Skip to content
Home » 51. Athariat (Enkuŋŋunsi)

51. Athariat (Enkuŋŋunsi)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

51. ESSUULA: ATHARIAT, ENKUŊŊUNSI’

Yakkira Makka. Erina Aya 60.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Ndayidde (empewo) enkuŋŋunsi olukuŋŋunta.

2. Wamu n’(ebire) ebyetisse obuzito.

3. N’(emmeri) eziseeyeeya empola.

4. Ne (bamalaika) abo abateekulula ensonga.

5.Mazima ebyo bye mulagaanyisibwa bituufu.

6.Era ddala okusasulwa kwa kubaawo.

7. Ndayidde eggulu ery’obutonde obw’ettendo.

8. Mazima mmwe mwemalidde ku bigambo ebitakwatagana.

9. Ba biwugulwako abo abawugulwa.

10. Bakolimiddwa ba ssebudyeesi.

11. Abo abaggweredde mu ggayaalo abalagajjavu.

12. Ababuuza nti: ‘Lutuuka ddi olunaku lw’amasasula?

13. Lwe lunaku lw’okubeera ku muliro nga bagezesebwa.

14. Muloze ku kigezo kyammwe ekyo kye mubadde musabisa akapapirizo.

15. Mazima abatya Katonda ba kubeera mu jjana n’ensulo (z’emigga).

16. Nga batwala ebyo bye yabagemulira Mukama Katonda Omulezi wabwe. Mazima beebo ababadde – nga ebyo tebinnabaawo – abalongoofu.

17. Babadde nga kitono nnyo (mu biseera bya) ekiro kyebawujjaalako.

18.Era nga mu (kiseera ekya) kinywambogo beebo abasaba okusonyiyibwa.

19. Nga n’emmaali yabwe mujjibwamu omutemwa gw’omusabi n’omunkuseere.

20. Ate ensi ejjudde ebyamagero ebyabo bokka abamativu.

21. N’ebisangibwa mummwe. Abaffe mulemeddwa okwekaliriza?

22. Ate mu ggulu y’esangibwa eby’okulya byammwe n’ebyo bye musuubizibwa.

23. Kale ndayira Mukama Katonda Omulezi w’eggulu n’ensi. Ago ge mazima okufaananako eky’okuba nti mazima mmwe musobola okwogera.

24. Abaffe kyakutuukako ekyafaayo kya bagenyi ba Ibrahim abeekitiibwa?

25. Awo lwe baayingira gyali (Ibrahim) ne bamulamusa nti: “mirembe!’ N’abaddamu nti: ‘mirembe!’ abantu abatamanyiddwa (kuno)

26. Bwatyo ye wungula okudda mu bantu be n’akomawo n’ekiriga ekisava (ekyokye).

27. Era yakisembeza gye bali n’agamba nti: ‘Abaffe temuulye?’

28. Bwatyo yabalabamu ebimuleetera okutya. Baamugumya nti ‘Totya!’ Era baamutegeeza amawulire amalungi ag’okufuna omwana omulenzi omumanyi.

29. Olwo yavaayo mukyala we nga atema akakule n’akuba oluyi mu kyenyi kye nga bwe yeebuuza nti: ‘Omukadde, omugumba?’.

30. Baddamu nti: Bwekityo kye yayogera Mukama Katonda Omulezi wo. Mazima yewuuyo Omulamuzi Omumanyi.

31. Yabuuza nti: ‘Nsonga ki (endala) gye mulina abange mmwe ababaka?

32. Ne baddamu nti: ‘Mazima ffe twatumidddwa eri abantu abagwenyufu.

33. Tube nga tubasindikira amatoffaali ag’ebbumba.

34. Gaalambibwa dda ewa Mukama Katonda Omulezi wo gaategekerwa abasusse obwonoonefu.

35. Bwetutyo twajjamu abo abaali babalimu nga bakkiriza.

36.Era tewali be twasaanga babalimu okujjako enju y’abo abasiraamu (abewaayo mu mateeka ga Katonda).

37. Olwo netulekayo ekyamagero ekiyigiriza abo abatya ebibonerezo ebiruma.

38. N’(ekyafaayo) ekya Musa, lwe twamutuma eri Firawo n’obuyinza obw’olwatu.

39. Bwatyo (Firawo) yakyuuka nga atunula ebbali n’agamba nti: ‘Oyo mulogo oba mulalu!’

40. Kale twamugombamu obwala n’eggye lye era lwabasuula mu nnyanja nga yye gumusinze.

41. N’(ekyafaayo) ekya Aad lwe twasindika gye bali empewo eyomuggundu (Etaliimu kalungi).

42. Nga tetaliza kintu kyonna kyetuuseeko okujjako nga ekifudde nga kasasiro.

43. N’(ekyafaayo) ekya Thamud awo bwe baategeezebwa nti: ‘Mweyagale mutuuse ekiseera (ekigere).

44. Bwebatyo baajeemera ebiragiro bya Mukama Katonda Omulezi wabwe olwo ne kubatuukako okubwatuka nga bali awo batunula.

45. Kale tebaasobola wadde okuyimirira era tebaali ba kutaasibwa.

46. N’omulembe gwa Nuhu ogwakulembera. Mazima gwegwo ogwali omulembe gw’aboonoonyi.

47. Kale eggulu twalizimba mu maanyi ate nga ffe (baabo) abegazaanya (nga tubitonda).

48. Era ensi twagyaliira ne kubaamu omukisa okugiteekateeka.

49. Era buli kintu twatondamu emiteeko ebiri mube nga mwebuulirira.

50. Kale mudduke okudda eri Katonda. Mazima nze nvudde gyali nga ndi mulabuzi omweyolefu.

51. Era temuyimbagatanya ku Katonda ekisinzibwa ekirala. Mazima nze nvudde gyali nga ndi mulabuzi omweyolefy.

52. Bwekityo mpawo yatuuka kwabo abaakulembera nga mubaka okujjako nga ba mugamba nti: ‘Oyo mulogo oba mulalu’.

53. Abaffe ekyo baakiraamirigana? Wew’awo beebo ddala abantu abeewagguzi.

54. Ggwe baveeko era ggwe tonenyezebwa.

55. Ate jjukiza, kubanga mazima okujjukiza kuyamba abakkiriza.

56. Era mpawo kyantondesa maginni na bantu okujjako okunsinza.

57. Mpawo kyenjagala mubo ku by’okufuna era ssaagala kundiisa.

58. Mazima Katonda yewuuyo omugabirizi kirimaanyi Omunywevu.

59. Kyokka mazima balina okufuna abo abalyazamanyi omugabo gw’ebibonerezo ogufaanana n’omugabo gw’ebibonerezo bya mikwano gyabwe, kale nebwebatayanguwa ku bisaba.

60. Era okuzikirira kwa kutuusibwa kwabo abaajeema nga kusinziira ku lunaku lwabwe olwo lwe basuubizibwa.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *