Skip to content
Home » 78. An – Naba (Amawulire)

78. An – Naba (Amawulire)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

78. ESSUULA: AN-NABA ‘A, AMAWULIRE.

Yakkira Makka. Erina Aya 40.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaaira okw’enjawulo.

1. Kiki kye bebuuza?

2. Nga kifa ku mawulire amakulu (ag’okuzuukizibwa ku lunaku lw’enkomerero).

3. Ago bbo ge balinamu obutakkaanya (nga abakkiriza bagakakasa, abajeemu bagawakanya).

4. Awatali kuwannaanya bajja kumanya.

5. N’era awatali kuwannaanya bajja kumanya.

6. Abaffe tetwafuula ensi okuba omwaliiro?

7. N’ensozi (okuba) empagi luwaga? 8. Netubatonda nga muli migogo?

9. Netufuula otulo twammwe okuba ekiwummulo?

10. Netufuula ekiro okuba ekyambalo?

11. Netufuula emisana okuba obutawukiro?

12. Netuzimba mu bwengula bwammwe (emiko) musanvu emigumu.

13. Netussaawo ettawaaza Ssemumulisa.

14. Netussa okuva mu bire amazzi agatonnyera okumukumu.

15. Tube nga tugeyambisa okufubutulayo empeke n’ebimera?

16. N’amalimiro agagombaganya amatabi gago?

17. Mazima olunaku lw’okulaga enjawulo lwe lwatekebwawo okuba ensisinkano.

18. Lwe lunaku lw’efuuyibwamu eŋŋombe ne muba nga mujja mu bibinja.

19. Era neriggulwawo eggulu olwo ne riba miryango.

20. Era nezikunguzzibwa ensozi, ne wafuuka (wezibadde) ekiyanja.

21. Mazima ggeyeena ye yafuuka eddindiriro.

22. Nga wa kubafuulirwa abewagguzi obuddiro.

23. Nga ba kugusiisiramu mirembe na mirembe.

24. Nga tebalorezaayo ku buweweevu wadde eky’okunywa.

25. Okujjako olweje n’amasira amakwafu agalimu olusaayisaayi.

26. Nga y’empeera etuukanye.

27. Mazima bebo ababadde batasuubira kubalirirwa.

28. Nga baalimbisa amateeka gaffe olulimbisa.

29. Sso nga buli kintu twa kikomekkereza mu buwandiike.

30. Kale muloze (ebibonerezo) era tewali kye tunabongera okujjako ebibonerezo.

31. Mazima abatya Katonda balina okuganyulwa.

32. Amalimiro (gebawebwa) n’emizabbibu.

33. Neba mabeere ttutu abatalina kibaawula (mu bubalagavu)

34. N’ensumbi ezikubyeko (eby’okunywa)

35. Nga tebagiwuliramu lwogo wadde eby’obulimba.

36. Nga kwe kusasulwa okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wo, nga kwe kugaba okutuukiridde.

37. Yoyo Mukama Katonda nannyini ggulu n’ensi n’ebiri wakati wabyo, Omusaasizi ennyo. Nga tebalina na bisanyizo (abajeemu) byogeranya naye.

38. Lwe lunaku lwayimirira Mwoyo ne ba Malaika mu nnyiriri. Nga tewali anyega okujjako oyo gwaba akkirizza Mukama Katonda Omusaasiizi ennyo era n’ayogera bituufu.

39. Olwo olunaku lwa mazima. Kale oyo aba ayagadde yessizaawo ekisinde (ky’emirimu emirungi) ekidda ewa Mukama Katonda Omulezi we (eyo) gyazzibwa.

40. Mazima ffe twa balabula ebibonerezo eby’okumpi ku lunaku lwe yerolera omuntu ebyo bye gyakulembeza emikono gye (gyombi), bwatyo n’awanjaga omujeemu nti: ‘Yaye! Ssinga nnafuuka ettaka!’.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *