Skip to content
Home » 41. Fussilat (Amateekulule)

41. Fussilat (Amateekulule)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

41. ESSULA: FUSWILAT, AMATEEKULULE

Yakkira Makkah, Erina Aya 54.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Hamim

2. Kuno kwe kussa obubaka obuva ew’oyo Omusaasizi ennyo Ow’okusaasira okwenjawulo.

3. Nga ky’ekitabo: mateekulule amateeka gakyo, ye Qur’an (Ssemusomwa) ey’oluwalabu eyayawulirwa abantu abayivu.

4. Esanyusa era erabula, naye bagisudde mugaluka abasinga obungi era bebo abatawulira.

5. Kale baalangirira nti: ‘Emitima gyaffe gibuutikiddwa ekibikka ekigitangira okweyunira bye mutuyitira (okubyekwatako) era mu matu gaffe mulimu envumbo, ate wakati waffe nammwe waliwo ejjiji, kale ggwe kola (ebibyo) naffe tulina bye tukola.

6. Ggwe bategeeze nti: ‘Nze nno mazima ndi muntu atalina njawulo nammwe, mbikkulirwa obubaka obuyigiriza nti: ‘Mazima Omusinzibwa wammwe, Musinzibwa Omu yekka kale mubeere besimbu gyali, era mu mwegayirire okubasonyiwa (ebibi), era okuzikirira kwayawulirwa abo abayimbagatanya (ku Katonda ebirara).

7. Bebo abatawaayo Zaka era nga abo ekomerero bagiwakanya.

8. Mazima abo abakkiriza era abaakola ebirungi balina empeera etaggwaawo.

9. Babuuze nti: ‘Abaffe yemmwe abawakanyiza ddala oyo eyatonda ensi mu nnaku bbiri, ne muba nga mumuyimbagatanyako ba lubaale? Ye wuyo Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

10. Era yagissaamu (ensi) lugumyansi ku bitikkiro byayo era yagiwa emikisa olwo n’agerageranyizaamu eby’okulya byayo mu nnaku nnya nga bya kyenkanyi eri abo abasaba.

11. Oluvannyuma yatereera ku (kutonda e) ggulu ne riba mukka bukka, bwatyo yaliragira wamu nensi nti: ‘Mujje mwembi mu kweyagalira oba mu kukakibwa’. Byayanukula byombi nti: ‘Tuzze nga tuli bagonvu’.

12. Bwatyo yalisalawo okuba eggulu musanvu mu nnaku bbiri era, yassa mu buli ggulu embera yalyo eryeyawulidde. Kale twawunda eggulu eririranye ensi n’amataala wamu n’obukuumi. Eyo yengerageranya y’oyo Luwangula Omumanyi (ennyo)

13. Kyokka ssinga bawakanyizza, nga obategeeza nti: ‘Nze mmaze okubalabula (okutuuka ku kibonerezo) nnamuzisa, ekifanana nnamuzisa wa (omulembe gwa) Aad ne Thamud.

14. Jjukira lwe baabatuukako ababaka abava mubo bennyini n’abaaliwo oluvannyuma lwabwe, nga bayigiriza nti: ‘Mazima mukomye okusinza (ebirala) ebitali Katonda asinzibwa Allah’. Baabadamu nti: ‘Bwe yalyagadde Mukama Katonda Omulezi waffe (okutuma ababaka) yaalissizza ba Malaika. (nga be babaka) Ffe nno mazima ebyo bye mwatumwa nabyo tubiwakanya’.

15. Ate (omulembe gwa) Aad, kale bekuluntaliza munsi mu bitali bituufu, era beewaga nti, wa nnabaki oyo atukira eryanyi?’ Abaffe balemeddwa okwekkaanya eky’okuba nti; mazima Katonda oyo eyabatonda ye wuyo abakira eryanyi? Kale baali amateeka gaffe bagawakanya.

16. Bwetutyo twabasindikira embuyaga ewuuma (obuwuumi olw’emisinde gyekuŋŋuntirako emingi) mu nnaku ezekengerwa (ez’ekikwa) tube nga tubaloza ku kibonerezo ekibawebuuza mu buwangazi bw’ensi. Sso nga ddala ekibonerezo ky’enkomerero ky’ekisukkirivu mu kuwebuula. Era abo ssi ba kutaasibwa.

17. Ate (ab’omulembe gwa) Thamud, kale twabaluŋŋamya, ebyembi bo bettanira bubuze okusinga obuluŋŋamu. Bwatyo yabatuukako nnamuzisa w’ekibonerezo Luwebuula, nga balangibwa bye baali bakola.

18. Bwetutyo twawonya abo abakkiriza era baali batya Katonda.

19. Naye olunaku olukuŋŋanyizibwako abalabe ba Katonda okubatwala mu muliro nga baawulwamu obukuukuulu. 20. Okutuusa lwe baba nga bagutuuseeko, (omuliro) bibawaako obujulizi: amatu gabwe n’amaaso gabwe n’emibiri gyabwe, kw’ebyo bye baali bakola.

21. Olwo ne babuuza emibiri gyabwe nti; ‘Lwaki mutuwaddeko obujulizi?’ negibaddamu nti: ‘Atwatuzza Katonda oyo ayatuzza ebintu byonna era yewuyo eyabatonda omulundi ogwasooka era gyali gye muzzibwa’.

22. Kale biibyo bye mubadde mu kukusa nga mwewala okubawaako obujulizi: amatu gammwe newankubadde amaaso gammwe, kyokka era mwalowooza nti mazima Katonda tamanyi bingi kwebyo bye mukola.

23. Kale eyo mmwe y’endowoza yammwe gye mwalowooleza Mukama Katonda Omulezi wammwe, ye yabadibaga olwo ne mukeesa nga mufaafaaganye.

24. Kale ka babe nga bewaddeyo okuguma, gwo omuliro bwe bubudamu bwabwe, ate ne bwe bawanjaga okubazibira ku liiso ssi ba kulizibirwa.

25. Era twabassizaawo embagirawo abanywanyi ab’emikago abaabawundira ebyo bye baali nabyo, n’ebyo eby’oluvannyuma lwabwe, era kyabakakatako ekigambo (ky’okubonerezebwa) nga kisookera ku mirembe egyabakulembera egya maginni n’abantu. Mazima bebo abaali mu kufaafaagana.

26. Era abo abaajeema baagamba nti: ‘Mwewale okuwuliriza eyo Qur’an (Ssemusomwa) era mugikube olube kibasobozese okuwangula’.

27. Kale mazima tulina okuloza abo abaajeema ku kibonerezo ekikakali era ddala tulina okubasasula ekisinga obubi kw’ebyo bye baali bakola.

28. Yeyo empeera y’abalabe ba Katonda ey’omuliro. Era ba kugufunamu obutuuze obw’olubeerera, nga y’empeera (ebawebwa) olw’engeri gye baali nga amateeka gaffe bagawakanya.

29. Era abo abaajeema baawanjaga nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi waffe, twoleke abo abaatubuza ab’emitendera gyombi egya maginni n’abantu, tube nga gyombi (emitendera) tugiteeka wansi w’ebigere byaffe, basobole bombi okusembayo okubeera abawansi.

30. Mazima abo abaayogera nti: ‘Mukama Katonda Omulezi wafe ye Allah asinzibwa, oluvannyuma ne baba besimbu abatuukirivu, bakka gye bali ba Malaika n’obubaka obubagumya nti: ‘Temwelaliikirira newankubadde okunakuwala era mujaganye olw’Ejjana eyo gye mubadde musuubizibwa.

31. Ffe banywanyi bammwe mu buwangazi bw’ensi n’obw’enkomerero, era mulina okufunirayo (mujjana) ebyo bye gyegomba emitima gyammwe era mulina okufunirayo (mujjana) ebyo bye musaba.

32. Nga bwe bugenyi (bwe muwebwa) obuva ew’oyo asinga okusonyiwa ow’okusaasira okw’enjawulo’.

33. Naye avaawa oyo ayogera obulungi okusinga oyo aba ayise (abantu) okudda eri Katonda ate n’alomgosa emirimu era n’agamba nti mazima nze nnewaayo (mu busiraamu) mu kugondera amateeka ga Katonda.

34. Kale tebyenkanankana ebirungi, n’ewankubadde ebibi (nabyo tebyenkanankana), ggwe (ekibi) kiggiseewo ekyo ekisinga obulungi, olwo wejjuukirize nga oyo gwolinako wakati wo naye empalana, afaanana nga munywanyi enfira bulago.

35. Era tewali akituukako (ekyo) okujjako abo abagumiikirizza, era tewali akituukako (ekyo) okujjako oyo eyafuna omugabo omuyitirivu.

36. Naye singa ddala kikuwugula, nga kiva ewa Ssitaani, empugula yonna tobandaza kwegangisa Katonda. Mazima yewuyo Omuwulizi Omumanyi.

37. Era ebimu ku bya magero bye (ebyewunyisa) ky’ekiro n’emisana n’enjuba n’omwezi. Kyamuzizo gye muli okuvunnamira enjuba wadde omwezi. Naye muvunnamire Allah Katonda asinzibwa oyo eyabitonda, ssinga mubadde ye yekka gwe musinza.

38. Naye bwe baba bekuluntazza (bamanye nti) abo abali ewa Mukama Katonda Omulezi wo ba mutendereza ekiro n’emisana era nga bebo abatakoowa.

39. Era ebimu ku byamagero bye kwekuba nti mazima ggwe werolera ensi nga efuuse enkalajje, naye bwe tuba tugifukiridde amazzi nga ejugumira nga efuna emyaganya (omufubutukira ebimera). Mazima oyo agiwadde obulamu ye wuyo ddala alamusa ebifu. Mazima yewuyo Omusobozi wa buli kintu.

40. Mazima abo abawugula (abantu) okuva ku mateeka gaffe tebasobola ku twekweka. Abaffe oyo asuulibwa mu muliro (y’ali obulungi) nandiki oyo atuuka nga wa mirembe ku lunaku lw’amayimirira? Mwe mukole bye mwagala, mazima yewuyo, byonna byemukola abiraba.

41. Mazima abo abaajeemera Enzijukizi nga ebatuuseeko, ate nga mazima kye kiikyo ekitabo Luwangula.

42. Tebukyetabikamu obukyamu nga businzira mukyo, kyekyo ekyassibwa okuva ew’oyo Omulamuzi Kalimagezi Atenderezebwa.

43. Teriiyo ki kutegezebwa kirala okujjako ebyo ebyategezebwa ababaka olubereberye. Mazima Mukama Katonda Omulezi wo ye musukkirivu w’okusonyiwa era ye musukkirivu w’okubonereza okukakali.

44. Naye ssinga twagifuula Qur’an (Ssemusomwa) eri mu lulimi olugwira (olutali luwalabu) baalibuuzizza nti: ‘Lwaki ssi mateekulule amateeka gayo? Abaffe ate yyo eri mu lulimi lugwira, nga omubaka (gw’ekkako) muwalabu?’ Ggwe bategeeze nti: ‘Yo yawebwa abo abakkiriza nga bwe buluŋŋamu (bwabwe) era okuwonya (kwabwe). Naye abo abatakkiriza, amatu gabwe galimu envumbo, era yyo eri mu maaso ebakowoola muddoboozi (lye batawulira nga liringa) erisinzira mu kifo ekyewala.

45. Kale mazima twawa Musa ekitabo kyokka kyayawukanwakwo. Naye ssinga tekyasalibwawo ekigambo olubereberye okuva ewa Mukama Katonda Omulezi wo, yaaliramuddwa (ensonga) wakati wabwe. Kale mazima bebo abemalidde mu butagikakasa (Qur’an) bagibuusabuusa.

46. Oyo yenna akoze ekirungi, aba alongoseza mwoyo gwe era oyo yenna ayonoonye aba (mwoyo gwe) gwayonoonera. Era tekisoboka Mukama Katonda Omulezi wo okulyazamanya abaddu.

47. Kizzibwa gyali eky’okumanya ekiseera ekivannyuma (we kituukira), era teriiyo bibala bifubutuka mu ŋŋo zabyo era teriiyo (kiramu) kikazi kifuna ggwako newankubadde okuzaala okujjako lwa kumanya kwe. Ate olunaku kw’abakowoolera (nga ababuuza) nti: ‘Babulidde wa be mwangattako? Ne bamuddamu nti: ‘Twewozaako dda mu maaso go, tetulinaawo oyo yenna atujulira’.

48. Olwo ne biba nga bibabuzeeko bye baali basinza (bawanjagira) olubereberye. Era baamanyira ddala nti; tebalinaawo buddukiro.

49. Teriiyo muntu akoowa kusaba birungi, ate bwekiba kimutuuseeko ekibi olwo nga aterebuka nga aggwamu essuubi.

50. Ate bwe tuba tumutuusizzaako obusaasizi obuva gye tuli oluvannyuma lw’akabi akamubaddeko, olwo nga yewaana nti: ‘Bino birina kuba byange, era ssirowooza nti ekiseera ekivannyuma kya kuyimirirawo. Era ne bwemba nziziddwayo eri Mukama Katonda Omulezi wange, mazima nze nnina okufunirayo eyo gyali ebirungi. Kale tuteekwa okunnyonnyolera ddala abo abaajeema byonna bye baakola era tuteekwa okubatuusizaako ddala ebimu ku bibonerezo ebikakali.

51. Era bwetuba tugemulidde omuntu ebirungi, akyuka n’abyekulizaako, ate bwekiba kimutuuseeko ekibi olwo nga awanjaga n’asukkiriza.

52. Babuuze nti: ‘Abaffe mulaba mutya bweba nga (Qur’an) eva wa Katonda, kyokka nga mmwe mwagiwakanya, olwo aba wa nnaba ki eyabula ennyo okukira oyo aggweredde mu kwetemamu okwebuziba?

53. Tujja kubooleka ebyamagero byaffe, ebiri mu bwengula n’ebyo ebisangibwa mubo, okutuusa lwe kinaabeeyoleka nti mazima eyo (Qur’an) gemazima gennyini. Abaffe tekimala bumazi eky’okuba nti Mukama Katonda Omulezi wo yewuyo (aliwo) nga ku buli kintu mujulizi?

54. Wew’awo abo bemalidde mu by’obutakakasa kusisinkana Mukama Katonda Omulezi wabwe. Wew’awo mazima yewuyo (aliwo) nga buli kintu akyebunguludde.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *