Skip to content
Home » 24. Al – Noor (Obutangaavu)

24. Al – Noor (Obutangaavu)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

24. ESSUULA: AN-NOOR, ‘OBUTANGAAVU’

Yakkira Madiina, Erina Aya 64.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

 

1. Essuula eno gye tussizza era tugiteekuluddemu ebitundu, era tussizzaamu amateeka amannyonnyofu musobole okwebuulirira.

2. Omwenzi omukyala n’omwenzi omusajja, mu kube buli omu ku bombi emboko kikumi. Era kireme okubakwata, ku bibonerezo byabwe bombi ekisa mu (kutuukiriza) Eddiini ya Katonda, bwe muba mukkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero. Era kiteekwa okubaawo nga ekijulizi, ku kibonerezo kyabwe bombi, ekibinja ky’abamu ku bakkiriza.

3. Omwenzi omusajja takkirizibwa kuwayira okujjako omukyala omwenzi oba omukyala omusamize, n’omwenzi omukyala teriiyo akkirizibwa ku muwayira okujjako omwenzi omusajja oba omusamize. Kale ekyo kyaziyizibwa abakkiriza.

4. Ate abo abalemererwa okuleeta abajulizi bana (abakakasa ebigambo ebyo) mubakube emboko kinaana ate temuddayo kukkiriza bujulizi bwe baleeta olubeerera. Era abo be bonoonyi.

5. Okujjako ababa benenyezza ebyo nga biwedde era nebalongosa. Olwo mazima Katonda ababeerera Omusonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

6. Ate abo abatemerera bakyala babwe ekigambo ky’obwenzi nebalemererwa okufuna abajulizi okujjako bo bennyini, kale obujulizi obuteekwa okwanjulwa omu kubo, gy’emirundi ena gy’alayira Katonda nga akakasa nti ddala ayogera mazima.

7. Era ogwokutaano yekakasaako nti: ekikolimo kya Katonda kimwambukireko bwaba abadde omu ku balimba.

8. Ate ekimujjisaako (omukyala) ekibonerezo kwe kwanja obujulizi emirundi ena gy’alayira Katonda nga akakasa nti mazima oli (bba) mulimba.

9. Era ogwokutaano yekakasaako nti: obusungu bwa Katonda bumwambukireko singa abadde (bba) ayogedde mazima.

10. Naye bwe kitaba kisa kya Katonda gyemuli n’obusaasizi bwe (omulimba yaalibonerezeddwa). Kyokka mazima Katonda ye Mwenenyezebwa Kalimagezi.

11. Wew’awo abo abaaleeta ebigambo ebikonjere, (ku Aisha) ke kakundi (k’abantu) akali mummwe. Temukisuubira ekyo nti kibi gye muli; mazima ekyo kirungi gyemuli. Buli muntu kubo yafuna omugabo gwe yalebuukanira ogw’ekibi. Era oyo eyali mu mitambo gy’okukulembera omusango ogwo mu kibinja kyabwe wa kutuusibwako ekibonerezo ekikakali.

12. Lwaki we mwabiwulirira baalemererwa abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakyala okulowooleza bannaabwe obulungi, ne bagamba nti: ‘Okwo kwe kukonjera okw’enkukunala!’.

13. Kiki ekyabalobera okukireeterako abajulizi bana. Wabula kavuna baalemwa okuleeta abajulizi, olwo abo ewa Katonda nga be balimba.

14. Naye bwe kitaba kisa kya Katonda gyemuli n’obusaasizi bwe munsi ne kunkomerero, kyalibatuuseeko olw’ekyo (ekibi) kye mwaggweramu ekibonerezo ekiyitirivu.

15. Jjukira nga mubiseetula n’ennimi zammwe bye mutalinaako kyemumanyi, nga mukisuubira nti kya lubalaato ate nga ekyo ewa Katonda kinene.

16. Lwaki we mwabiwulirira temwagamba nti: ‘Ffe tetusaanira kwogera ebyo, ekitiibwa kibe gyoli Ai Mukama, okwo kwe kukonjera okunene’.

17. Katonda ababuulirira okwewala okuddira (ebikolwa) ebiringa ebyo olubeerera bwe muba muli bakkiriza.

18. Era Katonda abannyonnyola amateeka. Kale Katonda ye Mumanyi Kalimagezi.

19. Mazima abo abettanira okusaasaanya obugwenyufu nga babuyingiza mu bakkiriza, bafuna ekibonerezo ekikakali munsi ne kunkomerero. Kale Katonda amanyi naye mwe temumanyi.

20. Naye bwe kitaba kisa kya Katonda gyemuli n’obusaasizi bwe, n’okuba nti mazima Katonda ye Mulumirirwa (wammwe) ow’okusaasira okwenjawulo (yalibabonerezza mbagirawo).

21. Abange mmwe abakkiriza temugoberera buwunjukira bwa ssitaani. Era oyo agoberera obuwunjukira bwa Ssitaani, mazima yyo by’elagira by’eby’obugwenyufu n’ebitamwa. Naye bwe kitaba kisa kya Katonda gyemuli n’obusaasizi bwe teyaalitukudde nga ava mu mmwe muntu yenna nebwekyalibadde kki, kyokka ye Katonda ye Muwulizi Omumanyi.

22. Era kyamuzizo okuba nti alayira oyo omugagga mu mmwe, omugazi munfuna, obutaddayo kutuusa buyambi eri ab’eŋŋanda n’abanaku n’abo abasenguka okudda mu kkubo lya Katonda. Kale basonyiwe era battire ku liiso. Abaffe temwagala kuba nti Katonda abasonyiwa? Kale Katonda Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

23. Mazima abo. Abatemerera ekigambo ky’obwezi ku bakyala abafumbo abejjeerevu abakkiriza, baakolimirwa munsi ne kunkomerero era baakufuna ekibonerezo ekikakali.

24. Olunaku lwe bibawaako obujulizi: ennimi zabwe n’emikono gyabwe n’ebigere byabwe kw’ebyo bye baali bakola.

25. Olunaku olwo Katonda abasasula bulambirira empeera yabwe mu mazima (nabo) ne bamanya nti ddala Katonda ye wuyo Owamazima Omwanjuluzi.

26. Abakyala ababi baayawulirwa basajja babi, n’abasajja ababi baayawulirwa bakyala babi. Era abakyala abalungi baayawulirwa basajja balungi n’abasajja abalungi baayawulirwa bakyala balungi. Bebo abejjeerezebwa mu biri (bali) bye bamokkola. Baakufuna okusonyiyibwa (ebibi byabwe) n’ebinnonoggo eby’ekitiibwa.

27. Abange mwe abakkiriza, temuyingira mayumba gatali gammwe okutuusa lwemumala okwennyonnyolako ne mukkirizibwa okuyingira era (nemumala) n’okusabira emirembe (okutoolera ssalaamu) abantu baamu. Ekyo ky’ekisinga obulungi gyemuli oba olyawo nemwebuulirira.

28. Naye bwemuba temugasanzemu muntu temugayingira okutuusa lwemumala okukkirizibwa. Era ssinga mugambiddwa nti: ‘Muddeeyo!’ kale muddeeyo. Ekyo ky’ekisinga okulaga obutukuvu bwe mulina. Era Katonda byonna bye mukola ye Mumanyi.

29. Mpawo kyemufuna nga kinenyo nga muyingira amayumba agatasulwamu agalimu ebyetaago byammwe. Era Katonda amanyi bulungi bye mwolesa ne byemukisa.

30. Lagira abakkiriza abasajja okukkakkanya amaaso gabwe n’okukuuma ensonyi zabwe. Ekyo ky’ekisinga okulaga obutukuvu bwabwe. Mazima Katonda ye Kakensa w’ebyo bye bakola.

31. Era lagira abakkiriza abakyala okukkakkanya amaaso gabwe n’okukuuma ensonyi zabwe, era tebayolesa bya kwewunda byabwe okujjako ebiba byeyeruddeko (byokka) mubyo. Era balina okubikka n’ensumikwa (engoye) zabwe ku byenyi byabwe. Era tebayolesa eby’okwewunda byabwe okujjako eri babbaabwe oba ba kitaabwe oba bataata ba babbaabwe oba batabani babwe oba batabani ba babbaabwe oba bannyinaabwe oba batabani ba bannyinaabwe oba batabani ba baganda babwe oba bakyala babwe (ababaweereza mu maka) oba abo begifuga emikono gyabwe egyaddyo oba abagoberezi abatakyegomba nga basajja oba abalenzi abato abatayolekebwanga nsonyi za bakyala. Era tebakubaganyanga ku magulu gabwe olw’okumanyisa bye bakweka ebimu ku by’okwewunda byabwe. Kale mwenenyeze Katonda mwenna abange mmwe abakkiriza mube nga mulokoka.

32. Era muwayire abakyala ab’obusa abali mummwe, (mufumbize) n’abalongofu nga baddu abali mummwe n’abazaana abali mummwe. Bwe babeera ba lukyola Katonda abagaggawaza nga ajja mu birungi bye, kale Katonda Mugazi (mu kugaba) Omumanyi.

33. Era bateekwa okweganga (ebikolwa n’ebigambo eby’ensonyi) abo abalemererwa okuwayira, okutuusa Katonda lw’abagaggawaza, nga abaawuliza ku birungi bye. Ate abo (abaddu) abaagala okusasula ekyenunulo (bawone obuddu) abamu kwabo be gifuga emikono gyammwe egyaddyo, mukkirize okusasula kwabwe, bwemuba mubamanyi nti balina obusobozi. Era mubayambeko okubafunira ennunuzi, nga mutoola ku mmaali ya Katonda eyo gye yabawa. Ate kizira gyemuli okuwaliriza abazaana bammwe okukola obwenzi, bwe baba bbo baagadde okukuuma ensonyi zabwe, olw’okuba mwagala okufuna eby’okweyagala by’obuwangazi bw’ensi. Era oyo yenna abakaka (ekibi ky’okubakaka gwe kyambukirako naye bbo abakakiddwa) mazima Katonda oluvannyuma lw’okukakibwa ababeerera Musonyiyi ow’okusaasira okw’enjawulo.

34. Kale mazima twassa gyemuli amateeka amannyonnyofu n’eky’okulabirako ky’emirembe gy’abamu kwabo abaasaanawo olubereberye lwammwe era nga kwe kulyowa okwayawulirwa abatya Katonda.

35. Katonda asinzibwa Allah ye nannyini butangavu bw’eggulu n’ensi. Enfanana y’obutangavu bwe eringa ekirawuli (ekiwanike mu kamooli) ekirimu ettawaaza. Nga ettawaaza eri mu kirawuli (ekirala). Nga ekirawuli (ekyo ekirala) kiringa emmunyenye emyamyansa nga ekoleezebwa mu muti ogw’omukisa ogw’omuzaituuni ogutali buvanjuba era ogutali bugwanjuba nga gasemberera amafuta gagwo okwaka (olw’okumasamasa kwagwo kwe galabikiramu) nebweguba tegugatuuseeko omuliro. (bwebwo) obutangavu obwegatta ku kitangala. Katonda aluŋŋamya n’ekitangala kye oyo gw’ayagala. Bwatyo Katonda bw’assaawo eby’okulabirako eri abantu. Era Katonda buli kintu ye Mumanyi.

36. Kisangibwa (ekitangala) mu mayumba Katonda ge yakkiriza okutumbizibwa n’okuba nti lyogererwamu erinnya lye nga bamutendereza mugo (amayumba ago) mu makya n’akawungezi.

37. Abasajja bebitabuzaabuza eby’obusuubuzi wadde ebyamaguzi okubajja ku kutendereza Katonda n’okuyimirizaawo esswala n’okuwaayo Zaka, batya olunaku kwe gitabangukira mulwo emitima n’amaaso.

38. Alyoke abasasule Katonda ekisinga obulungi kw’ebyo bye baakola era abongeze ebimu ku birungi bye. Kale Katonda agabira gwayagala awatali kubalirira.

39. Naye abo abaajeema emirimu gyabwe gifaanana ekiyanja (ekirengererwa) mu kabutamu ky’asuubira omuntu alumwa enkalamata nti mazzi, okutuusa lwaba nga akituuseeko natasangawo (mukifo ekyo) kintu kyonna, olwo n’asanga Katonda nga ali naye era n’amusasula bulambirira empeera y’emirimu gye. Kale Katonda y’asinga obwangu mu kubalirira.

40. Oba si ekyo (emirimu gyabwe) gifaanana nga ebizikiza ebisangibwa mu nnyanja erina amazzi ag’ebuziba nga gagibuutikira amayengo ageeberekeddwako waggulu wago amayengo amalala nga waggulu wago (amayengo) gabuutikiddwa ekire ekiddugavu. Nga ebizikiza ebimu byeberese ku binnaabyo, bwaba agolodde omukono gwe (oyo abirimu) tagezaako kugulaba. Kale oyo Katonda gwatateereddeewo kitangala tafuna butangavu.

41. Abaffe olemeddwa okulaba engeri ddala Katonda gye bamutendereza bonna abali mu ggulu n’ensi n’ebinyonyi ebiyanjuluza obutengerera ebiwawaatiro byabyo mu bbanga? Byonna ebyo mazima aba (Katonda) amanyi bulungi okusaba kwabyo n’okutendereza kwabyo. Era Katonda ye Mumanyi w’ebyo bye bakola.

42. Ate bwa Katonda yekka obufuzi bw’eggulu n’ensi. Era ewa Katonda yekka y’eri obuddiro.

43. Abaffe olemeddwa okulaba engeri mazima Katonda gy’aseyeeyesa ebire mpolampola, oluvannyuma n’abiwumba wamu oluvannyuma n’abyeberekaganya ku binnaabyo, olwo ne werolera amatondo (g’enkuba) agabifubutukamu, era assa okuva waggulu mu butunnumba bw’omubbanga (obw’ebire) embajjo z’obunnyogovu (omuzira) n’abutuusa ku (mmaali ya) oyo gwayagala, era abuwugula okubuwonya (emmaali ya) oyo gwayagala. Kubulako katono okumyansa kw’olumannya lwabwo okuziba amaaso.

44. Katonda akyusakyusa ekiro n’emisana. Mazima ekyo kirimu eky’okuyiga eri abo ab’amaaso (ageetegereza).

45. Kale Katonda yatonda buli kiramu ekitambula nga akijja mu mazzi mulimu ekyewalulira ku lubuto lwakyo, era mulimu ekitambuzisa amagulu abiri era mulimu ekitambuzisa amagulu ana. Katonda atonda by’ayagala. Mazima Katonda buli kintu Musobozi.

46. Mazima twassa eby’okulabirako ebyanjulukufu. Era Katonda aluŋŋamya gwayagala okumuzza ku kkubo eggolokofu.

47. Kale bagamba nti twakkiriza Katonda n’omubaka era netugonda, naye kidda emabega ekibinja ekimu mubo oluvannyuma lw’ekyo. Era bebo abatali bakkiriza.

48. Bwe baba bayitiddwa okudda eri Katonda n’omubaka we okuba nga alamula wakati wabwe, wesanga nga ekibinja ekimu mubo kiwakanya.

49. Ate bweba nga eri ku ludda lwabwe ensonga entufu, bagenda gyali mu bwangu.

50. Abaffe mu mitima gyabwe mulimu ekirwadde, nandiki balimu okubuusabuusa, nandiki balimu obweraliikirivu nti Katonda abasaliriza n’omubaka we? Wew’awo abo be bakuusa.

51. Mazima ekigambo kyokka eky’abakkiriza (ekibaawo), bwebaba bayitiddwa okudda eri Katonda n’omubaka we abe nga alamula wakati wabwe kwe kugamba nti: ‘Tuwulidde era tugonze’. Kale abo be balokofu.

52. Era oyo agondera Katonda n’omubaka we, n’atya Katonda n’amwekuuma, nga bebo abaganyulwa.

53. Kale baalayira Katonda nga banyweza ebirayiro byabwe nti, kavuna obeera nga obalagidde (olutabaalo) baba bagendera ddala (okutabaala). Bategeeze nti: tekibetaagisa kulayira. Obugonvu ky’ekintu ekimanyiddwa. Mazima Katonda ye Kakensa w’ebyo bye mukola.

54. Balagire nti: ‘Mugondere Katonda era mugondere omubaka.’ Bwebaba beeremye mazima ekyo ekyamukwasibwa, ky’avunanyizibwa nammwe ekyabakwasibwa, kyemuvunanyizibwa, ate bwe mu mugondera muluŋŋama. Era teriiyo kirala omubaka kyavunanyizibwa okujjako okubunyisa obubaka obwanjulukufu.

55. Kale Katonda yalagaanyisa abakkiriza abamu mummwe era abakoze ebirungi, nti mazima wa kubafuulira ddala abasigire munsi okufaananako nga bweyafuula abasigire bali abaabasooka era wa kunywereza ddala gyebali eddiini yabwe eyo gye yabasiimira, era wa kubawanyisizaamu ddala oluvanyuma lw’obweraliikirivu bwabwe, abaddize eddembe babe nga bansinza tebangattako kintu kyonna. Naye oyo aba ajeemye oluvannyuma lw’ekyo nga bebo ababa aboonoonefu.

56. Kale muyimirizeewo esswala era muweeyo Zaka era mugondere omubaka kibasobozese okusaasirwa.

57. Temukisuubirira ddala nti abo abaajeema balinawo kyebalemesa okutuukirizibwa munsi. Era obubudamu bwabwe gwe muliro, era (obwo) bwe busingayo obubi obuddo.

58. Abange mmwe abakkiriza, bateekeddwa buteekwa okubasaba olusa (okukkirizibwa) abo begifuga emikono gyammwe egyaddyo naabo abatannatuuka kwerooterera mummwe (ebiseera bya) emirundi esatu: awo nga tennasaalibwa esswala ya maliiri n’awo wemubeerera mu ggandaalo ly’ettuntu n’oluvannyuma lw’esswala ya Isha. Ebyo by’ebiseera ebisatu eby’ensonyi ebibateereddwawo (byebateekwa okumala okubasabiramu olusa nga bayingira mu bisenge byammwe) Temufuna mmwe newankubadde bbo kinenyo kyonna oluvannyuma lw’ebyo (ebiseera ebisatu ebibateereddwawo ne bwewaba tewali lusa lubaweereddwa). Baakudiŋŋananga gyemuli (okuyingira nga bwe bafuluma) ekibinja ky’abamu kummwe eri kinnaakyo. Eyo y’engeri Katonda gy’abannyonnyola amateeka. Kale Katonda ye Mumanyi Omulamuzi.

59. Ate bwe baba batuusizza abaana abato mummwe okwerootelera bateekwa nabo okubasaba olusa nga bwebasaba olusa bali ababakulembedde. Eyo y’engeri Katonda gy’abannyonnyola amateeka ge. Era Katonda ye Mumanyi Omulamuzi.

60.Kyokka abakadde nga bakyala abo abatakyegomba bufumbo tebafuna kinenyo okubikkula engoye zabwe nga tebagenderera kwolesa bya kwewunda. Naye bwe bekuuma nga bansa (nebatabikkula ngoye zabwe) kyekibasingira obulungi. Kale Katonda ye Muwulizi Omumanyi.

61. Tewali muzibe lwafuna kinenyo, newankubadde omulema okufuna ekinenyo, newankubadde omulwadde okufuna ekinenyo newankubadde mmwe mwennyini okukifuna, okuba nga mulya mu mayumba gammwe oba amayumba ga bakitammwe oba amayumba ga bannyammwe oba amayumba ga baganda bammwe oba amayumba ga bannyinammwe oba amayumba ga bakitammwe abato oba amayumba ga ba ssengammwe oba amayumba ga bamaama bammwe abato (baganda ba bannyammwe) oba amayumba ga bakkojjammwe oba (amayumba) ge mulina obuyinza ku bisumuluzo byago ebiggulawo oba (amayumba ga) mikwano gyammwe. Tewali kyemufuna nga kinenyo okuba nga muliira wamu (ku lujjuliro) oba okubeera kinnoomu mu kweyawulayawula. Bwemuba muyingidde mu maka, mulamusigane mmwe mwennyini ekiramuso ekiva ewa Katonda eky’omukisa ekirungi. Eyo yengeri Katonda gy’abannyonnyola amateeka kibasobozese okugeziwala.

62. Mazima abo bokka abakkiriza abannamaddala bebo abakkiriza Katonda n’omubaka we, era singa babadde naye kunsonga enkulu eyaawamu tebafunako webalaga okujjako nga bamusabye olusa. Mazima abo abakusaba olusa bebo abakkiriza Katonda n’omubaka we. Kale bwebaba bakusabye olusa olw’ezimu ku mbera (engeri) zabwe (obakkirize okuva wooli bagende) gaba olusa eri oyo gwoyagadde mubo era basabire Katonda okubasonyiwa. Mazima Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

63. Temukifuula nti okukoowoola omubaka okujja mummwe tekulina njawulo nangeri abamu mummwe gye bakoowoola bannaabwe. Mazima Katonda amanyi bulungi abeesebungulula abamu mummwe okugenda nga bekookoota. Kale beekuume abo abaawukana ku kiragiro kye okutuukibwako ekikemo, oba ssi ekyo okubatuukako ekibonerezo ekiruma.

64. Wew’awo bya Katonda yekka ebiri muggulu n’ensi. Ddala amanyi bulungi ebyo mmwe bye muliko (kaakano) ate olunaku lwe bazzibwa gyali wa kubabuulira ebyo bye baakola. Kale Katonda buli kintu ye Mumanyi.

 

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *