Skip to content
Home » 20. Twaha

20. Twaha

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(20)ESSUULA : TWAHA

Yakkira Makka. Erina Aya 135

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Twaha.

2. Tetwakussaako Qur’an (Ssemusomwa) eno olw’ekigendererwa eky’okukulebuukanya.

3. Wabula okujjukiza obujjukiza okweyawulidde oyo atya Katonda.

4. Nga essibwa okuva ew’oyo eyatonda ensi n’eggulu eriri mu bwengula.

5. Ye Mukama Katonda Omusaasizi ennyo ali ku Nnamulondo ateredde.

6. Ye nnannyini w’ebyo ebiri mu ggulu n’ebyo ebiri munsi muttaka.

7. Kakibe nti oyogedde lwatu ebigambo (ebitendereza), naye Yye amanya ebyama byonna n’ebyo ebyekusise mu mmeeme.

8. Allah ye Katonda asinzibwa, teriiyo (mulala) asinzibwa okujjako Yye. Ye nnannyini mannya amalungi.

9. Abaffe kyakutuukako ekyafaayo kya Musa?

10. Jjukira bwe yalengera omuliro, bwatyo n’agamba abantu be nti: ‘Musigale wano, mazima nnengendde omuliro. Kandabe nga, oba olyawo mbaleeterayo enjakirizo evudde kugwo, oba ssi ekyo nga nfunayo eyo ku muliro omuluŋŋamya.

11. Bwamala okutuuka weguli yakoowoolwa nti: ‘Ggwe Musa!’.

12. Mazima nze Mwene Mukama Katonda Omulezi wo. Kale sowola engatto zo (mu bigere) mazima kati gwe oli mu kiwonvu ekitukuvu (ekiyitibwa) Tuwa.

13. Era nze mmaze okukwawula, (mu balala). Kati wuliriza obubaka obukubikkulirwa.

14. Nga butegeeza nti: ‘Mazima nze Mwene Allah asinzibwa. Mpawo asinzibwa mulala okujjako Nze. Kale olina okusinza Nze nzekka era yimirizaawo esswala olw’okuntendereza.

15. Mazima ekiseera ekivannyuma kyakutuuka, nkyayongera okukifuula eky’enkiso, kisobozese okusasula buli mwoyo ebyo bye gutawaanira.

16. Kale tagezaako okukuwugula nga akikwebalamya (ekiseera ekivannyuma) oyo atakikkiririzaamu era (oyo) eyagoberera by’ayagala, nekikuleetera okuzikirira.

17. Ate kiki ekiri mu mukono gwo ogwaddyo ggwe Musa?’

18. Yaddamu nti: ‘Guno muggo gwange ngwesigamako, era nguwanuzisa amalagala g’embuzi zange (Gezirya) era ngulinako byengwetaagisa ebirala’.

19. Yamulagira nti: ‘Gusuule ku ttaka gwe Musa!’.

20. bwatyo yagusuula, okwejjuukiriza nga gwafuuse dda ssessota atambula.

21. N’amulagira nti: ‘Gulondewo wansi era tobaako kyotya. Tujja kuguzzaawo mu mbera yagwo eyasoose.

22. Era teeka omukono gwo munkwakwa zo, guveeyo nga gwakaayakana mungeri eteri ya bubi ekyo (kibeere) nga kyamagero ekirala.

23. Tube nga tukwoleka ebimu ku byamagero byaffe ebinene.

24. Genda eri Firawo, mazima ayitirizza obujeemu’.

25. Bwatyo (Musa) yasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, yanjuluza ekifuba kyange.

26. Era oŋŋondeze obuvunanyizibwa bwange.

27. Era osumulule okwetugga (okuli) mu lulimi lwange.

28. Kibasobozese okutegeera ebigambo byange.

29. Era nfuniraayo omubeezi nga ava mu bantu bange.

30. Nga ye Haruna muganda wange.

31. Mufuule ow’okunyweza omulimu gwange.

32. Era omugatte ku bubaka bwange.

33. Kitusobozese okukutendereza ennyo.

34. N’okukwogerako ennyo.

35. Mazima ggwe wennyini ebitukwatako oli mutunuulizi’.

36. Yamuddamu nti: ‘Mazima oyanukuddwa by’osabye gwe Musa’.

37. ‘Ate nga twakukolera ebirungi omulundi omulala.

38. Jjukira lwe twabikkulira maama wo obubaka obwamubikkulirwa.

39. (obumulagira) Nti: ‘Muganzike mu ssanduko, olwo ogiteeke mu nnyanja, eryoke yo ennyanja emusse ku lubalama, abe nga amulondayo omulabe wange era omulabe we. Era Nnakugemulira omukwano oguva gyendi, era oryoke ogunjulirwe mu bulabirizi bwange.

40. Jjukira awo mwannyoko nga atambula, era nga abuuza nti: ‘Abaffe mbalagirire oyo asobola okumulabirira?’ Bwetutyo twakuzzaayo eri maama wo abe nga afuna essanyu era akomye okunakuwala. Era watta omuntu olwo ne tukuwonya okukujja mu bweraliikirivu, era twakugezesa ebigezo nfafa. Kati otuukidde mu kiseera ekigerageranye ggwe Musa.

41. Era nkwegunjulidde olw’ensonga yange.

42. Genda ggwe ne mugandawo wamu n’ebyamagero byange, era mwembi temugayaalirira okunzijukira.

43. Mwembi mugende eri Firawo, mazima yewuyo eyeewaggula.

44. Kale mu mutegeeze ebigambo ebiweweevu, oba oli awo nga aneefumintiriza oba anaatya’.

45. Bombi bewozaako nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, mazima ffembi tutya okuba nga atutuusaako ebibonerezo embagirawo, oba ssi ekyo okuba nga yewaggula’.

46. Yabaddamu nti: ‘Mpawo kibatiisa. Anti nze ndi wamu nammwe mpuliriza era ntegereza (ebiriwo)

47. Kale mwembi mugende gyali mu mutegeeze nti mazima ffembi tuli babaka ba Mukama Katonda Omuleziwo. Kale leka babeere naffe abaana ba Israil, era komya okubakijjanya. Mazima tukuleetedde ekyamagero ekiva ewa Mukama Katonda Omulezi wo. Kale emirembe gibe eri oyo agoberedde obuluŋŋamu.

48. Ffembi nno mazima twabikkulirwa obubaka obutegeeza nti: Ddala ekibonerezo ekikakali kyakuweebwa oyo aba alimbisizza ne yeerema’.

49. Yabuuza nti: ‘Yaani Mukama Katonda Omulezi wammwe mwembi ggwe Musa?’.

50. Yamuddamu nti: ‘Mukama Katonda Omulezi waffe ffembi y’Oyo eyawa buli kintu obutonde obukyeyawulidde oluvannyuma (byonna) n’abiruŋŋamya’. 51. Yabuuza nti: ‘Ate eri etya embera y’emirembe egyasooka?’.

52. Yamuddamu nti: ‘Okumanya ebigikwatako kuli eri Mukama Katonda Omulezi wange era teyeerabira.

53. Y’oyo eyafuula ensi ku lw’emigaso gyammwe n’ebeera ekyererezi era yagisobozesa okwerulako ku lw’emigaso gyammwe amakubo, n’atonnyesa enkuba okuva muggulu ne tugyeyambisa okumeza emigogo nkuyanja egy’ebimera ebitali bimu.

54. (Netubalagira nti:) ‘Mulye era mulunde amagana g’ensolo zammwe’. Mazima ekyo kirimu eby’okuyigirako eri abo ababangufu.

55. Lyeryo lye twabajjamu (ettaka) nga tubatonda era mwe tubazza era mwetubafubutula omulundi ogusembayo.

56. Kale mazima twamwoleka ebyamagero byaffe byonna naye yabirimbisa era yeerema.

57. Yabuuza nti: ‘Abaffe ekikuleese gyetuli oyagala ku tufulumya tuve munsi yaffe, nga weyambisa eryo eddogo gwe Musa?’.

58. Kale naffe ka tukuleetere eddogo elilifaanana era teekawo wakati waffe naawe olunaku olulagaanye lwe tutajja kwawukanako ffe ffennyni newankubadde ggwe nga (ebyo byonna byakubeera mu) kifo kiseeteevu.

59. Yabaddamu nti: ‘Endagaano yammwe ya kutuukirizibwa ku lunaku lw’amewunda. Era abantu balina ku kuŋŋanyizibwa mu (biseera bya) kalasa mayanzi’.

60. Bwatyo Firawo yaddayo n’akunga abalogo be, oluvannyuma yakomawo.

61. Musa yabagamba nti: ‘Zibasanze! Mukomye okujweteka ku Katonda eby’obulimba aleme kubatuusaako ekibonerezo eky’ensibo. Ate nga mazima yaviiramu awo oyo yenna eyajweteka’.

62. Kyokka baafuna obutakkaanya kunsonga eri wakati wabwe era ne bayisa mu nkukutu akafubo ako.

63. Baagamba nti: ‘Awatali kuwannaanya, bano bombi be balogo abaagalira ddala okubafulumya babajje munsi yammwe nga beyambisa eddogo lyabwe era bombi babatwaleko eby’obuwangwa byammwe amakula.

64. Kale mwenna mugatte wamu obukodyo bwammwe (mu by’eddogo) bwemumala mujje mu lunyiriri lumu. Era mazima aganyuddwa olwaleero oyo aba awangudde.

65. baayanjula ekirowoozo ekigamba nti: ‘Ggwe Musa, oyinza okwanja ebibyo oba Ssi ekyo ffe okuba abasaale okwanja (ebyaffe)’. 66. Yaddamu nti: ‘Musooke mmwe okwanja ebyammwe’, okwejjuukiriza nga obuguwaguwa bwabwe n’obutittiriri bwabwe bulowoozesa (abantu) olw’eddogo lyabwe okuba nga obutambulira ddala.

67. Era ekyo kyaviirako mu mutima gwe okufuna ekitengo Musa.

68. Twamugumya nti: ‘Tolina kikutiisa, amazima ggwe oli kuntikko y’obuwanguzi.

69. Kale suula wansi ekyo kyolina mu mukono gwo ogwaddyo kibwebwene byonna bye baakoze. Amazima gennyini ebyo bye bakoze z’enkwe z’omulogo. Era teriiyo waganyulirwa omulogo yonna gyaba agenze’.

70. Olwo nebesanga abalogo nga bakkakkanye dda ku ttaka nga bavunnamye. Bagamba nti: ‘Tukkirizza Mukama Katonda Omulezi wa Haruna ne Musa’.

71. Yababuuza nti: ‘Musazeewo mutya okumukkiriza nga ssisoose kubakkiriza. Amazima ye wuyo kabona wammwe eyabatendeka eddogo. Kale nja kusanjagira ddala emikono gyammwe n’amagulu gammwe mu mpulinkanya. Era nja kubabambira ddala mwenna ku nduli z’emitende, era mwenna mujja kutegeerera ddala ani ku ffembi asinga okuba n’ekibonerezo ekikakali era eky’ensibo’.

72. Baamuddamu nti: ‘Tetujja kukuwa nkizo yonna, bwosinziira ku gano amazima agatujjidde, wadde okukusukkulumya kwoyo eyatutonda. Kale lamula kyonna ggwe kyosazeewo okulamula. Mazima ekyo kyokka ky’olamula bwebuno obuwangazi bw’ensi.

73. Ffe twamaze dda okukkiriza Mukama Katonda Omulezi waffe alyoke atusonyiwe ebibi byaffe era n’ebyo (byonna) byewatukaka okukola ebiri mu kika ky’eddogo. Kale Katonda y’asinga obulungi era ye w’okusigalawo’.

74. Ensonga enkulu eri nti, oyo yenna eyeyanjula eri Mukama Katonda Omulezi we nga mwonoonyi. Oyo ateekwa kufuna kibonerezo kya ggeyeena gy’atasobola kufiira asaanewo n’ewankubadde okuba mubulamu obweyagaza.

75. Ate oyo yenna eyeyanjula gyali nga mukkiriza eyakulembeza okukola ebirungi, nga bebo abateekwa okufuna amadaala aga waggulu.

76. Nga y’Ejjana Aden (obutuuze obw’emirembe) ekulukutira wansi wayo emigga nga bawangalira eyo olubeerera. Kale bwetyo bwebeera empeera y’oyo eyeetukuza.

77. Kale mazima twabikkulira Musa obubaka obumulagira nti: ‘Kulembera abaddu bange ogende nabo (ekiro) era bakubire ekkubo (eriyita) mu nnyanja (erijja okuba) ekkalu, totya kuggwikirizibwa (mulabe) era tofuna bweraliikirivu’.

78. Bwatyo Firawo n’abagwa mu buwufu nga akulembedde eggye lye, amangu ago kyababuutikira nga kiva mu nnyanja ekyo ekyababuutikira.

79. Bwatyo Firawo bwe yabuza abantu be era teyaluŋŋama.

80. ‘Abange mwe abaana ba Israil, mazima twabawonya omulabe wammwe, era twabalaganyisa (ensisinkano) kuludda lw’olusozi ebukiika ddyo, era twabassiza emmaanu n’obutiitiri.

81. Mulye ebimu ku birungi bye twabagabira kyokka temwefuula ba kyetwala munsi, kibe nga kibawonya okwambukirwako obusungu bwange. Kale oyo ayambukirwako obusungu bwange, mazima aba azikiridde.

82. Ate yenze ow’enkizo mu kusonyiwa oyo aba yenenyezza era naaba mukkiriza era n’akola ebirungi oluvannyuma ne yewaayo mu buluŋŋamu (n’atabuvaamu)’.

83. ‘Ate nga opapye n’osussa nga wesebungulula ku bantu bo ggwe Musa?’

84. Yamuddamu nti: ‘Baabo awo bandi mubuwufu era mpapye nga nzijja okweyanjula gyoli Ai Mukama Katonda Omulezi wange olyoke osiime’.

85. Yamugamba nti: ‘Mazima ffe twamaze okussa ekigezo ku bantu bo nga ovuddeyo era bonna yababuzizza dda Ssaamiriyi’.

86. bwatyo Musa yaddayo eri abantu be nga munyikaavu awulira okusaalirwa kungi. Yababuuza nti: ‘Bannange, ssi yemmwe be yasuubiza Mukama Katonda Omulezi wammwe ekisuubizo ekirungi? Olwo musuubidde nti kikandaliridde ekubatuukako ekisuubizo, nandiki musazeewo mwambukirweko obusungu obusibuka ewa Mukama Katonda Omulezi wammwe, bwemutyo ne musalawo okwawukana ku ndagaano yange?

87. Baamuddamu nti: ‘Tetwayawukanye ku ndagaano yo lwa kusalawo kwaffe, wabula twawalirizibwa okwetikka entwala y’amajjolobera g’abantu era twagisuula (mu muliro). Eyo y’engeri Ssaamiriyi gye yateekateeka’.

88. Bwatyo yabajjiramu (ekibumbe kya) akayana k’ente nga kibiribiri ekivaamu okuwuuma, olwo bonna ne bagamba nti: ‘Wuuno omusinzibwa wammwe era ye musinzibwa wa Musa!, era oli (Musa) takyamujjukira bujjukizi’ (okujjukira Mukama Katonda we asinzibwa).

89. Abaffe, balemererwa batya okwerolera engeri gye katasobola kubaddamu kigambo kyonna, n’engeri gye katasobola kubatuusaako kacwano wadde mugaso?

90. So nga Haruna yabategeeza olubereberye nti: ‘Bannange, ekyo ky’ekikemo ekinene kyemufunye olw’ako (akayana). So nga mazima Mukama Katonda Omulezi wammwe ye Musaasizi, kale mugoberere nze era mugondere ebiragiro byange.

91. Baamuddamu nti: ‘Tetujja kulekayo ku katuulirira (nga tukasinza) okutuusa nga Musa akomyewo gyetuli.

92. (Musa bweyakomawo) Yabuuza nti: ‘Gwe Haruna, kiki ekyakulemesezza (okubaziyiza) bwe wabalabye nga babuze?

93. Abaffe tokyangoberera? Abaffe osazeewo okujeemera ebiragiro byange?’

94. Yamuddamu nti: ‘Owange ggwe mwana wa nnyabo: ‘Tosikambula kirevu kyange wadde omutwe gwange, amazima gennyini nze ekintu kyennatidde, ggwe wennyini kwe kugamba nti; wayawuddeyawudde mu baana ba Israil, n’otagoberera kigambo kyange!’.

95. Yabuuza nti: ‘Ate wavudde kuki ggwe Ssamiriyi?’.

96. Yaddamu nti: ‘Nnalaba ebyo bye bataasobola kulaba, nenjoola olubatu lulamba mu buwufu bw’omubaka nembusuula (mu muliro), kale eyo yengeri gye yannungiyiza (ekikolwa ekyo) emmeeme yange!’.

97. Yamulagira nti: ‘Nnyamuka mbagirawo! Era kati, olina mu buwangazi bwo okulangirira nti: ‘Ssi kwatibwako! Era mazima kirina okukutuukako ekisuubizo kyotasobola kwetakkuluzaako! Kati nno werolere ekisinzibwa kyo kye watuuliridde (nga okisinza) obutaseguka. Mazima tujja ku kyokera ddala kisaanewo oluvannyuma tukimansize ddala mu nnyanja olumansa!’

98. ‘Mazima omusinzibwa wammwe omutuufu ye Allah, Mukama Katonda asinzibwa, mpawo asinzibwa mulala okujjako Yye, yabunyisa ebintu byonna okubimanya’.

99. Eyo y’engeri gye tukunnyonnyola ebimu ku byafaayo by’abo abaakulembera. Era mazima twakugemulira nga esinziira wetuli Enzijukizi.

100. Oyo agiwuguseeko, mazima aba asazeewo kwebagajja ku lunaku lw’amayimirira ekyonoono.

101. Ba kukibeeramu lubeerela. Kale ya kivve nnyo gye baba beetisse ku lunaku lw’amayimirira entwala y’ekibi.

102. Lwe lunaku lwefuuyibwa eŋŋombe ne tukuŋŋaanya aboonoonyi ku lunaku olwo nga batunula bbululu.

103. Nga bayisaayisa obwama wakati wabwe (obwewuunya nti); mpawo kiseera kye mumazeeyo (emagombe) ekisukka ekkumi.

104. Ffe tusinga okumanya ebyo bye boogera, mu kiseera oyo abasinga okuwatanya ensonga (olw’okutya okungi) w’ayogerera nti; mpawo kiseera kye mumazeeyo (emagombe) okujjako lunaku lumu.

105. Kale bakubuuza ensonga ezikwata ku nsozi baddemu nti: wa kuzisiguukulula Mukama Katonda Omulezi wange olusiguukulula.

106. Bwatyo alekewo (mu kifo we zibadde) nga waseeteevu nkalajje.

107. Nga tolina kyolabayo, ssi katunnumba wadde akabutamu.

108. Lwerwo olunaku lwe bagoberera omukoowoozi (omu yekka) atalina kwawukanibwako. Olwo amaloboozi negaba makkakkamu olw’okwetoowaliriza Mukama Katonda Omusaasizi ennyo, notabaako kyowulira okujjako enswagiro ensiriikirivu.

109. Olunaku olwo teriiyo kuwolereza kugasa okujjako okw’oyo gwaba akkirizza Mukama Omusaasizi ennyo era n’asiima ebigambo bye.

110. Amanyi (bulungi) byebariko (kati) n’ebyo bye bayiseemu so nga bbo tebamumalaayo kumumanya.

111. Bwebityo nebiba bikkakkamu ebyenyi byonna olw’okugondera Mukama Katonda Omulamu Ayeemalirira. Era mazima aba afaafaaganye (kwolwo) oyo eyeebagajja (olubereberye) obukuusa.

112. Ate oyo akola egimu ku mirimu emirungi era nga mukkiriza owannamaddala, teriiyo kulyazamanyizibwa kwatya wadde okukenwa.

113. Bwetutyo bwe twagissa nga ye Qur’an (Ssemusomwa) ey’oluwalabu era twannyonnyola muyo kalonda w’ebikangabwa ebisuubize kibasobozese okutya oba okufuna okwebuulirira.

114. Kale agulumizibwe Katonda Asinzibwa Allah Omufuzi owa mazima. Era topapa kusoma bubaka bwa Qur’an nga tebunnakusonjolerwa (mu bulambirira) obubaka byayo obujjuvu era saba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, nnyongera obuyivu.

115. Mazima twalaamira Adam olubereberye neyeerabira era netutamusobozesa kuba mumalirivu.

116. Kale jjukira lwe twalagira ba Malaika nti: ‘Muvunnamire Adam!’ Bonna baavunnama okujjako Ibuliisi ye yagaana.

117. Bwetutyo twategeeza Adam nti: ‘Mazima oyo mulabe wo ggwe ne mukyala wo kale tagezaako okubafulumya mwembi mu Jjana nekikuviirako okubulwa emirembe.

118. Mazima ekyakugemulirwa muyo (ejjana) kiri nti: teriiyo kugifuniramu njala wadde okuyita obukunya.

119. N’ekirala ekyakugemulirwa muyo kiri nti: togenda kulumirwayo nnyonta wadde okukabassana kwomukalasamayanzi’.

120. Naye Ssitaani yamubuzaabuza bwe yamutegeeza nti: ‘Ggwe Adam, abaffe nkulagirire ekibala ky’omuti gw’obulamu obutaggwawo n’obufuzi obw’olubeerera?’

121. Olwo bombi nebakiryako, bwezityo nezibeeyoleka ensonyi zabwe, olwo ne batanula okuzibikkako amakoola gomujjana. Bwatyo Adam bwe yajeemera Mukama Katonda Omulezi we era bwatyo bwe yabula.

122. Oluvannyuma Mukama Katonda Omulezi we yamwawula bwatyo nakkiriza okwenenya kwe era n’amuluŋŋamya.

123. Yabalagira (bombi) nti: ‘Mukke wansi mugiveemu yonna, nga abamu kummwe balabe eri bannaabwe. Kyokka bwe bubatuukirako ddala okuva gyendi obuluŋŋamu, kale oyo aba agoberedde obuluŋŋamu bwange, aba ssi wa kubula era taleebuukana.

124. Ate oyo eyesambye okunzijukira, olwo mazima afuna obuwangazi obukalubo era tumuzuukiza ku lunaku lw’amayimirira nga muzibe.

125. Aliwanjaga nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, lwaki onzukizza nga ndi muzibe ate mazima nga nnali ndaba?’

126. N’amuddamu nti: ‘Yeyo engeri nawe gyegaakutuukangako amateeka gaffe n’ogeerabira, bwekityo olwaleero (nawe) werabiddwa’.

127. Kale bwetutyo bwetusasula oyo aba yeemazeemu era natakkiriza mateeka ga Mukama Katonda Omulezi we. Ate mazima ekibonerezo ky’oluvannyuma kyekisinga obukakali era kyekisinga okusigalawo.

128. Abaffe tebaafuna kumanyisibwa? Kameka nga tuzikiriza olubereberye lwabwe enkuyanja y’emirembe egyo gye basalimbira mu maka gagyo? Mazima ekyo kirimu eky’okulabirako ekiyigiriza abalimu obugeziwavu.

129. Ate ssinga ekigambo ekyasalawo (okubazikiriza oluvannyuma) ssi kyekyakulembera okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wo, kyalibadde kibakakatako (ekibonerezo eky’embagirawo wamu) n’entuuko ezaakakasibwa.

130. Kale gumira bye boogera era tendereza amatendo amalungi aga Mukama Katonda Omulezi wo enjuba nga tennavaayo n’awo nga tennagwa. N’ebiseera by’ekiro ebimu era tendereza, n’enkomerero y’emisana osobole okusiima.

131. Era wewazise amaaso go gombi okutunula enkaliriza olw’okwegwanyiza ebyo ebyassibwawo olw’okweyagala kw’emiteeko (gy’abantu) egimu egiva mu bibinja byabwe nga bya kwewunda bya buwangazi bwansi bye twagendereramu okubakema mu nkozesa yabyo (ebaviirako okubonerezebwa). So nga ebigabirirwa bya Mukama Katonda Omulezi wo bye bisinga obulungi era bye bisinga okusigalawo.

132. Ate lagira abantu bo okusaala era ginywerereko (esswala). Tewali kyetukusaba (ku bikwata) ku kugabirira. Ffe tuvunanyizibwa okukugabirira. Ate enkomerero amakula y’abo abalimu okutya Mukama.

133. Kale baabuuza nti: ‘Kiki ekimulobera okutuleetera ekyamagero okuva ewa Mukama Katonda Omulezi we? Abaffe tekwabatuukako okunnyonnyola ebyo ebiri mu bitabo ebya bakulembera?

134. Naye mazima ssinga twasalawo kubazikiriza nga tweyambisa ekibonerezo nga yye (omubaka) tannababeeramu, balyekwasizza nti: ‘Ai Mukama Katonda omulezi waffe, lwaki tewatutumira mubaka netugoberera amateeka go nga tetunnanyomoolwa n’okutyoboolwa?.

135. Baddemu nti: ‘Mpawo atalindirira (kinaabaawo). Kale mulindirire. Era mujja kumanya be baami abali ku mugendo omulambulukufu era be baani abaaluŋŋama.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]