Skip to content
Home » 38. Swad

38. Swad

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

38. ESSUULA: SWAD

Yakkira Makka, Erina Aya 88.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Swad. Ndayira Qur’an (Ssemusomwa) ejjudde okulyowa.

2. Kyokka abo abaawakanya beemalidde mu kwegulumiza na kweyabuluza.

3. Kameka bwe twazikiriza olubereberye lwabwe nnasiisi w’emirembe, era egyawanjaga (okutaasibwa), naye nga teriiyo kiseera kya kwemulula.

4. Era bewuunya okuba nti abatuuseeko omulabuzi ava mubo, olwo abajeemu neboogera nti: ‘Oyo ye mulogo Ssaabalimba.

5. Butya bwafudde abasinzibwa abangi okubeera omusinzibwa omu? Mazima ekyo ddala ky’ekintu ekyewunyisa.

6. Bwebatyo baagumbulukuka abakungu abamu kubo (nga bakuutirigana) nti: ‘Munywerere ku basinzibwa bammwe. Mazima ekyo ky’ekintu ekyettanirwa.

7. Tewali kye twawulirako kwebyo mu ddiini ey’oluvannyuma. Mazima tewali ngeri ndala ebyo gye bibalibwamu okujjako okubeera obulimba obugunje obugunji.

8. Abaffe era yye yeyassibwako Enzijukizi muffe ffenna nga bwetuli? Wew’awo bebo abemalidde mu kubuusabuusa Enzijukizi yange. Wew’awo (ekyo kiva ku kuba nti) tebannalozebwa ku kibonerezo.

9. Abaffe ye balinawo amawanika g’obusaasizi bwa Mukama Katonda Omulezi wo Luwangula Lugaba?

10. Abaffe balinawo obufuzi bwonna obw’eggulu n’ensi n’ebyo ebiri wakati wa byombi? Kale (bwekiba bwekityo) balinnyuke (muggulu) eri ekibondo ky’ensonga ezisalibwawo (bakole kye baagala).

11. Eryo ly’eggye – ye lyannabaki eryo – eririna okubetentebwa mu bimu ku bibinja (ny’amagye)!

12. Gyalimbisa olubereberye lwabo emirembe gya Nuhu ne Aad ne Firawo nnannyini mambo.

13. Ne Thamud n’omulembe gwa Luutu ne bannannyini bisaka ebisaakaativu. Ebyo nno bye bibinja.

14. Tewaaliwo kwebyo byonna (ebibinja) okujjako nga kyalimbisa ababaka, era kyatuukirizibwa ekibonerezo.

15. Kale teriiyo kye balindirira okujjako olubwatuka lumu olutalina kiluzzaayo.

16. Bwebatyo ne bawanjaga nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe: twanguyizeeko omugabo gwaffe (ogw’ebibonerezo) nga terunnatuuka olunaku lw’embalirira.

17. Ggwe gumira bye boogera, era jjukira omuddu waffe Dawuda kirimaanyi. Mazima y’oyo eyeemalira ku kugondera Katonda.

18. Mazima ffe twagonza ensozi ezamweyungako mu kutendereza Katonda akawungezi ne kumakya.

19. N’ebinyonyi nga byekuŋŋanya (waali). Byonna awamu nga byemalidde mu kugondera Katonda.

20. Era twanyweza obwakabaka bwe ne tumugemulira okutegeera okwenjawulo okw’obwannabi n’okusalawo eggoye ku nsonga.

21. Ate abaffe: kyakutuukako ekyafaayo ky’abayombagana, awo we baabuukira olukomera?

22. Jukira awo lwe baayingira eri Dawuda amale abekange. Baamugumya nti: ‘Totya’, Abakaayana (bali) babiri: abamu kuffe balumbaganye bannaabwe; kale lamula wakati waffe mu mazima. Era weewale okusaliriza. Ate tuluŋŋamye awali amakkati g’omugendo.

23. Mazima ono muganda wange alina (eggana lye) kyenda mu mwenda nga ndiga ate nze nnina ndiga emu, naye ansabye nti: Gimpe ngirunde! Era ambuzizza (ekya) okwogera!’

24. Yamuddamu nti: ‘Mazima (oyo) akulyazamanyizza engeri gy’asabye endigayo okujongereza ku ndiga ze. Ate mazima abasinga obungi kwabo abegatta mu bwa nnanyini (ku kintu ekimu) ddala bangi befuulira bannaabwe ne babeewaggulako, okujjako abo abakkiriza era abakoze ebirungi, so nga batono nnyo abalinga abo’. Naye yamatira Dawuda nti mazima tumugezesezza, bwatyo yasaba okusonyiyibwa ewa Mukama Katonda Omulezi we, era yakka wansi n’avunnama era yoyo eyenenya!.

25. Kale twamusonyiwa , era mazima yafuna gyetuli ekifo ekyokumwanjo n’ekkula ly’obuddiro!

26. Ggwe Dawuda mazima twakufuula omusigire kunsi, kale lamula abantu mu bwenkanya era togoberera okwagala kw’omutima, kuleme okukuwugula nga ova ku kkubo lya Katonda. Mazima abo abawuguka nga bava ku kkubo lya Katonda, bafuna ekibonerezo ekikakali nga balangibwa (ebyo) bye berabira ku lunaku lw’okubalirira.

27. Ate tetwatonda ggulu na nsi n’ebyo ebiri wakati wa byombi lwa kubalaata. Eyo endowooza y’abali abaajeema. Kale okuzikirizibwa kwategekerwa abo abaajeema okwa (ekimu ku bika bya) omuliro.

28. Abaffe tusobola tutya okuddira abo abakkiriza era abaakola ebirungi okubenkanya n’abo abonoona kunsi. Nandiki tusobola tutya okuddira abatya Katonda ne tubenkanya n’abonoonyi?

29. Ekyo kye kitabo kye twassa gyoli eky’omukisa, kibasobozese abo okwekkaanya amateeka gakyo (ekitabo ekya Katonda) era basobole okwebuulirira abo abageziwavu.

30. Bwetutyo twagemulira Dawuda (ekirabo ky’omwana) Sulaiman. Eryo ly’ekkula ly’omuddu. Mazima yewuyo eyemalira ku kugondera Katonda.

31. Jjukira lwe zamwanjulirwa eggulo limu (embalaasi) ez’esimbaggiriza (ku magulu asatu nga okw’okuna tekunyweredde kuttaka) ennangavvu ez’amaanyi.

32. Bwatyo n’agamba nti: ‘Nga mazima nsussizza okwettanira ebirungi okusinga okujjukira Mukama Katonda Omulezi wange, n’etuuka (enjuba) n’okubulira mu nnyanga!

33. Muzinzigirewo’. Bwatyo n’atandika okukuba ku magulu (gaazo) n’ensingo (zaazo).

34. Naye mazima twagezesa Sulaiman, bwe twassa ku nnamulondo ye ekibiribiri. Oluvannyuma (Sulaiman) yeenenya.

35. Yasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange nsonyiwa era ngemulira obwakabaka bw’atasanye kufuna omulala yenna (ow’okubaawo) oluvannyuma lwange. Mazima ggwe wuyo Lugaba’.

36. Kale twamugondeza empewo nga ekuŋŋuntira ku biragiro bye, nga eseyeeya okwolekera gy’agiraza.

37. Okwo gattako nnasiisi wa Ssitaani, zonna (awamu) nga nzimbi era nzibizi, (ezibbira mu nnyanja okujjayo eby’obugagga).

38. Sso nga endala zikoligiddwa ku njegere.

39. Bwekutyo okugaba kwaffe (bwekuba). Kale (nawe) gabirako (gwoyagala) oba ssi ekyo sigaza (byoyagala) awatali kubalirira.

40. Ate mazima yayawulirwa wetuli ekifo ekyokumwanjo n’amatiribona g’obuddiro.

41. Era jjukira omuddu waffe Ayyuubu (Yob) ekiseera we yalaajanira Mukama Katonda Omulezi we nti: ‘Mazima nze nnumbiddwa amayembe agantusizzaako ekirwadde n’obulumi obusuffu.

42. ‘Siita ettaka n’ekigere kyo’ (bwatyo bwe yalagirwa). ‘Kiikyo eky’okunaabisa ekinnyogovu era eky’okunywa’.

43. Era twamugemulira abantu be n’abalala ababenkana twabamuwa nga bwe busaasizi obuva gyetuli era oky’okubuulirira abalimu obugeziwavu.

44. Era kwata n’omukono gwo ekinywa (ky’obuti) kale kyoba okubisa, sso tomenyawo kirayiro kyo. Mazima ffe twamusanga (munywevu) mubugumiikiriza. Ly’eryo ekkula ly’omuddu! Mazima ye wuyo eyemalira ku kugondera Katonda.

45. Era jjukira abaddu baffe: Ibrahim, ne Isihaka ne Yakuubu ba kirimaanyi n’obubangufu.

46. Mazima ffe twabatongoleza ku ntongoza ey’okujjukira (ennyo) enkomerero.

47. Era mazima bebo, nga gyetuli, baayawulirwa ebyokumwanjo amakula. 48. Era jjukira Ismail ne Yaasa ne Thul-kufli, era bonna be bamu ku balungi ba Katonda.

49. Okwo kwe kubuulirira. Naye mazima balina okufuna abo abatya Katonda ekkula ly’obuddiro.

50. Nga y’ejjana Aden (obutuuze kiwamirembe) nga gibagguliddwawo emiryango (gyayo).

51. Nga bakkalidde muyo nga bagisabiramu okugabulwa amatunda nkuyanja n’eby’okunywa.

52. Era nga balina (abakyala) abakkakkamu b’amaaso ba kaalaala.

53. Ebyo bye musuubizibwa ku lunaku lw’okubalirira. 54. Mazima okwo kwe kugabirira kwaffe okutalina ngeri yonna gye kuggwaawo.

55. Ebyo nga bikyali bityo. Ate mazima bakyewaggula bateekwa okufuna ekivve ky’obuddiro.

56. Nga ye ggeyeena gwe besogga era bwe bwekivve obuwummulo.

57. Byebyo, (ebibonerezo) kale balina okubilozaako, nga lwe lweje lw’amazzi n’amasira amakwafu agalimu olusaayisaayi. 58. Era n’ebirala (ebibonerezo) ebibifaanana nga (biri mu) migogo.

59. Kiikyo ekibinja kibeefubitiseemu, teriiyo we begazaanyiriza. Mazima bebo ab’okubeera mu muliro.

60. Baabaddamu nti: ‘Wew’awo nno mmwe, teriiyo we muneegazaanyiza. Yemmwe abaabituleetera’. Kale bwa kivve obwo obutuuze.

61. Baasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, Oyo eyatutuusisaako kino (ekibabu) mwongere ekibonerezo ekikubiseemu emirundi n’emirundi nga ali mu muliro.

62. Era baagamba nti: ‘Tubadde ki obutalaba basajja be twatwala okuba ababi?

63. Abaffe kyatumalira eky’okubaŋoola, nandiki gawuguse okubavaako amaaso (gaffe)’.

64. Mazima okwo kwe kutotoogana kw’abantu bo mu muliro.

65. Gwe bategeeze nti: ‘Mazima obuvunanyizibwa obwange kwe kubeera omulabuzi. Era mpawo asinzibwa okujjako Allah omu yekka Omukasi .

66. Mukama Katonda omulezi w’eggulu n’ensi n’ebyo ebiri wakati wabyo, Luwangula Ssebasonyiyi.

67. Ggwe bategeeze nti: Eyo y’ensonga enkulu.

68.Mwe gye mukuba amabega

69. Mpawo kye nnali nnina ku byonna ebimanyiddwa ku nsonga za ba Malaika abaawaggulu nga banja okuwakana kwabwe (ku bikwata ku ntondebwa ya Adam)

70. Mpawo kimbikkulirwa okujjako obubaka obukakasa nti obuvunanyizibwa bwennina kwe kubeera omulabuzi omweyolefu.

71. Jjukira Mukama Katonda Omulezi wo we yategeereza ba Malaika nti: ‘Mazima nnina okutonda omuntu nga mujja mu bbumba.

72. Era bwe nnaaba mwenkanyankanyizza nga mufuuyeemu (ekitundu ekimu) ku mwoyo gwange kale mukke kuttaka olw’okumuwa ekitiibwa mu muvunnamire’.

73. Olwo baavunnama ba Malaika bonna obutasigalayo nomu.

74. Nga ojjeeko Ibuliisu eyekuluntaza era yali omu ku bajeemu.

75. Ya mubuuza nti: ‘Ggwe Ibuliisu, kiki ekikulobedde okuvunnamira oyo gwennatondesa emikono gyange? Abaffe osazeewo okwekuluntaza, nnandiki wetutte okuba owawaggulu?’

76. Yamuddamu nti: ‘Nze mulungi okukira oyo, nze wantonda mu muliro ate yye wamutonda mu bbumba!’

77. Yamuddamu nti: ‘Giveemu (ejjana) era ddala oli musindikirizibwa.

78. Era mazima oli wa kwambukirwako ekikolimo kyange okutuusa ku lunaku lw’amasasula.

79. Yamuwanjagira nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, nnindiriza okutuusa ku lunaku lwe bazuukizibwa.

80. Yamuddamu nti: ‘Kale mazima ggwe oli wa kulindirizibwa.

81. Okutuusa olunaku olw’ekiseera ekimanyiddwa (obulungi)’.

82. Yamulayirira nti: ‘Nkulayirira ekitiibwa kyo Ai Mukama; ddala nja kubabuza bonna obutalekaawo nomu.

83. Nga ojjeeko abaddu bo abamu kwabo abaayawulibwa’.

84. Yamuddamu nti: ‘Naye ekyamazima kyennyini, ate nga amazima genkutegeeza:

85. Nja kujjuliza ddala ggeyeena ab’ekinywi kyo n’abamu kwabo abakugoberedde nga bava mwabo, obutalekaayo nomu.’

86. Ggwe bategeeze nti: ‘Tewali kyembibasabirako bino nga yempeera, era ssiri mwabo abewaliriza.

87. Mpawo ngeri ndala gyebitwalibwamu ebyo bye mutuusibwako, okujjako okulyowa okwannamaddala okwayawulirwa ensi yonna.

88. Era mazima oli waakumanyira ddala eggulire ly’ebyo oluvannyuma lw’ekiseera.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *