Skip to content
Home » 55. Al – Rahman (Omusaasizi)

55. Al – Rahman (Omusaasizi)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

55.ESSUULA: ARAHMAN ‘OMUSAASIZI ENNYO’.

Yakkira Madiina. Erina Aya 78.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Oyo ye Musaasizi ennyo.

2. Yayigiriza (nga yeyambisa) Qur’an (Ssemusomwa).

3. Yatonda omuntu.

4. Yamuyigiriza okunnyonnyola.

5. Enjuba n’omwezi biriwo ku mbalirira.

6. Era ebimera ebiranda n’emiti (egyesimba) bivunnama.

7. Ate eggulu yaliwanika olwo n’assaawo obwenkanya (munsi).

8. Temwekubiira nga musala amazima.

9. Era mutuukirize ebipimwa mu bwenkanya sso temukendeza bipimwa.

10. Era ensi yagissizaawo bitonde (ebirimu emyoyo).

11. Esangibwamu ebibala n’emitende egiweese ebirimba.

12. N’ebimera ebibala empeke eziri mu bikuta n’eby’obuwoowo.

13. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

14. Yatonda omuntu mu bbumba erikaze neridoodooma okufaanana nga ebibumbe eby’okeddwa mu muliro.

15. Era yatonda amaginni mu nnimi z’omuliro omukenenule.

16. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

17. Yewuyo Mukama Katonda nannyini buvanjuba ew’emirundi ebiri era yewuyo Mukama Katonda nanyini bugwanjuba ew’emirundi ebiri.

18. Kale kya nnabaki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

19. Yasobozesa okwetaaya kw’ennyanja ebbiri nga zisisinkana.

20. Wakati wazo waliwo ejjiji erizikuuma obutayingirigana.

21. Kale kya nnaba ki ku by’engera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

22. Avaayo okuva muzombi (ennyanja) luulu ne marijaan (coral).

23. Kale kyannabaki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

24. Zibaako emmeeri entumbivu eziseyeeya mu nnyanja gyoli nti nsozi,

25. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

26. Byonna ebigiriko (ensi) bya kuzikirira.

27. Olwo asigaleko Yye yennyini Mukama Katonda Omulezi wo eyagulumizibwa n’okutukuzibwa.

28. Kale kya nnabaki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

29. Ba musaba abo abali muggulu n’ensi. Buli lunaku atuukiriza nsonga (zanjawulo).

30. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

31. Tujja kubakomekkereza (embalirira) mwembi mmwe ebitonde eby’emirundi ebiri.

32. Kale kya nnabaki kubyengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

33. Abange mmwe amakumi g’amaginni n’abantu. Bwe muba musobodde okwesogga amatwale g’obwengula bw’eggulu n’ensi kale mwesogge. Naye temuyinza kwesogga okujjako nga mweyambisizza obusobozi.

34. kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

35. Zibasindikirwa mmwe mwembi ennimi z’omuliro ogutanyoka mukka n’ebikomo ebisaanuufu bye mutasobola mmwe mwembi kwetaasaako.

36. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

37. Kale bweriba lyabulukuse eggulu nerimyuka nga ekimuli kyalooza nga liyiika nga omuzigo omusaanuufu (olw’okwokya kwa ggeyeena eliyo)

38. Kale kya nnabaki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

39. Kale olunaku olwo ssi wa kubuuzibwa ku byonoono bye omuntu newankubadde amaginni.

40. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

41. Ba kumanyibwa abajeemu olw’obulambe bwabwe olwo ne zirippibwa wamu empumi n’ebigere (nga banyugunyuzibwa mu muliro).

42. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

43. Wuyo ggeyeena gwe balimbisa abonoonyi.

44. Balina okutawukira wakati wagwo n’olweje lunnamwokya.

45. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

46. Ate wa kufuna oyo aba atidde (ebizibu bya) ebbaliro lya Mukama Katonda Omulezi we Ejjana ya mirundi ebiri.

47. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

48. Eyabunyisibwa amatabi g’ebittuluze.

49. Kale kyannaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

50. Nga mulimu mu zombi emigga ebiri egikulukuta.

51. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

52. Nga mulimu mu zombi buli kalonda w’ebibala nga (bya bika) bibiri bibiri.

53. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

54. Nga bakkalidde ku biwu nga munda mwabyo mulimu liiri nga ne (ebibala) ebinogebwa eby’ejjana ey’emirundi ebiri biri kumpi.

55. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

56. Nga mulimu ab’amaaso amakkakkamu nga tebakwatibwangako muntu yenna olubereberye lwabwe newankubadde egginni.

57. Kale kya nnaka ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi bye mulimbisa?

58. Nga balinga amayinja ga yakuutu (corundum oba sapphire) ne marijaan (caral).

59. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

60. Abaffe ebirungi bisasulwayo ekirala okujjako ebirungi?

61. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

62. Ate nga waliwo – nga tonnatuuka ku ziri zombi – Ejjana ya mirundi ebiri.

63. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

64. Nga za kiragala eyaddugaza.

65. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

66. Nga mulimu mu zombi emigga ebiri egiyira.

67. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

68. Nga mulimu kalonda w’ebibala, n’entende n’enkomamawanga.

69. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

70. Nga mulimu ebirungi amakula.

71. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

72. Nga be bakyala ab’amaaso agendege agaatukula nga eggi essuse nga bali mu weema.

73. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

74. Nga tebakwatibwangako muntu yenna olubereberye lwabwe newankubadde eggini.

75. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

76. Nga bakkalidde ku mitto gya kiragala n’ebiwempe amakula.

77. Kale kya nnaba ki ku byengera bya Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi kye mulimbisa?

78. Litenderezebwa erinnya lya Mukama Katonda Omulezi wo Oyo Agulumizibwa era Atukuzibwa.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *