudde. Baamunenya nti: ‘Owange ggwe Mariam, mazima ozzizza omusango ogw’ekivve’.

28. Owange ggwe mwannyina Haruna, tekibangawo taata wo okuba nti muntu mwonoonefu era tekibangawo maama wo okuba nti malaaya’.

29. Bwatyo yalaza gyali (Eri omwana). Baamubuuza nti: ‘Kisoboka kitya okuba nga twogeranya n’oyo eyateereddwa mu kibaya nga bujje?’

30. Yabaddamu nti: ‘Nze ndi muddu omuweereza wa Katonda, yampa ekitabo era yanfuula nnabi

31. Era yanfuula wa mukisa eyo yonna gyennaaba ntuse era yannaamira okuba nga nsaala n’okuwaayo Zaka ebbanga lyennaaba mmaze nga ndi mulamu.

32. Era n’okuyisa maama wange obulungi era teyanfuula kiwagi omujeemu.

33. Kale emirembe ginaaba nga nange olunaku lwenzaliddwa n’olunaku lw’enfa n’olunaku lw’enzukizibwa nga ndi mulamu’.

34. Oyo ye Isa mutabani wa Mariam. Ky’ekigambo eky’amazima ekyo kyebafunirako enkayana.

35. Tekigwanangako eri Katonda okuba nga azaala omwana! Ekitiibwa kibe gyali Ai Mukama! Bwaba asazeewo ensonga yonna (mu bulamuzi bwe) mazima ekyo kyokka ky’akola kwe kugiragira nti: ‘Ba’. Neeba nga bwasazeewo.

36. Era mazima Allah asinzibwa ye Mukama Katonda Omulezi wange era Mukama Katonda Omulezi wammwe era gwemuba musinza yekka. Eryo ly’ekkubo eggolokofu’.

37. Kyokka byafuna enjawukana ebibinja (by’Abayudaaya n’Abanaswala) byokka na byokka (Ku nsonga ya Isa). Kale okuzikirizibwa kwabo abaajeema, we biribeererawo nga ebijulizi ebitonde byonna ku lunaku olw’ekitiibwa.

38. Baakufuna enkizo eyokuntikko mu kuwulira era baakugifuna mu kulaba (eby’okubaawo) ku lunaku lwe bakomawo gyetuli. Kyokka abalyazamanyi akakyokano baggweredde mu bubuze obweyolefu.

39. Ate balabule olunaku lw’amejjusa, nga zibadde zisaliddwawo ensonga, sso nga beemalidde (kati) mu butafaayo era nga tebakkiriza.

40. Mazima ffe baabo abasikira ensi n’abo abagiriko, era gyetuli gyebadda.

41. Kale nnyonnyola ebiri mu kitabo kino (ekyafaayo kya) Ibrahim. Mazima ye wuyo eyali ow’enkizo mu baamazima nga Nabbi.

42. Jukira bwe yabuuza Kitaawe nti: ‘Ssebo taata, osinzira kuki okusinza ebitawulira era ebitalaba, era ebitalina kye bikugasa ku nsonga yonna?’

43. ‘Ssebo taata, nzenno mazima nnafunye obumu ku buyivu obwo ggwe bwotofunanga. Kale ngoberera nsobole okukuluŋŋamya ekkubo ettereevu.

44. Ssebo taata toddayo kusinza Ssitaani. Mazima Ssitaani ewa Mukama Katonda Omusaasizi ennyo yali njemu.

45. Ssebo taata, mazima nze ndi mweraliikirivu okuba nti otuusibwako ekibonerezo ekiva ewa Mukama Katonda Omusaasizi ennyo nekikuviirako okuba nga Ssitaani gyewafuula munywanyi’.

46. Yabuuza nti: ‘Abaffe, osazeewo ggwe, okulaga obukyayi nga oyabulira ba lubaale baffe, ggwe Ibrahim?’ Ssinga ekyo tokikomezza, mazima nja kkukubira ddala amayinja. Era nvira toddanga wano’.

47. Yaddamu nti: ‘Emirembe gibe gyoli. Nja kwegayirira Mukama Katonda Omulezi wange ku lulwo akusonyiwe. Mazima yewuyo annumirwa nga ampisa bulungi.

48. Kale nsazeewo okubasegulira n’ebyo bye musinza ne mulekawo Katonda, era nze kansinze Mukama Katonda Omulezi wange, oba olyawo ssiyinza kubanga, engeri eno gyensinza Mukama Katonda Omulezi wange, ngwa butaka (nviramu awo).

49. Bwe yamala okubasegulira n’ebyo bye basinza nga baleseewo Katonda, bwetutyo twamugemulira Isihaka ne Yakuubu. Era buli omu twamufuula Nabbi.

50. Era twabagemulira obumu kubusaasizi bwaffe, era twabasobozesa okuba n’olulimi olwamazima olwatuukikira mungeri eyaawaggulu.

51. Kale nnyonnyola ebiri mu kitabo kino (ekyafaayo kya) Musa. Mazima yali mwesimbu era yali Mubaka nga Nabbi.

52. Kale twamukoowoola nga tusinzira ku ludda lw’olusozi olwa ddyo, era twamufuula ow’okulusegere gyetuli assibwa mu kyama.

53. Era twamugemulira obumu ku busaasizi obuva gyetuli, (nga tufuula) muganda we Haruna okuba Nabbi.

54. kale nnyonnyola ebiri mu kitabo kino (ekyafaayo kya) Isimail. Mazima yali muyitirivu mu kutuukiriza endagaano, era yali Mubaka nga abbi

55. Era yali alagira abantu be okusaala n’okuwaayo Zaka, era nga ewa Mukama Katonda Omulezi we yali asiimibwa. .

56. Kale nnyonnyola ebiri mu kitabo kino (ekyafaayo kya) Idiriisa. Mazima yali wa mazima nga Nabbi.

57. Era twamulinnyisa mu kifo ekyawaggulu.

58. Abo bebo Mukama Katonda be yawa omukisa nga be bamu abasangibwa mu kibinja kya ba Nabbi abasibuka mu bazzukulu ba Adam era n’abamu abasangibwa mu kibinja kye twasitula nga kiri ne Nuhu era n’abamu abasangibwa mu kibinja ekya bazzukulu ba Ibrahim ne Isimail, era n’abamu abasangibwa mu kibinja ky’abo be twaluŋŋamya netubaawula mu balala. Bwegaba gabasomerwa amateeka ga Mukama Katonda Omusaasizi ennyo, bakka wansi kuttaka okuvunnama nga bakaaba (olw’okutya Katonda).

59. Kyokka baabaddira mu bigere, nga bali baweddewo, abasigire abaasuula muguluka esswala era abaagoberera eby’obwagazi. Naye (Abo) bajja kutuuka ku kacwano.

60. Okujjako oyo ayeenenyezza era n’akkiriza era n’akola ebirungi, kale abo baakuyingira ejjana era teriiyo balyazamanyizibwa kintu kyonna.

61. Ejjana eya Aden (obutuuze kiwa mirembe) eyo Mukama Katonda Omusaasizi ennyo gye yasuubiza abaddu be nga nneekusifu. Mazima ekisuubizo kye ne kiba nga kituukirira.

62. Ssi ba kuwuliramu bya muzannyo, mpozzi (okulamusiganya nti): ‘Mirembe’. Era baakufuniramu ebigabirirwa byabwe ku makya n’akawungezi.

63. Bwetyo ejjana (bweri) eyo gye tusikiza abamu ku baddu baffe, oyo yenna atya Katonda.

64. Ate teriiyo kye tussa wabula nga kiragiddwa Mukama Katonda Omulezi wo. Ye yekka abirinako obwannannyini ebyo bye tulina kati nebyo eby’okubeerawo oluvannyuma lwaffe n’ebyo ebiri awo wakati. Era Mukama Katonda Omulezi wo naaba nga talinaayo kyeyerabira.

65. Ye Mukama Katonda Omulezi w’eggulu n’ensi n’ebyo ebiri wakati wa byombi. Kale oyo gwe mulina okusinza era munywerere ku kumusinza. Abaffe olina gwomanyiyo (omulala) amweyungako nga amwenkana?

66. Kyoka omuntu yebuuza nti: ‘Abaffe bwemba nnafa dda, ate ndijjibwayo nate nga ndi mulamu?’

67. Abaffe omuntu takyasobola kujjukira nti, mazima ffe twamutonda olubereberye sso nga teyasooka kuba kintu kyonna?

68. Aga Mukama Katonda Omulezi wo, mazima turina okubakuŋŋaanya nga bali wamu ne Ssitaani, bwe tumala nga tubasembereza ddala okumpi ne ggeyeena, nga bamwetoolodde, nga bafukamidde ku maviivi gabwe amayimirira.

69. Bwe tumala (ekyo) nga mazima tukwakkula mu buli kibinja, eyali ayitiriza ewa Mukama Katonda Omusaasizi ennyo okuba mawale kajeemera.

70. Ekyo nga kiwedde, mazima ffe tusinga okumanya abo abasinga bannaabwe okuba n’ebisanyizo eby’okugubasonseka (omuliro).

71. Ate teriiyo oyo yenna mummwe wa kusimattuka kuguyitako, (omuliro) ekyo nekiba nga ewa Mukama Katonda Omulezi wo yakisalawo nga kirina okutuukirizibwa.

72. Ekyo nga kiwedde netuba nga tuwonya abo abaakulembeza okutya Katonda, era netuleka abajeemu mu mbuga yagwo (omuliro) nga bafukamidde ku maviivi (gabwe) amayimirira.

73. Era nga bwe basomerwa amateeka gaffe amannyonnyofu, bali abajeemu nga babuuza bano abakkiriza nti: ‘Kibinja ki ku bibinja byombiriri ekisinga (kinnaakyo) okuba mu mbera ennungi era ekisinga embuga ennungi’.

74. Kale kameka nga tuzikiriza olubereberye lwabwe enkuyanja y’emirembe egyo egyabasinza amakula g’ebikozesebwa era ebisanyusa okulaba.

75. Bategeeze nti, oyo eyeemalidde mu bujeemu, kale aba abumugaziyiza (obujeemu bwe) Mukama Katonda Omusaasizi ennyo olugaziya, okutuusiza ddala nga beroredde ebyo bye basuubizibwa ssi nsonga kibonerezo oba essaawa envannyuma, olwo bajja kumanya ani oyo ow’okubeera mu kifo ekisingayo okuba ekibi era asinza okuba n’engajaba zabalwanirizi.

76. Era Katonda naaba nga ayongera abo abaaluŋŋana obuluŋŋamu. Ate nga eby’okusigalawo ebirungi by’ebirina enkizo ewa Mukama Katonda Omulezi wo okufunyisa empeera ennungi, era bwe businga okuba obulungi obuddiro.

77. Abaffe olabye oyo eyajeemera amateeka gaffe era eyagamba nti: ‘Nja kufunirwa emmaali (nkuyanja) n’abaana!’

78. Abaffe alinayo kye yasomola kyonna nga kyama, nandiki waliwo engeri gyeyakolamu ne Mukama Katonda Omusaasizi ennyo endagaano?

79. Ensonga tezirina kuba bwezityo. Ffe tujja kuwandika ebyo byayogera era tumugaziyirize kalonda w’ebibonerezo olugaziya.

80. Ate ffe tumusikiza byayogera era alina kujja gyetuli mu bwannamunigina.

81. Kale abo beeteerawo nga ojjeeko Katonda, ba lubaale ab’okusinza, mbu olwo bababeerere abayambi abaamaanyi.

82. Awatali kuwannaanya ba lubaale bajja kwegaana okusinza kwabwe (bonna abo abajeemu) era babeerere ddala kyennyume gyebali.

83. Abaffe ggwe tolaba engeri gye twasindika ssitaani eri abajeemu nga zibayuuguumya oluyuuguumya.

84. Kale ggwe basse akasiiso. Ffe kyetuliko kya kubabalirira olubalirira.

85. Olunaku lwe tukuŋŋaanya abatya Katonda ewa Mukama Katonda Omusaasizi ennyo nga bali kibinja.

86. Ate ne tusindikiriza aboonoonefu okugenda mu ggeyeena nga bajjudde eŋŋanzi.

87. Ssi ba kufunirayo kuworerezebwa kwonna okujjako oyo eyakola ne Mukama Katonda Omusaasizi ennyo endagaano.

88. Kale baamokkola eggambo nti: ‘Mukama Katonda Omusaasizi ennyo yazaala omwana!’.

89. Mazima kye mukoze kye kikolwa nnamuzisa.

90. Libulako katono eggulu lyonna (olw’obusungu obungi) okweyuza olw’ekigambo ekyo, era ejula kweyasa mbajjo ensi yonna, era zijula kwekkata wansi ennume y’ekigwo, ensozi zonna zimerenguke.

91. Olw’okuba babijwetese nti, Mukama Katonda Omusaasizi ennyo yazaala omwana.

92. So nga tekimugwanira Mukama Katonda Omusaasizi ennyo okuba nti yazaala omwana

93. Teriiyo ngeri ndala abo bonna abali muggulu n’ensi gyebalina kubeeramu okujjako nga bonna beyanjula eri Mukama Katonda Omusaasizi ennyo nga baddu buddu.

94. Mazima nga yamala okubakomekkereza era nga yababalirira olubalirira.

95. Era bonna ba kugenda gyali ku lunaku lw’amayimirira mu bwannamunigina.

96. Mazima abo abakkiriza era abaakola ebirungi, Mukama Katonda Omusaasizi ennyo ajja kubafissizaawo omukwano ogwannamaddala.

97. Kale mazima twagifuula ennyangu (Qur’an) nga eri mu lulimi lwo, ogyeyambise okutuusa amawulire amalungi eri (abo) abatya Katonda, era ogyeyambise okulabula abantu ba Ssempaka.

98. Kale kameka nga tuzikiriza olubereberye lwabwe enkuyanja y’emirembe, Abaffe okyalinayo gw’owulira, ava mu kibinja kyabwe omuntu yenna, nandiki waliwo kwowulira, okubavaamu kwonna, nga kukwakwaya?

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *