Skip to content
Home » 42. Ash – Shurah (Okwebuuza)

42. Ash – Shurah (Okwebuuza)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

42. ESSUULA: ASHURAH, OKWEBUUZA

Yakkira Makka, Erina Aya 53.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Ha Mim

2. Ain Sin Qaf.

3. Mungeri nga eyo akubikkulira obubaka, (bwatyo bwabubikkulira) na bali abaaliwo olubereberye lwo, nga ye Katonda Luwangula Omulamuzi Kalimagezi.

4. Bibye yekka ebyo ebiri mu ggulu n’ebyo ebiri munsi. Era ye wuyo Owawaggulu Omugulumivu.

5. Libulako katono eggulu okweyuza olwa (ekitiibwa ky’oyo) ali waggulu walyo. Era ba Malaika batendereza amatendo amalungi aga Mukama Katonda Omulezi wabwe, era basabira abali munsi okubasonyiwa. Wew’awo Katonda ye wuyo Omusonyiyi Ow’okusaasira okwenjawulo.

6. Naye abo abeteerawo nga bamuleseewo – abalabirizi abalala – Katonda ye Mukuumi wabwe era ssi yeggwe aliwo gye bali nga omulabilizi.

7. Era mungeri nga eyo twassa gyoli Qur’an (Ssemusomwa) ey’oluwalabu olyoke olabule (abantu abali) mu Ummul-Qurah (Entabiro y’ebibuga) n’abo abakyetoolodde, era obe nga obalabula olunaku lw’ekkuŋŋaaniro olutaliimu kubuusabuusa. Ekibinja ekimu kya kubeera mu jjana era ekibinja ekirala kya kubeera mu muliro.

8. Era ssinga Katonda yayagala (kusalawo) yaalibafudde (bonna) ekibiina kimu, wabula ayingiza gwayagala mu busaasizi bwe. Era abalyazamanyi tebalinaayo wa mukwano newankubadde omuyambi.

9. Abaffe, beteerawo (abo) nga baabulidde Oli, abalabirizi abalala? Kale Katonda yewuyo alamusa ebifu era yewuyo Omusobozi wa buli kintu.

10. Ate ekyo kye muba mwawukanyemu ku nsonga yonna, obulamuzi bwakyo buli wa Katonda. Y’oyo Katonda asinzibwa Mukama Omulezi wange, gwenneesigamidde yekka, era gyali gyenneeyunira.

11. Ye Mugunzi w’eggulu n’ensi. Yabassizaawo nga asibula mummwe abakyala era n’ebisolo ebifugibwa, (yabissizaawo) ebikazi (byabyo). Y’oyo abasaasaanya muyo (ensi). Tewali kimufaanana, era yewuyo Omuwulizi Omulabi.

12. Bibye yekka ebisumuluzo bya (amawanika ga) eggulu n’ensi, ayanjuluza enfuna eri oyo gwayagala n’okugikena. Mazima ye wuyo Omumanyi wa buli kintu.

13. Yabassizaawo amateeka mu ddiini agalinga ge yalaamira Nuhu n’ago ge twakubikkulira mu bubaka n’ago ge twalaamira Ibrahim ne Musa ne Isa agayigiriza nti: ‘Muyimirizeewo mu bwesimbu eddiini era temwawukana nga musinziira muyo. Bazitoowereddwa nnyo abasamize engeri gye mubakoowoola okudda gyeli (eddiini). Katonda ayawulawo okukkirizisa nga azza gyeri oyo gwayagala, era aluŋŋamya nga azza gyeri oyo agyeyunira.

14. Mpawo kya batabula (lubereberye) okutuusa lwe kwamala okubatuukako okumanya, nga bwe bwewagguzi obuli mubo bokka. Ate ssinga tekyasalibwawo ekigambo olubereberye nga kiva ewa Mukama Katonda Omulezi wo, eky’okumalayo ekiseera ekigerageranye, baaliramuddwa wakati wabwe. Kyokka mazima abo abaasikizibwa ekitabo oluvannyuma lwabwe ddala bakibuusabuusa bakirinamu akakunkuna.

15. Kale olw’ensonga eyo ggwe kowoola (abantu) era beera mutuukirivu nga bwe walagirwa. Sso togoberera bya bwagazi bwabwe. Era bategeeze nti: ‘Nze nakkiriza dda ebyo Katonda bye yassa mu kitabo era nalagirwa okutuukiriza obwenkanya wakati wammwe. Allah asinzibwa ye Mukama Katonda Omulezi waffe era ye Mukama Katonda Omulezi wammwe. Ffe tulina emirimu egyaffe nammwe mulina emirimu egyammwe. Tewakyali nsonga (ya kwekwasa) wakati waffe nammwe. Katonda asinzibwa Allah ye wookutukuŋŋaanya era gyali bwe buddo.

16. Era abo abakaayana kunsonga ezikwata ku Katonda oluvannyuma lw’okuba nti likwatiddwa (ekkubo) eriraga gyali ensonga yabo (gye be kwasa) njabaavu ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe era baafuna okusunguwalirwa era baakuwebwa ekibonerezo ekiyitirivu.

17. Katonda y’oyo eyassa ekitabo mu mazima neminzani. Kale kiki ggwe ekikumanyisa nti oba olyawo ekiseera ekivannyuma kituuse.

18. Bakisabisa akapapirizo abo abatakikkiriza, ate abo abakkiriza bakyeraliikirira era bamanyidde ddala nti kya mazima. Wew’awo abo abawakanya ekiseera ekivannyuma ddala baggweredde mu bubuze zzaaya.

19. Katonda asinzibwa Allah ye Mugondeza w’abaddu be agabira oyo gwayagala. Era ye wuyo Kirimanyi Luwangula.

20. Oyo abadde yegomba okutawaanira enkomerero tumussizaawo ennyongeza mu (mpeera y’o) kutawaana kwe. Era oyo abadde yegomba okutawaanira ensi tumuwa omugabo gwe muyo era nga talinaayo ku nkomerero mugabo gwonna.

21. Abaffe balinawo ba lubaale abaabassizaawo amateeka mu ddiini, ago Katonda gaatakkiriza kugoberera? Naye ssinga tekyasalibwawo lubereberye ekigambo ky’okusalawo eggoye, zaaliramuddwa (ensonga) wakati wabwe. Naye mazima abalyazamanyi ba kufuna ekibonerezo ekiruma.

22. Oli wa kwerolera abalyazamanyi engeri gye batya (ebibonerezo bya) ebyo bye baakola ate nga birina kubatuukako. Sso nga abakkiriza era abaakola ebirungi bali mu bulimiro bwa jjana. Nga baweebwa bye baagala ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe. Obwo bwe bulungi obusukkirivu.

23. Eryo ly’eggulire lyennyini (eddungi) Katonda lyatuusa ku baddu be abo abakkiriza era abaakola ebirungi. Bategeeze nti: ‘Ekyo ssikibasabirako mpeera yonna okujjako okutuukiriza omukwano olw’oluganda (oluliwo). Era oyo akola ekirungi, mazima Katonda ye Musonyiyi. Omusiimi ennyo.

24. Abaffe basazeewo okukityebeka nti: Yakonjera ku Katonda eby’obulimba? Naye ssinga Katonda ayagala kusalawo yaalissizza envumbo ku mutima gwo, bwatyo Katonda n’asangulawo ekikyamu n’anyweza amazima n’ebigambo bye. Mazima yewuyo Omumanyi w’ebyo ebiri mu mmeeme.

25. Era ye wuyo akkiriza okwenenya kw’abaddu be n’obutanonooza nsobi era amanyi bye mukola.

26. Bwatyo ayanukula okusaba kwabo abakkiriza era abaakola ebirungi, era abongeza ebimu ku birungi bye. Naye abajeemu baweebwa ekibonerezo ekikakali.

27. Naye ssinga Katonda yayanjuluriza abaddu be ebyenfuna baalyewaggudde munsi. Kyokka assa bya kigero ebyo byayagala. Mazima yewuyo ayeeyawulidde abaddu be okubamanya ennyo, okubeetegereza ennyo.

28. Era yewuyo atonnyesa enkuba nga (abantu) bamaze okuterebuka, n’aba nga asaasaanya obusaasizi bwe. Era yewuyo Omulabirizi Atenderezebwa.

29. Era ebimu ku by’amagero bye, bwe butonde bw’eggulu n’ensi n’ebyo bye yabunyisa mu byombi nga ebiramu ebitambula (eby’emitendera egitali gimu) Era yewuyo nga eky’okubikuŋŋaanya bwaba kyayagala, Musobozi.

30. Era ekyo kyonna ekibatuseeko nga kibi, kisinzira kwebyo bye gyakola emikono gyammwe, sso nga byatanonooza nkuyanja.

31. Era tewali kye muyinza mmwe kulemesa kutuukiriza munsi era temulinaayo nga ojjeeko Katonda mulabirizi yenna newankubadde Omuyambi.

32. Era ebimu ku byamagero bye z’ensiyaggusi z’omunnyanja kirimulaala eziringa ensozi.

33. bwayagala okusalawo atangira empewo olwo (emmeeri) nezesibira mu kifo (kimu) nga zitengejjera kungulu kwago (ga kirimulaala) mazima ekyo kirimu ekyamagero ekiyigiriza buli agumiikiriza okuyitiriza omusiimi.

34. Oba ssi ekyo azibbiza mu mazzi ne zisaanawo nga abalanga bye baakola (olubereberye). Ate nga by’atanonooza bingi. 35. Era amanyi abo abawakanya amateeka gaffe nga bwe batalinaayo buddukiro bwonna. 36. Kale kyonna kye muba muweereddwa kya kweyagala kya buwangazi bwansi. Era ebyo ebiri ewa Katonda by’ebisinga obulungi era by’eby’okusigalawo ebyayawulirwa abo abakkiriza era nga bemalira ku Mukama Katonda Omulezi wabwe okumwesigamira.

37. Era abo abeewala emisango gya nnaggomola n’obuseegu era nga bwe bafuna ennyiike bebo abasonyiwa.

38. N’abo abaayanukula omulanga gwa Mukama Katonda Omulezi wabwe era abaayimirizaawo esswala era nga ensonga yabwe bagisalawo mu kwebuuza wakati wabwe, era nga ebimu kwebyo bye twabagabira bawaayo.

39. N’abo ababa nga bwebatuukibwako obulumbaganyi batuuka ku buwanguzi.

40. Kale empeera y’ekibi kiba kibi ekikifaanana. Naye oyo aba asonyiye era alongosezza, (ebikolwa) empeera y’oyo eri wa Katonda. Mazima yewuyo atayagala balyazamaanyi.

41. Era oyo yenna aba awangudde oluvannyuma lw’okumulumbagana kale bebo abatalinaayo luwenda lwonna (lubabonerezesa)

42. Mazima oluwenda (olubonerezesa) luli kwabo abalyazamanya abantu era abeewaggula munsi mu bitali bituufu. Abo be bafuna ekibonerezo ekiruma.

43. Kyokka oyo aba agumiikirizza era asonyiye, mazima ekyo nno ky’ekimu ku bintu ebirina okutuukirizibwa.

44. Ate oyo gwaba abuzizza Katonda tafunayo mukuumi yenna oluvannyuma Lwe. Bwotyo ne werolera abalyazamanyi (embeera gye babaamu) nga bamaze okulaba ebibonerezo nga bebuuza nti: ‘Abaffe eky’okuzzibwayo kirinawo oluwenda (lwonna)

45. Era obeerolera nga banjulwa mu maaso gagwo (omuliro) nga bakkakkamu olw’obuweebuufu (bwe balimu) nga batunula mu (mbera ya) kubbirira riiso. Olwo ne balangirira abo abakkiriza nti: ‘Mazima abatafunye kuganyulwa bebo abeleetera okufaafaaganirwa wamu n’abantu babwe ku lunaku lw’amayimirira! Wew’awo abalyazamanyi balina ekibonerezo eky’olubeerera.

46. Era ssi ba kufunayo balabirizi bonna babataasa nga ojjeeko Katonda. Era oyo gwaba abuzizza Katonda aba talinaayo Luwenda lwonna (lwakuluŋŋama)

47. Mwanukule omulanga ogubazza eri Mukama Katonda Omulezi wammwe nga terunnatuuka olunaku olutasobola kuzzibwayo oluva ewa Katonda. Temulinaayo mmwe bubudamu bwonna ku lunaku olwo era temulinaayo mmwe mutangirizi.

48. Naye ssinga besulubabbye, kale ggwe tetukutumangako okubaawo gye bali nga omukuumi (wabwe) Teriiyo ggwe kyovunanyizibwa okujjako okutuukiriza obubaka. Ate mazima ffe bwetuba tutuusizza ku muntu obusaasizi obuva gyetuli, abusanyukira. Sso ssinga gumutuukako omutawaana olw’ebyo bye gyakulembeza (okukola) emikono gyabwe olwo mazima naaba omuntu nga ye kajeemera.

49. Bwa Katonda yekka obufuzi bw’eggulu n’ensi. Atonda by’ayagala. Agabira gwayagala abaana abawala era agabira gw’ayagala abaana abalenzi.

50. Oba abatabika nga (baana) ba bulenzi na buwala. Era afuula abo (abalala) baayagla abagumba. Mazima yewuyo Omumanyi Omusobozi.

51. tekibangawo ku muntu okuba n’ebisanyizo ebimusobozesa okwogeranya ne Allah (obutereevu), okujjako nga bubaka (obumubikkulirwa) obusinzira emabega w’ejjiji, oba okuba nga atuma omubaka (Malaika) n’atuusa obubaka (obumubikkulirwa) olw’okukkiriza kwe kw’ebyo by’ayagala. Mazima ye wuyo Owawaggulu Omulamuzi Kalimagezi

52. Kale engeri eyo gye twakubikkulira (obubaka obwa) Mwoyo, okusinzira ku kiragiro kyaffe. Wali tomanyi kiki ekitabo (kye kitegeeza) newankubadde kiki obukkiriza (kye butegeeza), wabula twabifuula obutangavu bwe tweyambisa okuluŋŋamya oyo gwe twagala, nga yomu ku baddu baffe. Era mazima gwe oliwo kuluŋŋamya nga ozza eri ekkubo eggolokofu.

53. Ekkubo lya Katonda oyo nannyini w’ebyo ebiri muggulu n’ensi wew’awo ewa Katonda gye zidda ensonga zonna.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *