Skip to content
Home » 29. Al – Ankabut (Nabbubi)

29. Al – Ankabut (Nabbubi)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

29. ESSULA: AL-ANKABUT, ‘NABBUBI’

 

Yakkira Makka. Erina Aya 69.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Alif,Lam. Mim

2. Abaffe abantu basuubidde okulekwa obulekwa, okwogera obwogezi nti twakkiriza naye nga tebagezesebwa?

3. Mazima twagezesa bali abaabasookawo. Era Katonda amanyira ddala abo abaali abaamazima era amanyira ddala abalimba.

4. Nandiki basuubidde abo abakola ebyambyone nti basobola okutusimattuka? Bibi nnyo ebyo byebalamula.

5. Oyo alina essuubi ly’okusisinkana Katonda mazima entuko za Katonda zijja kutuukirira era ye wuyo Omuwulizi Omumanyi.

6. Era oyo afubye okukola, mazima ekyo kyaba afubirira y’emmeeme ye. Mazima Katonda ye Mugagga eyemalirira mpawo kyeyetaaga ku bitonde.

7. Ate abo abakkiriza era abaakola ebirungi tuba tubakenderezaako ddala ebibi byabwe era tuba tubasasulira ddala ekisinga obulungi kwebyo bye baali bakola.

8. Kale twalaamira omuntu bazadde be okubayisa obulungi; Naye ssinga bakufubako, osikirizibwe okungattako ebyo byotalina kyobimanyiko tobagondera. Gyendi y’eri obuddo bwammwe, (mwenna) mbe nga mbategeeza bye mwali mukola.

9. Ate abo abakkiriza era abaakola ebirungi tuba tubayingiriza ddala mu luse lw’abalongofu.

10. Kale abantu abamu mulimu abagamba nti: ‘Twakkiriza Katonda, kyokka ssinga anakuwazibbwa olwa (okuyimirizawo eddiini ya) Katonda agerageranya ekigezo ky‘abantu mungeri eterina njawulo na kibonerezo kya Katonda, ate bwe buba butuuse obuwanguzi obuva ewa Mukama Katonda Omulezi wo olwo babategeereza ddala nti: ‘Mazima ffe tubadde bumu nammwe!’. Abaffe Katonda naye asobola obutamanya ebyo ebiri mu bifuba bya bitonde byonna?

11. Kale Katonda aba amanyidde ddala abo abakkiriza era aba amanyidde ddala abannanfusi.

12. Ate abo abaajeema baategeeza abo abakkiriza nti: ‘Mugoberere ekisinde kyaffe era ffe tuvunanyizibwa okwetikka ebyonoono byammwe!’ Sso nga bbo tebavunanyizibwa kwetikka ku byonoono byabwe kintu kyonna. Mazima bebo abalimba.

13. Kale ba kwetikkira ddala obuzito bwabwe n’obuzito obulala obwegatta ku buzito bwabwe era, babuulizibwe ddala ku lunaku lwamayimirira ebyo bye baali bagunjawo.

14. Kale mazima twatuma Nuhu mu bantu be era yabalwamu ebbanga lya myaka lukumi nga ojjeeko ataano, olwo ne gabazikiriza amataba nga balemedde mu bujeemu.

15. Bwetutyo twamuwonya n’abali mu lyato, era ekyo twakifuula ekyamagero ekiyigiriza ensi.

16. (Netutuma) ne Ibrahim. Jukira lwe yalagira abantu be nti: ‘Musinze Katonda era mu mutye! Ekyo kyekisinga obulungi gye muli bwe muba mumanyi’.

17. ‘Mazima ebyo bye musalawo okusinza nga muvudde ku Katonda, bifananyi era mujwetekawo bya bulimba. Mazima ebyo bye musinza nga muleseewo Katonda tebirina buvunanyizibwa gye muli bwa kubagabirira, kale munoonye okuva ewa Katonda yekka obugabirizi era mu musinze era mu musiime. Gyali mwenna gye muzzibwa.

18. Naye bwe mujeema, mazima gyali migyemu emirembe nfafa egya basookawo. Era tewali kyavunanyizibwa kirala omubaka okujjako okutuusa obubaka obwanjulukufu’.

19. Abaffe balemeddwa okwerolera engeri Katonda gyatandika okutonda ebitonde, bwamala abizzaawo. Mazima ekyo ewa Katonda kyangu.

20. Balagire nti: ‘Mutambule munsi mwerolere engeri (Katonda) gye yatandikawo obutonde. Oluvannyuma Katonda abisibula olusibula olusembayo. Mazima Katonda buli kintu ye Musobozi.

21. Abonereza gwayagala era asaasira gwayagala era gyali gyemuzzibwa.

22. Era tewali mmwe kyemuyinza kulemesa (kutuukirizibwa) munsi newankubadde mu ggulu. Era temulinaayo nga ojjeeko Katonda mukuumi yenna wadde omutaasi.

23. Naye abo abaajeemera amateeka ga Katonda n’okumusisinkana, bebo abatakyalina ssuubi lya (kufuna) busaasizi bwange, era bebo ab’okufuna ekibonerezo ekikakali.

24. Naye tewaaliwo ngeri ndala gye baayanukula abantu be (Ibrahiim) okujjako okugamba nti: ‘Mu mutte oyo oba ssi ekyo mu mwokye!’. Naye Katonda yamuwonya obutayokebwa muliro. Mazima ekyo kirimu ekyamagero ekiyigiriza abantu abakkiriza.

25. Yabagamba nti: ‘Mazima ebyo bye mwessizaawo nga muvudde ku Katonda, bifananyi, ekyo nga kyemwegombye mwekka mu buwangazi bwensi. Ekyo nga kiwedde ba kuwakanya abamu mummwe bannaabwe, era ba kukolimira abamu mummwe bannaabwe, era obuddiro bwammwe gwe muliro era temulinaawo ba bataasa.

26. Bwatyo Luutu yamukkiriza era yagamba nti: ‘Nze nsazeewo kusenguka kudda eri Mukama Katonda Omulezi wange. Mazima yewuyo Luwangula Omulamuzi.

27. Kale twamugemulira (ezzadde lya) Isihaka ne Yakuubu era twassa muzzadde lye obwannabbi n’ekitabo era twamusasula empeera ye munsi, nate mazima yye, ku lunaku lw’enkomerero wa kuba mu luse lwa batuukirivu.

28. Ne Luutu (Naye twamuwonya), Jjukira lwe yategeeza abantu be nti: ‘Mazima mmwe mukolera ddala eby’obuwemu ebitalina yali abibasooseeko (ku bikola) noomu mu bantu bensi yonna.

29. Abaffe musalirawo ddala mutya mmwe okuganza abasajja n’okukola obwakkondo mu makubo n’okukuŋŋaanira mu bibinja byammwe okukola ebyambyone. Naye tewaaliwo ngeri ndala gye baayanukula abantu be (Luutu) okujjako okugamba nti: ‘Kale tutuseeko ekibonerezo kya Katonda bwoba oli wa mazima.

30. Yasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange ntasa ku bantu abonoonefu.

31. Naye bwe baamala ababaka baffe okutuuka eri Ibrahim nga bamutwalidde amawulire ag’essanyu baamutegeeza nti mazima tulina okuzikiriza abantu b’ekyalo kino. Mazima abantu bakyo baalemera mu bwewagguzi.

32. Yabategeeza nti: ‘Mazima Luutu ali eyo!’ baamuddamu nti: ‘Ffe tusinga okumanya (abalongofu) abalimu. Oyo yye turina kumuwonyeza ddala n’abantu be nga ojjeeko mukyala we eyasalilwawo okusigala (mu kibonerezo).

33. Naye bwe baamala ababaka baffe okutuukirira Luutu yajjirwa okubeeraliikirira (okutuusibwako) ekibi, era emmeeme ye yafundiwalirwa ku lwabwe okusala amagezi, naye baamugumya nti: ‘Totya era tonakuwala ffe mazima tuli ba ku kuwonya n’abantu bo nga ojjeeko mukyala wo eyasalilwawo okusigala (mu kibonerezo).

34. Mazima ffe tulina okutuusa ku bantu ba kino ekyalo ekibonerezo nga kiva muggulu nga balangibwa engeri gyebabadde bayonoona.

35. Era mazima twakirekamu (ekyalo ekyo) ekyamagero ekyeyolefu eri abo abantu abategeera.

36. Ate waatumwayo eri (abantu be) Madiyana Muganda wabwe Swaibu era yabalagira nti: ‘Bannange musinze Katonda era musuubire olunaku lwenkomerero era mwewale okubunyisa mu nsi obwonoonefu.

37. Kyokka baamulimbisa bwebatyo baatuusibwako okuyuuguuma kwa musisi nebakeeseza mu maka gabwe nga bagaŋŋalamye. 38. Ne (omulembe gwa) Aad ne Thamud (Musisi yagiyuuguumya). Era mazima byeyoleka gyemuli ebikwata ku maka gabwe (byemwafunamu eky’okuyigirako). Era Ssitaani yabawundira emirimu gyabwe (emibi) olwo n’ebawugula ku mugendo sso nga baali basobola okwekkaanya.

39. Ne Qaruna ne Firawo ne Hamaana (Ssitaani yabawugula). Kale mazima yatuuka gyebali Musa n’obunnyonnyofu naye beekuluntaza munsi era tebaasobola kusimattuka (bibonerezo).

40. Kale buli kinnakimu (mu bibinja ebyo) twakituusa ku kibonerezo kyakyo. Era ebimu mubyo mulimu (abo) betwasindikira (kibuyaga alimu) amayinja, era ebimu mubyo mulimu (abo) be kwatuukako okubwatuka, era ebimu mubyo mulimu (abo) be twabuutikiza ettaka, era ebimu mubyo mulimu (abo) be twazikiriza (mungeri endala). Kale tekyamugwanira Katonda kubalyazamanya wabula baali myoyo gyabwe gye balyazamanya.

41. Enfanana yabo abessizaawo, nga baleseewo Katonda, baddunda abalala eringa Nabbubi eyezimbira enju. Sso nga mazima ekisingayo obunafu mu mayumba, ddala (ye) nnyumba ya Nabbubi, ssinga baali bamanyi.

42. Mazima Katonda amanyi ebyo bye basinza ebitali Yye bya nnaba ki. Era yoyo Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

43. Kale eyo y’engeri eby’okulabirako gye tubissizaawo abantu. Era mpawo abitegeera okujjako abamanyi.

44. Katonda yatonda eggulu n’ensi olw’ensonga entufu. Mazima ekyo kirimu ekyamagero eri abo abakkiriza.

45. Gwe soma ekiba kibikkuddwa gyoli nga kisimbulwa mu kitabo, era yimirizaawo esswala. Mazima esswala ekugira obutakola bya buwemu n’ebitamibwa. Era okutendereza Katonda ddala ky’ekisingayo obunene. Era Katonda amanyi bye mukola.

46. Kale mwewale okuwakanya ba nnannyini kitabo okujjako nga ekyeyambisiddwa kyekyo ekisingayo obulungi, nga totwaliddeemu abo abaalyazamanya abasangibwa mu kibinja kyabwe. Era mubategeeze nti: ‘Ffe twakkiriza ebyo ebyatussibwako era ebyassibwa gye muli. Era Omusinzibwa waffe n’omusinzibwa wammwe yomu era ffe oyo yekka gwe twewaayo gyali (gwe tusiramukira)

47. Kale eyo y’engeri gye twassa gyoli ekitabo. Era abo be twawa ekitabo bakikkiriza. Era n’abamu kwabo mulimu oyo akikkiriza. Kale teriiyo awakanya mateeka gaffe okujjako abajeemu.

48. Kale tobangako asobola okusoma olubereberye lwayo (eyo Qur’an) nga osimbula mu kitabo (kyonna) era toyinza kugiwandiisa mukono gwo ogwaddyo. Olwo baalibuusizzabuusizza abonoonyi.

49. Wabula eyo (Qur’an) ge mateeka amanjulukufu agali mu bifuba by’abo abaawebwa obuyivu. Era mpawo awakanya mateeka gaffe okujjako abalyazamanyi.

50. Kale baabuuza nti: ‘Kiki ekyalemesa okussibwa gyali ekyamagero ekisibuka ewa Mukama Katonda Omulezi we? Baddemu nti: ‘Mazima ebyamagero yokka gye bisangibwa ye wa Katonda, era nze ekyo kyennina okutuukiriza kw’ekuba omulabuzi omweyolefu.

51. Abaffe balemeddwa okumalirwa eky’okuba nti twassa gyoli ekitabo ekibasomerwa? Mazima ekyo mulimu obusaasizi n’okwejjukanya ebyayawulirwa abantu abakkiriza.

52. Bategeeze nti: ‘Kimaze bumazi okuba nti Katonda ali wakati wange nammwe nga omujulizi. Amanyi ebiri muggulu n’ensi. Era abo abakkiriza ebikyamu era abaawakanya Katonda, bebo abaafaafaagana.

53. Ate banguyirira okukusaba okutuusibwako ekibonerezo. Naye ssinga zaali tezisalibwangawo entuko zabwe engereke, kyalibatuuseeko ekibonerezo, naye ddala kyakubatuukako kibwatukira nga bbo tebamanyi.

54. Banguyirira okukusaba okutuusibwako ekibonerezo sso nga mazima ggeyeena yebunguludde abajeemu.

55. Olunaku lwe kibabuutikira ekibonerezo nga kisinzira waggulu wabwe ne wansi w’ebigere byabwe olwo n’abagamba nti: ‘Mulege ku (mpeera ya) ebyo bye mubadde mukola.

56. Abange mmwe abaddu bange abo abakkiriza, mazima ensi yange ngazi kale nze nzekka gwe muba musinza.

57. Buli mwoyo gulina okuloza ku kufa oluvannyuma gyetuli gye muzzibwa.

58. Era abo abakkiriza era abakola ebirungi mazima tulina okubateekerateekera mujjana ebisenge nga gikulukutira wansi wabyo emigga, ba kubeera omwo lubeerera, nga y’empeera ey’omukisa ey’abakozi (b’ebirungi).

59. Abo abaagumiikiriza era nga Mukama Katonda Omulezi wabwe yekka gwe besigamira.

60. Kale kameka nga enkuyanja y’ebiramu ebitambula tebyesibirira ntanda ya byakulya byabyo? Katonda byonna abigabirira (n’agabirira) nammwe. Era yewuyo Omuwulizi Omumanyi.

61. Ate bwoba obabuuzizza nti: ‘Ani yatonda eggulu n’ensi era eyafuula okuba ebigonvu enjuba n’omwezi, baba baddiramu ddala nti: ‘Katonda’. Kale lwaki ate bawuguka?

62. Katonda ayanjuluza enfuna yoyo gwayagala mu baddu be era agimiima eyoyo (Gwayagala). Mazima Katonda buli kintu ye Mumanyi.

63. Ate bwoba obabuuzizza nti: ‘Ani assa okuva muggulu amazzi n’ageyambisa okulamusa ensi ekyo nga kiddirira obufu bwayo, baba baddiramu ddala nti: ‘Katonda’. Tendereza nti: Amatendo amalungi ga Katonda!’. Ekyembi abasinga obungi mu kibinja kyabwe tebategeera.

64. Era mpawo kiri mu bya buwangazi bwa nsi okujjako okutiguka n’omuzannyo. Era mazima ennyumba ey’enkomerero y’eyo ey’obuwangazi obw’obulamu. Singa babadde bamanyi.

65. Kale bwe baba basaabadde mu maato basaba Katonda, kyokka bwaba abasomosezza ku ttale nga olwo batanula okuyimbagatanya.

66. Nga bagenderera okuwakanya ebyo (eby’omukisa) bye yabawadde era bagenderera okweyagala. Kyaddaaki banaamanya.

67. Abaffe balemeddwa okwerolera engeri gye twafuula ekifo okuba eky’emirembe, sso nga bakwakkulwa bukwakkulwa abantu abasangibwa eyo okukyebungulula?. Abaffe ebikyamu bye bakkiririzaamu ate omukisa gwa Katonda gwe bawakanya?,

68. Era mpawo kasobeza asinga oyo ajwetese ku Katonda obulimba era alimbisizza amazima nga gamaze okumujjira? Abaffe yali abuzeemu ddi ggeyeena obutuuze bwa bajeemu?

69. Era abo abaafuba ennyo (okulwanirira eddiini) ku lwaffe tuba tubaluŋŋamiza ddala mu makubo gaffe (agatutuukako). Era mazima Katonda ali wamu n’abalongosa.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *