Skip to content
Home » 76. Al – Insan (Omuntu)

76. Al – Insan (Omuntu)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

76. ESSUULA: AL-INSAN, OMUNTU

Yakkira Madiina. Erina Aya 31

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Mazima yayitibwako omuntu (mu kutondebwa kwe okwasooka) ekiseera kiwanvu nga tannafuuka kintu (ekiri awo) ekissibwako essira.

2. Mazima ffe twatonda omuntu (mu kutondebwa kwe okulala) nga asibulwa mu mazzi g’ekisajja amatabule (n’amalala) olw’okumugezesa, olwo ne tumufuula awulira, alaba.

3. Mazima ffe twamuluŋŋamya ku mugendo, abe nga asiima oba abe nga ajeema.

4. Mazima ffe twategekera abaajeema enjegere n’ebikoligo ne nnaddiro.

5. Mazima abalongofu banywera mu bibakuli ebyafuna ekirungo ky’akawoowo ka Kaafuula.

6. Ensulo enywesebwako abaddu ba Katonda nga bagikulukusa olukulukusa.

7. Nga batuukiriza obweyamo era nga batya olunaku oluliko ekibi ekyejjenjero.

8. Era nga bagabula eby’okulya awamu n’okuba nga babyetaaga, eri ba lukyolo ne bamulekwa n’abawambe.

9. Mazima ffe tubaliisa ku lwa Katonda, tewali kye twetaaga mummwe kakube kusasulwa wadde okwebaza.

10. Mazima ffe tutya ewa Mukama Katonda omulezi waffe olunaku olujjudde (ebireeta) ekkabyo olusukkiridde obuzito.

11. Bwatyo Katonda yabawonya ekibi ky’olunaku olwo era n’abagemulira akamwenyumwenyu n’okujaganya.

12. Era yabasasula, olw’engeri gye baagumiikiriza, Ejjana n’ebyambalo bya liiri.

13. Nga bakkalidde ku biwu. Nga te balabirayo (bbugumu lya) njuba newankubadde obutiti.

14. Nga biri kumpi nabo ebittuluze byayo era nga byafuulibwa byangu (ebibala byayo) ebinogebwa olufuulibwa.

15. nga zibayisibwayisibwamu ensumbi eza ffeeza n’ebibakuli eby’ebirawuli ebitangalijja.

16. Ebirawuli ebitangalijjira mu (langi ya) ffeeza bye baateekateeka oluteekateeka.

17. Nga bagabulirwayo eky’okunywa ekiri mu nsumbi nga kyatabulwamu entangawuzi.

18. Nga (eyo) nsulo eyitibwa Kawoomera nnabuka.

19. Era nga babayitaayitamu abaweereza abatakyukako (mu ndabika yabwe ennungi) nga bwoba obalabye obasuubira okuba luulu asaasaanyiziddwa.

20. Era nga bwoba wekkaanyizza eyo, werolera ebyengera n’obwakabaka obunene.

21. Nga waggulu wabwe etimbiddwayo engoye za liiri omugonvu owakiragala ne (engoye z’aliiri) omukalubo. Era nga banaanikiddwa ebikomo ebya ffeeza. Olwo nga yabagabula Mukama Katonda Omulezi wabwe eby’okunywa ebitukuvu.

22. Mazima ebyo y’empeera eyabategekerwa era kubadde okukabassana kwammwe kusiimibwa.

23. Mazima ffe twassa gyoli Qur’an (Ssemusomwa) olussa.

24. Kale nywerera ku bulamuzi bwa Mukama Katonda Omuleziwo, era togondera oyo yenna mubo omwonoonyi wadde omujeemu.

25. Ate tendereza erinnya lya Mukama Katonda Omulezi wo ku maliiri n’olweggulo.

26. Era n’ebiseera ebimu eby’ekiro vunnama ku lulwe era mugulumize ekiro ebiseera biwanvu.

27. Mazima abo (abajeemu) bettanira bya mangu nebaba nga baleka emabega wabwe olunaku oluzito.

28. Ffe twabatonda ne tubafuula abamaanyi. Era bwe tuba twagadde tubawanyisaamu abalala ababafaanana oluwanyisa.

29. Mazima okwo kwe kubuulirira. Kale oyo aba ayagadde anywerera mu kudda eri Mukama Katonda Omulezi wo ku mugendo.

30. Ate teriiyo kye mwagala (ne mukifuna) okujjako nga Katonda akyagala. Mazima Katonda yewuyo Omumanyi Omulamuzi Kalimagezi.

31. Ayingiza gw’ayagala mu busaasizi bwe. Ssonga abalyazamanyi yabateekerateekera ekibonerezo ekiruma.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *