Skip to content
Home » 50. Qaf

50. Qaf

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.7″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.7″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

50. ESSUULA: QAF

Yakkira Madiina. Erina Aya 45.

Kulw’erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow’okusaasira okw’enjawulo.

1. Qaf: Ndayidde Qur’an (Ssemusomwa) egulumizibwa.

2. Wew’awo bewunyizza olw’okuba yabatuukako omulabuzi nga ava mubo, bwebatyo ne boogera abajeemu nti: ‘Ekyo ky’ekintu ekyewunyisa.’

3. Butya bwe tuba nga twafa dda era twafuuka dda ettaka! Ekyo eky’okuzzibwawo nate nga kiri wala!

4. Mazima tumanyi bulungi ekyo lye likendeeza ettaka okuva ku bo, era ffe tulina ekitabo ekibikuuma.

5. Wew’awo baawakanya amazima bwe gaabatuukako nebaba nga beebo abali mu nsonga ez’okubutaabutana.

6. Abaffe balemeddwa okwerolera eggulu mu bwengula bwabwe engeri gye twalizimba era twaliwunda era teririna miwaatwa?

7. Era ensi twagyaliira, bwetutyo twasimbamu lugumyansi n’okugimezaamu buli kalonda w’emigogo (gy’ebimera) emiginnyimufu.

8. Olw’okwekkaanya n’okwejjukanya kwa buli muddu addayo (eri Katonda).

9. Era twassa okuva mu ggulu amazzi ag’omukisa, kale twagamezesa amalimiro (n’okugabazisa) empeke ezikungulwa.

10. N’emitende emiwanvu egiweese enkota eziri mu birimba.

11. Nga ky’eky’okulya ky’abaddu. Era twagalamusisa ensi enfu. Bwekutyo bwekuli okujjibwaayo.

12. Gwalimbisa nazzikuno olubereberye lwabwe omulembe gwa Nuhu ne bannanyini luzzi n’aba Thamud.

13. N’aba Aad ne Firawo ne baganda ba Luuti.

14. Ne bannannyini bisaka ebisaakaativu n’abantu ba Tubba. Bonna (abo) baalimbisa ababaka, olwo nekituukirizibwa ekibonerezo.

15. Abaffe ddi lwe twalemwa olutonda olwasooka? Wew’awo beebo abalimu okubuzibwabuzibwa kw’olutondebwa olutonda olupya.

16. Kale mazima twatonda omuntu era tumanyi ebyo byegwebulankanyizaako omwoyo gwe, sso nga ffe tuli ku lusegere gyali okusinga omusuwa gwomutima.

17. Awo we basisinkanira ababiri nga basinziira ku (ludda olwa) ddyo n’okusinziira ku kkono nga bakkalidde. 18. Tewali kyayatula mu bigambo okujjako nga birinawo omulondoozi (wabyo) ataseguka.

19. Olwo ne kutuuka (gyali) okuboyaana kw’okufa (nga kuli) n’ekituufu. (najjukizibwa nti) kyekyo kyewali weebalama. 20. Olwo n’efuuyibwa eŋŋombe. Lweluulwo olunaku olusuubize olw’ebibonyobonyo.

21. Era ne gweyanjula buli mwoyo nga gulina aguwalaawala n’oyo aguwaako obujulizi.

22. Wew’awo ddala obadde mu buteefiirayo ku kino ate tukubikkuliddewo ekisiikiriza kyo. Bwegatyo amaaso go olwaleero moogi (tewali kye gatalaba).

23. Olwo n’amutegeeza munywanyi we nti: ‘Biibyo bye mbadde nabyo, byonna weebiri’.

24. Musuule mwembi (mmwe ba Malaika ababiri) mu ggeyeena buli kajeemera ssempaka.

25. Kalibukodo w’ebirungi kyewaggula abuusabuusa.

26. Oyo eyayimbagatanya ku Allah ebisinzibwa ebirala, kale mwembi mu musuule mu kibonerezo ekikakali.

27. Yamwegaana munywanyi we (Ssitaani) bwatyi: ‘Ai Mukama Katonda Omulezi wange, ssi nze oyo nnamubuza wabula ye yali mu bubuze obwewala’

28. N’abategeeza nti: temutootooganira wendi so nga mazima nnasindika dda gye muli omulabuzi.

29. Tewali kikyuusibwa kigambo kyonna mu maaso gange era ssi nze ayinza okulyazamanya abaddu.

30. Lwe lunaku kwe tubuuliza ggeyeena nti: ‘Abaffe ojjudde?’ Olwo (ggwo) ne gubuuza nti: ‘Abaffe waliwo ennyongeza yonna?’ 31. Bwetyo n’esembezebwa ejjana eri abatya Katonda obutabeera wala.

32. Byebyo bye musuubizibwa ebya buli oyo eyadda ewa Mukama eyeekuuma (amateeka ge).

33. Oyo eyatya Mukama Katonda Omusaasizi ennyo munkiso era eyatuuka, (ewa Katonda) n’omutima ogwemenye.

34. Mugiyingire (ejjana) mu mirembe lwelwo olunaku ssewannaku.

35. Bafuna byonna bye betaaga muyo era tulinawo ennyongeza.

36. Kameka lwe twazikiriza nazzikuno nga tebannabaawo, nassiisi w’emirembe egyabo abaabasinga embavu era egyatuuka mu bibuga (eby’enjawulo) abaffe baafunayo obuddukiro bwonna?

37. Mazima kirimu ekyo okubuulirira okw’oyo abadde alina amagezi oba afuddeyo okuwuliriza ate nga yewuuyo atabuzeewo (mu mwoyo)

38. Era mazima twatonda eggulu n’ensi n’ebyo ebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga era tetwafuna bukoowu.

39. Kale gumira bye boogera era tendereza amatendo amalungi aga Mukama Katonda Omulezi wo nga tennavaayo enjuba n’awo nga tebunnaziba.

40. N’awo (mubiseera ebimu) ekiro beera nga omutendereza, n’oluvannyuma lw’okuvunnana.

41. Ate wuliriza olunaku mw’akowoolera omukoowooze nga asinziira mu kifo eky’okumpi.

42. Olunaku lwe bawulira okubwatuka mu mazima. Lwelwo olunaku lw’okuvaayo (emagombe)

43. Mazima ffe baabo abalamusa era abafiisa era gyetuli bwe buddo.

44. Lwe lunaku lwe yebajjula ensi nga ebavaako (babe nga bafubutuka emagombe) mu bwangu. Okwo kwe kubakuŋŋaanya okubazza gyetuli okwangu.

45. Ffe tusinga okunanya bye boogera. Ate ssi ye ggwe aliwo nga ow’okubatuntuza. Kale jjukizisa (weyambise okujjukiza) ne Qur’an (Ssemusomwa) oyo atya ebibonerezo ebisuubize.[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *