Skip to content
Home » 71. Al – Nuhu

71. Al – Nuhu

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

70.ESSUULA: AL-MA’ARIJ, OBUTUMBIIRIRO

Yakkira Makka. Erina Aya 44.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira Okw’enjawulo.

1. Yasaba omusabi ekibonerezo okutuusibwa.

2. (Ekyo) ku bajeemu tekirinaayo akikugira.

3. Nga kiva ewa Katonda nnannyini butumbiiriro.

4. Zitumbiira Malaika ne Mwoyo okugenda gyali mu lunaku olugerageranyizibwa obuwanvu bwalwo emyaka emitwalo etaano.

5. Ggwe gumiikiriza olugumiikiriza olulungi.

6. Mazima abo balulaba nga lwewala.

7. Sso ffe tululaba nga luli kumpi.

8. Lwelunaku lwe liba eggulu nga ekikomo ekisaanuufu.

9. Era neziba ensozi nga ebyoya by’endiga.

10. Nga teriiyo wa mukwano abuuza wa mukwano.

11. Sso nga (amaaso) bagoolekaganya. Ne yegomba omwonoonyi nti ssinga yeenunuzisa olw’okuwona ekibonerezo ky’olunaku olwo abaana be.

12. Ne mukyala we ne muganda we.

13. N’abeŋŋanda ze abo abamukumaakuma.

14. N’abo abali munsi bonna, olwo babe nga bamuwonya.

15. Awatali kuwannaanya, ddala yoyo Lubumbujja.

16. Sserukwakkula buwompo.

17. Nga ayita oyo yenna eyadda ekyennyuma era eyeerema.

18. Nga yakuŋŋaanya (eby’obugagga) n’ajjuza amawanika.

19. Mazima omuntu yatondebwa nga muluvu.

20. Bwe kiba kimutuuseeko ekibi (aba) mutiribizi.

21. Ate bwaba afunye ekirungi (aba) mukodo.

22. Okujjako (abo) abasaala.

23. Abo ababa nti esswala zabwe tebazirekaayo.

24. Era nga bebo emmaali yabwe balinamu omutemwa ogumanyiddwa (nga bbanja).

25. Oguweebwa omusabi n’omunkuseere.

26. Era bebo abakakasa lunaku lw’amasasula.

27. Era bebo nga ebibonerezo bya Mukama Katonda Omulezi wabwe babitya.

28. Mazima ebibonerezo bya Mukama Katonda Omulezi wabwe tebyeyinulirwako kubiwona.

29. Era bebo nga ensonyi zabwe ez’ekyama bekuuma.

30. Okujjako eri abo be baagattibwa nabo mu bufumbo oba abo begifuga emikono gyabwe egyaddyo, kubanga mazima abo tebabavunanyisa.

31. Naye oyo yenna aba anonoozezza ebiri emabega w’ekyo olwo nga bebo ba kyewaggula.

32. Era bebo nga obwesigwa bwabwe n’endagaano zabwe babilondola.

33. Era bebo nga obujulizi bwabwe besimbu mu kubutuukiriza.

34. Era nga esswala zabwe bazikuuma butiribiri.

35. Bebo ab’okubeera mu jjana nga bassibwamu ekitiibwa.

36. Ate kiki ekireetedde abo abaajeema okukwolekera nga batinattina?.

37. Nga beeyuna oludda olwaddyo n’oludda olwakkono (olwa Nabbi) nga bali mu bibinja?

38. Abaffe yesunga buli muntu mu kibinja kyabwe okuba nga eyingira Ejjana ey’ebyengera?

39. Awatali kuwannaanya, mazima ffe twabatonda (abo) mwebyo bye bamanyi.

40. Ate ssiyinza butalayira Mukama Katonda nannyini buvanjuba n’ebugwanjuba. Mazima ffe tuli basobozi.

41. Okuba nga tubawanyisaamu (abalala) abalungi okusinga abo, era tetusobola ffe kulemesebwa.

42. Kale ggwe baleke bagome era batiguke okutuusa lwe banaasisinkana olunaku lwabwe olwo lwe basuubizibwa.

43. Olunaku lwe bafubutukirako mu ntaana mu bwangu nga bafaanana abo abeeyuna okudda eri ebifaananyi, nga bekuluumulula.

44. Nga makkakkamu amaaso gabwe bubabuutikidde obunyomoofu. Lwerwo olunaku lwennyini lwe babadde basuubizibwa.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *