Skip to content
Home » 9. Al – Tawbah (Okwenenya)

9. Al – Tawbah (Okwenenya)

[et_pb_section fb_built=”1″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_row column_structure=”1_3,2_3″ _builder_version=”4.4.6″ saved_tabs=”all”][et_pb_column type=”1_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ header_font_size=”44px” custom_padding=”15px|3px||5px|false|false” custom_css_main_element=”height: 350px;||overflow: auto;||margin:0;|| ” border_radii=”on|0px|0px|0px|0px” border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_color=”#0C71C3″]

ESSULA

1. Al – Fatiha (Enziguzi)
2. Al – Baqarah (Ente)
3. Al – Imran (Abantu ba Imran)
4. AN – Nisa (Abakyala)
5. Al – Maida (Ekijjulo)
6. Al–An’am(Ensolo ezirundibwa)
7. Al – A’raat (Obutunnumba)
8. Al – Anfal\\l (Emigyago)
9. Al – Tawbah (Okwenenya)
10. Yunus
11. Hud
12. Yusufu
13. Ar – Ra’ad (Eraddu)
14. Ibrahim
15. Al – Hijir
16. Al – Nahal
17. Al – Israh (Olugendo lw’ekiro)
18. Al – Kahf (Empuku)
19. Mariam
20. Twaha
21. Al – Ambiya (Bannabbi)
22. Al – Hajj (Okulamaga)
23. Al – Mumimun (Abakkiriza)
24. Al – Noor (Obutangaavu)
25. Al – Fur-qan (Enjawuzi)
26. Ash – Shu’arah (Abatontomi)
27. An – Naml (Ensanafu)
28. Al – Qasas (Ebyafaayo)
29. Al – Ankabut (Nabbubi)
30. Ar – Room (Roma)
31. Luquman
32. As – Sajidah (Okuvunnama)
33. Al–Ahzaab(Enkambi z’abatabaazi)
34. Saba (Sheba)
35. Fatir (Kagingo)
36. Yasin
37. As–Saffaat (Abasimba ennyiriri)
38. Swad
39. Az – Zumar (Ebibiina)
40. Ghafir (Omusonyiyi)
41. Fussilat (Amateekulule)
42. Ash – Shurah (Okwebuuza)
43. Az – Sukhruf (Amatiribona)
44. Ad – Dukhan (Ekikoomi)
45. Al – Jathiyal (Okufukamira amayimiririra)
46. Al – Ahqaf (Embibiro z’omusenyu)
47. Muhammad
48. Al – fatih (Obuwanguzi)
49. Hujurat (Ebisenge)
50. Qaf
51. Athariat (Enkuŋŋunsi)
52. At – Tul (Olusozi)
53. An – Najim (Emmunyenye)
54. Al – Qamar (Omwezi)
55. Al – Rahman (Omusaasizi)
56. Al – Waqi-ah ( Okwedomola
57. Al – Hadid (Ekyuma)
58. Al – Mujadalah (Omuyombi)
59. Al – Hashir (Okuwanganguka)
60. Al – Mumtahanah (Abaagezesebwa)
61. Al – Saff (Ennyiriri)
62. Al – Jumua (Olwa – Juma)
63. Al – Munafiqun (Abannanfusi)
64. Al – Taghabun (Obuggya)
65. At – Talaaq (Okugoba abakyala)
66. At – Tahriim (Omuziro)
67. Al – Mulk (Obwakabaka)
68. Al – Qalam (Ekkalaam)
69. Al – Haaqqah (Olukakafu)
70. Al – Ma’arij (Obutumbiiriro)
71. Al – Nuhu
72. Al – Ginni (Amaginni)
73. Al – Muzzammil (Lwezingira)
74. Al – Muddath – thir (Lwebuutikira)
75. Al – Qiyamah (Enkomerero)
76. Al – Insan (Omuntu)
77. Al – Mur’salaat (Empewo eweerezebwa)
78. An – Naba (Amawulire)
79. An – Nazi’at (Abakwalekuzi)
80. Abasa(Ekkabyo)
81. At – Tak-wiir (Omuzingo)
82. Al – Infitwaar (Okwebulukuka)
83. Al – Muttaffifiin (Abakenyi)
84. Al – Inshiqaaq (Okulyeebuka)
85. Al – Buruj (Enfo enkunkuutivu)
86. Al – Twaliq (Empumpugumi)
87. Al – A’ala (Owaawaggulu)
88. Al – Gashiyah (Ekibutikira)
89. Al – Fajir (Amariri)
90. Al – Balad (Ekibuga Palan)
91. Al – Shamus (Enjuba)
92. Al – Layil (Ekiro)
93. Al – Dhuhah (Akasana akabereberye)
94. Ash – Sharih (Okwanjuluza)
95. At – Tiin (Omuti omutiini)
96. Al – Alaq (Ekisaayisaayi)
97. Al – Qadir (Amagero)
98. Al – Bayyinah (Amazima)
99. Az – Zilzalah (Musisi)
100. Al – Adiyat (Entebensi)
101. Al – Qari’ah (Ekiggunda)
102. At – Takaathur (Okwegwanyiza ebingi)
103. Al – Asir (Ekiseera)
104. Al – Humazah (Okugeya)
105. Al – Fil (Enjovu)
106. Al – Quraish (Abakuraish)
107. Al – Ma – un (Ebikozesebwa)
108. Al – Kawthar (Endulundu)
109. Al – Kafirunn (Abajeemu)
110. Al – Nasir (Obuyambi)
111. Al – Masad (Obugwogwa)
112. Al – Ikhilas (Obwannamunigina)
113. Al – Falaq (Matulutulu)
114. An – Naas (Abantu)

[/et_pb_text][/et_pb_column][et_pb_column type=”2_3″ _builder_version=”4.4.6″][et_pb_text _builder_version=”4.4.6″ custom_padding=”15px|3px||12px|false|false” hover_enabled=”0″ border_width_all=”0px” border_width_top=”3px” box_shadow_style=”preset2″ box_shadow_color=”#0C71C3″]

(9) ESSULA: AT-TAWBAH, ‘OKWENENYA’

Yakkira Madiina, eringa Aya 129.

1. Esaziddwaamu endagaano okuva ewa Katonda n’omubaka we, ekwata kwabo be mwakola nabo endagaano, abamu ku kibinja kya basamize.

2. Kale musaalimbire munsi emyezi ena era mumanye nti teriiyo kyemulemesa Katonda ku kikola. Era Katonda ye Munyomesa w’abajeemu.

3. Era kilangiriddwa okuva ewa Katonda n’omubaka we, okutegeeza abantu bonna ku lunaku lwa Hijja (okulamaga) olusinga obukulu nti: ‘Mazima Katonda asazizzaamu endagaano y’abasamize. N’omubaka we bwatyo. Kati ssinga mwenenyezza, ekyo ky’ekisinga obulungi gyemuli. Ate bwe muba mukubye enkyukira, olwo mumanye nti mazima mmwe tewali kyemulemesa Katonda kukituukiriza. Era tuusa amawulire, kwabo abaajeema ag’okufuna ekibonerezo ekiruma.

4. Tekizingiramu abo bemwakola nabo endagaano abamu ku kibinja ky’abasamize, oluvannyuma ne batabakendezaako kintu kyonna era nebatawagira, kwabo ababawalana muntu nomu, kale abo mutuukirize endagaano zabwe okumalako ekiseera kyazo. Mazima Katonda ayagala abamutya

5. Bwegiba giweddeko emyezi gy’emizizo, olwo mutte abasamize yonna gyemubasiŋŋanyirizza era mu bawambe era mubazingize era mu bateegere mu bifo byonna eby’enkisizo. Kale bwebaba beenenyezza era nebayimirizaawo okusinza nga basaala era nebawaayo zaka olwo mubalekere emirembe gyabwe betaaye. Mazima Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

6. Ate ssinga omuntu yenna ow’omukibinja ky’abasamize akusabye obukuumi, mukuume kimusobozese okuwulira ebigambo bya Katonda oluvannyuma mutuuse gyaggweramu okutya. Ekikozesa ekyo kubanga mazima bebo abantu abatalina kye bamanyi.

7. Kisoboka kitya abasamize okuba n’endagaano ekuumibwa obutiribiri ewa Katonda n’omubakawe? Mpozzi bali be mwakola nabo endagaano nga muli ku muzigiti gw’emizizo. Kale wonna webatuukiririza gyemuli endagaano nammwe mutuukirize endagaano zabwe. Mazima Katonda ayagala abamutya.

8. Kisoboka kitya? Awamu n’okuba nti bwe basalawo okuyamba abalabe ababalwanyisa, tebafaayo kubaako kye bakuuma butiribiri ku kirayiro kyonna wadde endagaano! Bafaayo okubasiimisa nga beyambisa (byeboogeza) emimwa gyabwe naye nga tegikkiriza emitima gyabwe era abasinga obungi mu kibinja kyabwe boonoonyi.

9. Baaguzisa amateeka ga Katonda ebyo eby’omuwendo omutono era nebatangira ekkubo lye. Mazima abo bibi nnyo bye baali bakola.

10. Teriiyo kye bakuuma butiribiri ekikwatagana n’abakkiriza nga kifa ku kirayiro kyonna wadde endagaano. Era bebo abeewagguzi.

11. Naye bwe baba benenyezza era nebayimirizaawo okusinza nga basaala era ne bawaayo zaka olwo abo baganda bammwe mu nzikiriza (mu ddiini). Kale tuteekulula amateeka olw’okuyamba abantu abamanyi.

12. Naye ssinga bamenya obwesige ku birayiro byabwe oluvannyuma lw’okunyweza endagaano zabwe, era ne bavvoola eddiini yammwe (enzikiriza yammwe), olwo mu lwanyise abakulembeze b’obujeemu. Mazima bebo abatalina birayiro bye batuukiriza – basobole okwekomako.

13. Muyinza mutya obutalwanyisa bantu abaamenya obwesige bw’ebirayiro byabwe era nga bekobaana okugobaganya omubaka, era nga bebo abaabasookereza (okubalwanyisa) omulundi ogwasooka. Abaffe abo mubatya mutya? Katonda yasinga okuba n’ebisaanyizo byemusinziirako okumutya ssinga mubadde bakkiriza.

14. Mubalwanyise, Katonda bali ababonereza nga yeyambisa mikono gyammwe, era abanyomoola era mmwe abasobozesa okubawangula, era awonya ekiruyi ky’emmeeme z’abantu abakkiriza.

15. Olwo amalawo essungu ly’emitima gyabwe. Era Katonda akkiriza okwenenya kwoyo gwayagala. Kale Katonda ye Mumanyi Ssaabalamuzi.

16. Abaffe ye musuubira mutya okulekebwa, nga Katonda tanneekenneenya abo abeewaayo okulwana, abamu mu kibinja kyammwe era nebeewala okwessizaawo nga baleseewo Katonda n’omubaka we n’abakkiriza, ab’emikwano enfira bulago abalala?. Kale Katonda ye Kakensa w’ebyo byemukola.

17. Tewali lwe baali bafunye abasamize bisaanyizo bya kuyimirizaawo mizigiti gya Katonda awamu n’okuba nti bewaako obujulizi obwekakasaako obujeemu. Bebo abaafiirwa ttogge emirimu gyabwe, era mu muliro bebo ab’okubeeramu olubeerera.

18. Mazima oyo yekka alina ebisaanyizo by’okuyimirizaawo emizigiti gya Katonda, y’oyo akkirizza Katonda n’olunaku lw’enkomerero, era ayimirizaawo okusinza nga asaala era awaddeyo Zaka, era atalina kyatidde kirala okujjako Katonda. Kale oba olyawo bebo ab’okubeera mu kibinja ky’abaluŋŋamu.

19. Abaffe lwaki muddira eky’okunywesa ba Hajji (abalamazi) n’okuyimirizaawo omuzigiti gw’emizizo okubyenkanya n’oyo aba akkirizza Katonda n’olunaku lw’enkomerero era n’alwanirira ekkubo lya Katonda? Ebyo tebyenkana ewa Katonda! Era Katonda taluŋŋamya bantu balyazamanyi.

20. Abo abakkiriza era abaasenguka era abaalwanirira ekkubo lya Katonda nga beyambisa emmaali yabwe n’emyoyo gyabwe be balina enkizo mu kuba n’amadaala ag’okumwanjo ewa Katonda. Era bebo abaganyulwa.

21. Abawa amawulire ag’essanyu Mukama Katonda Omulezi wabwe n’obusaasizi obuva gyali n’okusiimibwa n’ejjana (amaka agomuggulu ag’obuwangazi obulungi) gye balina okufuniramu ebyengera eby’ensibo.

22. Ba kubeera omwo lubeerera. Mazima Katonda y’alina empeera empitirivu.

23. Abange mwe abakkiriza, mukomye okufuula ba kitammwe n’abeŋŋanda zammwe, ab’emikwano egyomunda ssinga baba bettanidde obujeemu okubusussa obukkiriza. Era oyo abafuula ab’emikwano egyomunda nga ali mu kibinja kyammwe, olwo nga bebo abalyazamanyi.

24. Gwe bategeeze nti: ‘Bwekiba nti bakitammwe n’abaana bammwe ne baganda bammwe ne bakyala bammwe n’eŋŋanda zammwe n’emmaali yammwe gye mwateganira n’ebyamaguzi bye mutya okudiba, n’amaka gemwegomba, by’ebiganzi ennyo gyemuli okusinga Katonda n’omubaka we, n’okulwanira mu kkubo lye, kale mulindirire okutuusa Katonda lw’anaaleetawo okusalawo kwe, kale Katonda taluŋŋamya bantu boonoonefu.

25. Mazima Katonda yabataasa muntabaalo nkuyanja. Naye olunaku (olwaliko olutalo) lwe Hunain, jjukira lwemwewaga olw’obungi bwamwe kale nebutabaako kye bubagasa kunsonga yonna, era n’ebafundiwalira nnyo ensi awamu n’okuba nti ngazi oluvannyuma ne mukyuka nga mudda ekyennyuma.

26. Oluvanyuma Katonda yassa obuvumu bwe n’essuubi ku mubaka we ne kubakkiriza, era yassa eggye lye mutaalaba, olwo n’abonereza bali abaajeema. Kale eyo y’empeera y’abajeemu.

27. Oluvannyuma Katonda akkiriza, ebyo nga biwedde, okwenenya kwoyo gwayagala. Era Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

28. Abange mmwe abakkiriza mazima engeri yokka abasamize gyebabalibwamu y’ey’okubeera entalondwa zennyini, kale tebageza nate okusemberera omuzigiti gw’emizizo oluvannyuma lw’omwaka gwabwe guno. Kale bwemuba mwelariikiridde okucoppa, Katonda ajja kubagaggawaza nga abayawulizaako ebimu ku birungi bye bwaba ayagadde. Mazima Katonda ye Mumanyi Ssaabalamuzi.

29. Mulwanyise bali abatakkiriza Katonda wadde olunaku lw’enkomerero, era abeerema okuziza ebyo Katonda byeyaziza n’omubaka we, era abatakkiririza mu nzikiriza (eddiini) eyaamazima, nga bebamu abasangibwa mu kibinja kyabo abaaweebwa ekitabo, okutuusa lwe bawaayo ekyenunuzo kye batateekwa kulemera nga bawewuufu.

30. Kale Abayudaaya baayogera nti: ‘Uzairu mwana wa Katonda, era Abanaswala baayogera nti: ‘Masiya mwana wa Katonda!’. Ebyo by’ebigambo bye boogeza emimwa gyabwe. Bifanana ebigambo bya bali abaajeema olubereberye. Yaa kabatabaala ne bafa Katonda! Basalawo batya okuwugulwa?

31. Baafuula abasumba babwe n’abalabirizi babwe okubeera ba Katonda babwe ababalera nebalekawo Katonda asinzibwa Allah, ne Masiya mutabani wa Mariamu baamufuula batyo. Sso nga teriiyo kirala kye baalagirwa okujjako okuba nga basinza Omusinzibwa omu. Teriiyo asinzibwa mulala okujjako Yye. Obutukuvu bube jaali nga ayawulibwa kw’ebyo bye bayimbagatanya.

32. Kye baagala kwe kuzikiza ekitangala kya Katonda n’emimwa gyabwe, sso nga Katonda teriiyo kyawakanya okujjako eky’obutajjuza kitangala kye (nga bwakyagala) nebwe baba ekyo bakitamiddwa nnyo abajeemu.

33. Ye wuyo eyatuma omubaka we eyajja n’obuluŋŋamu n’eddiini (enzikiriza) ey’amazima alyoke agisse waggulu w’amadiini amalala gonna, kale ekyo ne bwe baba bakitamiddwa nnyo abasamize.

34. Abange mmwe abakkiriza mazima bangi nnyo mu kibinja kya basumba n’abalabirizi baliira ddala emmaali y’abantu mu bukuusa era batangira ekkubo lya Katonda. Ate bali abatereka Zaabu ne feesa mu mawanika era nebatabiwaayo mu kkubo lya Katonda, kale batuuseeko amawulire g’okufuna ekibonerezo ekiruma.

35. Lwe lunaku lwe byokebwa mu ggeyeena nebyengerera olwo nebigolozebwa obwenyi bwabwe n’embiriizi zabwe n’amabega gabwe. Biibyo bye mwatereka mu mawanika mmwe, kale mukombesebwe ku (kibonerezo kya) ebyo bye mwali muterese mu mawanika.

36. Mazima omuwendo gw’emyezi ewa Katonda giri kkumi n’ebiri egyakakasibwa mu kitabo kya Katonda ku lunaku lweyatonda eggulu n’ensi, mulimu ena egy’emizizo. Eyo y’Eddiini (Enzikiriza) entukirivu. Kale temugeza okulyazamanya emyoyo gyammwe mu kiseera kyagyo. Era mulwanyise abasamize obutataliza nomu nga nabo bwe babalwanyisa obutataliza nomu. Era mumanye nti mazima Katonda ali wamu n’abamutya.

37. Mazima engeri yokka okulindiriza (ebiseera ebirimu emyezi gy’emizizo) gyekutwalibwamu y’ey’okweyongera mu bugyemu. Kibuzisa nnyo bali abaajeema. Bakikkiriza omwaka ogumu era ne bakifuula kya muzizo omwaka omulala, nga baluubirira okwenkanyankanya omuwendo gw’egyo (emyezi) Katonda gye yaziza, olwo ne balekayo okuziza egyo (emyezi) Katonda gye yafuula egy’omuzizo. Baawundirwa emirimu gyabwe emibi. Era Katonda taluŋŋamya bantu bajeemu.

38. Abange mmwe abakkiriza lwaki bwe muba mulagiddwa nti mwanguwe okugenda okulwanirira ekkubo lya Katonda, muzitoowererwa okugenda, nemudda ku by’ensi? Abaffe enkizo mu kusiima mugiwadde buwangazi bwansi okusinga enkomerero? Tewali ngeri yonna okweyagala kw’ensi gye kutwalibwamu bwokugerageranya n’enkomerero okujjako okuba nga kutono nnyo.

39. Bwe muteeyune kugenda, nga ababonereza ekibonerezo ekiruma, era nga abawanyisaamu abantu abatali mmwe, ate nga tewali kibi kyemumutuusaako mu kintu kyonna. Kale Katonda buli kintu ye Musobozi wakyo.

40. Bwe mulekayo okumutaasa, mazima Katonda yamutaasa dda awo webaamugobaganyiza bali abaajeema we yabeerera owokubiri ku babiri, awo bombi we baabeerera mu mpuku, awo nga ategeeza mukwano gwe nti: ‘Tonakuwala mazima Katonda ali naffe’. Olwo Katonda n’amussaako obuvumu bwe n’essuubi era n’amuwagizisa eggye lyemutalaba, era n’afuula ekigambo kya bali abaajeema okuba ekyawansi nga ekigambo kya Katonda ky’ekiri waggulu. Kale Katonda ye Luwangula Ssaabalamuzi.

41. Mwanguwe okugenda (mu lutalo) kakibe nti bye mugenda nabyo biwewufu oba bizito, era mulwane nga mukozesa emmaali yammwe n’obulamu bwammwe mu kuyimirizaawo ekkubo lya Katonda. Ekyo kye kisinga obulungi gyemuli bwe muba mumanyi.

42. Ssinga eby’okufuna by’ensi byali tebyesudde wala, nga n’olugendo ssi lwa kutolontoka bonna baalikugoberedde, wabula lwabayitirirako okuba olwebunaayira. Kale bajja kulayira Katonda nga bekwasa nti: ‘Ssinga twali tusobola twaligenze nammwe!’ Besuula bokka mu kuzikirira era Katonda amanyi nti mazima bebo abalimba obulimbi.

43. Ggwe Katonda akusonyiwe – wasinziira kuki okubakkiriza (obutagenda) nga tebannakweyoleka bali abaali ku mazima, era n’okumanya abalimba? 44. Tekisoboka kukusaba obakkirize, abo abakkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero, obuteetaba mu kulwana nga bakozesa emmaali yabwe n’obulamu bwabwe. Era Katonda ye Mumanyi wabo abamutya.

45. Mazima abo abakusaba obakkirize (obuteetaba mu kulwana) be bali abatakkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero, era gyalemwa okufuna ekituufu emitima gyabwe, kale bebo abaggweredde mu kubuusabuusa kwabwe bannampawengwa.

46. Ssinga baayagala okufuluma (okugenda mu lutalo) baalikyetegekedde olwetegekera lwennyini. Naye (ebyembi) Katonda yatamwa obujjumbize bwabwe era teyabasobozesa kusalawo kyakugenda, olwo nebagambibwa nti: ‘Mutuule nga musigadde naabo abatasobodde kugenda.

47. Ssinga baafuluma nga bali muggye lyammwe, tewali kye baalibongedde okujjako okuyenjebuka era baaliyingizza obwannattabula wakati wammwe, babaagaza kutuuka ku kigezo eky’omutawaana (ffitina) ate baabasonsekamu empulirizo zabwe. Kale Katonda ye Mumanyi w’abalyazamanyi.

48. Mazima baayagala ebikemo okusimba amakanda olubereberye era baakutabuliratabulira ensonga zonna okutuusa lwe gaavaayo amazima nekweyelula okusalawo kwa Katonda era nga ekyo bbo bakitamwa.

49. Kale abamu mukibinja kyabwe eriyo akusaba nti: ‘Nzikiriza obutagenda, era tonsuula mu kikemo!’. Awatali kuwannaanya, ekikemo (effitina) baakigwamu dda. Era mazima ggeyeena yebunguludde ddala abajeemu.

50. Bwekiba kibatuuseeko ekirungi bali kibayisa bubi, ate bwe kiba kibatuuseeko ekibi, bagamba nti: ‘Mazima ffe engeri yaffe twagyeganga lubereberye, olwo nebadda ewabwe nga basanyufu.

51. Ggwe bategeeze nti: ‘Teri kijja ku tutuukako okujjako ekyo Katonda kye yatukakasaako, yewuyo omukuumi waffe. Era Katonda yekka gwe baba beesigamira abakkiriza’.

52. Ggwe babuuze nti: ‘Abaffe eriyo kye mutulindiriza ekirala kyonna okufuna okujjako ekimu ku birungi eby’emirundi ebiri?’. Era naffe tubalindiriza okuba nga Katonda abatuusaako ekibonerezo ekiva gyali oba ekibatuusiddwako mikwano gyaffe. Kale mulindirire, naffe tuli wamu nammwe ku ky’okulindirira.

53. Ggwe bategeeze nti: ‘Muweeyo mu kweyagalira oba mu buwaze, tewali kijja ku kkirizibwa nga kiva mummwe. Mazima mmwe mubadde bantu boonoonefu.

54. Era teriiyo kyabiziyiza okuba nga bikkirizibwa okuva mubo ebiwebwayo byabwe okujjako okuba nga bebo abaajeemera Katonda ssaako omubaka we, era nga tebabeerawo mu kusinza nga esswala esaalibwa okujjako nga bajjudde obugayaavu, era nga tewali kyebawaayo okujjako nga bajjudde okwetamwa.

55. Kale tesaanye kukusaaliza emmaali yabwe wadde abaana babwe. Mazima ekyo Katonda kyayagala kwe kubabonereza nga gyeyeyambisa, mu buwangazi bw’ensi era gibe nga gyekuulamu emyoyo gyabwe olwempaka nga balemedde mu bujeemu. 56. Kale balayira Katonda nga bakakasa nti mazima bali bumu nammwe, kumbe tebali bumu nammwe, wabula nga bebo abantu abatiribira (okufuna omutawaana ssinga mubagwamu).

57. Ssinga bafunayo obubudamo oba awekukumwa oba okuyingirwa nebabaviira, baalikyuse nebagenda gyebiri nga bayotta.

58. Era ekibinja kyabwe musangibwamu oyo okwegese amaaso nga ogabanya saddaaka. Bwe wabaawo kye bawebwa ekivudde muyo nga basiima, naye bwe watabaawo kye bawebwa ekivudde muyo mangu ago nga banyiiga.

59. Sso nga bwe baalibadde basiimye ekyo Katonda kye yabawa n’omubakawe, era ne bagamba nti: ‘Katonda yaatumalira byonna, era Katonda ajja kutuwa ebimu ku birungi ebiva gyali; n’omubaka we bwatyo mazima ffe eky’okudda ewa Katonda kye twesunga!’ (Ekyo kye kyalibasingidde).

60. Mazima abo bokka abagabirwa saddaaka be baavu n’abanaku n’abagikolamu n’abaakagatta emitima gyabwe (ku basiraamu), ne mukununula abaddu, n’okusasula emitango (oba amabanja) egyabo abalemeddwa, n’okuyimirizaawo ekkubo lya Katonda n’okuyamba omutambuze. Okwo kwe kugereka okuva ewa Katonda (okulina okutuukirizibwa). Kale Katonda ye Mumanyi Ssaabalamuzi.

61. Kale ekibinja kyabwe mulimu abo abanakuwaza Nnabbi nga bagamba nti: ‘Wuyo mpawo kyatawuliriza!’ Ggwe baddemu nti: ‘Kyonna kyawuliriza kirungi gyemuli, olw’engeri gy’akkiriza Katonda ssaako okukakasa abakkiriza, era bwe busaasizi bwabo abakkiriza abamu abali mu kibinja kyammwe. Kyokka bali abanakuwaza omubaka wa Katonda baweebwa ekibonerezo ekiruma.

62. Kale balayira Katonda mu maaso gammwe nga baluubirira okubasiimisa, sso nga Katonda n’omubaka we beb’ebisanyizo eby’enkizo okuba nga bamusiimisa, singa baali bakkiriza.

63. Abaffe baalemwa okumanya nti mazima oyo yenna eyeeyigaanya Katonda n’omubaka we, aweebwa omuliro gwa ggeyeena okugubeeramu olubeerera? Okwo kwe kuweebuuka okuyitirivu.

64. Bekengera abannanfusi okuba nti essuula ebakwatako essibwa nga ebattottolera ebyo ebiri mu mitima gyabwe. Ggwe bategeeze nti: ‘Mwe mudde awo mukwenyekwenye, mazima Katonda ye mweruzi w’ebyo bye mwewala okwatuukiriza.

65. Ate bwababuuza baddiramu ddala nti: ‘Engeri yokka gye twabaddamu ya kusaaga na kuzannya!’. Ggwe babuuze nti: Abaffe, musalawo mutya okuba nti Katonda n’amateeka ge n’omubaka we bye mwabadde mukwenyakwenya?’.

66. Temujja kwejjeerezebwa, awatali kuwannaanya mwamaze dda okujeema oluvannyuma lw’obukkiriza bwammwe. Singa tusonyiwa ekibinja ky’abamu abali mummwe ate tubonereza ekibinja ekirala (abali mummwe) olw’okuba bonna baali boonoonyi.

67. Abannanfusi abasajja n’abannanfusi abakyala abamu bava mu bunnaabwe. Balagira okukola ebibi era baziyiza okukola ebilungi era bafunya ebibatu byabwe (bakambira engalo). Beerabira Katonda naye yabeerabira. Mazima abannanfusi bebo aboonoonefu. 68. Katonda yalaganyisa obannanfusi abasajja n’abannanfusi, abakyala, n’abajeemu omuliro gwa ggeyeena gye bataliva olubeerera. Kyekyo ekibamala. Era Katonda yabakolimira. Era baweebwa ekibonerezo eky’ensibo.

69. Balinga bali abaaliwo olubereberye lwammwe baali babasinga amaanyi n’enkuyanja y’emmaali n’abaana, bwebatyo beeyagalira mu mugabo gwabwe, nammwe mweyagalidde mu mugabo gwammwe okufananako engeri gye beyagalira, bali abaabakulembera mu mugabo gwabwe, era mwemazeemu nga bali abeemalamu. Bebo abaafiirwa ttogge emirimu gyabwe munsi n’enkomerero, era bebo abataaganyulwa.

70. Abaffe tebatuukibwangako kyafaayo kyabali abaaliwo olubereberye lwabwe, okugeza abantu ba Nuhu, ne Aad ne Thamud n’abantu ba Ibrahimu n’abatuuze b’eMadiyana n’ab’Envunikirwa? Baatuuka gye bali ababaka babwe nga babatwalidde amazima. Kale teriiyo abo Katonda kyeyali abalyazamanyizza wabula baali myoyo gyabwe gye balyazamanya.

71. Era abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakyala abamu beyimirize ba bannaabwe. Balagira kukola birungi era baziyiza kukola bibi era bayimirizaawo okusinza nga basaala era bawaayo Zaka, era bagondera Katonda n’omubaka we. Bebo Katonda bajja okusaasira, mazima Katonda ye Luwangula Ssaabalamuzi.

72. Era Katonda yalaganyisa abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakyala okubawa Ejjana ekulukutiramu wansi wayo emigga baakusiisira omwo, era (baweebwa) n’amaka amayooyoote agali eyo mu jjana eya Aden (Obutuuze kiwamirembe obw’enkomeredde). Era (baakufuna) n’okusiimibwa kwa Katonda nga lyeryo ekkula erisinga byonna obunene. Okwo kwe kuganyulwa okuyitirivu.

73. Owange gwe Nnabbi tabaala abajeemu n’abannanfusi era beera mukambwe gye bali, ate obubudamu bwabwe ye ggeyeena. Obwo nno bubi nnyo obuddo.

74. Balayira Katonda (nga babakakasa), nti: Tewali kye baali bayogedde’, ate nga baayogera ekigambo ky’obujeemu era baajeema oluvannyuma nga baali basiraamu (abeewaayo mu mateeka ga Katonda), era beewera okukola ebivve ebyo bye bataasobola kutuukiriza. Ate teriiyo kyabakozesa mpalana okujjako okuba nti Katonda yabagaggawaza n’omubaka we nga abawa ebimu ku birungi bye. Naye bwe baneenenya kyekisinga okuba ekirungi gyebali. Ate bwe bakuba enkyukira, Katonda ababonereza ekibonerezo ekiruma ekyokunsi ne kunkomerero. Ate tebalinaayo munsi mweyimirize yenna wadde abataasa.

75.Ekibinja kyabwe kirimu oli alaganyisa Katonda nti: ‘Bwaba atuwadde ebimu ku birungi bye, olwo mazima tujja naffe ssaddaaka kugiweera ddala era tujja kuberera ddala mwabo abalongosa.

76. Kyokka bwe yabawa ebimu ku birungi bye, baabikodowalira era baakuba enkyukira nga bebo abajeemye.

77. Bwekityo (Katonda) yannyikiza obunnanfusi mu mitima gyabwe okutuusa ku lunaku lwe bamusisinkana, olw’ensonga gye balina eyabayinula okukumpanya Katonda ebyo bye baamulaganyisa, n’olwengeri gye baali balimba.

78. Abaffe baabulwamu akamanya nti mazima Katonda ategeera ebyama byabwe n’enkobaane zabwe, n’okuba nti mazima Katonda ye Mumanyi kayingo ow’ebikusike?

79. Bebo abeeyambisa amaaso nga bageya abawaayo ekyeyagalire, nga bebamu ku bali mu kibinja kyabakkiriza, olwa ssaddaaka (zebawaayo), era naabo abatalina kya kuwaayo okujjako amaanyi gabwe, olwo ne babajeeja – nabo Katonda yaakabasasula ekibi ky’okujeeja kwabwe – Era baweebwa ekibonerezo ekiruma.

80. Tekirina njawulo okuba nti obasabidde basonyiyibwe oba tobasabidde kusonyiyibwa. Nebwobasabira emirundi nsanvu basonyiyibwe, Katonda tajja kubasonyiwa. Ekyo kiri bwekityo olw’okuba mazima bebo abaajeemera Katonda n’omubaka we. Kale Katonda taluŋŋamya bantu boonoonyi.

81. Baasanyuka nnyo abo abaalekebwa emabega olw’engeri gyebasigadde batudde emabega w’omubaka wa Katonda obuteetaba naye mu lutalo, era baatamwa nnyo okulwana nga beyambisa emmaali yabwe n’obulamu bwabwe mu kkubo lya Katonda, era baagamba nti: ‘Temwanguwa kugenda kulwana mu kibabu ky’ekyeya!’ Ggwe baddemu nti: ‘Omuliro gwa ggeyeena gwe gusinga okubabula!’. Ssinga ekyo baali bakitegeera.

82. Balina okuseka ekitono n’okwekaabirako ekinene olw’engeri gye basasulwa byonna bye baali bateganira.

83. Kale bwanaaba Katonda okuzzizzaayo eri ekibinja ekimu mu bali, nebakusaba obakkirize bafulume (okwetaba nawe mu lutalo, ggwe baddemu nti: ‘Temujja kufuluma nange nebwebunaaba ddi era temujja kulwanyisa bumu nange mulabe yenna. Mazima mmwe baabo abaasiima okutuula omulundi ogwasooka. Kati mutuulire ddala nabali abasigadde emabega!’. 84. Era togerezaako ddala kusaalira (kusabira mulambo gw’)omuntu yenna mu kibinja kyabwe afudde nebwebuliba ddi, era tobeerawo kuntaana ye nga aziikibwa! Mazima bebo abaajeemera Katonda n’omubaka we, era baafa nga balemedde mu bwonoonyi. 85. Era tekusaaliza emmaali yabwe wadde abaana babwe. Mazima ekintu Katonda kyayagala kwe ku babonereza nga by’abalanga munsi, era gituuke okwekuulamu gyokka emyoyo gyabwe (bafe) nga balemedde mu bujeemu.

86. Kale bweba essiddwa essuula nga ebalagira nti: ‘Mukkirize Katonda era mulwanire wamu n’omubaka we!’. Olwo nga bakusaba obakkirize obutagenda, abamu ku kibinja kyabo abakungu ba binojjo, era ne bagamba nti: ‘Ffe tuleke tusigale naabo abatalina gye balaga!’.

87. Baasiima eky’okuba nti beyunga kwabo abaasigala emabega, era envumbo yamettebwa ku mitima gyabwe, kale bebo abatategeera.

88. Wabula yye omubaka naabo abakkiriza naye baalwana nga bakozesa emmaali yabwe n’obulamu bwabwe. Kale bebo abaganyulwa.

89. Katonda yabategekera Ejjana nga gikulukutira wansi wayo emigga nga babeera omwo lubeerera. Okwo kwe kuganyulwa okuyitirivu.

90. Kale bajja (gyoli) abo ab’ebyekwaso abamu ku kibinja kya bawalabu olw’okufuna okukkirizibwa (obuteetaba mu lutalo), ate baasigala batudde bali abaalimbisa Katonda n’omubaka we. Kijja kutuuka kwabo abaalimbisa abamu ku kibinja kyabwe, ekibonerezo ekiruma ennyo.

91. Tebafuna, abo abanafu wadde abalwadde wadde abo abatalina kye bawaayo (kuyambako mu lutalo), kunenyezebwa kwonna, bwe baba bewaayo okubuulirira (okuwa amagezi amalungi) ku lwa Katonda n’omubaka we. Teriiyo kwabo abalongosa, luwenda lusinzirwako kubabonereza (bwe baba tebasobodde kwetaba mu lutalo). Kale Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okwenjawulo.

92. Era teruliiyo (luwenda lusinzirwako kubabonereza) abo ababa bazze gyoli obafunire entambula, ggwe n’obaddamu nti: ‘Ssirinaawo ntambula gyennyinza kubafunira’, olwo nebaddayo nga amaaso gabwe gayunguka amaziga olw’ennaku ebakutte obutafuna kintu kye bawaayo!

93.Mazima oluwenda (olusinzirwako okubabonereza) luli kwabo abakusaba okubakkiriza obuteetaba mu lutalo ate nga bagagga. Baasiima okwegatta ku b’okusigala emabega, kale Katonda yametta envumbo ku mitima gyabwe, era bebo abatalina kyebamanyi.

94. Bakulombojjera ebyekwaso bwoba ozzeeyo gyebali. Ggwe bagambe nti: ‘‘Te mwekwasa, tettujja ku bakkiriza (nebwemunaalombojja ki) mazima Katonda ffe atubuulidde agamu ku mawulire agabakwatako. Era Katonda ajja kutunuulira emirimu gyammwe n’omubaka we bwatyo. Oluvannyuma mube nga muzzibwa eri Omumanyi webyo eby’enkiso n’olwatu, olwo abategeeze byonna bye mwali mukola’.

95. Bajja kubalayirira Katonda, bwe muba mukyusizza okudda gyebali, nga baluubirira mubaveeko. Kale mubaveeko, mazima zezo entalondwa. Era obubudamu bwabwe ye ggeyeena abasasulwa nga yempeera y’ebyo bye baali bateganira.

96. Babalayirira nga baluubirira musembe eky’okubaleka, naye mazima Katonda tasiima bantu boonoonyi.

97. Abawalabu bannamalungu be basingayo obujeemu n’obunanfusi era batuukana n’embera eyo olw’obutamanya bwabwe nsalosalo z’ebyo Katonda bye yassa ku mubaka we. Kale Katonda ye Mumanyi Ssaabalamuzi.

98. Era ekibinja kya bawalabu bannamalungu abamu mulimu oyo afuula ebyo byawaayo okuba empooza ey’obuwaze, olwo n’abalindirizisa ensi okubakyukira. Mazima yaakuddira bbo enkyunkakyuka y’ensi embi. Era Katonda ye Muwulizi Omumanyi.

99. Era ekibinja kya bawalabu bannamalungu abamu mulimu oyo akkirizza Katonda n’olunaku lw’enkomerero era nga afuula ebyo byawaayo okuba ensonga ebasembeza kumwanjo ewa Katonda n’okusabira kw’omubaka. Awatali kuwannaanya eyo y’ensonga ebafuula abokumwanjo. Katonda ajja kubayingiza mu busaasizi bwe. Mazima Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

100. Ate abo abaali abasaale (mukukola ebirungi) ab’olubereberye (mu kusiramuka) abali mu kibinja ky’abaasenguka n’abaabudamya nabali abaabagoberera mu bulungi, bebo Katonda be yasiima era nabo baamusiima, era yabategekera Ejjana nga gikulukutira wansi wayo emigga, baakubeera omwo olubeerera. Okwo kwe kuganyulwa okuyitirivu.

101. Ate abamu kwabo ababebunguludde nga be bamu ku bawalabu ba nnamalungu mulimu abannanfusi. Era n’abamu ku batuuze b’Emadiina, baagundiira ku bunnanfusi, bonna tolinaako gwomanyi, ffe tubamanyi. Tujja kubabonereza emirundi ebiri, oluvannyuma babe nga bazzibwa eri ekibonerezo ekiyitirivu.

102. Ate abalala baamanya obubi bw’ebyonoono bye baakola. Baatabiikiriza emirimu emilungi n’emirala emibi, oba olyawo nga abo Katonda akkiriza okwenenya kwabwe. Mazima Katonda ye Musonyiyi Ow’okusaasira okw’enjawulo.

103. Ggya mu mmaali yabwe Ssaddaaka (ekitundu ekiwebwayo ekiva mu mmaali yabwe) kikusobozese okubayonja n’okubatukuza era basabire emikisa. Mazima okusaba kwo bakufunamu emirembe. Kale Katonda ye Muwulizi Omumanyi.

104. Abaffe tebamanyangako nti mazima Katonda yewuyo akkiriza okwenenya kw’abaddu be, era nga akkiriza saddaaka era nga mazima Katonda yoyo eyeenenyezebwa Ow’okusaasira okw’enjawulo?

105. Ggwe bagambe nti: ‘Mwe mukole bukozi, Katonda ajja kwetegereza emirimu gyammwe, n’omubaka we bwatyo, n’abakkiriza bwebatyo, era mujja kuzzibwa eri Omumanyi w’ebikusike n’ebiri mu lwatu, olwo abannyonnyole bye mwali mukola. 106. Era abalala balindirizibwa kusalawo kwa Katonda, kyandiba nti wa kubabonereza, era kyandiba nti akkiriza okwenenya kwabwe. Kale Katonda ye Mumanyi Ssaabalamuzi.

107. Ate bali abaafuula omuzigiti okuba akabondo k’ebibi era n’okutuukiriza obujeemu era n’okwawulayawula mu bakkiriza era nga y’enfo omulindirirwa oyo eyali alwanyisizza Katonda n’omubaka we olubereberye. Kyokka nga balayirira ddala nga bwe batalinaayo kirala kyebaagala (nga bassaawo omuzigiti ogwo) okujjako okulongosa. Kale Katonda abawaako obujulizi obukakasa nti mazima bebo abalimba.

108. Togeza okusaaliramu ne bwebuliba ddi. Awatali kuwannaanya, omuzigiti (guli) ogwabangirwa ku (musingi gw’o) kutya Katonda ku lunaku olwasooka gwegulina ebisanyizo ebikusaalizaamu. Mulimu abasajja abaagala okweyonja (emibiri n’emyoyo gyabwe). Kale Katonda ayagala abafaayo okweyonja.

109. Abaffe oyo abangidde ekizimbe kye ku musingi gw’okutya Katonda n’okumusiimisa y’asinga obulungi, nandiki oli abangidde ekizimbe kye (kumusingi oguli) ku lubangabanga lw’oluwonko lwa mukoka oluweddeyo okusebbuuka, olwo ne lugiyiwa yonna mu muliro gwa Ggeyeena? Kale Katonda taluŋŋamya bantu balyazamanyi.

110 tekija kulekayo ekizimbe kyabwe kiri kye bazimba kwongera kutankana mu mitima gyabwe, mpozi nga gimaze gyonna okukutukakutuka emitima gyabwe kale Katonda ye Mumanyi Ssabalamuzi.

111. Mazima Katonda yagula ku bakkiriza emyoyo gyabwe n’emmaali yabwe, okuba nga abawaamu ejjana. Balwanirira ekkubo lya Katonda ne batta omulabe era nabo ne battibwa. Eyo y’endagaano gyalina okutuukiriza eyakakasibwa mu Tawuleti n’Enjiri ne Qur’an (Ssemusomwa). Kale avaawa oyo atuukiriza endagaano ye okusinga Katonda? Kale musanyukire obuguzi bwammwe obwo bwe mwakozesa mu kugulaana. Era okwo kwe kuganyulwa okuyitirivu.

112. Bebo abeenenyeza Katonda, abamusinza, abamutendereza, abasiiba, abakutama, abavunnama, abalagira okukola ebirungi era abaziyiza okukola ebibi era abakuuma obutiribiri ensalo za Katonda obutazisukka. Kale tuusa amawulire ag’essanyu ku bakkiriza.

113. Kyali tekigwana eri Nnabi n’abo abakkiriza okuba nga basabira abasamize okusonyiyibwa, nebwekiba nti babadde ba luganda (lwabwe), oluvannyuma lw’ebyo ebibeeyerulidde nti mazima bebo abantu ba ggeyeena.

114. Era tekubangako kwa kyeyagalire okusaba kwa Ibrahim okusonyiyibwa kwa kitaawe, wabula kyava kundagaano gye yamulagaanyisa ye yennyini, naye bwe kyamala okweyerula gyali nti mazima yewuyo omulabe wa Katonda, yamwabulira. Mazima Ibrahim yali mmo mu kutendereza n’okwekuba mu kifuba nga ategedde ensobi (n’okuba) n’ekisa.

115. Era tekibangawo Katonda kubuza bantu oluvannyuma lw’okuba nti yabaluŋŋamya okutuusa lwabannyonnyola ebyo bye bagoberera nga bamutya. Mazima Katonda buli kintu ye Mumanyi wakyo.

116. Mazima Katonda asinzibwa Allah ye nannyini bwa Kabaka obw’eggulu n’ensi. Alamusa era afiisa. Era temulinaayo nga oggyeko Katonda mweyimirize yenna wadde omutaasi.

117. Mazima Katonda yakkiriza okwenenya kwa Nnabbi, n’abasenguka n’ababudamyi abo abaamugoberera mu ssaawa ya kazigizigi oluvannyuma lw’okuba nti gyali gisemberedde okuwaba emitima gy’ekibinja ekimu ekiri mubo, oluvannyuma yakkiriza okwenenya kwabwe. Mazima ye wuyo Omulumirirwa wabwe Ow’okusaasira okw’enjawulo.

118. N’okw’abasatu abaalekebwa emabega okutuusa lwe yabafundiwalira ensi awamu n’okuba nti ngazi, era nezifundiwalirwa emmeeme zabwe nekibalowoozesa nti teriiyo bubudamo bwebalamye (buli wala ne) Katonda okujjako okudda gyali oluvannyuma yalekawo omwaganya gw’okwenenya kwabwe kibasobozese okwenenya. Mazima Katonda yewuyo akkiriza okwenenya Ow’okusaasira okw’enjawulo. 119. Abange mmwe abakkiriza, mutye Katonda era mubeere wamu n’abalina amazima.

120. Tekyagwanira batuuze be Madiina n’abo ababeetoolodde abamu ku bibinja by’abawalabu bannamalungu okuba nga baabulira omubaka wa Katonda, era tebaalyagadde kisukkiridde myoyo gyabwe kusinga mwoyo gwe. Ekyo kisinzira kukuba nga mazima bebo abatatuukibwako, keebe nkalamata, wadde okuleebuukana wadde enjala nga bali mu kkubo lya Katonda, era teri gyebatambulira munfo yonna enyiiza abajeemu, era tewali kibatuukako ekiva mu mulabe (wabwe) nga kizibu, okujjako nga byonna bibawandikirwamu mirimu mirungi. Mazima Katonda talemwa kusasula mpeera y’abalongosa.

121. Era tebawaayo kiwebwayo kyonna kakibe kitono wadde kinene, era teriiyo lusenyi lwe basomoka okujjako nga byonna bibawandikibwako, olwo alyoke Katonda abasasule ekisinga obulungi ku byonna bye baali bakola.

122. Era tekyagwanira eri abakkiriza okwemalira mu kweyunira entabaalo; Kale kiki ekyalemesa abantu abamu okulondebwa mu buli kibinja, (nekibasobozesa) okufuna ekibinja ekyetongodde, ekyo ekyeyunira okweyigiriza amateeka g’Eddiini? Olwo babe nga balabula abantu babwe bwe baba bazze gyebali, nabo basobole okwewala ebikyamu?

123. Abange mmwe abakkiriza mulwanyise abo ababaliraanye abamu ku bibinja bya bajeemu, era kisaanidde babasange nga mujjudde obukambwe. Era mumanye nti mazima Katonda ali wamu n’abamutya.

124. Ate bwe wabaawo essuula essiddwa olwo ekibinja kyabali kibaamu oyo ayeebuuza nti: ‘Aliwa oyo mumwe gweyongedde (eyo essuula) obukkiriza? Kyokka abo abakkiriza eba ebongedde bukkiriza era nga bagisanyukira.

125. Ate bali abalina mu mitima gyabwe ekirwadde, eba ebongedde kibi ekyeyongerezza ku kibi kyabwe, era baatuusa okufa nga balemedde mu bujeemu.

126. Abaffe balemwa batya okwerolera engeri bbo mazima gye bakemebwamu buli mwaka omulundi gumu oba emirundi ebiri oluvannyuma ne bateenenya era nebatasobola kwejjukanya?

127. Ate bwe wabaawo essuula essiddwa, abamu ku bibinja byabwe batunuulira (ebibinja) ebirala, (nga babuuza nti:) ‘Abaffe eriyo omuntu yenna abalaba?’. Bwe bamala nebakuba enkyukira – Yaakakyusiza ddala Katonda emitima gyabwe – olw’okuba mazima abo be bantu abatategeera.

128. Mazima wuuyo abatuuseeko omubaka ava mummwe, anyigibwa nnyo ebbanga lye mumala nga muli mu bizibu, abafaako nnyo (okubawonya omuliro) era ku bakkiriza ye Mulumirirwa Ow’obusaasizi obw’enjawulo.

129. Bwe baba bagaanye okukkiriza, kale ggwe bategeeze nti: ‘Oyo ammalira ye Katonda asinzibwa Allah, teriiyo asinzibwa mulala okujjako Yye. Yekka gwenneesigamidde, era yewuyo Mukama Katonda Omulenzi wa Nnamulondo obwaguuga.

[/et_pb_text][/et_pb_column][/et_pb_row][/et_pb_section]

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *