Skip to content
Home » 8. Al – Anfal\l (Emigyago)

8. Al – Anfal\l (Emigyago)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

8.ESSUULA AL-ANFAAL: ‘EMINYAGO’

Yakkira Madiina, Erina Aya 75.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Bakubuuza obwannannyini ku minyago, baddemu nti: ‘Eminyago gya Katonda n’omubaka!’. Kale mutye Katonda era mulongose embera eri wakati mummwe. Era mugondere Katonda n’omubaka we bwe muba abakkiriza.

2. Mazima abakkiriza abatuufu bebo ababa nti ssinga Katonda atenderezebwa, gifuna okutya emitima gyabwe, era bwe gabasomerwa amateeka Ge, gabongera obukkiriza, ate nga Mukama Katonda Omulezi wabwe yekka gwe besigamira.

3. Abo abayimirizaawo okusinza nga basaala, era nga kwebyo bye twabagabira bawaayo.

4. Bebo abakkiriza abannamaddala. Baafuna amadaala amalungi ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe, n’okusonyiyibwa n’ebittafuttafu eby’ekitiibwa.

5. Olw’okuba yakufulumya Mukama Katonda Omulezi wo mu maka go olw’ensonga entufu (okugenda okutabaala) ate nga mazima ekibinja kiramba ekiri mu bakkiriza abamu tekyagala.

6. bakukaayanya kunsonga entufu nga bimaze byonna okweyerula, gyoli nti basikaasikanyizibwa kutwalibwa mu ttambiro nga balaba!

7. Jukira Katonda lwe yabalagaanyisa okwaŋŋanga ekimu ku bibinja ebibiri, nti ekyo mazima mujja kukiwangula, ate mmwe ne mwegomba okwaŋŋanga ekitaliimu ndasi, kye muba muwangula, sso nga Katonda kyayagala kwekunyweza ekituufu n’ebigambo bye era abetente embavu z’abajeemu.

8. Olwo anyweze amazima era asaanyeewo ebikyamu ekyo nebwebanaakitamwa aboonoonefu.

9. Jjukira lwe mwawanjagira Mukama Katonda Omulezi wammwe era n’abaanukula nti: ‘Mazima nja kubongereza ku balwanyi bammwe, eggye lya lukumi lulamba erya ba Malaika nga bagoberegana.

10. Era ekyo Katonda tewali kirala kye yakigendereramu okujjako okuleetawo essanyu, era emitima gyammwe gitebenkerereko. Naye nga teriiyo buwanguzi bubeerawo okujjako obuva ewa Katonda. Mazima Katonda ye Luwangula Ssaabalamuzi, Kalimagezi.

11. Jjukira lwe yababunyisa okuwujjaalako, nga ke kalembereza ke mwafuna okuva gyali, era nassa gyemuli okuva muggulu amazzi olw’okugeyambisa okubatukuza n’okubamalamu okubuzaabuza kwa Ssitaani n’okutaba awamu emitima gyammwe n’okugeyambisa okunyweza ebigere (byammwe).

12. Jjukira Mukama Katonda Omulezi wo we yabikkulira ba Malaika obubaka obutegeeza nti: ‘Mazima ndiwamu nammwe, kale mugumye abo abakkiriza banywere. Nange nja kusonseka mu mitima gya bali abaajeema entiisa’. Kale mu basanjage waggulu kunsingo era mu basanjageko engalo zonna.

13. Kiri bwekityo olwokuba mazima bebo abaakaluubiriza Katonda n’omubaka we. Era oyo akaluubiriza Katonda n’omubaka we, olwo mazima Katonda abeera muyitirivu wa bibonerezo.

14. Biibyo kale mu biregeeko, era mazima kyabajeemu bokka ekibonerezo ky’omuliro.

15. Abange mmwe abakkiriza, bwemuba musisinkanye eggye lyabo abaajeema nga likwetuka lijja gyemuli temulikyusiza amabega okudduka.

16. Era oyo alikyusiza olunaku olwo amabega ge okudduka; okujjako oyo aba akuba ekimmooni anywerere olutalo, oba oyo ayeyunga ku kibinja kye; kyokka oli, mazima aba azzeeyo n’okusunguwalirwa okuva ewa Katonda, era obuddo bwe ye ggeyeena, ate nga bubi nnyo obubudamu obwo.

17. Kale ssimmwe mwabatta wabula Katonda ye yabatta. Era ssi ggwe wakasuka bwe wali okasuka, wabula Katonda ye yakasuka. Olwo ekigezo alyoke akituuse ku bakkiriza ekiva gyali nga ngezesa nnungi.

18. Bwebityo mmwe bwebiba, era mazima Katonda ye mufuluzi w’enkwe z’abajeemu.

19. Bwemuba musaba buwanguzi, kale mazima bwabatuukako dda obuwanguzi. Era bwemuba mukomye awo ekyo kyekisinga obulungi gyemuli. Era bwe muwanuuza okuddamu obulumbaganyi nga naffe tuddamu, ate tebirina kyebijja kubayamba ebibinja byammwe ku kintu kyonna nebwebinaayala bitya, era mazima Katonda ali wamu n’abakkiriza.

20. Abange mwe abakkiriza, mugondere Katonda n’omubaka we era temumwebalama ate nga muwulira.

21. Era temubeera nga bali abaagamba nti: ‘Tuwulidde’, sso nga bebo abatalina kye bawulira.

22. Mazima ekisingayo obubi mu biramu ewa Katonda be bakiggala bakasiru abo abatategeera.

23. Era ssinga Katonda yamanyayo akabavaamu nga kalungi yalibasobozesezza okuwulira. Era ssinga yabasobozesa okuwulira baalikubye enkyukira nga bebo abawakanya.

24. abange mmwe abakiriza mwanukule omulanga ku lwa Katonda ne kulw’omubaka bwaba abakoowodde okudda eri ebyo ebibawa obulamu era mumanye nti mazima Katonda asiisidde awo wakati w’omuntu n’omutima gwe, era yewuyo nga ggyali gyemukuŋŋanyizibwa.

25 era mutye nnyo akabi k’ekigezo ekitasosola abo abajeema nga bava mu kibinja kya mmwe bokka. Era mumanye nti mazima Katonda muyitirivu wa bibonerezo.

26 ate mujjukire nga mmwe batono abalemesebwa okubaako kyemusalawo mu nsi nga mutya okuba nga abantu babakwakkula, kale yababudamya era yabanyweza n’obuwanguzi bwe era yabagabirira ebimu ku birungi musobole okusiima.

27. Abange mwe abakkiriza temukumpanya Katonda n’omubaka, ekinaabaviirako okukumpanya obwesige bwammwe nga nammwe mumanyi.

28. Era mumanye nti embera yokka emmaali yammwe n’abaana bammwe gye bibabalirwako y’eyaffitina (ekigezo) ate mazima Katonda alina empeera ennene.

29. Abange mmwe abakkiriza ssinga mutya Katonda, olwo aba abasobozesa okumanya enjawulo, (y’ekituufu n’ekikyamu) n’okubakendezaako ebibi byammwe n’okubasonyiwa. Kale Katonda ye Nnyini birungi ebiyitirivu.

30. Kale jjukira awo nga bakwekobaanira abo abaajeema okukufuula omuwambe, oba okukutemula oba okukuwaŋŋangusa. Olwo nebakola enkwe nga Katonda bwatebuka enkwe ezo. Kale Katonda yasinga obulungi okutebuka enkwe.

31. Bwe baba basomerwa amateeka gaffe, bagamba nti: ‘Nga ebyo twabiwulira dda! Ssinga twagala naffe twalyogedde ebiringa ebyo. Tewali ebyo ngeri gyebitwalibwamu okujjako okubeera enfumo zabo abaakulembera’.

32. Era jjukira (abajeemu) lwebagamba nti: ‘Ai Katonda; ssinga kibadde nti ago getugaanyi ge mazima agava gyoli, kale tukube amayinja agafukumuka nga enkuba nga gava mu Ggulu oba tutuuseeko ekibonerezo ekirala ekiruma’.

33.Ssonga Katonda tekyamugwanira kubabonereza ate nga bebo abasaba okusonyiyibwa.

34. Naye tewali nsonga ndala gyebalina erobera Katonda okubabonereza nga bebo abakugira omuzigiti gw’emizizo, ssonga tebabangako bayima bagwo. Teriiyo bayima bagwo balala okujjako abo abatya Katonda, kyokka abasinga obungi mu kibinja kyabwe tewali kye bamanyi.

35. Era tewali ngeri ndala okusinza kwabwe gye kwalimu, okujjako okufuuwa emirere n’okukuba mu ngalo. Kale mukombesebwe ku kibonerezo olw’ebyo bye mwali muwakanya.

36. Mazima abo abaajeema bawaayo emmaali yabwe nga bagenderera okutangira (abalala okukwata) ekkubo lya Katonda. Kale bajja kugiwaayo naye ebaviireko okufaafaagana oluvannyuma kibaviireko okuwangulwa. Era abo abaajeema, (ekkubo) eridda muggeyeena gye bazuukizibwa.

37. Olwo kisobozese Katonda okwawula ababi mu balungi, era abe nga agattika ababi abamu ku bannaabwe, abe nga abatuuma wamu okubasonseka mu Ggeyeena. Bebo abali mu kufaafaaganirwa.

38. Ggwe tegeeza abo abaajeema nti: ‘Ssinga bekomako olwo nga basonyiyibwa ebyo ebyakulembera, ate ssinga bakuba enkyukira, mazima eky’okubatuukako kyayita dda mu nneeyisa zabo abaasooka.

39. Kale mubalwanyise okutuusa okulemesa ffitina (ekigezo ekibi) okusimba amakanda, olwo eddiini (enzikiriza) yonna ebe nga ekolerwa Katonda yekka. Naye bwebeekomako, mazima Katonda byonna bye mukola ye Mulabi wabyo.

40. Ate bwe baba bakubye enkyukira, olwo mumanye nti mazima Katonda ye Mukuumi wammwe. Omukuumi ow’omukisa era Omutaasi ow’omukisa.

41.Era mumanye nti embera yokka egobererwa kwekyo kye mufunye nga omunyago, mazima Katonda ayawuzibwako kimu kya kutaano kyagwo, n’omubaka ayawuzibwako, n’abeŋŋanda bayawuzibwako, ne bamulekwa bayawuzibwako, n’abanaku bayawuzibwako, n’abatambuze bayawuzibwako, bwe muba mwakkiriza Katonda n’ebyo byetwassa ku muddu waffe ku lunaku lwa nsalensale, olunaku lwe byasisinkana ebibinja ebibiri. Kale Katonda buli kintu ye Musobozi wakyo.

42. Jjukira awo, mmwe lwe mwasimba amakanda ku luuyi lw’ekiwonvu olw’okumpi nga nabo basimbye amakanda ku luuyi lw’ekiwonvu olw’ebunaayira, nga n’entwala y’ebyamaguzi babikubye amabega (abalabe bammwe) okuboolekera. Ate ssinga mwaalagaalaganya mwalyawukanye mu lusisinkana (lwammwe) n’omulabe. Sso nga Katonda ayagala ku salawo ggoye nga y’ensonga erina okukolebwa, olwo atuuke okuzikirira oyo aba azikiridde nga amaze ku manya kituufu, era atuuke okuwona oyo aba awonye nga amaze kumanya kituufu. Era mazima Katonda ye Muwulizi Omumanyi.

43. Jjukira Katonda lwe yabakulagira mu kirooto nga batono. Sso nga bweyaalibakulaze nga bangi mwalifootose era mwalikaayanidde munsonga, kyokka Katonda yanyweza emirembe. Mazima yewuyo Omumanyi w’ebyo ebiri mu mmeeme.

44. Ate jjukira lwe yababalaga, awo lwe mwasisinkana, nga mukulaba kwammwe mubanyomesa amaaso, ate mu kulaba kwabwe nga muli batono, olwo Katonda alyoke asalewo ensonga eyali eteekwa okukolebwa. Era eri Katonda y’ezzibwa ensonga zonna.

45. Abange mmwe abakkiriza, bwemuba mu sisinkanye ekibinja kyonna (eky’omulabe) munywere era mutendereze nnyo Katonda, olwo mube nga muganyulwa.

46. Era mugondere Katonda n’omubaka we, naye temuneneŋŋana, nekibafootola nekiggwaamu ekitiibwa kyammwe. Era mugumiikirize, mazima Katonda ali wamu n’abagumiikiriza.

47. Era temwefaananyiriza bali abaafuluma mu maka gabwe (okugenda okutambula) nga bajjudde amalala n’okwelaga eri abantu (okukola bandabe), era ne batangira ekkubo lya Katonda. Kale Katonda ebyo bye bakola abyebunguludde.

48. Era jjukira Ssitaani lwe yabalungiyiza emirimu emibi, n’ebagamba nti: ‘Teriiyo muntu yenna asobola kubawangula olwaleero! era mazima ndi wa kulusegere nnyo nammwe’, kyokka bwe byamala okulabagana ebibinja ebibiri, yo yayotta buyossi nga emaze okukyukira ku bisinziiro byayo byombi, era yagamba nti: ‘Nze mbabulidde nze waliwo kyendaba mwe kyemutalaba, Nze mazima ntya Katonda’. Kale Katonda ye muyitirivu w’ebibonerezo.

49. Jjukira abannanfusi we baagambira bali abalina ekirwadde (ky’obunnanfusi) mu mitima gyabwe nti: ‘Abo ebakubye eddolera eddiini (enzikiriza) yabwe!’ Kyokka oyo yenna eyeesigamira Katonda, mazima Katonda ye Luwangula Ssabalamuzi.

50. Ate ssinga werolera (embera ebeerawo) nga ba Malaika bavumbagira entunnunsi za bali abaajeema (okubafiisa) nga babakuba mu bwenyi bwabwe n’amabega gabwe, (nga bwe babaamira nti:)’Kale muloze ku kibonerezo kya Ggeyeena’.

51. Ekyo kiva kubiri bye gyakulembeza okukola emikono gyammwe n’okuba nti Katonda talinaayo bulyazamanyi bwatuusa ku baddu.

52. Tewali njawulo na bantu ba Firawo nabali abaaliwo olubereberye lwabwe. Baajeemera amateeka ga Katonda, olwo Katonda n’abasaanyawo nga balemedde mu byonoono byabwe. Mazima Katonda wa maanyi Omuyitirivu w’ebibonerezo.

53. Kiri bw’ekityo kubanga mazima Katonda tasalawo kukyusa kyengera kyeyagabira abantu, okutuusa lwe batanula okukyusa embera eziri mubo. Era mazima Katonda Muwulizi Mumanyi.

54. Tewali njawulo na bantu ba Firawo, nabali abaaliwo olubereberye lwabwe. Baalimbisa amateeka ga Mukama Katonda Omulezi wabwe. Olwo ne tubazikiriza olw’ebyonoono byabwe, Era twazikiriza abantu ba Firawo. Era bonna abo baali balyazamanyi.

55. Mazima ekisingayo obubi mubiramu ewa Katonda, bebo abaajeema era nebaba nga tebakkiriza.

56. Bebo be wakola n’ekibinja ekimu mubo endagaano, bwe bava awo ne bamenya endagaano zabwe buli mulundi (lw’ozikoze nabo), era nga tebaliimu kutya Katonda.

57. Kale ssinga obazinze n’obasangiriza mu lutalo basanyeewo, nga obakutula ku bali ababavaako emabega, olwo basobole okwebuulirira

58. Ate ssinga weraliikirira ekibinja kyabantu abamu okukulyamu olukwe, (ate nga wali okoze nabo endagaano) olwo nawe batebuke omenyewo endagaano zabwe okubafanana. Mazima Katonda tayagala bakuusa.

59. Era tebasuubirira ddala abo abaajeema nti baasimattuka ekibonerezo. Mazima bebo abatalinaayo kyebayinza kulemesa.

60. Kale mubeteekereteekere okubaŋŋanga n’ebyokulwanyisa ebya buli ngeri bye muba musobodde, n’omufuubeeto gw’embalaasi (ez’okulwanyisa) mube nga mutiisa omulabe wa Katonda era omulabe wammwe n’abo abali emabega wabwe, mmwe temubategeera, Katonda y’abategeera. Ate ekyo kye muwaayo mu kkubo lya Katonda kibasasulwa bulambirira, era nga mmwe teriiyo alyazamanyizibwa.

61. Era bwe baba bakubye empenda ezireeta emirembe, kkiriza okuzigoberera era wesigamire Katonda yekka. Mazima ye wuyo Omuwulizi Omumanyi.

62. Ate bwe baagala okukulyamu enkwe, mazima Katonda ggwe akumalira. Ye wuyo Mwene eyakunyweza n’okutaasa kwe era n’okwabakkiriza.

63. Era yataba bumu emitima gyabwe (abakkiriza). Ssinga wawaayo ebiri munsi byonna tewaalisobodde kutaba bumu mitima gyabwe, wabula Katonda yasobola okugitaba obumu. Mazima yewuyo Luwangula Kalimagezi.

64. Owange ggwe Nabbi, Katonda akunamira wamu n’abo abaakugoberera mu kibinja ky’abakkiriza.

65. Owange ggwe Nabbi, perereza abakkiriza ku ky’okulwana. Ssinga ekibinja ekiva mummwe kiba kya balwanyi makumi abiri abagumiikiriza, baba bawangula bikumi bibiri. Era ssinga ekibinja ekiva mumwe kiba kya bajaasi kikumi, baba bawangula lukumi olwabali abaajeema, olw’okuba abo be bantu abatatageera.

66. Kaakano Katonda abateewuluzzaako, era yakimanya nti mazima mulinamu abanafu. Kati ssinga ekibinja ekiva mummwe kiba kyabajaasi kikumi abagumiikiriza, baba bawangula bikumi bibiri. Era ssinga ekibinja ekiva mummwe kiba kya bajaasi lukumi, baba bawangula enkumi bbiri, olw’obuyinza bwa Katonda. Kale Katonda ali wamu n’abagumiikiriza.

67. Tekyagwanira Nabbi kubeera na bawambe ba lutalo, okutuusa lwasobola okulinnya abalabe ku nfete munsi. Mwe kyemwagala bye by’okufuna by’ensi ssonga Katonda ayagala byankomerero. Era Katonda ye Luwangula Ssaabalamuzi.

68. Ssinga etteeka eriva ewa Katonda teryasalibwawo lubereberye, kyalibatuuseeko olw’ebyo bye mwatwala, ekibonerezo ekyamaanyi.

69. Kale mulye kwebyo byemufunye nga eminyago, nga ssi byamuzizo gyemuli nga birungi. Era mutye Katonda, mazima Katonda ye Musonyiyi ow’okusaasira okw’enjawulo.

70. Owange ggwe Nabbi, tegeeza abo be mulina mu mikono gyammwe, abali mu kibinja kyabawambe nti, Katonda bwamanya ekiri mu mitima gyammwe nga kirungi, aba abawa ekirungi ekisinga ekyo ekya baggyibwako, era abasonyiwa, kubanga Katonda ye Musonyiyi ow,okusaasira okwenjawulo.

71. Naye bwe begomba okukulyamu olukwe, mazima nazzikuno baakumpanya Katonda kyokka n’abafumbikiriza n’abasaanyaawo! Kale Katonda ye Mumanyi Ssabalamuzi.

72. Mazima abo abakkiriza era abaasenguka era abaalwanirira, nga beyambisa emmaali yabwe n’obulamu bwabwe, ekkubo lya Katonda, era n’abo abaabudamya (abakkiriza) era abaabataasa, bebo nga ekibinja kyabwe ekimu ky’ekikuumi ky’ekibinja ekirala. Ate bali abakkiriza ate ne batasenguka, tewali ngeri gyovunaanyizibwa kubakuuma kunsonga yonna, okutuusa lwe basenguka, kyokka bwe baba babawanjagidde okubataasa mu by’eddiini, muteekwa okubataasa, okujjako bwe baba baŋŋanga abantu abalina wakati wammwe nabo endagaano (y’obutatabaalagana). Kale Katonda bye mukola ye Mulabi wabyo.

73. Era bali abaajeema, ekibinja kyabwe ekimu ky’ekikuumi ky’ekibinja ekilala. Kati ggwe bwotoogoberere biri, nga akabi akali mu kigezo (ffitina) kasimba amakanda munsi n’obwonoonefu obuyitirivu.

74. Era abo abakkiriza, era abaasenguka era abaalwanirira ekkubo lya Katonda, n’abo abaabudamya (abakkiriza) era abaabataasa, bebo abakkiriza abannamaddala. Balina okusonyiyibwa (ebyonoono) n’okugabirirwa eby’okulya (ebittafuttafu) eby’ekitiibwa.

75. Era abo abakkiriza oluvannyuma ne basenguka era nebalwanira wamu nammwe, abo be bamu ku kibinja kyammwe. Era abeŋŋanda, ekibinja kyabwe ekimu kirina obuvunanyizibwa obw’enkizo okusinga ekirala, nga ky’ekyo ekyakakasibwa mu kitabo kya Katonda. Mazima Katonda buli kintu ye Mumanyi wakyo.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *