Skip to content
Home » 26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)

26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(26). ESSUULA: ASHU-ARA- ‘ABATONTOMI’

Yakkira Makka, erina Aya 227.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. TA.SIN.MIM.

2. Obwo bwe bubonero bw’ekitabo ekyanjulukufu.

3. Kyandiba ggwe nti osemberera okwetta wekka olw’okuba (abantu) tebewaayo kuba bakkiriza.

4. Ssinga twagala tubassiza okuva muggulu ekyamagero ne besanga nga ensingo zabwe zikigondera.

5. Kale mpawo kubatuukako nga kulyowa okuva ewa Mukama Katonda Omusaasizi ennyo nga kupya okujjako baba bakwesamba (okulyowa) bawakanya.

6. Ate mazima nazzikuno baalimbisa, naye gajja kubatuukako amawulire g’ebyo bye baali baŋoola.

7. Abaffe balemeddwa okwerolera (Embeera ye) ensi, kameka nga tumezezzaamu (ebimera) ebya buli mugogo ogw’ekitiibwa.

8. Mazima ekyo kirimu eky’amagero (ekiyigirwako). Naye abasinga obungi mu kibinja kyabwe tebaali bakkiriza.

9. Ate mazima Mukama Katonda Omulezi wo y’Oyo Luwangula Ow’okusaasira okw’enjawulo.

10. Kale jjukira Mukama Katonda Omulezi wo lwe yakoowoola Musa (nga amulagira) nti: ‘Tuuka ku bantu aboonoonefu.’

11. Abantu ba Firawo. Abaffe bakyesisiggiriza okutya Katonda?

12. Yamuddamu nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, mazima nze kyentya kwe kunnimbisa.

13. Olwo ne yetugga emmeeme yange, nga ate terwetaaya olulimi lwange, kale (kyenkusaba) tumira Haruna.

14. Ate mbalinako ekisobyo, era kyentya kwe kunzita!’

15. Yamuddamu nti: ‘Ekyo kafuuwe: era mwembi mugende n’eby’amagero byaffe. Mazima ffe tuli nammwe tuwuliriza.

16. Kale mutuukirire Firawo era mwembi mweyanjule nti: mazima ffe tuli babaka ba Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna!’

17. (Olagiddwa) nti: ‘Leka tugende n’abaana ba Israil’.

18. Yabuuza nti: ‘Abaffe ssi ye ggwe gwe twalerera muffe nga oli bbujje, (waakazaalibwa) n’omala muffe mu buwangazi bwo emyaka mingi?’.

19.Sso nga wakola ekikolwa kyo kiri kyewakola nga oli mu lubu lwa ba mawale?’

20. Yaddamu nti: ‘Ekyo nnakikola era bwentyo nnali mu nsobi.

21. Era nnabeeseebululamu nenjotta bwe nnabatya, oluvannyuma yangemulira Mukama Katonda Omulezi wange okutegeera okw’enjawulo okw’obwa Nnabbi era yanfula owomuluse lwa babaka.

22. Abaffe ekyengera kiri ky’okyangemulira, (nabuli kati) olwo okisinzireko, okuba nti wabafuula abaddu abaana ba Isirail?’.

23. Firawo yabuuza ti: ‘Ate yaaliwa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna?’

24. (Musa) yaddamu nti: ‘Yoyo Mukama Katonda Omulezi w’eggulu n’ensi n’ebyo ebiri wakati wa byombi. Ssinga mubadde abekkaanya.

25. (Firawo) Yabuuza abo abamwebunguludde: ‘Mwe abaffe temuwuliriza?’.

26. (Musa) Yabategeeza nti: ‘Yoyo Mukama Katonda Omulezi wammwe era Mukama Katonda Omulezi wa bakitammwe abaasooka’. 27. (Firawo) Yagamba nti: ‘Mazima Omubaka wammwe oyo asindikiddwa gyemuli ddala muzoole’.

28. (Musa) Yabategeeza nti: ‘Ye Mukama Katonda Omulezi w’ebuvanjuba n’ebugwanjuba n’ebyo ebiri wakati wa byombi. Ssinga mubadde abategeera’.

29. (Firawo) Yaddamu nti: ‘Bwoba wessizaawo dda omusinzibwa atali nze nja kukussiza ddala mu (bali) abaasibwa!’.

30. (Musa) yabuuza nti: ‘Abaffe ne bwemba nkuleetedde ekintu eky’olwatu?’

31. (Firawo) Yaddamu nti: ‘Kale kireete, singa obadde mwabo abaamazima’.

32. Bwatyo (Musa) yasuula ddamula ye wansi, okwejjuukiriza nga ye ssessota omweyolefu.

33. Era yasowolayo omukono gwe (mu nkwakwa) okwejjuukiriza nga gumasamasa eri abo abagutunuulira.

34. (Firawo) Yategeeza abakungu abaamwebungulula nti: ‘Mazima ono ye kalibulogo omukenkufu.

35. Ayagala okubafulumya munsi yammwe nga yeyambisa eddogo lye, kiki kati kye mulagira?’ (kikolebwe).

36. Baddamu nti: ‘Musse akasiiso ne muganda we, bwomala sindika mu bibuga ekitongole ekifeffessi. 37. Babe nga bakuleetera abalogo bonna abakugu’.

38. Olwo baakuŋŋaanyizibwa abalogo olw’ensisinkano y’olunaku olwasalibwawo.

39. Era kyalangirirwa eri abantu nti: ‘Abaffe mwenna mukuŋŋaanye? (muweddayo?)

40. ‘Oba olyawo ffe twandigoberera abalogo ssinga babadde nga be bawanguzi’.

41. Kale bwe baamala okutuuka abalogo, baabuuza Firawo nti: ‘Abaffe mazima tunaafunawo empeera yonna, ssinga tubadde nga ffe tuwangudde?’.

42. Yaddamu nti: ‘Wew’awo era mazima mwe olwo nga muli mu lubu lwabo abookumwanjo.

43. Musa yabalagira nti: ‘Mwanje ebyo bye mulina okwanja’.

44. Bwebatyo baayanja wansi obuguwa bwabwe n’obutittiriri bwabwe era baalaamiriza nti: ‘Ku lw’ekitiibwa kya Firawo, mazima ffe bawanguzi!’.

45. Bwatyo Musa yassa wansi ddamula ye okwejjuukiriza nga yeyo ebwebwena (emiringusa) ebyo bye bagunjagunja.

46. Olwo nebesanga nga beeyiye dda kuttaka abalogo bavunnamye.

47. Baalangirira nti: ‘Tukkirizza Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

48. Mukama Katonda Omulezi wa Musa ne Haruna!’

49. (Firawo) Yabuuza nti: ‘Mumukkirizza mutya nga ssimaze kubakkiriza? Mu butuufu y’oyo ssenkulu wammwe eyabatendeka eddogo, kale mujja kukitegeera. Mazima nja kusanjagira ddala emikono gyammwe n’amagulu gammwe mu mpulinkanya, era mazima nja kubabambira ddala ku mmambo mwenna’.

50. Baddamu nti, ‘Tekirina ngeri! Mazima eri Mukama Katonda Omulezi waffe gye tuzzibwa.

51. Mazima ffe twesunga okuba nti atusonyiwa Mukama Katonda Omulezi waffe ebibi byaffe olw’engeri gye tubadde, abasaale mu bakkiriza’.

52. Bwetutyo twabikkulira Musa obubaka obumulagira nti: ‘Bomba nga bukunidde wamu n’abaddu bange, mazima mwenna (kaakano) muwenjebwa’.

53. Bwatyo Firawo yasindika mu bibuga ekitongole ekifeffessi.

54. (okulangirira) nti: ‘Mazima bali ke kakundi k’abantu abatono.

55. Ate mazima bonna batuleetedde ennyiike. 56. Sso nga mazima ffe, ddala tuli nkwatangabo z’abajaasi.

57. Era twabajja mu malimiro n’ensulo z’amazzi.

58. N’amawanika (g’eby’obugagga) n’amaka ag’ebitiibwa.

59. Bwetutyo twabisikiza abaana ba Israil’.

60. Kale baabagwa mu buwufu olw’okubagwikiriza (eyo ebuvanjuba gye baddukidde) mu mavaayo g’enjuba.

61. Kale bwe byayolekeganya amaaso ebibinja byombi, baawanjaga abantu ba Musa nti: ‘Mazima fenna tuzindukiriziddwa’.

62. Yabagumya nti: ‘Ekyo kafuuwe! Mazima ndiwamu ne Mukama Katonda Omulezi wange ajja kunnuŋŋamya!’

63. Bwetutyo twabikkulira Musa obubaka obumulagira nti: ‘Kubisa ddamula yo ku nnyanja!’. Bwetyo (ennyanja) yeeyawuzaamu amakubo, olwo nekiba nti buli ntumu (y’amazzi ageeyawulamu okutema amakubo mu nnyanja) eringa olusozi olutumbivu olunene.

64. Bwetutyo twabasembeza (Firawo n’eggye lye) kumwanjo (gw’ennyanja) okutuusa ku basembayo.

65. Era twawonya Musa ne beyali nabo bonna.

66. Oluvannyuma twazikiriza abalala.

67. Mazima ekyo kirimu ekyamagero (ekiyigiriza) wabula baali abasinga obungi mu bibinja byabwe ssi bakkiriza.

68. Ate mazima Mukama Katonda Omulezi wo yewuyo Luwangula ow’okusaasira okw’enjawulo.

69. Kale basomere ekyafaayo kya Ibrahim.

70. Lwe yabuuza kitaawe n’abantu be nti: ‘Biki bye musinza?’.

71. Baddamu nti: ‘Tusinza bifaananyi era tusiisira (ekiseera) we biri nga tubituuliridde (tubisinza).

72. Yabuuza nti: ‘Abaffe bibawulira awo we mubilaajanira.

73. Nandiki eriyo kye bibagasa oba kye bibakosa?’

74. Baddamu nti: ‘Mu butuufu twasanga bakitaffe eyo yenkola gye bakola’.

75. Yababuuza nti: ‘Abaffe mwajekkaanya embera y’ebyo bye mubadde musinza.

76. Mwe ne bakitammwe abaakulembera?

77. Mazima ebyo, be balabe bange, okujjako Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

78. Oyo eyantonda era ye wuyo annuŋŋamya.

79. Era yoyo angabirira eby’okunywa.

80. Ate bwemba ndwadde yewuyo amponya.

81. Era yoyo anfiisa bwamala n’ampa obulamu.

82. Era yoyo gwennesunga okunsonyiwa ensobi zange ku lunaku lw’amasasula.

83. Ai Mukama Katonda Omulezi wange ngemulira okutegeera okwenjawulo era nnyunga mu luse lw’abalongofu.

84. Era onzisizeewo olulimi olwamazima (olunjogerako ebirungi) mwabo ab’oluvannyuma.

85. Era nteka mu b’okusikira ejjana ey’ebyengera.

86. Era, Ai Mukama sonyiwa kitange, mazima yye yetabye wamu naabo abaabula.

87. Era tompebuula ku lunaku lwe bazuukizibwa.

88. Olunaku lweterina kyegasa emmaali newankubadde abaana.

89. Okujjako oyo eyeyanjudde ewa Katonda n’omutima omutukuvu’.

90. Bwetyo erisembezebwa ejjana abo abatya Katonda.

91. Era aliyolekebwa ggeyeena abo abeewaggula

92. Olwo balibuuzibwa nti: ‘Biriwa bye mwali musinza?

93. Nga muleseewo Katonda asinzibwa Allah. Abaffe birinayo kye bibataasa nandiki byo byennyini okwetaasa?’.

94. Olwo ne binyugunyizibwa mugwo (omuliro gwa ggeyeena) byonna, gattako abeewaggula.

95. N’eggye lya Ibuliisi lyonna.

96. Baliwanjaga nga bali mugwo batootoogana.

97. Nti: ‘Aga Katonda mu butuufu twali tuggweredde mu bubuze obweyolefu.

98. Awo we twabenkanyankanyiza ne Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

99. Naye mpawo mulala yatubuza okujjako aboonoonyi. 100. Kale tetulinaawo batuwolereza.

101. Newankubadde ow’omukwano enfira bulago.

102. Kale ssinga mazima tufunawo engeri gye tuzzibwayo (kunsi) nekitusobozesa okubeera muluse lw’abakkiriza’.

103. Mazima ekyo kirimu eky’amagero (ekiyigiriza). Wabula baali abasinga obungi mu bibinja byabwe ssi bakkiriza.

104. Ate mazima Mukama Katonda Omulezi wo yewuyo Luwangula Ow’okusaasira okw’enjawulo.

105. Gwalimbisa omulemba gwa Nuhu.

106. Jukira lwe yababuuza muganda wabwe Nuhu nti: ‘Abaffe mukyesisiggazza okutya Katonda?

107. Mazima nze azze gyemuli nga ndi mubaka omwesigwa.

108. Kale mutye Mukama Katonda era muŋŋondere.

109. Era ssigibasabirako (ensonga eyo) mpeera yonna. Mazima tewali mpeera yange gye ngisuubira okujjako ewa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

110. Kale mutye Mukama Katonda era muŋŋondere’.

111. Baamubuuza nti: ‘Abaffe, naffe tugoberere ggwe awamu n’okuba nti abakugoberera bebo bankoko etwala muyenje?’

112. Yaddamu nti: ‘Mpawo kyenvunaanyizibwa mu kumanya kwange kwebyo bye baali bakola.

113. Teri walala kubalirirwa kwabwe gye kwesigamizibwa okujjako ewa Mukama Katonda Omulezi wange. Bwe muba ekyo mukitegeera.

114. Era ekyo kafuuwe nze okugobaganya abakkiriza.

115. Mpawo nze kyentukiriza okujjako okuba omulabuzi omweyolefu’.

116. Baddamu nti: ‘Singa ebyo tobikomya gwe Nuhu bijja ku kutuusiza ddala okukubwa amayinja’.

117. Yasaba nti: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, mazima abantu bange (bonna) bannimbisizza.’

118. Kale lamula wakati wange nabo olulamula, era mponya wamu ne bendi nabo abakkiriza’.

119. Bwetutyo twamuwonya n’abo abali naye mu lyato eryajjuzibwa.

120. Ebyo nga biwedde twazikiriza abaasigalawo.

121. Mazima ekyo kirimu ekyamagero (ekiyigiriza) wabula baali abasinga obungi mu bibinja byabwe ssi bakkiriza.

122. Ate mazima Mukama Katonda Omulenzi wo ye wuyo Luwangula Ow’okusaasira okw’enjawulo.

123. Gwalimbisa omulembe gwa Aad ababaka.

124. Jjukira lwe yabalyowa muganda wabwe Huudu nti: ‘Abaffe mukyesisiggazza okutya Katonda?

125. Mazima nze azze gyemuli nga ndi mubaka omwesigwa.

126. Kale mutye Mukama Katonda era muŋŋondere.

127. Era ssigibasabirako (ensonga eyo) mpeera yonna, mazima tewali mpeera yange gyengisuubira okujjako ewa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

128. Abaffe musazeewo okuzimba kubuli katunnumba ekituuti, musinzire okwo okukola effujjo?

129. Era nemuba nga mussaawo amaka, gyoli nti muwangala lubeerera?

130. Ate bwe muba (mulina gwe) mugombye obwala musussa obwewagguzi.

131. Kale mutye Mukama Katonda era muŋŋondere.

132. Era mutye oyo eyabagemulira bye mumanyi.

133. Yabagemulira amagana g’ensolo ezirundibwa n’ezzadde ly’abaana.

134. N’ensuku n’ensulo. 135. Mazima nze mberaliikirira ekibonerezo ky’olunaku Ssewannaku’.

136. Baddamu nti: ‘Tusigala nga bwetuli kobeere nti obuuliridde oba tobadde mwabo ababuulirira.

137. Tewali ebyo ngeri ndala gyebitwalibwamu okujjako okuba obuwangwa bw’abaasooka.

138. Era ssi ffe ab’okubonerezebwa’.

139. Kale baamulimbisa era twabazikiriza. Mazima ekyo kirimu eky’amagero (ekiyigiriza), wabula baali abasinga obungi mu bibinja byabwe ssi bakkiriza.

140. Ate mazima Mukama Katonda Omulezi wo ye Luwangula Ow’okusaasira okwenjawulo.

141. Gwalimbisa omulembe gwa Thamud ababaka.

142. Jjukira lwe yababuulirira muganda wabwe Swalihi nti: ‘Abaffe mu kyesisiggazza okutya Katonda?

143. Mazima nze azze gyemuli nga ndi mubaka omwesigwa.

144. Kale mutye Mukama Katonda era muŋŋondere.

145. Era ssigibasabirako (ensonga eyo) mpeera yonna. Mazima tewali mpeera yange gyengisuubira okujjako ewa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

146. Abaffe musazeewo okwesulubabba gano (amakula) agali wano nga mukyali mu mirembe?

147. Mu nsuku n’ensulo.

148. N’ebirime (nkuyanja) n’emitende nga enkota zaazo (ze ziweese za) bibala bigonvu.

149. Nemudda ku kuwumuggula enjazi okukola amayumba ag’obukugu?

150. Kale mutye Mukama Katonda era muŋŋondere.

151. Era mukomye okugondera ebiragiro by’abeejalabyi.

152. Abo aboonoona munsi era tewali kyebalongosa.

153. Baddamu nti: ‘Embera yokka gy’obalibwamu ggwe y’ey’abo abaloge.

154. Tewali mbera ndala gye tukubalamu ggwe okujjako okuba omuntu obuntu afaanana ffe, kale leeta eky’amagero bwoba obadde mwabo abaamazima’.

155. Yaddamu nti: ‘Yiino eŋŋamiya, eteekwa okwawulirwa olunywa (olunaku kwenywera amazzi) nammwe mwawulirwe olunywa (olunaku kwemunywera amazzi) ku lunaku olutegeerekese obulungi.

156. Era temugituusaako kibi, ssikuba nga kibatuukako ekibonerezo ky’olunaku Ssewannaku’.

157. Naye baagisogga effumu ne bubakeerera nga bali mu kwejjusa.

158. Era kyabatuukako ekibonerezo. Mazima ekyo kirimu ekyamagero (ekiyigiriza) wabula baali abasinga obungi mu kibinja kyabwe ssi bakkiriza.

159. Ate mazima Mukama Katonda Omulezi wo ye wuyo Luwangula Ow’okusaasira okw’enjawulo.

160. Gwalimbisa omulembe gwa Luutu ababaka.

161. Jjukira lwe yababuulirira muganda wabwe Luutu nti ‘Abaffe mukyesisiggazza okutya Katonda?

162. Mazima nze azze gyemuli nga ndi mubaka omwesigwa.

163. Kale mutye Mukama Katonda era muŋŋondere.

164. Era ssigibasabirako (ensonga eyo) mpeera yonna, mazima tewali mpeera yange gyengisuubira okujjako ewa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

165. Abaffe musazeewo okuganza abasajja mu bantu bonna?

166. Nemuba nga mulekawo abo be yabatondera Mukama Katonda Omulezi wammwe, okugeza bakyala bammwe? Mubutuufu ate mmwe muyitiridde obwewagguzi.

167. Baddamu nti: ‘Bwonooba teweekomyeko ggwe Luutu, ojja kutuukira ddala okugobwa’.

168. Yaddamu nti: ‘Mazima nze ebikolwa byammwe nnina okubyogerako.

169. Ai Mukama Katonda Omulezi wange, mponya n’abantu bange mwebyo byebakola’. 170. Bwetutyo twamuwonya n’abantu be bonna.

171. nga ojjeeko omukadde eyali ow’okusigala (mu kibonerezo)

172. Oluvannyuma twasanyawo abalala.

173. Era twabatonnyeseza enkuba (eyamatoffaari agayiika obuyiisi) Kale yabijja nnyo enkuba yaabo abaalabulwa.

174. Mazima ekyo kirimu eky’amagero (ekiyigiriza) wabula baali abasinga obungi mu kibinja kyabwe ssi bakkiriza.

175. Ate mazima Mukama Katonda Omulezi wo ye wuyo Luwangula Ow’okusaasira okw’enjawulo.

176. Gwalimbisa omulembe gwa bannyini bisaka ebisaakaativu ababaka.

177. Jjukira lwe yababuulirira muganda wabwe Swaibu nti: ‘Abaffe mukyesisiggazza okutya Katonda?

178. Mazima nze azze gyemuli nga ndi mubaka omwesigwa.

179. Kale mutye Mukama Katonda era muŋŋondere. 180. Era ssigibasabirako (ensonga eyo) mpeera yonna, mazima tewali mpeera yange gye ngisuubira okujjako ewa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

181. Mutuukirize empima y’emirengo era temubeera mu lubu lwa bakenyi.

182. Era mupimise minzani eteekubiira.

183. Era mukomye okukendereza abantu ebipimwa byabwe era mukomye okusaasaanya munsi obugwenyufu.

184. Kale mutye Mukama Katonda oyo eyabatonda wamu n’emirembe egyakulembera.

185. Baddamu nti: ‘Embera yokka gy’obalibwamu ggwe, y’eyaabo abaloge.

186. Era tewali mbera ndala gye tukubalamu ggwe okujjako okuba omuntu obuntu afaanana ffe. Sso nga mazima tukusuubira okubeera mwabo abalimba’.

187. Kale tusuuleko ekibajjo nga kiwanuse muggulu ssinga obadde mwabo abaamazima.

188. Yaddamu nti: ‘Mukama Katonda Omulezi wange y’asinga okumanya ebyo bye mukola.

189. Era baamulimbisa, bwekityo kyabatuukako ekibonerezo ky’olunaku lw’ekire. Mazima ekyo kyali kibonerezo kya lunaku Ssewannaku.

190. Mazima ekyo kirimu eky’amagero (ekiyigiriza) wabula baali abasinga obungi mu kibinja kyabwe ssi bakkiriza.

191. Ate mazima Mukama Katonda Omulezi wo yewuyo Luwangula Ow’okusaasira okw’enjawulo.

192. Kale mazima obwo obubaka (bwe bussibwa) nga bwa Mukama Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.

193. Bwe yakka nabwo Mwoyo Omwesigwa.

194. (N’abusomera) ku mutima gwo kikusobozese okubeera mwabo abalabuzi.

195. Nga weyambisa olulimi oluwalabu olwanjulukufu.

196. Era mazima bwebwo obusangibwa mu bitabo by’abaasooka.

197. Abaffe tewannabaayo kyebafuna abo nga kyamagero (ekiyigirwako) nga bakimanyi (bulungi) abayivu b’abaana ba Isirail?

198. Naye ssinga twagissa (eyo Qur’an) ku bagwira abamu.

199. N’aba nga (omugwira) y’agibasomedde, tebaalibadde (yo yennyini) nga bagikkiriza.

200. Mungeri eringa eyo (eyobutakkiriza) twaginnyikiza mu mitima gy’aboonoonefu.

201. Teriito bagikkiriza okutuusa lwe balaba ekibonerezo ekiruma.

202. Era ekibatuukako ekibwatukira nga nabo tebamanyi.

203. Olwo ate nebawanjaga nti ‘Abaffe waliwo (ekiseera) kyetulindirizibwayo?’.

204. Abaffe, era ekibonerezo ekyaffe kye banguyaako?’

205.Abaffe byo obirabye? nebwetwalibeeyagazza emyaka n’emyaka.

206. Oluvannyuma ne bibatuukako ebyo bye baali basuubizibwa.

207. Mpawo kyalibajunye kwebyo bye baali beeyagaliramu.

208. Era mpawo kye twazikiriza nga kyalo, okujjako nga kyafuna abalabuzi.

209. Okwo nga kwekujjukiza, era tetubangako balyazamanyi.

210. Era tezigissangako (eyo Qur’an) Ssitaani

211. Ate ekyo tekizigwanira era tezisobola (kugissa).

212. Mazima zonna eky’okugiwulira zaakugirwa.

213. Kale towambagatanya, nga owanjagira Katonda, kisinzibwa kirala, owone okubeera mwabo ababonerezebwa.

214. Era labula ab’olulyo lwo ab’okumpi.

215. Era wetoowalize abo ababa bakugoberedde mu bibinja by’abakkiriza.

216. Bwe baba bakujeemedde, bategeeze nti:’Mazima nze mpakanyiza ddala ebyo bye mukola’.

217. Olwo wesigamire Luwangula Ow’okusaasira okw’enjawulo.

218. Oyo akulaba wobeerera nga oyimirira (olw’okusaala).

219. N’engeri gy’ojjulukuka nga wetabye wamu n’abavunnami.

220. Mazima oyo yewuyo Omuwulizi Omumanyi.

221. Abaffe mbategeeze bannaba ki abo bezissiza obubaka Ssitaani.

222. Zibussiza buli mujwetesi omwonoonefu.

223. Batega amatu, (okubuwuliriza) naye ezisinga obungi (Ssitaani) zirimba.

224. Ate abatontomi: ababagoberera bebo abaabula.

225. Abaffe olemeddwa okwerolera engeri gyebaba nti buli kawonvu n’akagga basaatuukirayo?

226. Era mazima bebo aboogera bye batakola?

227. Okujjako abo abakkiriza era abaakola ebirungi era abatendereza Katonda ennyo, era abaafuna obuwanguzi (obwabatuukako) oluvannyuma lw’okulyazamanyizibwa (kwebaalimu). Kale bajja kumanya abo abeemalira mu bulyazamanyi, bwannaba ki obuddiro gye badda.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *